Ekyamateeka Olwokubiri 16 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 16:1-22

Embaga ey’Okuyitako

116:1 Kuv 12:2; 13:4Ojjukiranga omwezi ogwa Abibu ng’ogukwatiramu Okuyitako kwa Mukama Katonda wo, kubanga ekiro mu mwezi gwa Abibu, Mukama Katonda wo mwe yakuggyira mu nsi y’e Misiri. 216:2 Ma 12:5, 26Onooleetanga ekiweebwayo eri Mukama eky’Okuyitako, ng’okiggya mu ggana lyo, ne mu kisibo kyo mu kifo Mukama ky’anaabanga yerondedde nga kye ky’okubeerangamu Erinnya lye. 316:3 a Kuv 12:8, 39; 34:18 b Kuv 12:11, 15, 19 c Kuv 13:3, 6-7Tokiryanga na mugaati omuzimbulukuse. Onoomalanga ennaku musanvu ng’emigaati gy’olya si mizimbulukuse, gye migaati egy’okulaba ennaku, kubanga mu Misiri wavaayo mu bwangu, bw’otyo olyokenga ojjukirenga, mu nnaku zonna ez’obulamu bwo, olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. 416:4 Kuv 12:10; 34:25Tewaabeerengawo asangibwa na kizimbulukusa mu nsi yo yonna okumalanga ennaku musanvu. Ennyama gy’onooteekateekanga, ey’ekiweebwayo, akawungeezi ku lunaku olw’olubereberye teesigalengawo kutuusa nkeera.

5Tokkirizibwenga kuweerangayo mu bibuga byo Mukama Katonda wo by’akuwa, ekiweebwayo eky’Okuyitako, 616:6 Kuv 12:6; Ma 12:5wabula onookiweerangayo mu kifo Mukama ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye. Eyo gy’onooweerangayo Okuyitako akawungeezi ng’enjuba egwa, ng’ojjukiranga olunaku lwe wasitulirako ng’ova mu nsi y’e Misiri. 716:7 Kuv 12:8; 2By 35:13Onoofumbanga okuyitako okwo n’okuliira mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. Enkeera onoddangayo mu weema yo. 816:8 Kuv 12:16; 13:6; Lv 23:8Onoolyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku mukaaga, kyokka ku lunaku olw’omusanvu kunaabanga kukuŋŋaana mu maaso ga Mukama Katonda wo okumusinza; tolukolerangako mulimu gwonna.

Embaga ey’Amakungula

916:9 a Kuv 34:22; Lv 23:15 b Kuv 23:16; Kbl 28:26Onoobalanga wiiki musanvu okuva ku kiseera lw’onookungulanga emmere ey’empeke okuva mu nnimiro yo omulundi ogusooka. 10Kale nno onookwatanga Embaga ya Wiiki ezo ng’oleetera Mukama Katonda wo ekiweebwayo ekya kyeyagalire ekinaavanga mu ngalo zo, ng’emikisa bwe ginaabeeranga Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde. 1116:11 a Ma 12:7 b Ma 12:12Onoosanyukiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde okubeerangamu Erinnya lye. Onoosanyukanga ne batabani bo, ne bawala bo, n’abaweereza bo abasajja, n’abaweereza bo abakazi, n’Omuleevi anaabeeranga mu bibuga byo, ne munnaggwanga ne mulekwa, ne nnamwandu abanaabeeranga mu mmwe. 1216:12 Ma 15:15Ojjukiranga nga bwe wali omuddu mu nsi ey’e Misiri, osaana ogonderenga ebiragiro ebyo n’obwegendereza.

Embaga ey’Ensiisira

1316:13 a Lv 23:34 b Kuv 23:16Onookwatanga Embaga ey’Ensiisira okumala ennaku musanvu ng’omaze okuyingiza ebyamakungula byo okubiggya mu gguuliro, ne wayini ng’omuggye mu ssogolero lyo. 1416:14 nny 11Onoojaguzanga ng’oli ku Mbaga eyo, ggwe, ne mutabani wo, ne muwala wo, n’omuweereza wo omusajja, n’omuweereza wo omukazi, n’Omuleevi, n’omunnaggwanga, ne mulekwa, ne nnamwandu, abanaabeeranga mu bibuga byo. 1516:15 Lv 23:39Onoomalanga ennaku musanvu ng’ojaguza ku Mbaga eyo mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo Mukama ky’aneeronderanga. Kubanga Mukama Katonda wo anaakuwanga omukisa mu bibala byonna eby’amakungula go, ne mu mirimu gyo gyonna gy’onootuusangako engalo zo, essanyu lyo bwe lityo linaabanga lijjuvu.

1616:16 a Kuv 23:14, 16 b Kuv 34:20Abasajja bonna mu mmwe banaakuŋŋaananga emirundi esatu buli mwaka, mu maaso ga Mukama Katonda wo, mu kifo ky’aneeronderanga, ku Mbaga y’Emigaati Egitali Mizimbulukuse, ne ku Mbaga eya Wiiki Omusanvu, ne ku Mbaga ey’Ensiisira. Tewaabengawo n’omu anajjanga engalo enjereere awali Mukama. 17Buli omu anaaleetanga ekirabo kye ng’obusobozi bwe bwe bunaabanga, nga bwesigamizibwa ku mikisa Mukama Katonda wo gy’anaabanga akuwadde.

Abalamuzi

1816:18 Ma 1:16Onoolondanga abalamuzi n’abakulembeze mu bantu, mu bika byo byonna, mu bibuga byo byonna, Mukama Katonda wo by’akuwa, baweerezenga abantu nga babasalirawo ensonga zaabwe nga tebasaliriza. 1916:19 a Kuv 23:2, 8 b Lv 19:15; Ma 1:17 c Mub 7:7Obeeranga n’obwenkanya, era tobanga na kyekubiira ng’osala emisango. Tolyanga nguzi, kubanga enguzi eziba amaaso g’omugezi era ebuzaabuza ebigambo by’abatuukirivu. 20Ogobereranga bwenkanya bwokka olyoke olye ensi Mukama Katonda wo gy’akuwa.

Obutasinzanga Bakatonda Balala

2116:21 a Ma 7:5 b Kuv 34:13; 2Bk 17:16; 21:3; 2By 33:3Tosimbanga miti gya kusinza okumpi n’ekyoto ky’onoozimbiranga Mukama Katonda wo; 2216:22 Lv 26:1wadde okuyimirizangawo empagi ey’amayinja ey’okusinzanga; kubanga ebyo byonna Mukama Katonda wo tabyagala abikyayira ddala.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

申命記 16:1-22

逾越節

1「你們要在亞筆月16·1 亞筆月是猶太曆的第一個月,約在陽曆三月中旬到四月中旬,相當於中國的春分時節。為你們的上帝耶和華守逾越節,因為祂在這個月的一個晚上帶領你們離開了埃及2你們要在你們的上帝耶和華選定的敬拜場所,把牛羊作為逾越節的祭牲獻給祂。 3吃祭牲的時候,不可吃有酵的餅,七天之內要吃無酵餅,即憶苦餅,以便你們一生謹記離開埃及的日子,因為當時你們離開得很倉促。 4那七天之內,你們境內不可有酵母。第一天傍晚獻的祭肉不可留到第二天早晨。 5在你們的上帝耶和華將要賜給你們的各城中,你們不可隨便獻逾越節的祭牲, 6而是要在傍晚日落時分,即你們離開埃及的時候,到你們的上帝耶和華選定的敬拜場所獻逾越節的祭牲。 7你們要在那裡煮祭肉吃,第二天早晨可以返回自己的帳篷。 8在隨後的六天之內,你們要吃無酵餅。第七天,要舉行莊嚴的聚會,敬拜你們的上帝耶和華。那一天你們不可做工。

七七收穫節

9「從收割那天開始算起,你們要算出七週的時間。 10七週後,要為你們的上帝耶和華守七七收穫節16·10 七七收穫節」後稱為五旬節。。那時,你們要按照你們的上帝耶和華所賜的福分,甘心樂意地獻上祭物。 11你們要和兒女、僕婢、同城的利未人、寄居者及孤兒寡婦在你們的上帝耶和華選定的敬拜場所,在祂面前一起歡喜快樂。 12你們要記住自己曾在埃及做過奴隸,因此要謹遵這些律例。

住棚節

13「在收藏好穀物和新酒後,你們要守七天的住棚節。 14住棚節期間,你們要和兒女、僕婢、同城的利未人、寄居者及孤兒寡婦一起歡慶。 15要在你們的上帝耶和華選定的地方,為祂守住棚節七天;要滿心歡喜,因為你們的上帝耶和華賜福你們,使你們的出產豐富、凡事順利。

16「你們所有男子要每年三次,即在無酵節、七七收穫節和住棚節,在你們的上帝耶和華指定的地方朝見祂。你們不可空手朝見, 17各人要按祂賜的福分,盡自己的能力獻上禮物。

委任審判官

18「要在你們的上帝耶和華將要賜給你們的各城中,按支派委任審判官及其他官員。官員們要秉公審判, 19不可徇私枉法、偏心待人,收受賄賂,因為賄賂能蒙蔽智者的眼睛,使正直人顛倒是非。 20你們要追求公正公義,以便可以存活,承受你們的上帝耶和華將要賜給你們的土地。

不可拜偶像

21「在為你們的上帝耶和華建造的祭壇旁,你們不可豎立亞舍拉木神像, 22也不可豎立神柱,因為這些是你們的上帝耶和華所憎惡的。