Ekyamateeka Olwokubiri 21 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 21:1-23

Etteeka ku Butemu ng’Eyatemula Tamanyiddwa

1Bw’olimala okuyingira mu nsi Mukama Katonda gy’akuwa okugirya, omuntu n’asangibwa mu nsiko ng’attiddwa, kyokka ng’eyamusse tamanyiddwa, 2bakadde bo, abakulembeze, n’abalamuzi bo banaafulumanga ne bagenda bapima obuwanvu bw’ebbanga okuva ku mulambo okutuuka ku bibuga ebinaabanga bigwebulunguludde. 3Kale nno abakadde abakulembeze b’ekibuga ekinaabanga kisinga okuliraana n’omulambo ogwo, banaaddiranga ente enduusi etakozesebwangako mulimu gwonna, etassibwangamu kikoligo, 4ne bagiserengesa mu kiwonvu ekirimu akagga akakulukuta; ekitalimwangamu wadde okusimbwamu emmere. Mu kiwonvu omwo mwe banaanyoleranga ensingo y’ente eyo ne bagimenya. 521:5 a 1By 23:13 b Ma 17:8-11Kale nno batabani ba Leevi, bakabona, banaavangayo ne basembera, kubanga Mukama Katonda wo yabalonda okumuweerezanga, n’okusabiranga emikisa mu linnya lya Mukama n’okutereezanga empaka zonna n’obulumbaganyi. 621:6 Mat 27:24Awo abakadde abakulembeze bonna ab’omu kibuga ekinaasinganga okuliraana omulambo ogwo, banaanaabiranga engalo zaabwe ku nte eri enduusi eyamenyebbwa ensingo mu kiwonvu21:6 Ke kabonero akalaga ng’omuntu yejeeredde omusango gw’obussi., 7ne boogera nti, “Emikono gyaffe si gye gyayiwa omusaayi guno, ne bwe gwali guyiyibwa amaaso gaffe tegaagulaba, tetwaliwo nga guyiyibwa. 821:8 Kbl 35:33-34Osonyiwe abantu bo, Isirayiri, be wanunula Ayi Mukama Katonda, oleme kuleka wakati mu bantu bo, Isirayiri, omusango ogw’okuyiwa omusaayi, gwe batazzanga.” Bwe batyo banaasonyiyibwanga omusango gw’omusaayi ogwo. 921:9 Ma 19:13Bw’otyo bw’onoggyangawo omusango wakati wammwe ogw’okuyiwa omusaayi ogutaliiko nsonga, kubanga onoobanga okoze ekituufu mu maaso ga Mukama Katonda.

Okuwasa Omukazi Omunyage

1021:10 Yos 21:44Bw’ogendanga okutabaala balabe bo, Mukama n’abagabula mu mikono gyo n’onyagayo abantu, 11mu abo abanyagiddwa bw’onoolabangamu omukazi alabika obulungi n’omwagala, n’oyagala okumuwasa, 1221:12 Lv 14:9; Kbl 6:9omutwalanga mu maka go, n’omulagira okumwa omutwe gwe, n’okusalako enjala ze, 1321:13 Zab 45:10n’engoye ze mwe yawambirwa azeeyambulangamu. Bw’anaamalanga mu nju yo omwezi mulamba ng’akungubagira kitaawe ne nnyina, onoogendanga gy’ali n’obeera bba, naye anaabeeranga mukazi wo. 1421:14 Lub 34:2Kyokka bw’anaabanga takusanyusizza, omuwanga eddembe n’agenda so tomutundanga nsimbi. Tomuyisanga nga muddu, kubanga ggwe wamumalamu ekitiibwa kye.

Eddembe ery’Obwebange ery’Omwana Omubereberye

1521:15 Lub 29:33Omusajja bw’anaabanga n’abakazi babiri, omu nga muganzi naye omulala nga mukyawe, bombi ne bamuzaalira abaana aboobulenzi, naye ng’omwana omubereberye ye w’omukyawe; 1621:16 1By 26:10bw’anaabanga agabira batabani be abo ebintu bye mu ddaame lye, takkirizibwenga kuyisa mwana wa muganzi ng’omubereberye, singa omwana w’omukyawe ye mubereberye. 1721:17 a Lub 49:3 b Lub 25:31Anaasaaniranga okukkiriza nti omwana w’omukyawe ye mubereberye, era anaamuwanga emiteeko ebiri egy’ebintu bye byonna by’alina, kubanga oyo ge maanyi ga kitaawe amabereberye. Ye nannyini ddembe ery’obwebange ery’omwana omubereberye.

Abaana Abakakanyavu Abatawulira

1821:18 Nge 1:8; Is 30:1; Bef 6:1-3Omuntu bw’anaabanga ne mutabani we omukakanyavu omujeemu atagondera biragiro bya kitaawe wadde ebya nnyina, atabafaako bwe bamubonerezaamu olw’obutawulira, 19kitaawe ne nnyina banaamukwatanga ne bamuleeta eri abakulu abakulembeze ab’omu kibuga kye waabwe nga bali wabweru w’omulyango gw’ekibuga ekyo. 20Banaategeezanga abakulu abakulembeze b’omu kibuga kye waabwe nti, “Mutabani waffe ono mukakanyavu era mujeemu. Tatuwulira. Wa mulugube nnyo era mutamiivu.” 2121:21 a Ma 19:19; 1Ko 5:13* b Ma 13:11Kale nno abasajja b’omu kibuga ekyo banaamukubanga amayinja ne bamutta. Bw’otyo bw’onoomalangawo ekibi wakati wo. Isirayiri yenna anaakiwuliranga, n’atya.

Amateeka Agatali Gamu

2221:22 Ma 22:26; Mak 14:64; Bik 23:29Omuntu bw’anaasingibwanga ogw’okufa n’attibwa, n’awanikibwa ku muti, 2321:23 a Yos 8:29; 10:27; Yk 19:31 b Bag 3:13* c Lv 18:25; Kbl 35:34omulambo gwe teguulekebwenga ku muti ne gusulako ekiro kyonna; onoomuziikanga ku lunaku olwo lwennyini, kubanga omuntu awanikibwa ku muti, Katonda aba amukolimidde. Togwagwawazanga nsi Mukama Katonda wo gy’akuwa okugirya okubeera obusika bwo obw’enkalakkalira.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

申命記 21:1-23

殺人疑案的處理

1「在你們的上帝耶和華將要賜給你們的土地上,如果發現有人被殺,陳屍野外,卻不知道兇手是誰, 2當地的長老和審判官就要去測量一下屍體距附近各城邑的距離。 3距離屍體最近的那城的長老們要牽一頭從未負過軛、從未耕過地的小母牛, 4去有溪流但無人耕種過的山谷,在那裡把牠的頸項打斷。 5利未祭司也要去,因為你們的上帝耶和華揀選他們在祂面前事奉、奉祂的名為人祝福並審理各種糾紛及人身傷害的事。 6那城的長老們要在被打斷頸項的小母牛上方洗手, 7然後禱告說,『我們的手沒有殺這人,我們的眼也沒有看見誰殺了他。 8耶和華啊,求你赦免你已經救贖的以色列子民,不要把殺害這無辜之人的罪算在你的子民身上。』這樣,殺人的罪便可得到赦免。 9你們做耶和華視為正的事,就可以從你們中間除去殺害無辜之人的罪。

娶女俘的條例

10「你們和敵人交戰時,你們的上帝耶和華會把敵人交給你們,使他們成為你們的俘虜。 11如果你們有人在俘虜中看見美麗的女子,被她吸引,想娶她為妻, 12就可以帶她回家,讓她剃去頭髮,修剪指甲, 13換掉被俘時所穿的衣服,住在那人家中為她父母哀悼一個月。之後,那人便可以和她結為夫妻。 14如果那人不喜歡她,則要讓她自由離去,不可賣掉她,也不可奴役她,因為他已經羞辱了她。

長子的權利

15「如果一個人有兩個妻子,一個受他寵愛,一個不受他寵愛,二人都給他生了兒子,但長子是不受寵愛的妻子生的, 16分產業的時候,他不可廢長立幼,把長子的權利給他所愛之妻生的兒子。 17他必須承認他不愛之妻所生的長子的名分,分給他雙份產業,因為長子是他壯年時所生的兒子,應享有長子的權利。

懲處逆子的條例

18「如果一個人的兒子冥頑不靈、悖逆成性、屢教不改, 19他父母要抓住他,把他帶到城門口去見本城的長老,對他們說, 20『我們這個兒子冥頑不靈、悖逆成性,不肯聽從我們,是個貪吃好酒之徒。』 21全城的人都要用石頭打死他,從你們中間除掉這種罪惡。所有以色列人聽說後,都會感到害怕。

罪犯屍體的處理

22「如果有人犯了死罪,屍體被掛在木頭上, 23不可讓屍體在木頭上過夜,必須當天埋葬,因為凡掛在木頭上的人都是上帝所咒詛的。你們不可玷污你們的上帝耶和華將要賜給你們的土地。