Ebyabaleevi 25 – LCB & NIVUK

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 25:1-55

Omwaka gwa Ssabbiiti

1Mukama Katonda yagamba Musa ku lusozi Sinaayi nti, 2“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti bwe mutuukanga mu nsi gye mbawa, ensi yennyini eneekuumiranga Mukama Katonda ssabbiiti. 325:3 Kuv 23:10Okumala emyaka mukaaga ennimiro zammwe munaazisigangamu emmere, era mu myaka egyo omukaaga munaasaliranga emizabbibu gyammwe n’ebibala ne mubikungula. 4Naye mu mwaka ogw’omusanvu ettaka ly’ensi eyo linaabanga ne ssabbiiti ey’okuwummula eri Mukama Katonda. Temusiganga mmere mu nnimiro zammwe wadde okusalira emizabbibu gyammwe. 5Ebimera ebyekuzizza byokka, ebimererezi, temubikungulanga wadde okunoga ebibala ku mizabbibu gyammwe egitaasalirwa. Omwaka ogwo ettaka ly’ensi linaaguwummulanga. 625:6 nny 20Ebyo byonna ebyokulya ebinaavanga mu ttaka mu mwaka ogwa ssabbiiti yaalyo binaabanga mmere yammwe, mmwe bennyini, n’eri abaddu bammwe abasajja, n’abakazi, era n’abaweereza bammwe ab’empeera, n’abagenyi abanaabanga basula mu maka gammwe; 7era n’ente zammwe n’ensolo ez’omu nsiko ezinaabanga ku ttaka lyammwe. Buli ekyokulya ekinaakuliranga ku ttaka eryo kinaabanga mmere.

Omwaka ogw’Okujaguza Jjubiri

8“Munaabaliriranga essabbiiti musanvu ez’omu myaka, kwe kugamba nti musanvu emirundi emyaka musanvu. Bwe kityo ekiseera kyonna ekya ssabbiiti ezo ne kiba emyaka amakumi ana mu mwenda. 925:9 Lv 23:24Ekkondeere ery’okujaguza munaalifuuyiranga wonna wonna ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu ku Lunaku olw’Okutangiririrwa, ekkondeere munaalifuuyiranga mu nsi yammwe yonna. 1025:10 a Is 61:1; Yer 34:8, 15, 17; Luk 4:19 b Kbl 36:4Munaatukuzanga omwaka ogw’amakumi ataano, era munaalangiriranga ebiseera eby’eddembe eri abatuuze bonna mu ggwanga lyammwe. Omwaka ogwo gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri25:10 Jjubiri kitegeeza buwanguzi gye muli; buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini, era buli omu anaddangayo mu kika kye. 11Omwaka ogw’amakumi ataano gunaabanga gwa kujaguza gwa Jjubiri gye muli; mu mwaka ogwo temuusigenga era temuukungulenga bikuze ku bimererezi newaakubadde okukuŋŋaanya ebibala eby’oku mizabbibu egitali misalire. 12Kubanga ekiseera ekyo kya kujaguza kya Jjubiri era kinaabanga kitukuvu gye muli; mulyenga ebyo byokka bye munaggyanga mu nnimiro.

1325:13 nny 10“Mu mwaka ogwo ogw’okujaguza ogwa Jjubiri buli omu anaddangayo mu kifo kye eky’obwannannyini. 1425:14 Lv 19:13; 1Sa 12:3, 4Era bwe munaatunzanga bannammwe ekintu kyonna oba bwe munaagulanga ku bannammwe ekintu kyonna, temuseeragananga. 1525:15 Lv 27:18, 23Munnansi munno onoomugulangako ng’osinziira ku myaka egyakayitawo okuva ku kujaguza ku Jjubiri. Era naye anaakutunzanga ng’asinziira ku myaka egibulayo okutuuka ku makungula g’ebibala. 1625:16 nny 27, 51, 52Emyaka bwe ginaabanga emingi, omuwendo ogulamulwa munaagwongezanga, naye emyaka bwe ginaabanga emitono munaagukendeezanga, kubanga obungi bw’ebikungulwa, bw’ogula ku mutunzi. 1725:17 a Nge 22:22; Yer 7:5, 6; 1Bs 4:6 b Lv 19:14 c Lv 19:32Temuseeragananga; mutyanga Katonda wammwe, kubanga Nze Mukama Katonda wammwe.

1825:18 Lv 26:4, 5; Ma 12:10; Zab 4:8; Yer 23:6“Mugonderenga ebiragiro byange, era mukwatenga amateeka gange, bwe mutyo munaatuulanga n’emirembe mu nsi yammwe. 1925:19 Lv 26:4Ensi eneebaleeteranga ebibala byayo, ne mulya ne mukkuta ne mutuulamu n’emirembe. 2025:20 nny 4Muyinza okubuuza nti, ‘Bwe tutaasigenga era ne tutakungulanga, kale mu mwaka ogw’omusanvu tunaalyanga ki?’ 2125:21 Ma 28:8, 12; Kag 2:19; Mal 3:10Mu mwaka ogw’omukaaga ndibayiwako omukisa gwange ogulireetera ensi yammwe ebibala ebirimala emyaka esatu. 2225:22 Lv 26:10Bwe munaabanga musiga mu mwaka ogw’omunaana, munaabanga mulya ku bibala ebikadde bye mwatereka, okutuusa nga mukungudde ebibala eby’omwaka ogw’omwenda. 2325:23 a Kuv 19:5 b Lub 23:4; 1By 29:15; Zab 39:12; Beb 11:13; 1Pe 2:11Ettaka teriitundibwenga kagenderere, kubanga ensi yange; mwe muli bayise era abasuze obusuze. 24Buli kitundu kya nsi kye munaalyanga, bwe mutundanga ettaka mwerekerangawo omwagaanya ogw’okulinunulayo gye mulitunze.

Okununula Ebintu

2525:25 a Lus 2:20; Yer 32:7 b Lv 27:13, 19, 31; Lus 4:4“Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga, n’atunda ebimu ku bintu bye, muganda we ow’okumpi mu luganda anajjanga n’anunula ebyo munnansi munne by’atunze. 26Omuntu bw’anaabanga talina anaabimununulira, naye ye ku bubwe ng’agaggawadde, era ng’afunye obusobozi obw’okubinunula, 27anaabaliriranga omuwendo gw’ensimbi oguli mu myaka kasookedde abitunda, n’abala n’omuwendo ogugya mu myaka egisigaddeyo okutuuka ku Jjubiri, n’agusasula omuntu gwe yaguza ebintu ebyo, olwo eyatunda aneddirangayo mu bintu bye. 2825:28 nny 10Naye singa alemwa okufuna obusobozi okumusasula, kale ebyo bye yatunda binaasigalanga mu mukono gw’eyabigula nga ye nannyini byo okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. Binamuddizibwanga mu Jjubiri, era anaayinzanga okweddirayo mu bintu bye.

29“Omuntu bw’anaatundanga ennyumba esulwamu eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe, anaayinzanga okuginunula mu mwaka nga tegunaggwaako. Mu bbanga eryo ery’omwaka omulamba mw’anaabeereranga n’obuyinza obw’okuginunula. 30Ennyumba eyo eri mu kibuga ekyetooloddwa bbugwe bw’eteenunulibwenga mu bbanga ery’omwaka ogumu, kale eneebeereranga ddala y’oyo eyagigula n’ezzadde lye. Eyagitunda teemuddizibwenga mu Jjubiri. 31Naye amayumba ag’omu bubuga obutono obw’omu byalo obuteetooloddwako bisenge, ganaabalirwanga mu ttuluba lye limu n’ery’ennimiro eziri mu byalo. Ganaanunulibwanga era ne gaddira bannyinigo mu Jjubiri.

3225:32 Kbl 35:1-8; Yos 21:2“Bulijjo Abaleevi banaabanga ba ddembe okununula amayumba gaabwe agali mu bibuga byabwe eby’Abaleevi bye balinako obwannannyini. 33Era Omuleevi bw’anaabanga takozesezza ddembe lye ery’okununula, kale ennyumba eyatundirwa mu kibuga Abaleevi kye balinako obwannannyini, eneemuddiranga mu Jjubiri; kubanga mu bantu ba Isirayiri ennyumba eziri mu bibuga by’Abaleevi za Baleevi. 3425:34 Kbl 35:2-5Naye ennimiro eziri ku ttaka lya wamu ery’ebibuga byabwe teziitundibwenga; kubanga ezo zaabwe za bwannannyini obw’olubeerera.

Etteeka ery’Okuwola Ensimbi

3525:35 a Ma 24:14, 15 b Ma 15:8; Zab 37:21, 26; Luk 6:35“Munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali wamu nammwe, nga takyasobola kwefunira buyambi, mubeerenga naye nga mumulabirira nga bwe mwandirabiridde omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali mu mmwe. 3625:36 Kuv 22:25; Ma 23:19-20Mutyenga Katonda wammwe. Munnammwe temumuggyangako magoba ku kintu kyonna kye munaabanga mumuwoze, bw’atyo munnammwe oyo alyoke abeerenga mu mmwe. 37Bw’omuwolanga ensimbi azzengawo omuwendo gwennyini gw’omuwoze so tasukkirizangamu. Era bw’omuguzanga emmere tossangamu magoba. 3825:38 Lub 17:7; Lv 11:45Nze Mukama Katonda wammwe eyabaggya mu nsi ey’e Misiri okubawa ensi ya Kanani n’okubeera Katonda wammwe.

Okununula Abaddu

3925:39 Kuv 21:2; Ma 15:12; 1Bk 9:22“Era munnansi munnammwe bw’anaayavuwalanga ng’ali nammwe, ne yeetunda gye muli, temumukozesanga nga muddu. 40Munaamukozesanga ng’omupakasi ow’empeera oba ng’omusuze obusuze, ng’ali nammwe. Anaabaweerezanga okutuusa mu Mwaka gwa Jjubiri. 4125:41 nny 28Kale nno, olwo anaalekebwanga n’addayo ewaabwe, ye n’abaana be, mu kika kye ku butaka bwa bakadde be. 42Kubanga baweereza bange be naggya mu nsi y’e Misiri; tebaatundibwenga ng’abaddu. 4325:43 Kuv 1:13; Ez 34:4; Bak 4:1Temubafugisanga bukambwe, naye mutyenga Katonda wammwe. 44Abaddu bammwe abasajja n’abaddu bammwe abakazi munaabaggyanga mu mawanga agabeetoolodde, mu mawanga ago mwe muneeguliranga abaddu abasajja n’abaddu abakazi. 45Era munaayinzanga okwegulira ku bannamawanga abali nammwe abasuze obusuze, ne ku baana baabwe abanaazaalirwanga mu nsi yammwe; abo banaabanga nvuma zammwe. 46Munaayinzanga okulaamira batabani bammwe abalibagoberera envuma ezo ng’obusika bwabwe obw’emirembe gyonna. Naye Bayisirayiri bannammwe temubafugisanga bukambwe.

47“Omunnaggwanga oba omusuze obusuze ali nammwe bw’anaagaggawalanga, naye munnansi munnammwe bwe babeera n’ayavuwala, ne yeetunda eri munnaggwanga oba eri omusuze obusuze ali nammwe, oba eri omu ku b’omu luggya lwa munnaggwanga, 4825:48 Nek 5:5anaayinzanga okununulibwa, ng’amaze okwetunda. Omu ku baganda be anayinzanga okumununula: 4925:49 nny 26Taata we oba mutabani wa taata we, oba owooluganda omulala ow’okumpi mu buzaale ow’omu kika kye anaayinzanga okumununula. Oba ye bw’anaagaggawalanga anaayinzanga okwenunula. 5025:50 Yob 7:1; Is 16:14; 21:16Ye n’oli eyamugula bajjanga kubalirira ebbanga okuva mu mwaka gwe yeetundiramu okutuuka ku Mwaka gwa Jjubiri. Omuwendo ogw’okununulibwa guneesigamizibwanga ku muwendo gw’emyaka egibaliriddwa; ebbanga lye yamala n’eyamugula linaageraageranyizibwanga n’ebbanga ery’omupakasi asasulwa empeera. 51Mu kubalirira kwabwe bwe kinaazuukanga ng’ekyasigaddeyo emyaka mingi okutuuka ku Jjubiri, ku muwendo gwe yeetunda anaasasulangako omuwendo munene olw’okwenunula. 52Naye bw’eneebanga esigaddeyo emyaka mitono, egyo gy’anaabalirirangamu ensimbi zaamu n’asasula ezo nga bwe kyetaagisa olw’okwenunula. 53Oyo eyagula munne anaamuyisanga ng’omupakasi amukolera mu kupatana okwa buli mwaka. Temulekanga oyo eyagula munne okumutuntuzanga nga nammwe mulaba.

54“Bw’anaabanga tanunulibbwa mu zimu ku ngeri ezo, ye n’abaana be banaanunulibwanga mu Mwaka gwa Jjubiri. 55Kubanga abaana ba Isirayiri bantu bange, abaweereza bange be naggya mu nsi ey’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.

New International Version – UK

Leviticus 25:1-55

The Sabbath Year

1The Lord said to Moses at Mount Sinai, 2‘Speak to the Israelites and say to them: “When you enter the land I am going to give you, the land itself must observe a sabbath to the Lord. 3For six years sow your fields, and for six years prune your vineyards and gather their crops. 4But in the seventh year the land is to have a year of sabbath rest, a sabbath to the Lord. Do not sow your fields or prune your vineyards. 5Do not reap what grows of itself or harvest the grapes of your untended vines. The land is to have a year of rest. 6Whatever the land yields during the sabbath year will be food for you – for yourself, your male and female servants, and the hired worker and temporary resident who live among you, 7as well as for your livestock and the wild animals in your land. Whatever the land produces may be eaten.

The Year of Jubilee

8‘ “Count seven sabbath years – seven times seven years – so that the seven sabbath years amount to a period of forty-nine years. 9Then sound the trumpet everywhere on the tenth day of the seventh month; on the Day of Atonement sound the trumpet throughout your land. 10Consecrate the fiftieth year and proclaim liberty throughout the land to all its inhabitants. It shall be a jubilee for you; each of you is to return to your family property and to your own clan. 11The fiftieth year shall be a jubilee for you; do not sow and do not reap what grows of itself or harvest the untended vines. 12For it is a jubilee and is to be holy for you; eat only what is taken directly from the fields.

13‘ “In this Year of Jubilee everyone is to return to their own property.

14‘ “If you sell land to any of your own people or buy land from them, do not take advantage of each other. 15You are to buy from your own people on the basis of the number of years since the Jubilee. And they are to sell to you on the basis of the number of years left for harvesting crops. 16When the years are many, you are to increase the price, and when the years are few, you are to decrease the price, because what is really being sold to you is the number of crops. 17Do not take advantage of each other, but fear your God. I am the Lord your God.

18‘ “Follow my decrees and be careful to obey my laws, and you will live safely in the land. 19Then the land will yield its fruit, and you will eat your fill and live there in safety. 20You may ask, ‘What will we eat in the seventh year if we do not plant or harvest our crops?’ 21I will send you such a blessing in the sixth year that the land will yield enough for three years. 22While you plant during the eighth year, you will eat from the old crop and will continue to eat from it until the harvest of the ninth year comes in.

23‘ “The land must not be sold permanently, because the land is mine and you reside in my land as foreigners and strangers. 24Throughout the land that you hold as a possession, you must provide for the redemption of the land.

25‘ “If one of your fellow Israelites becomes poor and sells some of their property, their nearest relative is to come and redeem what they have sold. 26If, however, there is no-one to redeem it for them but later on they prosper and acquire sufficient means to redeem it themselves, 27they are to determine the value for the years since they sold it and refund the balance to the one to whom they sold it; they can then go back to their own property. 28But if they do not acquire the means to repay, what was sold will remain in the possession of the buyer until the Year of Jubilee. It will be returned in the Jubilee, and they can then go back to their property.

29‘ “Anyone who sells a house in a walled city retains the right of redemption a full year after its sale. During that time the seller may redeem it. 30If it is not redeemed before a full year has passed, the house in the walled city shall belong permanently to the buyer and the buyer’s descendants. It is not to be returned in the Jubilee. 31But houses in villages without walls round them are to be considered as belonging to the open country. They can be redeemed, and they are to be returned in the Jubilee.

32‘ “The Levites always have the right to redeem their houses in the Levitical towns, which they possess. 33So the property of the Levites is redeemable – that is, a house sold in any town they hold – and is to be returned in the Jubilee, because the houses in the towns of the Levites are their property among the Israelites. 34But the pasture-land belonging to their towns must not be sold; it is their permanent possession.

35‘ “If any of your fellow Israelites become poor and are unable to support themselves among you, help them as you would a foreigner and stranger, so that they can continue to live among you. 36Do not take interest or any profit from them, but fear your God, so that they may continue to live among you. 37You must not lend them money at interest or sell them food at a profit. 38I am the Lord your God, who brought you out of Egypt to give you the land of Canaan and to be your God.

39‘ “If any of your fellow Israelites become poor and sell themselves to you, do not make them work as slaves. 40They are to be treated as hired workers or temporary residents among you; they are to work for you until the Year of Jubilee. 41Then they and their children are to be released, and they will go back to their own clans and to the property of their ancestors. 42Because the Israelites are my servants, whom I brought out of Egypt, they must not be sold as slaves. 43Do not rule over them ruthlessly, but fear your God.

44‘ “Your male and female slaves are to come from the nations around you; from them you may buy slaves. 45You may also buy some of the temporary residents living among you and members of their clans born in your country, and they will become your property. 46You can bequeath them to your children as inherited property and can make them slaves for life, but you must not rule over your fellow Israelites ruthlessly.

47‘ “If a foreigner residing among you becomes rich and any of your fellow Israelites become poor and sell themselves to the foreigner or to a member of the foreigner’s clan, 48they retain the right of redemption after they have sold themselves. One of their relatives may redeem them: 49an uncle or a cousin or any blood-relative in their clan may redeem them. Or if they prosper, they may redeem themselves. 50They and their buyer are to count the time from the year they sold themselves up to the Year of Jubilee. The price for their release is to be based on the rate paid to a hired worker for that number of years. 51If many years remain, they must pay for their redemption a larger share of the price paid for them. 52If only a few years remain until the Year of Jubilee, they are to compute that and pay for their redemption accordingly. 53They are to be treated as workers hired from year to year; you must see to it that those to whom they owe service do not rule over them ruthlessly.

54‘ “Even if someone is not redeemed in any of these ways, they and their children are to be released in the Year of Jubilee, 55for the Israelites belong to me as servants. They are my servants, whom I brought out of Egypt. I am the Lord your God.