Ebyabaleevi 23 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 23:1-44

1Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 223:2 a nny 4, 37, 44; Kbl 29:39 b Kbl 29:21, 27“Yogera n’abaana ba Isirayiri obagambe nti, Zino ze mbaga zange ze nnonze, nga ze mbaga za Mukama Katonda ezirondeddwa ze munaakubirangako enkuŋŋaana entukuvu.

Ssabbiiti

323:3 a Kuv 20:9 b Kuv 20:10; 31:13-17; Lv 19:3; Ma 5:13; Beb 4:9, 10“Mu nnaku omukaaga munaakolerangamu emirimu gyammwe, naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ey’okuwummula; lunaabeeranga olunaku olw’okukuŋŋaana okutukuvu. Temulukolerangako mulimu n’akatono yonna gye munaabeeranga, kubanga ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda.

Okuyitako n’Emigaati Egitali Mizimbulukuse

4“Zino ze mbaga Mukama Katonda ze yeerondera okunaakubirwanga enkuŋŋaana entukuvu ze munaalangiriranga mu ntuuko zaazo: 523:5 Kuv 12:18-19; Kbl 28:16-17; Ma 16:1-8Embaga ya Mukama Katonda ey’Okuyitako eneetandikanga ng’obudde buwungeera ku lunaku olw’ekkumi n’ennya olw’omwezi ogw’olubereberye. 6Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo, Embaga ya Mukama Katonda ey’Emigaati Egitali Mizimbulukuse kw’eneetandikiranga; munaamalanga ennaku musanvu nga mulya emigaati egifumbiddwa nga temuli kizimbulukusa. 723:7 nny 3, 8Ku lunaku olusooka olw’embaga eyo ey’Okuyitako munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo. 8Munaamalanga ennaku musanvu nga buli lunaku muleeta ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama. Ku lunaku olw’omusanvu munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyammwe egya bulijjo.”

Embaga ey’Ebibala Ebibereberye

9Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 1023:10 Kuv 23:16, 19; 34:26“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti, Bwe mutuukanga mu nsi gye nzija okubawa ne mukungula ebibala byamu, muleetanga eri kabona ekinywa eky’ebibala byammwe eby’olubereberye; 1123:11 Kuv 29:24naye anaawuubawuubanga ekinywa ekyo awali Mukama Katonda kiryoke kikkirizibwe ku lwammwe. Kabona anaakiwuubawuubanga ku lunaku oluddirira Ssabbiiti. 12Ku lunaku olwo lwe munaawuubirawuubirangako ekinywa, munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda eky’omwana gw’endiga omulume, ogwakamala omwaka gumu ogw’obukulu era nga teguliiko kamogo. 1323:13 Lv 2:14-16; 6:20N’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke ekigenderako kinaabanga kigero kya desimoolo bbiri eza efa23:13 Efa Ze liita nnya n’ekitundu, eky’obuwunga obulungi nga mutabuddwamu n’amafuta ag’omuzeeyituuni, nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda, ne muvaamu evvumbe eddungi erisanyusa Mukama Katonda; n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga ekitundu kimu kya kuna ekya lita emu ey’envinnyo. 1423:14 a Kuv 34:26 b Kbl 15:21Era temuulyenga ku mugaati n’akatono oba ku mmere ey’empeke ensiike oba eyaakakungulwa, okutuusa ku lunaku olwo lwennyini lwe munaaleeterangako ekiweebwayo kino eri Katonda wammwe. Lino linaabanga tteeka ery’enkalakkalira ery’emirembe gyonna egigenda okujja, mu bifo byonna gye munaabeeranga.

Embaga eya Pentekoote

15“Okuva ku lunaku oluddirira Ssabbiiti, nga lwe lunaku kwe mwaleetera ekiweebwayo eky’ekinywa ekiwuubibwawuubibwa mubalanga ewiiki enzijuvu musanvu. 1623:16 Kbl 28:26; Bik 2:1Munaabalanga ennaku amakumi ataano okutuuka ku Ssabbiiti ey’omusanvu, ne mulyoka muwaayo eri Mukama ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke empya eyaakakungulwa. 1723:17 Kuv 34:22; Lv 2:12Nga muva mu buli kitundu gye mubeera, munaaleetanga emigaati, ebiri ebiri nga gikoleddwa mu kigero ekya desimoolo bbiri eza efa ez’obuwunga obulungi, nga bufumbiddwa n’ekizimbulukusa; nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa eky’ebibala ebibereberye. 18Era awamu n’emigaati egyo munaaleeterangako abaana b’endiga musanvu ab’omwaka gumu abataliiko kamogo; munaaleetanga n’ente eya seddume ento emu, n’endiga ennume ento bbiri. Binaabeeranga ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama, awamu n’ekiweebwayo eky’emmere ey’empeke n’ekiweebwayo eky’ebyokunywa; nga kye kiweebwayo ekyokebwa n’omuliro, ne muvaamu evvumbe erisanyusa Mukama. 19Era munaawangayo embuzi emu ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi, era n’endiga ento ennume ez’omwaka ogumu bbiri nga kye kiweebwayo olw’emirembe. 20Kabona anaawubawuubanga ebiweebwayo ebyo awamu n’emigaati egikoleddwa mu bibala ebibereberye n’endiga zombi ento, nga kye kiweebwayo eri Mukama Katonda ekiwuubibwawuubibwa. Kinaabanga kiweebwayo eri Mukama Katonda ekitukuvu, era kabona y’anaakitwalanga. 2123:21 a nny 2 b nny 3Ku lunaku olwo onoolangiriranga olukuŋŋaana olutukuvu; era temujjanga kukolerako mirimu gyammwe egya bulijjo. Eryo linaabeeranga etteeka ery’emirembe gyonna mu mmwe buli yonna gye munaabeeranga.

2223:22 a Lv 19:9 b Lv 19:10; Ma 24:19-21; Lus 2:15“Bwe munaakungulanga emmere mu ttaka lyammwe temugimalirangamu ddala okutuuka ku mbibiro z’ennimiro yammwe, wadde okukuŋŋaanyanga eneebanga ekunkumuse wansi nga mumaze okukungula. Eyo mugirekeranga abaavu ne bannamawanga. Nze Mukama Katonda wammwe.”

Embaga ey’Amakondeere

23Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2423:24 Lv 25:9; Kbl 10:9, 10; 29:1“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti olunaku olw’olubereberye mu mwezi ogw’omusanvu lunaabanga lwa kuwummula, munaakwatirangako olukuŋŋaana olutukuvu olunaalangirirwanga n’okufuuwa amakondeere ag’omwanguka. 2523:25 nny 21Temukolerangako mirimu gyonna egya bulijjo, naye munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda.”

Olunaku olw’Okutangiririrwa

26Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2723:27 a Lv 16:29 b Kuv 30:10 c Kbl 29:7“Olunaku olw’ekkumi olw’omwezi guno ogw’omusanvu lwe lunaabanga Olunaku olw’Okutangiririrwa. Munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu, muneefiirizanga ne mwerumya, era munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa n’omuliro eri Mukama Katonda. 28Olunaku olwo temulukolerangako mulimu na gumu, kubanga lwe Lunaku olw’Okutangiririrwa, lwe munaatangiririrwanga awali Mukama Katonda. 2923:29 Lub 17:14; Kbl 5:2Omuntu yenna anaagaananga okwefiiriza ku lunaku olwo kinaamugwaniranga okuwaŋŋangusibwa n’aggyibwa mu banne. 3023:30 Lv 20:3Era buli muntu anaakolanga omulimu ku lunaku olwo ndimuggya mu banne ne mmuzikiriza. 31Temulukolerangako mulimu n’akatono. Eryo linaabeeranga etteeka ery’enkalakkalira, ery’emirembe gyonna egigenda okujja mu bifo byonna gye munaabeeranga. 32Lunaabeeranga lwa Ssabbiiti na kuwummulirako gye muli, era muneefiirizanga. Munaakuumanga Ssabbiiti yammwe okuva ku lunaku olw’omwenda olw’omwezi akawungeezi okutuusa ku kawungeezi akaddirira.”

Embaga ey’Ensiisira

33Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 3423:34 Kuv 23:16; Ma 16:13; Ezr 3:4; Nek 8:14; Zek 14:16; Yk 7:2“Tegeeza abaana ba Isirayiri nti ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano Embaga ya Mukama ey’Ensiisira kw’eneetandikiranga, era eneemalanga ennaku musanvu. 35Ku lunaku olw’olubereberye munaakubirangako olukuŋŋaana olutukuvu; temuulukolerengako mirimu egya bulijjo. 3623:36 2By 7:9; Nek 8:18; Yk 7:37Munaaleetanga ebiweebwayo eri Mukama ebyokye mu muliro okumalira ddala ennaku musanvu, ne ku lunaku olw’omunaana munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu ne muwaayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo ekyokye n’omuliro. Olwo lwe lukuŋŋaana olukulu oluggalawo, temulukolerangako mirimu egya bulijjo.

3723:37 nny 2, 4“Ezo ze mbaga Mukama ze yalagira, ze munaalangiriranga nti mbaga ntukuvu okunaaleeterwanga ebiweebwayo eri Mukama Katonda ebyokeddwa mu muliro, ebiweebwayo ebyokye, ebiweebwayo eby’empeke, ssaddaaka n’ebiweebwayo ebinywebwa ebineetaagibwanga buli lunaku. 3823:38 Ez 45:17Ebiweebwayo bino byeyongera ku biri eby’oku Ssabbiiti za Mukama Katonda, era ne byeyongera ku birabo byammwe ne ku ebyo byonna bye munaabanga mweyamye, ne ku biweebwayo ebirala byonna bye munaabanga muleetedde Mukama Katonda nga mweyagalidde.

3923:39 Kuv 23:16; Ma 16:13“Kale nno okutandikira ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogw’omusanvu, nga mumaze okukungula n’okuyingiza ebibala ebivudde mu ttaka lyammwe, munaakoleranga Mukama Katonda ekijaguzo okumala ennaku musanvu; olunaku olw’olubereberye lunaabanga lwa kuwummula era n’olunaku olw’omunaana nalwo nga lwa kuwummula. 4023:40 Nek 8:14-17Ku lunaku olw’olubereberye munaanoganga ku miti ebibala ebisingira ddala obulungi ne muddira n’amatabi g’enkindu, n’amatabi ag’emiti agaziyidde n’ebikoola ebigimu, n’emiti egy’oku migga, ne mulyoka musanyukira awali Mukama Katonda wammwe okumala ennaku musanvu. 41Mukolanga bwe mutyo ng’ekyo kye kijaguzo eri Mukama Katonda, okumala ennaku musanvu buli mwaka. Lino ly’etteeka ery’enkalakkalira erinaakwatibwanga n’ab’omu mirembe egigenda okujja; mujaguzenga mu mwezi ogw’omusanvu. 4223:42 Nek 8:14-16Munaasulanga mu busiisira okumala ennaku musanvu. Abo bonna abazaaliranwa ab’omu Isirayiri banaasulanga mu busiisira, 4323:43 Ma 31:13; Zab 78:5bwe batyo ab’omu zzadde lyammwe balyoke bamanye nga bwe nasuzanga abaana ba Isirayiri mu busiisira bwe nnali nga mbaggya mu nsi y’e Misiri. Nze Mukama Katonda wammwe.”

44Bw’atyo Musa n’alangirira mu baana ba Isirayiri embaga za Mukama ennonde.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

利未记 23:1-44

有关节期的条例

1耶和华对摩西说: 2“你要告诉以色列人,以下是耶和华所定的节期,你们要宣布这些节期为举行圣会的日子。

安息日

3“你们一周可以工作六天,但第七天是安息日,你们要休息,举行圣会。不可做任何工,无论你们住在哪里,都要守耶和华的安息日。

4“以下是耶和华所定的节期,你们要在这些日子召开圣会。

逾越节和无酵节

5“一月十四日从黄昏开始是耶和华的逾越节。 6从一月十五日开始是耶和华的无酵节,一连七天你们必须吃无酵饼。 7在无酵节的第一天,你们要举行圣会,不可做日常工作。 8这七天你们要献火祭给耶和华。第七天,你们要举行圣会,不可做日常工作。”

初熟节

9耶和华对摩西说: 10“你把以下条例告诉以色列人。

“你们进入耶和华将要赐给你们的那片土地以后,每逢庄稼初熟之时,你们要带一捆初熟的谷物交给祭司。 11祭司要在安息日后第一天把那捆谷物在耶和华面前摇一摇,你们所献的就会得到悦纳。 12在献谷物那天,你们要献给耶和华一只毫无残疾、一岁的公羊羔作燔祭, 13同时要把两公斤调油的细面粉作素祭,一起献给耶和华作馨香的火祭,也要献一升酒作奠祭。 14你们必须先将这些祭物献给你们的上帝后,才可以吃饼、烘烤的谷物和新鲜穗子。不论住在哪里,你们都要世代遵守这永远不变的律例。

五旬节

15“从安息日后第一天,即你们献上摇祭的那天算起,你们要数整整七周, 16一直数到第七个安息日后的第一天,共五十天。到那天,你们要把新收的谷物作为素祭献给耶和华。 17你们要用两公斤细面粉加上酵,烤成两个饼作摇祭,从你们居住的地方带来献给耶和华作初熟之祭。 18你们要把七只毫无残疾、一岁的公羊羔、一头公牛犊、两只公绵羊和那两个饼一起献给耶和华作燔祭。这些一起献上的燔祭、素祭和奠祭是蒙耶和华悦纳的馨香火祭。 19你们也要献一只公山羊作赎罪祭,两只一岁的公绵羊作平安祭。 20祭司要把这两只公绵羊和初熟之物做的饼作为摇祭在耶和华面前摇一摇。这些是献给耶和华的圣物,归祭司所有。 21你们要在那天召开圣会,不可做日常工作。不论住在哪里,你们都要世代遵守这永远不变的律例。 22你们收割时,不可割尽田角地边的庄稼,也不可捡落在地里的。要把这些留给穷人和外族人。我是你们的上帝耶和华。”

吹号节

23耶和华对摩西说: 24“你告诉以色列人,‘你们要在七月一日休息,要吹号作纪念,召开圣会。 25你们不可做日常工作,要献火祭给耶和华。’”

赎罪日

26耶和华对摩西说: 27“七月十日是赎罪日,你们要举行圣会,禁食,献火祭给耶和华。 28那是在你们的上帝耶和华面前为自己赎罪的日子,你们不可工作。 29那天,凡不禁食的,要将他从民中铲除; 30凡工作的,耶和华要毁灭他。 31你们不可做任何工作。不论住在哪里,你们都要世代遵守这永不改变的律例。 32那是你们可以完全休息的安息之日。从七月九日傍晚至次日傍晚,你们必须禁食。”

住棚节

33耶和华对摩西说: 34“你把以下条例告诉以色列人。

“从七月十五日开始,你们要一连七天向耶和华守住棚节。 35第一天,你们要举行圣会,不可做日常工作。 36这七天你们要献火祭给耶和华。第八天要举行圣会,献火祭给耶和华。这是庄严的聚会,你们不可做日常工作。

37“以上是耶和华所定的节期。在这些节期里,你们要召开圣会,按规定的日子献给耶和华燔祭、素祭、奠祭和其他祭物。 38除了守安息日并向耶和华献供物、还愿祭和自愿献的祭以外,你们还要守这些节期。

39“你们收割完后,从七月十五日起,要一连七天庆祝耶和华的节期,第一天和第八天是安息之日。 40第一天,你们要摘下树上结的上好果子,折下棕树枝、叶子浓密的树枝与河边的柳枝,在你们的上帝耶和华面前欢庆七天。 41在每年七月的这七天,你们要向耶和华守这节期。这是永远不变的律例,你们世世代代都要遵守。 42你们要搭棚居住七天,所有以色列人都要住在棚里。 43这样,你们的后代就会知道,我带领以色列人离开埃及后,曾让他们住在棚里。我是你们的上帝耶和华。”

44于是,摩西以色列人宣布了耶和华所定的这些节期。