Ekyamateeka Olwokubiri 31 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 31:1-30

Musa Alaamiriza Yoswa

1Awo Musa n’agenda n’abuulira Isirayiri yonna ebigambo bino, n’agamba nti, 231:2 a Ma 34:7 b Kbl 27:17; 1Bk 3:7 c Ma 3:23, 26“Olwa leero mpezezza emyaka kikumi mu abiri egy’obukulu; sikyalina maanyi kusobola kufuluma na kuyingira nga bwe njagala. Sikyasobola kubakulembera. Mukama Katonda antegeezezza nti, ‘Togenda kusomoka mugga guno Yoludaani.’ 331:3 a Kbl 27:18 b Ma 9:3 c Ma 3:28Mukama Katonda wo yennyini y’ajja okukukulembera mu kusomoka. Ajja kuzikiriza amawanga ago agali emitala, nga naawe olaba, olyoke obatwaleko ensi yaabwe. Yoswa yennyini naye yajja okukukulembera mu kusomoka, nga Mukama bwe yagambye. 4Era nga Mukama Katonda bwe yakola Sikoni ne Ogi, bakabaka b’Abamoli n’ensi yaabwe, n’abazikiriza, ne bano bw’alibakola. 531:5 Ma 7:2Mukama Katonda agenda kubagabula gye muli, era kiribagwanira okubakolako nga mugobererera ddala ebiragiro byange bye mbawadde nga bwe biri. 631:6 a Yos 10:25; 1By 22:13 b Ma 7:18 c Ma 1:29; 20:4 d Yos 1:5 e Beb 13:5*Beera n’amaanyi era ogume omwoyo. Tobatya wadde okubatekemukira, kubanga Mukama Katonda wo anaagendanga naawe buli w’onoddanga, taakulekenga so taakwabulirenga.” 731:7 Ma 1:38; 3:28Awo Musa n’atumya Yoswa n’amugambira mu maaso ga Isirayiri yenna nti, “Beera wa maanyi era ogume omwoyo; kubanga gw’ojja okugenda n’abantu bano mu nsi Mukama Katonda gye yalayirira bajjajjaabwe okugibawa; era gw’ogenda okugibasalirasaliramu ogibakwase okuba obusika bwabwe obw’enkalakkalira. 831:8 Kuv 13:21; 33:14Mukama Katonda yennyini y’ajjanga okukukulemberanga. Anaabanga naawe bulijjo, taakulekenga so taakwabulirenga. Totya so totekemuka.”

Amateeka Ganaasomwanga Buli Mwaka ogw’Omusanvu

931:9 nny 25; Kbl 4:15; Yos 3:3Awo Musa n’awandiika amateeka ago, n’agakwasa batabani ba Leevi, bakabona, abaasitulanga Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama Katonda, era n’awaako n’abakadde bonna abakulembeze b’abaana ba Isirayiri. 1031:10 a Ma 15:1 b Lv 23:34Musa n’abalagira bw’ati nti, “Ku buli nkomerero ya myaka musanvu, mu mwaka omutegeke ogusonyiyirwamu amabanja, era nga y’Embaga ey’Ensiisira, 1131:11 a Ma 16:16 b Yos 8:34-35; 2Bk 23:2Isirayiri yenna nga bazze okulabika mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’aneeronderanga, onoosomeranga Isirayiri yenna amateeka gano gonna nga bawulira. 1231:12 Ma 4:10Okuŋŋaanyanga31:12 Ye mbaga yokka eyabeerangako abakyala n’abaana, nga bazze okuwuliriza ebyasomebwanga mu Mateeka. abantu: abasajja, n’abakazi, n’abaana, ne bannamawanga abanaaberanga mu bibuga byo, balyoke bawulirizenga era bayigenga okutya Mukama Katonda wammwe, era bagobererenga n’obwegendereza ebigambo byonna ebiri mu mateeka gano. 1331:13 Ma 11:2; Zab 78:6-7Bwe batyo abaana baabwe abataamanyanga mateeka gano, balyoke bagawulire bayigenga okutyanga Mukama Katonda wammwe, obulamu bwammwe bwonna bwe mulimala nga muli mu nsi gye mugenda okusomokera omugga Yoludaani okugirya.”

Ebiragiro bya Mukama Ebyasembayo eri Musa

1431:14 Kbl 27:13; Ma 32:49-50Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Obudde bwo obw’okufa busembedde. Yita Yoswa, mujje mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.”

1531:15 Kuv 33:9Awo Mukama Katonda n’alabikira mu Weema ng’ali mu mpagi ey’ekire; empagi ey’ekire n’eyimirira waggulu w’omulyango gw’Eweema. 1631:16 a Bal 2:12 b Bal 10:6, 13Mukama Katonda n’agamba Musa nti, “Mu bbanga ttono ojja kugalamira ne bajjajjaabo. Olwo abantu bano nga batandika okusinzanga bakatonda abalala abalibeera mu bo, nga be bakatonda ab’omu nsi eyo mwe bajja okuyingira. Bagenda kunvaako bamenye endagaano gye nakola nabo. 1731:17 a Bal 2:14, 20 b Bal 6:13; 2By 15:2 c Ma 32:20; Is 1:15; 8:17 d Kbl 14:42Ku lunaku olwo obusungu bwange bulibabuubuukirako, nange ndibakisa amaaso gange, ne babeera bangu okuzikirizibwa, era ebizibu bingi n’emitawaana biribajjira. Ku lunaku olwo balyebuuza nti, ‘Emitawaana gino tegitutuseeko lwa kubanga Katonda waffe tali wakati mu ffe?’ 18Ku lunaku olwo ndikwekera ddala amaaso gange olw’ebibi byonna bye banaabanga bakoze nga bakyukidde bakatonda abalala.

19“Kale nno kaakano wandiika oluyimba luno oluyigirize abaana ba Isirayiri, olubayimbisenga, lulyoke lubeerenga omujulizi wange ku baana ba Isirayiri. 2031:20 a Ma 6:10-12 b Ma 32:15-17 c nny 16Kubanga bwe ndimala okubaleeta mu nsi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki, gye nasuubiza bajjajjaabwe nga ngibalayirira, ne balya ne bakkuta ne bagejja, balikyukira bakatonda abalala ne babasinza nga babaweereza, ne bannyooma ne bamenya endagaano yange. 2131:21 a nny 17 b Kos 5:3Obubenje obw’akabi bwe bunaabajjiranga, oluyimba luno lunaabasoomozanga ng’omujulizi nga lubalumiriza, kubanga bazzukulu baabwe banaabanga bakyalulina mu kamwa kaabwe nga tebannalwerabira. Kubanga mmanyi bye balowooza okukola nga n’okubatuusa sinnaba kubatuusa mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira.” 2231:22 nny 19Bw’atyo, ku lunaku olwo, Musa n’awandiika oluyimba luno n’aluyigiriza abaana ba Isirayiri.

2331:23 a nny 7 b Yos 1:6Awo Mukama n’awa Yoswa mutabani wa Nuuni ekiragiro kino ng’agamba nti, “Beera wa maanyi era guma omwoyo, kubanga ggw’oliyingiza abaana ba Isirayiri mu nsi gye nabasuubiza nga ngibalayirira; era nange nnaabeeranga naawe.”

24Musa bwe yamala okuwandiika mu Kitabo ebigambo eby’amateeka gano, okubiggya ku ntandikwa okubituusa ku nkomerero, 25Musa n’alagira Abaleevi abaasitulanga Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama, ng’agamba nti, 2631:26 nny 19“Mutwale Ekitabo ky’Amateeka kino mukiteeke awali Essanduuko ey’Endagaano eya Mukama Katonda wammwe, kibeerenga awo ng’omujulirwa gy’oli. 2731:27 Kuv 32:9; Ma 9:6, 24Kubanga nkumanyi nga bw’oli omujeemu era alina ensingo enkakanyavu. Obanga mubadde mujeemera Mukama Katonda nga nkyaliwo nammwe, kale nga mmaze okufa okujeema kwammwe tekuusingewo nnyo! 2831:28 Ma 4:26; 30:19; 32:1Munkuŋŋaanyize wano abakadde b’ebika byammwe abakulembeze bammwe bonna, njogere ebigambo bino mu matu gaabwe nga bawulira; era mpita eggulu n’ensi bibeere abajulirwa okubalumiriza. 2931:29 a Ma 32:5; Bal 2:19 b Ma 28:15Kubanga mmanyi nga bwe nnaamala okufa mujja kwefaafaaganyiza ddala nga mukyama okuleka ekkubo lye mbalagidde okukwatanga. Mu biseera ebijja emitawaana gijjanga kubajjira, nga mukoze ebibi mu maaso ga Mukama Katonda mulyoke mumusunguwaze olw’ebyo emikono gyammwe bye ginaabanga gikoze.”

Oluyimba Mukama lwe yalagira Musa

30Awo Musa n’ayogera, ebigambo by’oluyimba luno okuluggya ku ntandikwa yaalwo n’okulutuusa ku nkomerero ng’ekibiina kya Isirayiri yenna kiwulira.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

申命記 31:1-30

立約書亞做摩西的接班人

1摩西繼續對以色列人說: 2「我已經一百二十歲了,無法再繼續帶領你們,耶和華曾說我不得過約旦河。 3你們的上帝耶和華要親自帶領你們過河,在你們面前消滅那裡的各族,使你們佔領他們的土地。約書亞將做你們的首領,正如耶和華所言。 4耶和華要毀滅那裡的各族,像毀滅亞摩利二王西宏及其國家一樣。 5耶和華要把他們交給你們,你們要照我的一切吩咐處置他們。 6你們要剛強勇敢,不要怕他們,因為你們的上帝耶和華與你們同在,祂不會撇下你們,也不會離棄你們。」

7摩西約書亞叫來,當著全體以色列人的面對他說:「你要剛強勇敢!因為你要帶領百姓進入耶和華起誓賜給他們祖先的土地,把土地分給他們。 8耶和華必帶領你,與你同在。祂不會撇下你,也不會離棄你。不要害怕,也不要沮喪。」

每七年當眾宣讀律法一次

9摩西把這律法寫好,交給抬耶和華約櫃的利未祭司和以色列的眾長老。 10摩西吩咐他們說:「每逢免除債務的第七年的住棚節, 11所有以色列人到你們的上帝耶和華選定的地方朝見祂時,你們要當眾大聲宣讀這律法。 12要招聚所有男女、孩童以及住在你們中間的外族人,讓他們聆聽這律法,學習敬畏你們的上帝耶和華,謹遵律法上的一切話。 13這樣,他們那些還不知道這律法的孩子便有機會聽到律法,在你們將要佔領的約旦河對岸的土地上,學習終生敬畏你們的上帝耶和華。」

上帝對摩西和約書亞的指示

14耶和華對摩西說:「你快要離世了。叫約書亞與你一起到會幕,我要委派他。」摩西約書亞就去了會幕。 15有雲柱停在會幕入口的上方,耶和華在雲柱中向他們顯現。

16耶和華對摩西說:「你快要與祖先同眠了。這些百姓將很快在要佔領的土地上與外族人的神明苟合,背棄我,違背我與他們所立的約。 17那時,我要向他們發怒,離棄他們,掩面不理他們。他們將被吞滅,遭遇許多禍患和災難,以致他們會說,『這些禍患臨到我們豈不是因為上帝不在我們中間了嗎?』 18那時,我必掩面不理他們,因為他們祭拜別的神明,行為邪惡。

19「現在,你要寫一首歌,教導以色列人,讓他們背誦,作為我指控他們的證據。 20因為當我把他們帶到我起誓應許他們祖先的奶蜜之鄉後,當他們在那裡吃飽喝足後,就會嫌棄我,違背我與他們所立的約,去供奉別的神明。 21當許多禍患和災難臨到他們的時候,這首歌就要成為指控他們的證據,因為這首歌要在他們的子孫中世代流傳。雖然我還沒有帶領他們進入我起誓應許之地,我已經知道他們的心思意念。」 22當天,摩西就寫下這首歌,傳授給以色列人。

23耶和華囑咐的兒子約書亞:「你要剛強勇敢,因為你要帶領以色列人進入我起誓應許他們的土地,我必與你同在。」

24摩西把這律法都寫在書上以後, 25就吩咐抬耶和華約櫃的利未人: 26「把這律法書放在你們的上帝耶和華的約櫃旁,作為指控你們的證據。 27我知道你們悖逆、頑固不化,我還活在你們中間的時候,你們尚且背叛上帝,何況我死後呢? 28把你們各支派的長老和首領招聚來,我要把這些話告訴他們,叫天地作證來指控他們。 29我知道,我死後你們會徹底墮落,偏離我吩咐你們行的道,做耶和華視為惡的事,惹祂發怒,將來禍患必臨到你們。」

30然後,摩西把這首詩歌讀給以色列全體會眾聽。