Engero 13 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Engero 13:1-25

Ensibuko y’Obugagga Obungi

113:1 Nge 10:1Omwana omugezi assaayo omwoyo eri ebiragiro bya kitaawe,

naye omunyoomi tafaayo ku kunenyezebwa.

213:2 Nge 12:14Omuntu asanyuka olw’ebirungi ebiva mu bibala bya kamwa ke,

naye atali mwesigwa yeegomba kuleeta ntalo.

313:3 a Yak 3:2 b Nge 21:23 c Nge 18:7, 20-21Oyo eyeegendereza by’ayogera akuuma obulamu bwe,

naye oyo amala googera, alizikirira.

4Omuntu omugayaavu yeegomba kyokka n’atabaako ky’afuna,

naye omunyiikivu byayagala byonna abifuna.

5Omuntu omutuukirivu akyawa obulimba,

naye omukozi w’ebibi yeereetera kunyoomebwa.

613:6 Nge 11:3, 5Obutuukirivu bukuuma omuntu omwesimbu,

naye okukola ebibi kuzikiriza omwonoonyi.

713:7 2Ko 6:10Omuntu omu ayinza okwefuula omugagga ate nga taliiko ky’alina,

ate omulala ne yeefuula okuba omwavu so nga mugagga nnyo.

8Obugagga bw’omuntu buyinza okumununula,

naye omwavu talina ky’atya.

913:9 Yob 18:5; Nge 4:18-19; 24:20Ekitangaala ky’abatuukirivu kyaka nnyo,

naye ettaala y’abakozi b’ebibi ezikira.

10Amalala gazaala buzaazi nnyombo,

naye amagezi gasangibwa mu abo abakkiriza okulabulwa.

1113:11 Nge 10:2Ensimbi enkumpanye ziggwaawo,

naye ezijja empolampola zeeyongera obungi.

12Essuubi erirwawo okutuukirira lirwaza omutima,

naye ekyegombebwa bwe kituukirira kiba muti gwa bulamu.

1313:13 Kbl 15:31; 2By 36:16Omuntu anyooma ebiragiro aligwa mu mitawaana,

naye oyo awuliriza ebimulagirwa aliweebwa empeera.

1413:14 a Nge 10:11 b Nge 14:27Okuyigiriza kw’omuntu alina amagezi nsulo ya bulamu,

era kuggya omuntu mu mitego gy’okufa.

15Okutegeera okulungi kuleeta okuganja,

naye ekkubo ly’abateesigibwa liba zzibu.

1613:16 Nge 12:23Omuntu omwegendereza akola amaze kulowooza,

naye omusirusiru alaga obutamanya bwe.

1713:17 Nge 25:13Omubaka omubi yeesuula mu mitawaana,

naye omubaka omwesigwa aleeta kuwonyezebwa.

1813:18 Nge 15:5, 31-32Anyooma okukangavvulwa yeereetako obwavu n’obuswavu,

naye oyo assaayo omwoyo ku kunenyezebwa aweebwa ekitiibwa.

19Ekyegombebwa bwe kituukirira kisanyusa omutima,

naye okulekayo okukola ebibi kya muzizo eri abasirusiru.

2013:20 Nge 15:31Oyo atambula n’abantu abagezi ageziwala,

naye oyo atambula n’abasirusiru alaba ennaku.

2113:21 Zab 32:10Emitawaana gigoberera aboonoonyi,

naye okukulaakulana y’empeera y’abatuukirivu.

2213:22 Yob 27:17; Mub 2:26Omuntu omulungi alekera bazzukulu be ebyobusika,

naye obugagga bw’omwonoonyi buterekerwa omutuukirivu.

23Ennimiro z’abaavu ziyinza okuvaamu emmere nnyingi,

naye obutali bwenkanya ne bugyera yonna.

2413:24 Nge 19:18; 22:15; 23:13-14; 29:15, 17; Beb 12:7Atakozesa kaggo akyawa omwana we,

naye oyo amwagala afaayo okumukangavvula.

2513:25 Zab 34:10; Nge 10:3Omutuukirivu alya emmere ye n’akkuta,

naye abakozi b’ebibi basigala nga bayala.