Ebyabaleevi 5 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 5:1-19

Ebikolwa Ebyetaagisa Ebiweebwayo olw’Ekibi

15:1 a Nge 29:24 b nny 17“ ‘Omuntu bw’ategyengayo ku kintu ky’amanyi, n’awa obujulirwa ku kintu kye yalaba oba kye yawulira nga kikyamu, anaabanga azzizza omusango.

25:2 Lv 11:11, 24-40; Ma 14:8“ ‘Omuntu yenna bw’anaakwatanga ku kintu ekitali kirongoofu, gamba omulambo gw’ensolo ey’omu nsiko etali nnongoofu, oba ku mulambo gw’ente etali nnongoofu, oba ku mirambo gy’ebiramu ebyekulula ebitali birongoofu, ne bw’anaabanga takitegedde, anaabanga afuuse atali mulongoofu, era anaabanga azzizza omusango. 35:3 Kbl 19:11-16Oba bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde mu muntu nga si kirongoofu mu buli ngeri yonna, ne kimufuula atali mulongoofu, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze nga kibi, anaabanga azzizza omusango. 45:4 Kbl 30:6, 8Omuntu bw’anaayanguyirizanga okulayira okukola ekintu kyonna, oba kirungi oba kibi, ng’amaze galayira nga tafuddeeyo, ne bw’anaabanga takigenderedde, bw’anaategeranga ky’akoze bwe kiri, anaabanga azzizza omusango mu buli ngeri yonna gy’anaabanga alayiddemu. 55:5 Lv 16:21; 26:40; Kbl 5:7; Nge 28:13Omuntu bw’anazzanga omusango mu kyonna kyonna ku ebyo ebizze byogerwako, anaateekwanga okwatula ekibi ekyo ky’anaabanga akoze, 65:6 Lv 4:28era n’aleeta ekiweebwayo kye olw’omusango eri Mukama olw’ekibi ekyo. Anaaleetanga endiga ento enkazi oba embuzi enkazi ng’abiggya mu kisibo kye, nga kye kiweebwayo olw’ekibi; era kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye.

Ebiweebwayo olw’Ebibi eby’Abaavu

75:7 Lv 12:8; 14:21“ ‘Omuntu bw’anaabanga omwavu, nga tasobola kuleeta ndiga nto olw’obwavu bwe, anaaleetanga bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri eri Mukama, olw’ekibi omuntu oyo ky’akoze, nga ky’ekiweebwayo olw’ekibi, ekimu nga kye ky’ekiweebwayo olw’ekibi ekirala nga kye ky’ekiweebwayo ekyokebwa. 85:8 a Lv 1:15 b Lv 1:17Anaabireeteranga kabona, n’asooka okuwaayo ekiweebwayo olw’ekibi. Kabona anaanyoolanga ensingo y’ekiweebwayo, naye nga tagikutuddeeko; 95:9 Lv 4:7, 18anaddiranga ku musaayi ogw’ekiweebwayo olw’ekibi n’agumansira ku mabbali g’ekyoto. Omusaayi gwonna ogunaabanga gusigaddewo anaaguttululiranga ku ntobo y’ekyoto. Kino kye kiweebwayo olw’ekibi. 105:10 a Lv 1:14-17 b Lv 4:26Kabona anaawangayo ekiweebwayo ekyokubiri nga kye kiweebwayo ekyokebwa ng’agoberera ebiragiro nga bwe bigamba. Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi kye ky’anaabanga akoze, era omuntu oyo anaasonyiyibwanga.

115:11 Lv 2:1“ ‘Omuntu oyo omwavu bw’anaabanga tasobola kuleeta bukaamukuukulu bubiri oba enjiibwa ento bbiri, anaaleetanga ekiweebwayo olw’ekibi kye, kimu kya kkumi ekya efa5:11 efa yenkanankana liita nga bbiri eky’obuwunga obulungi okuba ekiweebwayo kye olw’okwonoona. Taabuteekengamu mafuta wadde obubaane, kubanga kiweebwayo olw’ekibi. 12Anaakireeteranga kabona, era kabona anaatoolangako olubatu, nga kye kitundu eky’ekijjukizo kyakyo, n’akyokera ku kyoto, ku biweebwayo eri Mukama ebyokeddwa mu muliro. Kino nga kye kiweebwayo olw’ekibi. 135:13 a Lv 4:26 b Lv 2:3Bw’atyo kabona anaatangiririranga omuntu oyo olw’ekibi ky’anaabanga akoze mu bintu ebyo byonna, era anaasonyiyibwanga. Ebyo byonna ebinaasigalangawo ku kiweebwayo kino binaabanga bya kabona, nga bwe kiri mu biragiro by’ekiweebwayo eky’emmere y’empeke.’ ”

Etteeka ery’Ekiweebwayo olw’Omusango

14Mukama n’agamba Musa nti, 155:15 a Lv 22:14 b Kbl 5:8 c Kuv 30:13“Omuntu bw’anazzanga omusango ng’asobezza mu bimu ku ebyo ebitukuvu bya Mukama nga tagenderedde, anaaleetanga eri Mukama ekiweebwayo kye olw’omusango, endiga ennume etaliiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye; eneebalirirwanga omuwendo ogugigyamu mu ffeeza, ng’ebipimo by’awatukuvu bwe biri, ye sekeri5:15 sekeri yenkanankana gulaamu kkumi n’emu n’ekitundu. Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango. 165:16 a Lv 6:4 b Lv 22:14; Kbl 5:7Era anaaliwanga olw’ekyo kye yazzaako omusango mu bitukuvu bya Mukama, era anaayongerangako ekitundu kimu ekyokutaano eky’omuwendo gw’ekyo ky’anabanga asobezza; engassi eyo anaagiwanga kabona. Kabona anaatangiririranga omuntu oyo n’endiga ennume ey’ekiweebwayo olw’omusango, bw’atyo anaasonyiyibwanga.

175:17 nny 15; Lv 4:2“Omuntu yenna bw’anaayonoonanga n’akola ku ebyo Mukama bye yalagira mu mateeka ge obutabikolanga, ne bw’anaabanga takitegedde, anazzanga omusango. 185:18 nny 15Anaaleeteranga kabona endiga ennume eteriiko kamogo ng’agiggya mu kisibo kye, ng’ebalirirwamu omuwendo ogugya mu kiweebwayo olw’omusango. Kabona anaamutangiririranga olw’ekisobyo ky’anaabanga akoze nga tagenderedde, era anaasonyiyibwanga. 19Ekyo nga kye kiweebwayo olw’omusango, kubanga anaabanga ayonoonye mu maaso ga Mukama.”

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

利未記 5:1-19

1「如果有人當庭作證,卻不肯把自己所知所見的說出來,就是犯罪,要擔負罪責。 2如果有人接觸了不潔淨之物,如野獸的屍體、家畜的屍體或爬蟲的屍體,即使無意也已不潔淨,是有罪的。 3如果有人無意中接觸了別人的不潔之物,當他意識到後,就有罪了。 4如果有人草率起誓,不論出於善意還是惡意,即使當初沒有察覺,後來才意識到,也是有罪的。 5如果有人犯了以上任何一種罪,就必須認罪。 6為了贖過,他必須獻給耶和華一隻母綿羊或母山羊作贖罪祭。祭司要為他贖罪。

7「他若獻不起羊,就要獻給耶和華兩隻斑鳩或兩隻雛鴿,一隻作贖罪祭,一隻作燔祭。 8他要把牠們帶到祭司那裡,祭司要先用一隻鳥獻贖罪祭,要扭斷鳥脖子,但不可扯掉頭。 9要把一些鳥血灑在祭壇邊,剩下的血要倒在壇腳旁。這是贖罪祭。 10祭司要依照獻燔祭的條例獻上另一隻鳥。這樣,祭司為他贖了罪,他就會得到赦免。

11「他若獻不起兩隻斑鳩或雛鴿,就要獻一公斤細麵粉作贖罪祭。細麵粉中不可澆油或加乳香,因為這是贖罪祭。 12他要把細麵粉帶到祭司那裡,祭司要從中取出一把作為象徵放在壇上,與獻給耶和華的火祭一起焚燒。這是贖罪祭。 13這樣,祭司為他贖了罪,他就會得到赦免。剩下的細麵粉要歸祭司,像獻素祭一樣。」

獻贖過祭的條例

14耶和華對摩西說: 15「如果有人無意中違犯了耶和華聖物的條例,為了贖過,他要從羊群中選一隻毫無殘疾的公綿羊獻給耶和華,或按聖所的秤獻上同等價值的銀子。這是贖過祭。 16他要賠償所造成的損失,並加賠五分之一,要把這些都交給祭司。祭司要為他獻上公綿羊作贖過祭,為他贖罪,他就會得到赦免。

17「如果有人觸犯耶和華的誡命,即使他不知道,也是有罪的,必須擔當罪責。 18他要從羊群中選一隻毫無殘疾的公綿羊,或把同等價值的銀子帶到祭司那裡作贖過祭。祭司要為他的無心之過贖罪,他就會得到赦免。 19這是贖過祭,因為他在耶和華面前確實有罪。」