Ekyamateeka Olwokubiri 32 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 32:1-52

132:1 Is 1:2Tega okutu ggwe eggulu, nange nnaayogera,

wulira ebigambo by’omu kamwa kange.

232:2 a Is 55:11 b Zab 72:6Okuyigiriza kwange ka kutonnye ng’enkuba,

n’ebigambo byange bigwe ng’omusulo,

bigwe ng’obufuuyirize ku muddo,

ng’oluwandagirize ku bisimbe ebito.

332:3 a Kuv 33:19 b Ma 3:24Kubanga ndirangirira erinnya lya Mukama;

mutendereze ekitiibwa kya Katonda waffe!

432:4 a nny 15, 18, 30 b 2Sa 22:31 c Ma 7:9Lwe lwazi, emirimu gye mituukirivu,

n’ebikolwa bye byonna bya bwenkanya.

Ye Katonda omwesigwa, ataliiko bukuusa,

omwenkanya era omutereevu mu byonna.

532:5 Ma 31:29Beeyisizza ng’abagwenyufu gy’ali,

baswavu era tebakyali baana be,

wabula omulembe omukyamu era ogw’amawaggali.

632:6 a Zab 116:12 b Zab 74:2 c Ma 1:31; Is 63:16 d nny 15Bwe mutyo bwe musasula Mukama Katonda,

mmwe abantu abasirusiru era abatalina magezi?

Si ye kitaawo eyakutonda,

n’akussaawo n’akunyweza?

732:7 Kuv 13:14Jjukira ebiseera eby’edda,

fumiitiriza ku myaka egyayita edda.

Buuza kitaawo ajja kukubuulira

ne bakadde bo abakulembeze bajja kukutegeeza.

832:8 Lub 11:8; Bik 17:26Ali Waggulu Ennyo bwe yagabanyiza amawanga ensi zaago

abantu bonna bwe yabayawulayawulamu,

yategeka ensalo z’amawanga

ng’omuwendo gw’abaana ba Isirayiri bwe gwali.

932:9 a Yer 10:16 b 1Bk 8:51, 53Omugabo gwa Mukama Katonda be bantu be,

Yakobo bwe busika bwe bwe yagabana.

1032:10 a Yer 2:6 b Zab 17:8; Zek 2:8Yamuyisanga mu ddungu,

mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.

Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,

n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.

1132:11 Kuv 19:4Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo,

n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo,

era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula,

n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,

1232:12 nny 39Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga;

so tewabangawo katonda mulala.

1332:13 a Is 58:14 b Yob 29:6Yamuteeka ku ntikko z’ensozi ez’ensi eyo,

n’amuliisanga ku bibala by’omu nnimiro.

Yamukulizanga ku mubisi gw’enjuki ogw’omu njatika z’enjazi

n’amafuta agaavanga mu mayinja amagumu

1432:14 a Zab 81:16; 147:14 b Lub 49:11ne bbongo eyavanga mu biraalo, n’amata okuva mu bisibo,

n’amasavu ag’endiga ento n’ennume,

n’embuzi ennume n’enduusi ez’e Basani,

awamu n’eŋŋaano esinga obulungi,

wanywanga wayini ow’ejjovu eyavanga mu mizabbibu.

1532:15 a Ma 31:20 b nny 6; Is 1:4, 28 c Is 1:4Yesuluuni yakkuta n’agejja n’asambagala;

ng’ojjudde emmere nga weezitoowerera n’oggwaamu amaanyi.

Yava ku Katonda eyamukola,

n’alekulira Olwazi olw’Obulokozi bwe.

1632:16 a 1Ko 10:22 b Zab 78:58Baamukwasa obuggya olwa bakatonda abalala

ne bamusunguwaza ne bakatonda abalala.

1732:17 a Ma 28:64 b Bal 5:8Baawaayo ssaddaaka eri baddayimooni, so si eri Katonda,

eri bakatonda be batamanyangako,

bakatonda abaggya abaali baakatuuka

bakatonda abo bajjajjammwe be bataatyanga.

1832:18 Is 17:10Weerabira Olwazi eyakuzaala,

weerabira Katonda eyakuzaala.

1932:19 a Yer 44:21-23 b Zab 106:40Mukama Katonda bwe yakiraba n’abeegobako

kubanga yasunguwazibwa batabani be ne bawala be.

2032:20 a Ma 31:17, 29 b nny 5N’agamba nti, Nzija kubakweka amaaso gange

ndabe ebinaabatuukako;

kubanga omulembe gwabwe mwonoonefu,

abaana abatalinaamu bwesigwa.

2132:21 a 1Ko 10:22 b 1Bk 16:13, 26 c Bar 10:19*Bankwasa obuggya ne bakatonda abalala,

ne banyiiza n’ebifaananyi byabwe omutali nsa.

Ndibakwasa obuggya olw’abo abatali ggwanga,

ndibakwasa obusungu olw’eggwanga eritategeera.

2232:22 Zab 18:7-8; Yer 15:14; Kgb 4:11Kubanga obusungu bwange bukumye omuliro,

ne gwaka okutuukira ddala wansi mu magombe,

gusenkenya ensi n’ebibala byayo,

ne gwokya amasozi okutandikira ku bikolo byago.

2332:23 a Ma 29:21 b Zab 7:13; Ez 5:16Nzija kubatuumangako emitawaana

ne mbayiwangako obusaale bwange.

2432:24 a Ma 28:22 b Zab 91:6 c Lv 26:22 d Am 5:18-19Nnaabasindikiranga enjala namuzisa,

n’obulwadde obwokya, ne kawumpuli omuzikiriza;

ndibaweereza ebisolo eby’amannyo amasongovu

n’ebyewalula mu nfuufu eby’obusagwa.

2532:25 a Ez 7:15 b 2By 36:17; Kgb 2:21Ekitala kinaabamalangako abaana baabwe

ne mu maka gaabwe eneebanga ntiisa njereere.

Abavubuka abalenzi n’abawala balizikirira

abaana abawere n’abasajja ab’envi bonna batyo.

2632:26 a Ma 4:27 b Zab 34:16Nalowoozaako ku ky’okubasaasaanya

wabulewo akyabajjukiranga ku nsi.

2732:27 Is 10:13Naye ne saagala abalabe baabwe kubasosonkereza,

kubanga abaabalumbagana bandiremeddwa okukitegeera,

ne beewaana nti, “Ffe tuwangudde,

Mukama ebyo byonna si ye yabikoze.”

28Lye ggwanga omutali magezi,

mu bo temuliimu kutegeera.

2932:29 Ma 5:29; Zab 81:13Singa baali bagezi ekyo bandikitegedde,

ne balowooza ku biribatuukako ku nkomerero.

3032:30 a Lv 26:8 b Zab 44:12Omusajja omu yandisobodde atya okugoba abantu olukumi,

oba ababiri okudumya omutwalo ne badduka,

wabula nga Lwazi waabwe y’abatunzeeyo,

Mukama Katonda ng’abawaddeyo?

31Kya mazima lwazi waabwe tali nga Lwazi waffe,

abalabe baffe bakiriziganya naffe.

32Wayini waabwe ava mu terekero lya wayini wa Sodomu,

n’ennimiro z’emizabbibu za Ggomola;

ezzabbibu zaabwe zabbibu za butwa,

ebirimba byazo bikaawa;

3332:33 Zab 58:4wayini waazo bwe butwa bw’emisota

obusagwa obukambwe obw’amasalambwa.

3432:34 Yer 2:22; Kos 13:12Ekyo saakyeterekera,

nga kuliko n’envumbo mu mawanika gange?

3532:35 a Bar 12:19*; Beb 10:30* b Yer 23:12 c Ez 7:8-9Okuwoolera eggwanga kwange, nze ndisasula.

Luliba lumu ebigere byabwe ne biseerera,

obudde bwabwe obw’okuzikirira busembedde,

n’okubonerezebwa kwabwe kubafubutukirako.

3632:36 Ma 30:1-3; Zab 135:14; Yo 2:14Mukama Katonda alisalira abantu omusango mu bwenkanya,

alisaasira abaweereza be,

bw’aliraba ng’amaanyi gonna gabaweddemu,

omuddu n’ow’eddembe nga tewasigadde n’omu.

3732:37 Bal 10:14; Yer 2:28N’alyoka abuuza nti, Kale nno bakatonda baabwe bali ludda wa,

olwazi mwe beekweka.

38Baani abaalyanga amasavu ku ssaddaaka zaabwe,

ne banywa envinnyo ey’ekiweebwayo ekyokunywa?

Basituke bajje babayambe,

kale babawe obubudamo babakuume!

3932:39 a Is 41:4 b Is 45:5 c 1Sa 2:6; Zab 68:20 d Kos 6:1 e Zab 50:22Mulabe kaakano, nga nze kennyini, nze Ye!

Tewali katonda mulala wabula Nze;

nzita era ne nzuukiza,

nfumita era ne mponya;

era tewali atangira mukono gwange nga gukola.

40Ngolola omukono gwange eri eggulu ne nangirira nti,

ddala ddala nga bwe ndi omulamu emirembe gyonna

4132:41 a Is 34:6; 66:16; Ez 21:9-10 b Yer 50:29bwe mpagala ekitala kyange ekimasamasa,

n’omukono gwange ne gukikwata nga nsala emisango,

nnaawalananga abalabe bange,

ne neesasuzanga eri abanaankyawanga.

4232:42 a nny 23 b Yer 46:10, 14Obusaale bwange ndibutamiiza omusaayi,

n’ekitala kyange kirirya ennyama,

n’omusaayi gw’abattiddwa n’abawambiddwa,

n’ogw’emitwe egy’abakulembeze b’abalabe.

4332:43 a Bar 15:10* b 2Bk 9:7 c Zab 65:3; 85:1; Kub 19:2Mujaguze mmwe amawanga awamu n’abantu be,

kubanga aliwalanira omusaayi gw’abaweereza be,

aliwalana abalabe be,

era alitangirira olw’ensi ye n’abantu be.

4432:44 Kbl 13:8, 16Awo Musa n’ajja awamu ne Yoswa mutabani wa Nuuni, n’addamu ebigambo byonna eby’oluyimba olwo ng’abantu bonna bawulira. 45Musa bwe yamala okuddamu ebigambo ebyo byonna eri abaana ba Isirayiri, 4632:46 Ez 40:4n’abagamba nti, “Mukwate ku mutima gwammwe ebigambo byonna bye mbategeezezza leero n’obuwombeefu obungi, mulyoke mulagire abaana bammwe bagonderenga n’obwegendereza ebigambo byonna eby’amateeka gano. 4732:47 Ma 30:20Ebigambo ebyo si bya kusaagasaaga, wabula bye bigambo ebikwatira ddala ku bulamu bwammwe bwennyini. Okusinziira ku bigambo bino, mugenda kuwangaala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugifuna.”

Okufa kwa Musa Kulangibwa

48Ku lunaku olwo lwennyini Mukama Katonda n’agamba Musa bw’ati nti, 4932:49 Kbl 27:12“Yambuka olinnyerinnye ku Lusozi Nebo oluli mu nsozi za Abalimu mu nsi ya Mowaabu, osusse amaaso Yeriko olengere ensi ya Kanani gy’empa abaana ba Isirayiri okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira. 5032:50 Lub 25:8Ku lusozi olwo lw’ojja okulinnya kw’olifiira okuŋŋaanyizibwe eri abantu bo, nga muganda wo Alooni bwe yafiira ku lusozi Koola, n’akuŋŋaanyizibwa eri abantu be. 5132:51 a Kbl 20:11-13 b Kbl 27:14Kubanga mwembi mwanziggyamu obwesige mu maaso g’abaana ba Isirayiri ku mazzi g’e Meriba-Kadesi mu ddungu ly’e Zini, olw’okulemwa okussa ekitiibwa ekituukiridde mu butukuvu bwange mu maaso g’abaana ba Isirayiri. 5232:52 a Ma 34:1-3 b Ma 1:37Noolwekyo ensi ojja kugirengera bulengezi, so toligiyingiramu, ensi gye mpa abaana ba Isirayiri.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

申命记 32:1-52

摩西之歌

1“诸天啊,请留心听;

大地啊,请听我说。

2愿我的教导如雨降下,

愿我的话语如露滴落,

像水滴滋润嫩草,

像甘霖浇灌草木。

3我要宣扬耶和华的名,

你们要颂赞我们上帝的伟大。

4“祂是磐石,

祂的作为完美,

祂按公义行事,

祂信实可靠,公平正直。

5狡诈、堕落的一代啊,

你们却对祂不忠,行事败坏,

不配做祂的儿女。

6愚昧无知的人啊,

你们就这样报答耶和华吗?

祂是你们的父,你们的创造主,

祂创造了你们,塑造了你们。

7“要回顾往昔,追溯历史;

问你们的父亲,

他们必回答你们;

问你们的长者,

他们必告诉你们。

8当初,至高者赐万国产业,

把人类分开,

祂依照天使32:8 天使”希伯来文是“以色列的儿子”。的数目,

为万族定疆界。

9以色列人属于耶和华,

雅各是祂的产业。

10“在荒凉的旷野,

在野兽吼叫的荒野,

耶和华找到他们,

庇护他们,看顾他们,

保护他们如同保护眼中的瞳仁,

11又如老鹰搅动窝巢,

盘旋在雏鹰之上,展开双翼,

背着雏鹰飞翔。

12耶和华独自带领他们,

身边没有外族神明。

13耶和华使他们驰骋在大地的高处,

吃田间的五谷,

磐石中的蜂蜜,

石头地产的油;

14吃牛酪和羊奶,

肥美的羔羊,

巴珊的绵羊和山羊,

上好的麦子;

喝葡萄汁酿的酒。

15“但耶书仑32:15 耶书仑”是以色列的昵称。吃饱喝足,

养肥长壮后,就得意忘形,

背弃造他们的上帝,

藐视救他们的磐石。

16他们拜外族的神明,令祂愤恨;

行可憎之事,惹祂发怒。

17他们祭拜的不是真神,

而是鬼魔,

是他们素不认识的新神明,

是他们祖先所不敬畏的。

18他们轻视生他们的磐石,

忘记养他们的上帝。

19“耶和华看见祂儿女的恶行,

就愤然厌弃他们,

20说,‘这堕落的子民,

不忠的儿女!

我要掩面不理他们,

看他们的结局如何。

21他们拜假神,让我愤恨;

供虚无之物,惹我发怒。

我要借无名之民挑起他们的嫉妒,

用愚昧的国民激起他们的怒气。

22我的怒火已经点燃,

要烧到阴间的尽头,

吞灭大地及其出产,

甚至烧毁山的根基。

23“‘我要使灾祸连连临到他们,

我的箭都射向他们。

24他们必饱受饥荒之苦,

被瘟疫和灾祸吞噬,

被猛兽和毒蛇袭击。

25外有刀剑杀戮,

内有恐惧笼罩,

少男、少女、婴儿、

老人无一幸免。

26我本要消灭他们,

使世人忘记他们;

27但我不愿让敌人夸口,

宣称这是他们的胜利,

而非我的作为。’

28以色列人愚昧无知,毫无见识。

29如果他们有智慧,

就能明白这一切、

知道自己的结局。

30若不是他们的磐石卖掉他们,

若不是耶和华抛弃他们,

一人怎能赶散他们千人?

二人怎能击溃他们万人?

31我们的敌人也承认他们的磐石不如我们的磐石。

32他们犹如来自所多玛

长在蛾摩拉的葡萄树,

结的葡萄粒粒有毒,串串苦涩;

33酿的酒如蛇的毒液,

如眼镜蛇的毒液。

34“祂说,‘我把这一切积存起来,

封在我的仓库里。

35申冤在我,我必报应,

到时候他们必站不住脚,

他们遭祸的日子近了,

他们的末日来了。’

36“耶和华见自己的子民力量衰竭,

奴隶和自由人所剩无几,

必为他们主持公道,

怜悯祂的仆人。

37祂必说,‘你们的神明在哪里?

庇护你们的磐石在哪里?

38它们吃你们祭牲的脂肪,

喝你们的奠酒。

让它们起来帮助你们,

庇护你们吧!

39“‘你们要知道,

唯有我是上帝;

除我之外,别无他神。

我掌管生死,我打伤、我医治;

无人能逃出我的掌心。

40我向天伸手,

凭我的永恒起誓,

41我要磨快闪亮的剑,

主持公道,报应仇敌,

惩罚恨我的人。

42我要使我的箭饱饮鲜血,

被杀被掳之人的血;

我的剑要吞噬人肉,

敌人将领的肉。’

43“列邦啊,

你们当与祂的子民一同欢乐!

因为祂要为自己的仆人报血仇,

报应祂的仇敌,

洁净祂的土地和子民。”

44摩西的儿子约书亚把这首诗歌读给会众听。

摩西的遗嘱

45读完后,摩西又对以色列人说: 46“要谨记我今天警告你们的话,要吩咐你们的子孙谨遵这律法上的话。 47这律法不是空话,而是你们的生命。你们若遵守这律法,就必长住在约旦河对岸你们将要占领的土地上。”

预言摩西的死

48当天,耶和华对摩西说: 49“你去耶利哥对面的摩押,登上亚巴琳山区的尼波山,观看我要赐给以色列人作产业的迦南50之后,你会死在山上,归到你祖先那里,如亚伦何珥山离世归祖一样。 51因为在旷野,在加低斯米利巴泉旁,你和亚伦对我不忠,没有在以色列人中尊我为圣。 52所以,你只能远远地观看我要赐给以色列人的土地,却不能进去。”