Ebyabaleevi 9 – LCB & NRT

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 9:1-24

Ekiweebwayo olwa Bakabona

19:1 Ez 43:27Ku lunaku olw’omunaana Musa n’ayita Alooni ne batabani be n’abakulembeze ba Isirayiri. 2N’agamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda. 3Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’omwana gw’endiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa; 49:4 Kuv 29:43era n’ente eya sseddume n’endiga ennume eby’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero Mukama Katonda ajja kubalabikira.’ ” 5Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali Mukama Katonda. 69:6 nny 23; Kuv 24:16Musa n’alyoka abagamba nti, “Kino kye kyo Mukama Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya Mukama kijja kubalabikira.” 79:7 Beb 5:1, 3; 7:27Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Sembera ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ebyonoono byo, n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, olyoke weetangiririre awamu n’abantu era oleete ekiweebwayo eky’abantu; obatangiririre; nga Mukama Katonda bwe yalagidde.”

89:8 Lv 4:1-12Awo Alooni n’asembera ku kyoto, n’atta ennyana ey’ekiweebwayo kye olw’ebyonoono bye. 99:9 a nny 12, 18 b Lv 4:7Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto. 10N’addira amasavu n’ensigo n’ebibikka ku kibumba eby’omu kiweebwayo olw’ekibi, n’abyokera ku kyoto, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. 119:11 a Lv 4:11 b Lv 4:12; 8:17Ennyama n’eddiba n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira.

12Alooni n’atta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula. 139:13 Lv 1:8Ne bamuleetera ebifi eby’ekiweebwayo ekyokebwa nga n’omutwe kweguli; byonna n’abyokera ku kyoto. 14N’ayoza ebyenda n’amagulu, n’abyokera wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.

Ekiweebwayo olw’Abantu

159:15 Lv 4:27-31Awo Alooni n’aleeta ekiweebwayo olw’abantu. Yaddira embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu n’agitta, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, kye yasooka olw’ebibi bye. 169:16 Lv 1:1-13N’aleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’akiwaayo ng’etteeka bwe liragira. 179:17 Lv 2:1-2; 3:5N’aleeta ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ayoolamu olubatu, n’akyokya ku kyoto okuliraana n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’omu makya.

189:18 Lv 3:1-11Ente ya sseddume n’endiga ennume nazo n’azitta, nga bye biweebwayo olw’emirembe eby’abantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna. 19Naye amasavu ag’ente eya sseddume n’ago ag’endiga ennume, n’amasavu ag’oku mukira, n’ago agabikka ku byenda, n’ensigo, n’agabikka ku kibumba, 20ne bateeka amasavu gaabyo ku bifuba by’ensolo ezo, n’ayokya amasavu ago ku kyoto; 219:21 Kuv 29:24, 26; Lv 7:30-34naye ebifuba n’ekisambi ekya ddyo, Alooni n’abiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, nga Musa bwe yalagira.

229:22 Kbl 6:23; Ma 21:5; Luk 24:50Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto. 239:23 nny 6Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna. 249:24 a Bal 6:21; 2By 7:1 b 1Bk 18:39Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ng’amaaso gaabwe gali ku ttaka.

New Russian Translation

Левит 9:1-24

Священники начинают служение

1На восьмой день Моисей позвал Аарона с его сыновьями и старейшин Израиля. 2Он сказал Аарону:

– Возьми теленка для жертвы за грех и барана для всесожжения, обоих без изъяна, и поставь их перед Господом. 3Скажи израильтянам: «Возьмите козла для жертвы за грех, теленка и ягненка – годовалых и без изъяна – для всесожжения, 4и вола9:4 Или: «корову», также в ст. 18 и 19. с бараном для жертвы примирения, чтобы принести их в жертву Господу вместе с хлебным приношением, смешанным с маслом. Ведь сегодня Господь явится вам».

5То, что велел Моисей, принесли к шатру собрания, и все общество подошло и встало перед Господом. 6Моисей сказал:

– Господь повелел вам сделать это, чтобы вам явилась слава Господа9:6 Слава Господа – имеется в виду присутствие Господа, проявляемое в той или иной видимой форме. Также в ст. 23..

7Моисей сказал Аарону:

– Подойди к жертвеннику и принеси свою жертву за грех и всесожжение, чтобы совершить отпущение для себя и для народа. Сделай приношение за народ, чтобы совершить для него отпущение, как повелел Господь.

8Аарон подошел к жертвеннику и заколол теленка в жертву за свой грех. 9Сыновья подали ему кровь, он обмакнул в кровь палец и помазал рога жертвенника. Остальную кровь он вылил к основанию жертвенника. 10На жертвеннике он сжег жир, почки и сальник с печени из жертвы за грех, как повелел Моисею Господь. 11Мясо и шкуру он сжег за лагерем. 12Следом он заколол жертву всесожжения. Сыновья подали ему кровь, и он окропил ею жертвенник со всех сторон. 13Они подавали ему жертву всесожжения кусок за куском, включая голову, и он сжег это на жертвеннике. 14Он вымыл внутренности и ноги жертвы и сжег их на жертвеннике поверх всесожжения.

15Потом Аарон принес жертву за народ. Он взял козла, приношение за грех народа, заколол его и принес в жертву за грех, как и первое всесожжение.

16Он принес жертву всесожжения и все сделал по уставу. 17Еще он принес хлебное приношение, взял из него пригоршню и сжег на жертвеннике в добавление к утреннему всесожжению.

18Он заколол вола и барана в жертву примирения народа. Сыновья подали ему кровь, и он окропил ею жертвенник со всех сторон. 19Но жир вола и барана – курдюк, слой жира вокруг почек и сальник с печени 20он положил на грудь жертвы, а потом сжег на жертвеннике. 21Аарон потряс грудину и правое бедро жертвы перед Господом как приношения потрясания, как повелел Моисей.

22Аарон поднял руки над народом и благословил его. Принеся жертву за грех, всесожжение и жертву примирения, он спустился.

23Моисей и Аарон вошли в шатер собрания. Выйдя, они благословили народ, и народу явилась слава Господа. 24От Господа вышел огонь, который сжег всесожжение и жир на жертвеннике. Когда народ увидел это, он закричал от радости и пал на лицо свое.