Ekyamateeka Olwokubiri 8 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 8:1-20

Ekisa kya Mukama mu Ddungu

18:1 Ma 4:1Mugonderanga amateeka gonna ge nkulagira leero, mulyoke mubeerenga balamu era mwale, muyingire ensi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjammwe okugibawa mmwe ng’obutaka bwammwe. 28:2 Am 2:10Onojjukiranga emyaka gino gyonna amakumi ana Mukama Katonda gy’azze ng’akukulembera okukuyisa mu ddungu alyoke akugezese, akukakkanye obeere muwombeefu omwetoowaze, era yeekkaanye mu mutima gwo alabe obanga onookwatanga amateeka ge. 38:3 a Kuv 16:12, 14, 35 b Kuv 16:2-3; Mat 4:4*; Luk 4:4*Era yakukkakkanya n’akulumya enjala, n’akuliisa emmaanu, gye wali tolabangako wadde bakadde bo okugiwulirako, alyoke akuyigirize nti omuntu taba mulamu na mmere yokka, wabula na buli kigambo ekiva mu kamwa ka Mukama Katonda. 48:4 Ma 29:5; Nek 9:21Mu myaka gino gyonna amakumi ana, engatto zo tezaakukaddiwako n’ebigere byo tebyazimba. 58:5 2Sa 7:14; Nge 3:11-12; Beb 12:5-11; Kub 3:19Noolwekyo osaana okitegeere mu mutima gwo nti, Ng’omusajja bw’akangavvula mutabani we, ne Mukama Katonda wo bw’akukangavvula.

68:6 Ma 5:33“Onookwatanga amateeka ga Mukama Katonda wo ng’otambuliranga mu makubo ge, era ng’omutya, ng’omussaamu ekitiibwa. 78:7 Ma 11:9-12Kubanga Mukama Katonda wo akutwala mu nsi ennungi ennyo: ensi erimu emigga, n’ebidiba, n’ensulo ez’amazzi agakulukutira ku nsozi ne mu biwonvu. 8Ensi omukula eŋŋaano ne sayiri, n’emitiini n’emikomamawanga, ensi ey’emizabbibu n’omubisi gw’enjuki; 9ensi, emmere gy’eteebeerenga ya bbula, nga buli ky’oneetaaganga onookifunanga; ensi, ng’ebyuma ge mayinja gaayo, era gy’onoosimanga ekikomo mu nsozi zaayo. 108:10 Ma 6:10-12Awo bw’onoolyanga n’okkuta, weebazenga Mukama Katonda wo olw’okukuwa ensi ennungi bw’etyo.

Okulabulwa Obutaba b’Amalala

11“Weegenderezenga nnyo olemenga kwerabiranga Mukama Katonda wo, ng’ogaananga okukwatanga amateeka ge, n’ebiragiro bye, bye nkulagira leero. 128:12 Kos 13:6Si kulwa ng’onoolyanga n’okkuta, ne weezimbiranga amayumba amalungi, n’otereera; 13amagana go n’ebisibo byo nga bigezze, ne zaabu yo ne ffeeza yo nga byaze, nga ne buli kintu ky’onoobanga nakyo nga kyeyongedde okwala, 148:14 Zab 106:21kale olwo omutima gwo ne gujjangamu amalala, ne weerabiranga Mukama Katonda wo eyakuggya mu nsi ey’e Misiri mu nnyumba ey’obuddu. 158:15 a Yer 2:6 b Kbl 21:6 c Kbl 20:11; Zab 78:15; 114:8Eyakukulemberanga n’akuyisanga mu ddungu eddene era ezzibu ennyo eritiisa, ekkalu omutali tuzzi, nga libunye emisota emikambwe egy’obusagwa, n’enjaba. Eyakuggyira amazzi mu lwazi. 168:16 Kuv 16:15Yakuliisanga emmaanu mu ddungu, emmere bajjajjaabo gye baali batalabangako. Yali ng’akwetoowazisa era nga bw’akugezesa, ku nkomerero biryoke bikugendere bulungi. 178:17 Ma 9:4, 7, 24Weekuumenga, olemenga okulowoozanga mu mutima gwo nti, ‘Obugagga buno bwonna mbufunye olw’obuyinza bwange n’amaanyi g’emikono gyange.’ 188:18 Nge 10:22; Kos 2:8Naye ojjukiranga Mukama Katonda wo, kubanga y’akuwa obuyinza okufuna obugagga, alyoke atuukirize endagaano ye gye yalayirira bajjajjaabo, nga bwe kiri leero.

198:19 Ma 4:26; 30:18“Bwe kanaakutandanga ne weerabiranga Mukama Katonda wo, n’ogobereranga bakatonda abalala, n’obasinzanga n’obavuunamiranga, mbategeeza mmwe leero nti ddala ddala mugenda kuzikirira. 20Nga bwe mulaba amawanga Mukama g’azikiriza mu maaso gammwe, nammwe bwe mulizikirira bwe mutyo, bwe mutaligonderanga ddoboozi lya Mukama Katonda wammwe.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

申命记 8:1-20

不可忘记耶和华

1“你们要谨遵我今日吩咐你们的一切诫命,以便能够存活,生养众多,并且得到耶和华起誓要赐给你们祖先的土地。 2要记住这四十年来你们的上帝耶和华怎样在旷野引领你们,祂磨炼你们、考验你们,好知道你们的心意如何、肯不肯遵守祂的诫命。 3祂让你们忍饥挨饿,然后赐给你们祖祖辈辈从未见过的吗哪吃,为了使你们明白人活着不是单靠食物,乃是靠祂口中的每一句话。 4这四十年来,你们的衣服没有穿破,双脚也没有走肿。 5你们心里要明白,你们的上帝耶和华管教你们,如同父亲管教儿子。

6“所以,你们要遵守你们的上帝耶和华的诫命,行祂的道,敬畏祂, 7因为祂要带你们到一个佳美之地。那里的谷中和山间流淌着条条溪流、股股清泉; 8那里盛产大麦、小麦、葡萄、无花果、石榴、橄榄油和蜂蜜; 9那里食物充足,一无所缺;那里矿产资源丰富,石头就是铁,山中可以采铜。 10你们吃饱喝足后,要赞美你们的上帝耶和华,因为祂赐给你们那佳美之地。

11“你们要谨慎,免得忘记你们的上帝耶和华,不遵守我今天吩咐你们的诫命、典章和律例。 12当你们丰衣足食、居室华美、 13牛羊众多、金银日增的时候, 14切勿心骄气傲,忘记你们的上帝耶和华。祂把你们从受奴役之地——埃及救出来, 15带领你们走过干旱、可怕、毒蛇和蝎子出没的大旷野。祂使坚硬的磐石流出水来给你们喝, 16在旷野中把你们祖先从未见过的吗哪赐给你们吃,为要磨炼你们、考验你们,使你们最终得到益处。 17你们切勿以为是凭自己的双手和能力致富的。 18要记住,是你们的上帝耶和华赐给你们致富的能力,为要坚立祂给你们祖先的誓约,正如今日的情形。

19“我今天警告你们,如果你们忘记你们的上帝耶和华,去追随、供奉、祭拜其他神明,你们必灭亡。 20如果你们不听从你们的上帝耶和华,你们必灭亡,正如祂使列国在你们面前灭亡一样。