Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Ebyabaleevi 9

Ekiweebwayo olwa Bakabona

1Ku lunaku olw’omunaana Musa n’ayita Alooni ne batabani be n’abakulembeze ba Isirayiri. N’agamba Alooni nti, “Ddira ennyana eya sseddume eweebwayo olw’ekibi, n’endiga ennume olw’ekiweebwayo ekyokebwa, nga zombi teziriiko kamogo, oziweeyo ng’ekiweebwayo eri Mukama Katonda. Ogambe abaana ba Isirayiri nti, ‘Muddire embuzi ennume eweebwayo olw’ekibi, n’ennyana n’omwana gw’endiga, nga zino zombi zaakamala omwaka gumu obukulu era nga teziriiko kamogo, nga za kiweebwayo ekyokebwa; era n’ente eya sseddume n’endiga ennume eby’ebiweebwayo olw’emirembe, n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke nga mulimu amafuta ag’omuzeeyituuni, byonna mubiweeyo nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda; kubanga ku lunaku lwa leero Mukama Katonda ajja kubalabikira.’ ” Bwe batyo ne baleeta byonna Musa bye yabalagira okuleeta mu maaso ga Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Abantu bonna, kye kibiina ekinene, ne basembera ne bayimirira awali Mukama Katonda. Musa n’alyoka abagamba nti, “Kino kye kyo Mukama Katonda kye yabagambye okukola, era ekitiibwa kya Mukama kijja kubalabikira.” Awo Musa n’agamba Alooni nti, “Sembera ku kyoto oweeyo ekiweebwayo kyo olw’ebyonoono byo, n’ekiweebwayo kyo ekyokebwa, olyoke weetangiririre awamu n’abantu era oleete ekiweebwayo eky’abantu; obatangiririre; nga Mukama Katonda bwe yalagidde.”

Awo Alooni n’asembera ku kyoto, n’atta ennyana ey’ekiweebwayo kye olw’ebyonoono bye. Batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’annyika olunwe lwe mu musaayi n’agusiiga ku mayembe ag’oku kyoto, n’afuka omusaayi ku ntobo y’ekyoto. 10 N’addira amasavu n’ensigo n’ebibikka ku kibumba eby’omu kiweebwayo olw’ekibi, n’abyokera ku kyoto, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa. 11 Ennyama n’eddiba n’abyokera mu muliro ebweru w’olusiisira.

12 Alooni n’atta ekiweebwayo ekyokebwa; batabani be ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula. 13 Ne bamuleetera ebifi eby’ekiweebwayo ekyokebwa nga n’omutwe kweguli; byonna n’abyokera ku kyoto. 14 N’ayoza ebyenda n’amagulu, n’abyokera wamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ku kyoto.

Ekiweebwayo olw’Abantu

15 Awo Alooni n’aleeta ekiweebwayo olw’abantu. Yaddira embuzi ey’ekiweebwayo olw’ebibi by’abantu n’agitta, n’agiwaayo ng’ekiweebwayo kye olw’ekibi, kye yasooka olw’ebibi bye. 16 N’aleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’akiwaayo ng’etteeka bwe liragira. 17 N’aleeta ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke, n’ayoolamu olubatu, n’akyokya ku kyoto okuliraana n’ekiweebwayo ekyokebwa eky’omu makya.

18 Ente ya sseddume n’endiga ennume nazo n’azitta, nga bye biweebwayo olw’emirembe eby’abantu; batabani ba Alooni ne bamuleetera omusaayi, n’agumansira ku kyoto okukyebungulula enjuuyi zonna. 19 Naye amasavu ag’ente eya sseddume n’ago ag’endiga ennume, n’amasavu ag’oku mukira, n’ago agabikka ku byenda, n’ensigo, n’agabikka ku kibumba, 20 ne bateeka amasavu gaabyo ku bifuba by’ensolo ezo, n’ayokya amasavu ago ku kyoto; 21 naye ebifuba n’ekisambi ekya ddyo, Alooni n’abiwuubawuuba mu maaso ga Mukama Katonda nga kye kiweebwayo ekiwuubibwa eri Mukama Katonda, nga Musa bwe yalagira.

22 Awo Alooni n’awanikira abantu emikono gye, n’abasabira omukisa. Bw’atyo Alooni ng’amaze okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi, n’ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekiweebwayo olw’emirembe, n’avaayo ku kyoto. 23 Musa ne Alooni ne bayingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bwe baafuluma ne basabira abantu omukisa, era ekitiibwa kya Mukama Katonda ne kirabikira abantu bonna. 24 Omuliro ne gujja nga guva eri Mukama Katonda ne gumalirawo ddala ekiweebwayo ekyokebwa n’amasavu ebyali ku kyoto. Awo abantu bonna bwe baakiraba ne baleekaana ne bagalamira wansi ng’amaaso gaabwe gali ku ttaka.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

利未记 9

亚伦献祭

1第八天,摩西召来亚伦父子们和以色列的众长老。 他对亚伦说:“你要在耶和华面前献上一头公牛犊作赎罪祭、一只公绵羊作燔祭,这些祭牲都要毫无残疾。 然后,你要告诉以色列人,‘你们要取一只公山羊作赎罪祭、毫无残疾的一岁牛犊和羊羔各一只作燔祭、 公牛和公绵羊各一只作平安祭,连同调油的素祭一起献给耶和华,因为今天耶和华要向你们显现。’” 于是,以色列人遵照摩西的吩咐,把祭物带到会幕前。全体会众都聚集到那里,站在耶和华面前。 摩西对他们说:“耶和华吩咐你们这样做,是为了向你们显出祂的荣耀。” 随后,摩西对亚伦说:“你要到坛前来,献上你的赎罪祭和燔祭,为自己和民众赎罪。也要按照耶和华的吩咐,为百姓献上他们的祭物,为他们赎罪。”

于是,亚伦走到坛前,宰杀为他作赎罪祭的牛犊。 他儿子们把牛犊的血递给他,他用手指蘸血抹在坛角上,将剩下的血倒在坛脚旁。 10 他照耶和华对摩西的吩咐,在坛上焚烧牛犊的脂肪、肾脏和肝叶, 11 把皮和肉带到营外焚烧。

12 亚伦宰了燔祭祭牲,他儿子们把祭牲的血递给他洒在祭坛四周。 13 他们将祭牲切成块,连头颅一起交给亚伦献在坛上焚烧。 14 亚伦洗净祭牲的内脏和腿,放在祭坛的燔祭上焚烧。

15 随后,亚伦为民众献祭。他牵来那只为民众作赎罪祭的公山羊,宰杀后,像刚才为自己献赎罪祭一样为他们献上赎罪祭。 16 他又牵来燔祭祭牲,依照条例献上燔祭。 17 除了早晨的燔祭,亚伦又取来素祭,从中拿了一把献在坛上焚烧。 18 然后,他宰了公牛和公绵羊,为民众献平安祭。他儿子们把祭牲的血递给他,他把血洒在祭坛四周。 19 他们把公牛和公绵羊的脂肪,即肥尾巴、遮盖内脏的脂肪、肾脏和肝叶, 20 放在祭牲的胸上,然后亚伦把那些脂肪放在坛上焚烧, 21 将胸肉和右腿肉作为摇祭在耶和华面前摇一摇,都遵照摩西的吩咐。

22 亚伦献完赎罪祭、燔祭和平安祭,举手为民众祝福后,走下祭坛。 23 之后,摩西和亚伦走进会幕,又出来为民众祝福。这时,耶和华的荣耀向所有民众显现。 24 有火从耶和华那里降下来,烧尽祭坛上的燔祭和脂肪。民众看见这景象,都欢呼起来,俯伏在地。