Ekyamateeka Olwokubiri 2 – LCB & NIV

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 2:1-37

Emyaka gye Baamala mu Ddungu

12:1 Kbl 21:4Awo ne tukyuka ne tuddayo mu ddungu nga twolekera Ennyanja Emyufu, nga Mukama bwe yandagira. Ne tumala ennaku nnyingi nnyo nga tutambulira mu nsi ey’ensozi ey’e Seyiri.

2Mukama n’aŋŋamba nti, 3“Mu nsi eno ey’ensozi mutambuliddemu ekiseera kiwanvu, era kimala; kale kaakano mukyuke mulage mu bukiikakkono. 42:4 Kbl 20:14-21Abantu bawe ebiragiro bino nti, ‘Muli kumpi okutuuka mu nsi ya baganda bammwe, abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri, bajja kubatya, kyokka mubeegendereza nnyo. 52:5 Lub 36:8; Yos 24:4Temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa ku ttaka lyabwe, wadde akatundu akatono awagya ekigere ky’omuntu. Kubanga ensi ey’ensozi eya Seyiri nagiwa dda Esawu okuba obutaka bwe obwenkalakkalira. 6Mubagulangako emmere gye munaalyanga nga mugisasulira n’ensimbi, n’amazzi ag’okunywa nago nga mugasasulira ensimbi.’ ”

72:7 Ma 8:2-4Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mirimu gyonna gy’okola n’emikono gyo. Amanyi nti otambulira mu ddungu lino eddene ennyo bwe lityo. Era Mukama Katonda wammwe abadde akulabirira emyaka gino gyonna amakumi ana, ng’abeera naawe, era nga buli kye weetaaga akikuwa.

82:8 a 1Bk 9:26 b Bal 11:18Bwe tutyo ne tweyongerayo mu lugendo lwaffe nga tuyita ku baganda baffe abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri. Ne tuleka ekkubo ly’Alaba eririnnyalinnya okuva Erasi ne Eziyonigeba, ne tukwata ekkubo eriyita mu ddungu lya Mowaabu.

92:9 a Kbl 21:15 b Lub 19:36-38Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Abamowaabu temubasunguwaza wadde okubasosonkerezaako olutalo, kubanga sigenda mmwe kubawa ku ttaka lyabwe mu Ali, ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe.” 102:10 a Lub 14:5 b Kbl 13:22, 33Abemi be baabeeranga mu kitundu ekyo, nga basajja banene, nga ba maanyi, nga bangi nnyo, era nga bawanvu okwenkana nga Abanaki. 11Baayitibwanga Baleefa okufaanana nga Abanaki bwe baayitibwanga, naye Abamowaabu nga bo babayita Bemi. 122:12 nny 22Mu biseera eby’edda Abakooli nabo baabeeranga mu Seyiri, okutuusa bazzukulu ba Esawu bwe baabasiguukulula ne babagobamu ne babazikiriza, ensi eyo ne bagyetwalira, bo ne bagibeeramu; okufaananako ng’Abayisirayiri bwe balikola mu nsi Mukama Katonda gye yabawa ey’obusika bw’obutaka bwabwe obw’enkalakkalira. 13Mukama n’agamba nti, “Musituke musomoke akagga Zeredi.” Ne tusomoka.

142:14 a Kbl 13:26 b Kbl 14:29-35 c Ma 1:34-35Olwo nga kasookedde tuva mu Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Ekiseera ekyo we kyaggweerako ng’abasajja abalwanyi bonna mu lusiisira lw’abaana ba Isirayiri, ab’omu mulembe ogwo, nga bafudde baweddewo, nga Mukama Katonda bwe yabalayirira. 152:15 Zab 106:26Kubanga Mukama Katonda yamalirira okubazikiriza n’omukono gwe okutuusa ng’abamaliddemu ddala mu lusiisira lwabwe.

16Awo olwatuuka abasajja abalwanyi bonna bwe baamala okufa, nga bazikiridde baweddewo mu bantu, 17Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, 18“Olwa leero munaasala ensalo ya Mowaabu mu Ali. 192:19 a Lub 19:38 b nny 9Naye bwe musemberera Abamoni temubasunguwaza so temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sigenda kubawa ku ttaka ly’Abamoni n’akatono okuba obutaka bwammwe, kubanga ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.”

20Ekitundu ekyo era kyali kiyitibwa nsi ya Baleefa, kubanga Abaleefa be baabeerangamu naye Abamoni nga babayita Bazamuzumu. 212:21 nny 10Baali basajja ba maanyi era nga bangi nnyo, nga bawanvu ng’Abanaki. Naye Mukama Katonda n’abawaayo eri Abamoni ne babazikiriza, ne batwala ensi yaabwe ne bagituulamu. 222:22 Lub 36:8Ne kifaananako nga Mukama bwe yazikiriza Abakooli abaalinga mu Seyiri, ensi yaabwe n’agiwa bazzukulu ba Esawu okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira n’okutuusa leero. 232:23 a Yos 13:3 b Lub 10:14 c Am 9:7Abavi abaabeeranga mu byalo ebyesuddeko okutuuka e Gaza, Abakafutoli abaava e Kafutoli bajja ne babazikiriza ne batwala ensi yaabwe bo ne bagibeeramu.

242:24 Kbl 21:13-14; Bal 11:13, 18“Musituke mutambule muyite mu kiwonvu ekya Alunoni. Otegeere kino nga Sikoni Omwamoli Kabaka w’e Kesuboni mmugabudde mu mukono gwo n’ensi ye yonna. Kale tandika okumutabaala, n’ensi ye ogyetwalire efuukire ddala yiyo ya butaka bwo. 252:25 a Ma 11:25 b Yos 2:9, 11 c Kuv 15:14-16Okutandika n’olunaku lwa leero amawanga gonna ag’oku nsi nzija kugateekamu entiisa bakankane nga bawulidde ettutumu lyo babeere mu kutiitiira n’okunyolwa ku lulwo.”

Okuwangula Sikoni Kabaka w’e Kesuboni

26Nga tuli mu ddungu ly’e Kedemosi natumira Sikoni Kabaka w’e Kesuboni n’obubaka obw’okuteesa emirembe nga mmugamba nti, 272:27 Kbl 21:21-22“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka nga tetuwunjuseeko kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono. 282:28 Kbl 20:19Onootuguzanga emmere gye tunaalyanga nga tugisasulira ensimbi, n’amazzi ge tunaanywangako, nago nga tugasasulira ensimbi. Naye tuleke tuyite mu nsi yo nga tutambula n’ebigere, 29nga bazzukulu ba Esawu abaabeeranga mu Seyiri, n’Abamowaabu abaabeeranga mu Ali bwe baatuleka, okutuusa lwe tulimala okusomoka Yoludaani ne tutuuka mu nsi Mukama Katonda waffe gy’ategese okutuwa.” 302:30 a Yos 11:20 b Kuv 4:21; Kbl 21:23; Bar 9:18Naye Sikoni Kabaka wa Kesuboni n’atatukkiriza kuyitawo. Kubanga Mukama Katonda wammwe yali akakanyazizza omwoyo gwe era ng’awaganyazizza omutima gwe, alyoke amugabule mu mukono gwammwe nga bwe kiri leero.

312:31 Ma 1:8Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Laba, ntandise okugabula Sikoni n’ensi ye mu mukono gwo. Kale tandika okuwangula ensi ye yonna, olyoke ogyefunire okubeera obusika bwo era obutaka bwo obw’enkalakkalira.”

322:32 Kbl 21:23Kabaka Sikoni n’eggye lye lyonna ne batulumba mu lutabaalo olw’e Yakazi. 332:33 Ma 29:7Mukama Katonda waffe n’agabula Sikoni n’eggye lye lyonna, ne batabani be, mu mukono gwaffe ne tubawangula. 342:34 Ma 3:6; 7:2Mu kaseera ako twawamba ebibuga bye byonna ne tubizikiriza n’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana abato, tetwalekerawo ddala. 35Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba. 362:36 a Ma 3:12; 4:48; Yos 13:9 b Zab 44:3Okuva ku Aloweri ekiri ku lukugiro lw’Ekiwonvu Alumoni, n’okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, n’okutuukira ddala mu Gireyaadi, tewaaliwo kibuga na kimu ekyatusukkirira amaanyi. Mukama Katonda waffe byonna yabitugabula mu mukono gwaffe. 372:37 a nny 18-19 b Kbl 21:24 c Lub 32:22; Ma 3:16Naye ebifo, Mukama Katonda waffe bye yatulagira obutabisemberera, y’ensi y’abazzukulu ba Amoni, ne ku mbalama zonna ez’omugga Yaboki, n’ebibuga eby’omu nsi ey’ensozi; ebyo byo yatugaana okubikwatirako ddala.

New International Version

Deuteronomy 2:1-37

Wanderings in the Wilderness

1Then we turned back and set out toward the wilderness along the route to the Red Sea,2:1 Or the Sea of Reeds as the Lord had directed me. For a long time we made our way around the hill country of Seir.

2Then the Lord said to me, 3“You have made your way around this hill country long enough; now turn north. 4Give the people these orders: ‘You are about to pass through the territory of your relatives the descendants of Esau, who live in Seir. They will be afraid of you, but be very careful. 5Do not provoke them to war, for I will not give you any of their land, not even enough to put your foot on. I have given Esau the hill country of Seir as his own. 6You are to pay them in silver for the food you eat and the water you drink.’ ”

7The Lord your God has blessed you in all the work of your hands. He has watched over your journey through this vast wilderness. These forty years the Lord your God has been with you, and you have not lacked anything.

8So we went on past our relatives the descendants of Esau, who live in Seir. We turned from the Arabah road, which comes up from Elath and Ezion Geber, and traveled along the desert road of Moab.

9Then the Lord said to me, “Do not harass the Moabites or provoke them to war, for I will not give you any part of their land. I have given Ar to the descendants of Lot as a possession.”

10(The Emites used to live there—a people strong and numerous, and as tall as the Anakites. 11Like the Anakites, they too were considered Rephaites, but the Moabites called them Emites. 12Horites used to live in Seir, but the descendants of Esau drove them out. They destroyed the Horites from before them and settled in their place, just as Israel did in the land the Lord gave them as their possession.)

13And the Lord said, “Now get up and cross the Zered Valley.” So we crossed the valley.

14Thirty-eight years passed from the time we left Kadesh Barnea until we crossed the Zered Valley. By then, that entire generation of fighting men had perished from the camp, as the Lord had sworn to them. 15The Lord’s hand was against them until he had completely eliminated them from the camp.

16Now when the last of these fighting men among the people had died, 17the Lord said to me, 18“Today you are to pass by the region of Moab at Ar. 19When you come to the Ammonites, do not harass them or provoke them to war, for I will not give you possession of any land belonging to the Ammonites. I have given it as a possession to the descendants of Lot.”

20(That too was considered a land of the Rephaites, who used to live there; but the Ammonites called them Zamzummites. 21They were a people strong and numerous, and as tall as the Anakites. The Lord destroyed them from before the Ammonites, who drove them out and settled in their place. 22The Lord had done the same for the descendants of Esau, who lived in Seir, when he destroyed the Horites from before them. They drove them out and have lived in their place to this day. 23And as for the Avvites who lived in villages as far as Gaza, the Caphtorites coming out from Caphtor2:23 That is, Crete destroyed them and settled in their place.)

Defeat of Sihon King of Heshbon

24“Set out now and cross the Arnon Gorge. See, I have given into your hand Sihon the Amorite, king of Heshbon, and his country. Begin to take possession of it and engage him in battle. 25This very day I will begin to put the terror and fear of you on all the nations under heaven. They will hear reports of you and will tremble and be in anguish because of you.”

26From the Desert of Kedemoth I sent messengers to Sihon king of Heshbon offering peace and saying, 27“Let us pass through your country. We will stay on the main road; we will not turn aside to the right or to the left. 28Sell us food to eat and water to drink for their price in silver. Only let us pass through on foot— 29as the descendants of Esau, who live in Seir, and the Moabites, who live in Ar, did for us—until we cross the Jordan into the land the Lord our God is giving us.” 30But Sihon king of Heshbon refused to let us pass through. For the Lord your God had made his spirit stubborn and his heart obstinate in order to give him into your hands, as he has now done.

31The Lord said to me, “See, I have begun to deliver Sihon and his country over to you. Now begin to conquer and possess his land.”

32When Sihon and all his army came out to meet us in battle at Jahaz, 33the Lord our God delivered him over to us and we struck him down, together with his sons and his whole army. 34At that time we took all his towns and completely destroyed2:34 The Hebrew term refers to the irrevocable giving over of things or persons to the Lord, often by totally destroying them. them—men, women and children. We left no survivors. 35But the livestock and the plunder from the towns we had captured we carried off for ourselves. 36From Aroer on the rim of the Arnon Gorge, and from the town in the gorge, even as far as Gilead, not one town was too strong for us. The Lord our God gave us all of them. 37But in accordance with the command of the Lord our God, you did not encroach on any of the land of the Ammonites, neither the land along the course of the Jabbok nor that around the towns in the hills.