Ekyamateeka Olwokubiri 26 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 26:1-19

Ebibala eby’Amakungula ag’Olubereberye

1Awo olulituuka bw’omalanga okuyingira mu nsi, Mukama Katonda wo gy’akuwa okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira, ng’omaze okugyefunira era ng’otebenkedde bulungi, 226:2 a Kuv 22:29; 23:16, 19; Kbl 18:13; Nge 3:9 b Ma 12:5oddiranga ebimu ku bibala ebibereberye by’oliggya mu makungula agalisooka okuva mu ttaka ery’oku nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa, n’obiteeka mu kibbo. Kale nno obireetanga mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye. 3Ogambanga kabona alibeera mu kisanja mu kiseera ekyo nti, “Njatula leero eri Mukama Katonda wo nti ntuuse mu nsi Mukama gye yalayirira bajjajjaffe okugituwa.” 4Kabona aliggya ekibbo mu mikono gyo n’akitereeza mu maaso g’ekyoto kya Mukama Katonda wo. 526:5 a Kos 12:12 b Lub 43:1-2; 45:7, 11; 46:27; Ma 10:22Kale nno oliyatula mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Jjajjaffe26:5 Jjajja ayogerebwako wano ye Yakobo. yali mutambuze Omusuuli, n’aserengeta mu Misiri n’abantu be yali nabo abatono, ne babeera eyo, ne bafuukamu eggwanga ekkulu ery’amaanyi era nga lirimu abantu bangi nnyo. 626:6 Kuv 1:11, 14Naye Abamisiri ne batuyisa bubi, ne batubonyaabonya, nga batukozesa emirimu emikakanyavu. 726:7 a Kuv 2:23-25 b Kuv 3:9Bwe tutyo ne tukaabirira Mukama, Katonda wa bajjajjaffe; Katonda n’awulira eddoboozi lyaffe, n’alaba okubonaabona kwaffe, n’okutegana kwaffe, n’okunyigirizibwa kwaffe kwonna. 826:8 Ma 4:34Bw’atyo Mukama n’atuggya mu Misiri n’omukono gwe ogw’amaanyi gwe yagolola, n’obuyinza bwe obw’entiisa, n’obubonero, n’ebyamagero eby’ekitalo. 926:9 Kuv 3:8Yatuleeta mu kifo kino n’atuwa ensi eno, ensi omukulukutira amata n’omubisi gw’enjuki. 10Bwe ntyo ndeese gy’oli ebibala ebibereberye ebiva mu ttaka ery’omu nsi gy’ompadde, Ayi Mukama.” Olibiteeka mu maaso ga Mukama Katonda wo n’ovuunama mu maaso ge. 1126:11 a Ma 12:7 b Ma 16:11Kale nno, ggwe awamu n’Abaleevi, ne bannamawanga abanaabeeranga mu mmwe, onoojaguzanga ng’osanyukira ebirungi byonna, Mukama Katonda wo by’anaabanga akuwadde ggwe n’amaka go gonna.

1226:12 a Lv 27:30 b Kbl 18:24; Ma 14:28-29; Beb 7:5, 9Mu mwaka ogwokusatu bw’onoomalanga okuggyako ku makungula go ekitundu eky’ekkumi n’okissa wabbali, kubanga ogwo gwe mwaka ogw’ekitundu eky’ekkumi, onoddiranga ekitundu ekyo n’okiwa Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, ne baliiranga mu bibuga byo ne bakkuta. 1326:13 Zab 119:141, 153, 176Awo onooyogeranga mu maaso ga Mukama Katonda wo nti, “Ekitundu ekimu eky’ekkumi ekyatukuzibwa nkiggyayo mu maka gange ne nkigabira Abaleevi, ne bannamawanga, ne bamulekwa, ne bannamwandu, nga byonna bye wandagira bwe biri. Sikyamyeko kuva ku biragiro byo newaakubadde okwerabira n’ekimu ku byo. 1426:14 Lv 7:20; Kos 9:4Ekitundu ekyo sikiriddeeko nga ndi mu biseera eby’okukungubaga, wadde okukikwatako nga siri mulongoofu, era sikitoddeeko ne mpaayo eri abafu. Ŋŋondedde Mukama Katonda wange, ne nkola nga bwe yandagira. 1526:15 Is 63:15; Zek 2:13Otutunuulire ng’osinziira mu kifo kyo ekitukuvu gy’obeera mu ggulu, otuyiweko omukisa gwo ffe abantu bo Abayisirayiri n’ensi gy’otuwadde nga bwe walayirira bajjajjaffe, nga y’ensi omukulukuta amata n’omubisi gw’enjuki.”

Mugonderenga Amateeka ga Mukama

1626:16 Ma 4:29Mukama Katonda wo akulagira leero okugonderanga amateeka ago gonna n’ebiragiro ebyo; noolwekyo obigonderanga byonna n’omutima gwo gwonna n’emmeeme yo yonna. 17Ku lunaku lwa leero oyatudde nga Mukama bw’ali Katonda wo, era nga naawe bw’onootambuliranga mu makubo ge, era ng’onookuumanga ebiragiro bye n’amateeka ge gonna, era ng’onoomugonderanga. 1826:18 Kuv 6:7; 19:5; Ma 7:6; 14:2; 28:9Ku lunaku lwa leero Mukama alangiridde nga bw’oli owuwe, eggwanga lye ku bubwe ery’omuwendo omungi nga bwe yasuubiza, era nga ojjanga kukwatanga ebiragiro bye byonna. 1926:19 a Ma 4:7-8; 28:1, 13, 44 b Kuv 19:6; Ma 7:6; 1Pe 2:9Alangiridde nga bw’anaakujjuzanga ettendo n’okwatiikirira n’ekitiibwa okusukkirira amawanga gonna ge yatonda, era ng’olibeera eggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo, nga bwe yasuubiza.