Ekyamateeka Olwokubiri 33 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 33:1-29

Musa Asabira Ebika bya Isirayiri Omukisa Omulundi gwe Ogwasembayo

133:1 Yos 14:6Guno gwe mukisa, Musa musajja wa Katonda gwe yasabira abaana ba Isirayiri nga tannafa. 233:2 a Kuv 19:18; Zab 68:8 b Bal 5:4 c Kbk 3:3 d Dan 7:10; Bik 7:53; Kub 5:11Yagamba nti,

Mukama Katonda yajja gye tuli ng’ava ku Sinaayi

n’atutuukako ng’ava ku Seyiri;

yamasamasa ng’ava ku Lusozi Palani.

Yajja n’obufukunya bw’abatukuvu

okuva ku bukiika obwaddyo obw’ensozi ze.

333:3 a Kos 11:1 b Ma 14:2 c Luk 10:39Mazima gw’oyagala abantu,

abatukuvu bonna bali mu mikono gyo.

Bavuunama wansi ku bigere byo

ne bawulira ebiragiro by’obawa.

433:4 a Yk 1:17 b Zab 119:111Ge mateeka Musa ge yatuwa

ng’ekyokufuna eky’ekibiina kya Yakobo.

5Waasitukawo kabaka mu Yesuluuni

abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana

nga bye bika bya Isirayiri ebyegasse.

6“Lewubeeni abenga mulamu; alemenga kuggwaawo

n’omuwendo gw’abasajja be gulemenga kukendeera.”

733:7 Lub 49:10Kino kye yayogera ku Yuda:

“Wulira, Ayi Mukama Katonda okukaaba kwa Yuda;

omuleete eri abantu be.

Yeerwaneko n’emikono gye.

Omuyambenga ng’alwanyisa abalabe be!”

833:8 a Kuv 28:30 b Kuv 17:7Bino bye yayogera ku Leevi:

“Sumimu wo ne Ulimu wo

biwe omusajja oyo gw’oyagala ennyo.

Wamukebera e Masa

n’omugezesa ku mazzi ag’e Meriba.

933:9 a Kuv 32:26-29 b Mal 2:5Yayogera ku kitaawe ne nnyina nti,

‘Abo sibafaako.’

Baganda be teyabategeeranga

wadde okusembeza abaana be;

baalabiriranga ekigambo kyo

ne bakuumanga endagaano yo.

1033:10 a Lv 10:11; Ma 31:9-13 b Zab 51:19Banaayigirizanga Yakobo ebiragiro byo

ne Isirayiri amateeka go.

Banaanyookezanga obubaane mu maaso go,

n’ebiweebwayo ebyokebwa ku kyoto kyo.

1133:11 2Sa 24:23Ayi Mukama Katonda owe omukisa byonna by’akola,

era okkirize emirimu gy’emikono gye.

Okubirenga ddala abo abamugolokokerako

okubenga abalabe be balemenga kwongera kumulumbanga.”

1233:12 a Ma 12:10 b Kuv 28:12Bye yayogera ku Benyamini:

“Omwagalwa wa Mukama Katonda abeerenga wanywevu,

Katonda Ali Waggulu ng’amwebulungudde bulijjo,

omwagalwa anaagalamiranga wakati ku bibegabega bye.”

1333:13 a Lub 49:25 b Lub 27:28Yayogera bw’ati ku Yusufu:

“Ettaka lye Mukama Katonda aliwe omukisa,

n’omusulo omulungi ennyo ogunaavanga waggulu mu ggulu

n’amazzi mu nzizi empanvu mu ttaka wansi,

14n’ebibala ebigimu ennyo ebinaavanga mu musana,

n’amakungula aganaasinganga mu myezi gyonna;

1533:15 Kbk 3:6n’ebibala ebinaakiranga obulungi ku nsozi ez’edda,

n’okwala kw’ebirime ku nsozi ez’emirembe gyonna;

1633:16 Kuv 3:2n’ebirabo ebisinga byonna mu nsi n’okujjula kwayo,

n’obuganzi obunaavanga eri oyo ow’omu kisaka ekyaka.

Ebyo byonna ka bijjenga ku mutwe gwa Yusufu,

mu kyenyi ky’omulangira mu baganda be.

1733:17 a Kbl 23:22 b 1Bk 22:11; Zab 44:5Mu kitiibwa anaabanga ente ennume embereberye

amayembe ge, ng’amayembe ga sseddume endalu;

anaagatomezanga amawanga n’agayuzaayuza,

n’agagoberanga ku nkomerero y’ensi.

Obwo bwe bunaabanga obukumi bwa Efulayimu

nga ze nkumi za Manase.”

1833:18 Lub 49:13-15Yayogera bw’ati ku Zebbulooni:

“Jaguzanga, ggwe Zebbulooni, bw’onoofulumanga;

ne Isakaali ng’ali mu weema zo.

1933:19 a Kuv 15:17; Is 2:3 b Zab 4:5 c Is 60:5, 11Banaakoowoolanga amawanga okwambuka ku nsozi

ne baweerangayo eyo ssaddaaka ez’obutuukirivu,

banaalyanga eby’obugagga ebya mayanja,

nga beeyambisa n’ebyobugagga ebikweke mu musenyu.”

2033:20 Lub 49:19Yayogera bw’ati ku Gaadi:

“Alina omukisa oyo agaziya ensalo z’omugabo gwa Gaadi,

Gaadi omwo mw’abeera ng’empologoma

ng’ayuza omukono n’omutwe.

2133:21 a Kbl 32:1-5, 31-32 b Yos 4:12; 22:1-3Yeerondera omugabo gw’ettaka erisinga obulungi,

omugabo gw’omukulembeze gwe gwamukuumirwa.

Abakulembeze b’abantu bwe baakuŋŋaana

ye yabasalira emisango gya Mukama,

n’okukwasa Isirayiri amateeka ga Mukama Katonda.”

2233:22 Lub 49:16Yayogera bw’ati ku Ddaani:

“Ddaani mwana gwa mpologoma,

ogubuuka nga guva mu Basani.”

23Yayogera bw’ati ku Nafutaali:

“Ggwe Nafutaali ajjudde obuganzi bwa Mukama Katonda

era ng’ojjudde emikisa gye,

onoosikira obukiikaddyo okutuuka ku nnyanja.”

2433:24 a Lub 49:21 b Lub 49:20; Yob 29:6Yayogera bw’ati ku Aseri:

“Asinga okuweebwa omukisa mu batabani ye Aseri,

ku baganda be gwe babanga basinga okwagala

era emizabbibu33:24 Waabangawo amafuta agaggibwanga mu mizabbibu, era amafuta ago kaali kabonero akalaga obugagga. gigimuke nnyo mu ttaka lye.

2533:25 Ma 4:40; 32:47Enzigi z’ebibuga byo zinaasibwanga n’eminyolo egy’ekyuma n’ekikomo

n’amaanyi go ganenkananga n’obuwangaazi bwo.

2633:26 a Kuv 15:11 b Zab 104:3“Tewali afaanana nga Katonda wa Yesuluuni

eyeebagala waggulu ku ggulu ng’ajja okukuyamba

ne ku bire mu kitiibwa kye.

2733:27 a Zab 90:1 b Yos 24:18 c Ma 7:2Katonda ataggwaawo bwe buddukiro bwo,

era akuwanirira n’emikono gye emirembe gyonna.

Anaagobanga abalabe bo nga naawe olaba,

n’agamba nti, ‘Bazikirize!’

2833:28 a Kbl 23:9; Yer 23:6 b Lub 27:28Bw’atyo Isirayiri anaabeeranga mu mirembe yekka,

ezzadde lya Yakobo linaabeeranga wanywevu,

mu nsi erimu emmere y’empeke ne wayini,

eggulu mwe linaatonnyezanga omusulo.

2933:29 a Zab 144:15 b Zab 18:44 c 2Sa 7:23 d Zab 115:9-11 e Ma 32:13Nga weesiimye, Ayi Isirayiri!

Ani akufaanana,

ggwe eggwanga Mukama Katonda lye yalokola?

Ye ngabo yo era omubeezi wo,

era kye kitala kyo ekisinga byonna.

Abalabe bo banaakuvuunamiranga,

era onoobalinnyiriranga.”