Ebyabaleevi 24 – LCB & NVI-PT

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 24:1-23

Amafuta ag’Omuzeeyituuni n’Emigaati egy’Okulaga

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2“Lagira abaana ba Isirayiri bakuleetere amafuta ag’omuzeeyituuni aga zeyituuni amalungi amaka ag’okukozesa mu ttaala ziryoke zaakenga buli kiseera awatali kusalako. 3Wabweru w’Eggigi ery’Endagaano mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, Alooni w’anaalabiririranga ettabaaza ezo nga zaakira awali Mukama Katonda okuva akawungeezi okutuusa mu makya awatali kusalako. Eryo linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ne mu mirembe egigenda okujja. 424:4 Kuv 25:31; 31:8Alooni anaalabiriranga ettaala ez’oku kikondo ekya zaabu omuka awali Mukama Katonda nga zaaka awatali kusalako.

524:5 Kuv 25:30“Ojja kuddiranga obuwunga bw’eŋŋaano obulungi ofumbe emigaati kkumi n’ebiri ng’okozesa desimoolo bbiri eza efa24:5 Efa ezo ze liita nnya n’ekitundu. 624:6 Kuv 25:23-30; 1Bk 7:48Onoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama. 724:7 Lv 2:2Era ku buli lunyiriri onooteekangako obubaane obuka nga bugendera wamu n’emigaati nga kye kijjukizo eky’ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro. 824:8 a Kbl 4:7; 1By 9:32; 2By 2:4 b Mat 12:5Emigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ng’ekyo kikolebwa ku lw’abaana ba Isirayiri nga ye ndagaano ey’emirembe n’emirembe. 924:9 Lv 8:31; Mat 12:4; Mak 2:26; Luk 6:4Emigaati egyo ginaabanga gya Alooni ne batabani be, era banaagiriiranga mu kifo ekitukuvu, kubanga giva ku kiweebwayo ekitukuvu ennyo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro nga kye kiragiro eky’enkalakkalira.”

Avvoola wa Kuttibwanga

10Awo mutabani w’omukazi Omuyisirayiri naye nga kitaawe Mumisiri n’afuluma n’abeera mu baana ba Isirayiri, naye ne wasitukawo olutalo wakati w’omusajja oyo n’Omuyisirayiri, nga bali mu lusiisira24:10 Mu kuva e Misiri, waaliwo bannaggwanga abeegatta ku Bayisirayiri (Kuv 12:38) era baali kyakulabirako kibi eri Abayisirayiri (Kbl 11:4). Noolwekyo kino kireeta Essuula empya ku biragiro ebikwata ne ku bannaggwanga. 1124:11 Kuv 3:15Mutabani w’omukazi Omuyisirayiri n’avvoola Erinnya lya Mukama, era n’akolima. Ne bamuleeta eri Musa. Nnyina ye yali Seromisi, muwala wa Dibuli ow’omu kika kya Ddaani. 1224:12 Kuv 18:16; Kbl 15:34Ne bamuggalira mu kkomera okutuusa Mukama Katonda lw’anaabategeeza ekinaakolebwa.

13Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 1424:14 Lv 20:27; Ma 13:9; 17:5, 7; 21:21“Eyavvodde mumufulumye ebweru w’olusiisira. Abo bonna abaamuwulidde ng’avvoola bateeke emikono gyabwe ku mutwe gwe; oluvannyuma ekibiina kyonna kiryoke kimukube amayinja. 1524:15 Kuv 22:28Tegeeza abaana ba Isirayiri nti omuntu yenna anaakolimiranga Katonda we anaabanga n’obuvunaanyizibwa olw’ekibi ekyo. 1624:16 1Bk 21:10, 13; Mat 26:66Oyo yenna anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga. Ekibiina kyonna kinaamukubanga amayinja. Ne bw’anaabanga omugwira oba Omuyisirayiri, bw’anavvoolanga erinnya lya Mukama Katonda anattibwanga.

1724:17 Lub 9:6; Kuv 21:12; Kbl 35:30-31; Ma 27:24“Anattanga omuntu naye anattibwanga. 1824:18 nny 21Omuntu yenna anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, ensolo ku nsolo. 19Omuntu bw’anaaleetanga akamogo ku munne n’amulumya, ekyo ky’akoze ku munne naye kye kinaamukolwangako: 2024:20 Kuv 21:24; Mat 5:38*obuvune olw’obuvune, eriiso olw’eriiso, erinnyo olw’erinnyo; nga bw’anaabanga alumizza munne, naye bw’atyo bw’anaalumizibwanga. 2124:21 nny 17Omuntu anattanga ensolo ya munne anaagimuliyiranga, n’oyo anattanga omuntu naye waakuttibwanga. 2224:22 a Kuv 12:49 b Kbl 9:14; 15:16Etteeka lye limu lye linaafuganga omugwira era n’Omuyisirayiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”

23Bw’atyo Musa n’ategeeza abaana ba Isirayiri, ne bafulumya eyavvoola ebweru w’olusiisira ne bamukuba amayinja n’afa. Abaana ba Isirayiri baakola nga Mukama bwe yalagira Musa.

Nova Versão Internacional

Levítico 24:1-23

O Candelabro e os Pães Sagrados

1Disse o Senhor a Moisés: 2“Ordene aos israelitas que tragam azeite puro de olivas batidas para as lâmpadas, para que fiquem sempre acesas. 3Na Tenda do Encontro, do lado de fora do véu que esconde as tábuas da aliança, Arão manterá as lâmpadas continuamente acesas diante do Senhor, desde o entardecer até a manhã seguinte. Este é um decreto perpétuo para as suas gerações: 4Mantenha sempre em ordem as lâmpadas no candelabro de ouro puro perante o Senhor.

5“Apanhe da melhor farinha e asse doze pães, usando dois jarros24.5 Hebraico: 2/10 de efa. O efa era uma medida de capacidade para secos. As estimativas variam entre 20 e 40 litros. para cada pão. 6Coloque-os em duas fileiras, com seis pães em cada uma, sobre a mesa de ouro puro perante o Senhor. 7Junto a cada fileira coloque um pouco de incenso puro como porção memorial para representar o pão e ser uma oferta ao Senhor preparada no fogo. 8Esses pães serão colocados regularmente perante o Senhor, cada sábado, em nome dos israelitas, como aliança perpétua. 9Pertencem a Arão e a seus descendentes, que os comerão num lugar sagrado, porque é parte santíssima de sua porção regular das ofertas dedicadas ao Senhor, preparadas no fogo. É decreto perpétuo”.

O Castigo da Blasfêmia

10Aconteceu que o filho de uma israelita com um egípcio saiu e foi para o meio dos israelitas. No acampamento houve uma briga entre ele e um israelita. 11O filho da israelita blasfemou o Nome com uma maldição; então o levaram a Moisés. O nome de sua mãe era Selomite, filha de Dibri, da tribo de Dã. 12Deixaram-no preso até que a vontade do Senhor lhes fosse declarada.

13Então o Senhor disse a Moisés: 14“Leve o que blasfemou para fora do acampamento. Todos aqueles que o ouviram colocarão as mãos sobre a cabeça dele, e a comunidade toda o apedrejará. 15Diga aos israelitas: Se alguém amaldiçoar seu Deus, será responsável pelo seu pecado; 16quem blasfemar o nome do Senhor terá que ser executado. A comunidade toda o apedrejará. Seja estrangeiro seja natural da terra, se blasfemar o Nome, terá que ser morto.

17“Se alguém ferir uma pessoa a ponto de matá-la, terá que ser executado. 18Quem matar um animal fará restituição: vida por vida. 19Se alguém ferir seu próximo, deixando-o defeituoso, assim como fez lhe será feito: 20fratura por fratura, olho por olho, dente por dente. Assim como feriu o outro, deixando-o defeituoso, assim também será ferido. 21Quem matar um animal fará restituição, mas quem matar um homem será morto. 22Vocês terão a mesma lei para o estrangeiro e para o natural da terra. Eu sou o Senhor, o Deus de vocês”.

23Depois que Moisés falou aos israelitas, levaram o que blasfemou para fora do acampamento e o apedrejaram. Os israelitas fizeram conforme o Senhor tinha ordenado a Moisés.