Ekyamateeka Olwokubiri 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ekyamateeka Olwokubiri 14:1-29

Okuwera Empisa ez’Ekikaafiiri

114:1 Lv 19:28; 21:5; Yer 16:6; 41:5; Bar 8:14; 9:8; Bag 3:26Muli baana ba Mukama Katonda wammwe. Temwesalangako misale oba enjola ku mibiri gyammwe, wadde okwemwangako enviiri ez’omu bwenyi nga mufiiriddwa14:1 okwemwangako enviiri ez’omu bwenyi nga mufiiriddwa egyo gyali mize gya kusinza balubaale., 214:2 a Lv 20:26 b Ma 7:6; 26:18-19kubanga oli ggwanga ttukuvu eri Mukama Katonda wo. Mu mawanga gonna ag’oku nsi, Mukama ggwe gwe yalondamu okuba eggwanga lye eddonde lye yeefunira.

Ebyokulya Ebirongoofu n’Ebitali Birongoofu

314:3 Ez 4:14Temulyanga nnyama ya kisolo kyonna ekitali kirongoofu eky’omuzizo. 414:4 Lv 11:2-45; Bik 10:14Bino bye bisolo bye munaalyanga: ente, endiga, embuzi, 5enjaza, empeewo, ennangaazi, embulabuzi, entamu, enteŋŋo n’endiga ez’omu nsiko. 6Era munaayinzanga okulya ensolo ezirina ebinuulo ebyawulamu wabiri nga zizza n’obwenkulumu. 7Naye nno ku ezo ezirina ebinuulo ebyawulamu oba nga zizza obwenkulumu, zino temuziryanga: eŋŋamira, akamyu, n’omusu. Kubanga newaakubadde nga zizza obwenkulumu, ekinuulo kyazo sikyawulemu, si nnongoofu za muzizo gye muli. 814:8 Lv 11:26-27Embizzi nazo si nnongoofu, kubanga newaakubadde zirina ekinuulo ekyawulemu, naye tezizza bwenkulumu, noolwekyo zinaabanga za muzizo gye muli. Ennyama yaazo temugiryanga so temukwatanga wadde okukoma ku mirambo gyazo.

9Mu biramu ebibeera mu mazzi, munaalyanga ebyo ebirina amaggwa ku mugongo n’amagalagamba. 10Naye ebyo byonna ebitalina maggwa na magalagamba temubiryanga, kubanga si birongoofu gye muli.

11Ennyonyi ennongoofu munaaziryanga. 12Naye zino temuuziryenga: empungu, ennunda, makwanzi, 13wonzi, eddiirawamu, kamunye n’ez’ekika kye, 14namuŋŋoona owa buli ngeri; 15ne maaya, n’olubugabuga, olusove, enkambo n’ekika kyazo, 16ekiwuugulu, n’ekkukufu, ekiwuugulu eky’amatu; 17n’ekimbala, n’ensega, n’enkobyokkobyo; 18ne kasiida, ne ssekanyolya, n’ekika kye, n’ekkookootezi, n’ekinyira.

19Ebiwuka byonna ebirina ebiwaawaatiro nga bigendera mu kibinja si birongoofu gye muli, temuubiryenga. 20Ekiramu kyonna ekirongoofu ekirina ebiwaawaatiro munaayinzanga okukirya.

2114:21 a Lv 17:15; 22:8 b nny 2 c Kuv 23:19; 34:26Ekintu kyonna kye munaasanganga nga kimaze okufa, temukiryanga. Onooyinzanga okukiwanga munnaggwanga anaabeeranga mu bibuga byo ye n’akirya, oba onooyinzanga okukitunzanga munnaggwanga. Kubanga oli ggwanga ettukuvu eri Mukama Katonda wo.

Tofumbiranga kabuzi kato mu mata ga nnyina waako.

Ebiragiro ku Kitundu Ekimu eky’Ekkumi

2214:22 Lv 27:30; Ma 12:6, 17; Nek 10:37Buli lw’onookungulanga ebibala byo nga biva mu nnimiro yo buli mwaka, weegenderezanga n’ossangako wabbali ekitundu kyabyo eky’ekkumi. 2314:23 a Ma 12:5 b Ma 4:10Onoolyanga ekitundu eky’ekkumi eky’emmere y’empeke, n’ekya wayini omusu, n’eky’amafuta, n’eky’ebibereberye eby’ebisibo byo n’eby’amagana go. Onookiriiranga mu maaso ga Mukama Katonda wo mu kifo ky’anaabanga yeerondedde eky’okubeerangamu Erinnya lye, olyokenga oyige okutyanga Mukama Katonda wo bulijjo. 24Naye Mukama ng’akuwadde omukisa, kyokka ng’ekifo ekyo kye yeerondera okubeerangamu Erinnya lye kiri wala n’ewuwo, noolwekyo nga toosobolenga kwetikka ekitundu eky’ekkumi okukituusangayo, 25kale nno, onookiwaanyisangamu omuwendo gw’ensimbi. Onoogendanga n’ensimbi ezo ng’ozinywezezza mu mukono gwo mu kifo Mukama Katonda wo kye yeerondera. 2614:26 Ma 12:7-8Ensimbi ezo onoozeegulirangamu ekintu kyonna ky’onooyagalanga: gamba ente, oba endiga, oba envinnyo, oba ekyokunywa ekitamiiza, oba ekintu kyonna ky’onooyagalanga. Ggwe awamu n’ab’omu maka go bonna munaaliiranga awo mu maaso ga Mukama Katonda wo nga musanyuka. 2714:27 a Ma 12:19 b Kbl 18:20Naye nno, Omuleevi anaabeeranga naawe mu bibuga byo tomulagajjaliranga, kubanga ye talina mugabo wadde ebyobusika ebibye ku bubwe nga ggwe.

2814:28 Ma 26:12Buli myaka esatu, ku buli nkomerero ya mwaka ogwokusatu, onooleetanga ebitundu eby’ekkumi byonna ebyo eby’ebibala byo byonna eby’omwaka ogwo, n’obiterekanga mu mawanika mu bibuga byo. 2914:29 a nny 27 b Ma 26:12 c Ma 15:10; Mal 3:10Kale nno, Omuleevi kubanga taabenga na mugabo wadde ebyobusika nga ggwe, ne bamulekwa abatalina bakitaabwe ne nnamwandu; abo bonna abanaabanga babeera mu bibuga byo, bajjenga balye okutuusa lwe banakkutanga; bw’atyo Mukama Katonda wo alyoke akuwenga omukisa mu buli kimu kyonna ky’onookolanga n’emikono gyo.