Ebyabaleevi 22 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 22:1-33

Bakabona n’Obutukuvu bw’Ebiweebwayo

1Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2“Tegeeza Alooni ne batabani be bassengamu ekitiibwa ebiweebwayo abaana ba Isirayiri bye bandeetera, ebyawuliddwa, bwe batyo balemenga okuvumisa erinnya lyange. Nze Mukama Katonda. 322:3 Lv 7:20, 21; Kbl 19:13Era bagambe nti, Omuntu yenna ow’omu zadde lyabwe mu mirembe gyonna eginajjanga giddiriragana bw’ataabenga mulongoofu, naye n’asemberera ebiweebwayo ebyawuliddwa ebitukuvu, abaana ba Isirayiri bye banaabanga baleese eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagoberwanga ddala n’ava mu maaso gange. Nze Mukama Katonda. 422:4 a Lv 14:1-32; 15:2-15 b Lv 11:24-28, 39Omuntu yenna ow’omu zadde lya Alooni alina obulwadde obukwata oba alwadde ekikulukuto taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu okutuusa ng’afuuse omulongoofu. Omuntu yenna taabenga mulongoofu bw’anaakwatanga ku kintu kyonna ekitali kirongoofu ekivudde ku kukolagana n’omusajja eyavuddemu amazzi g’obusajja, oba olw’okukomako ku mulambo, 522:5 a Lv 11:24-28, 43 b Lv 15:7oba okukwata ku kyekulula ekiyinza okumufuula atali mulongoofu, oba okukoma ku muntu ayinza okumusiiga obutali bulongoofu, oba engeri yonna ey’obutali bulongoofu bw’efa yenkana. 6Omuntu ng’oyo taabenga mulongoofu okutuusa akawungeezi. Taalyenga ku biweebwayo ebitukuvu wabula ng’amaze okunaaba yenna mu mazzi. 722:7 Kbl 18:11Enjuba bw’eneebanga egudde anaabeeranga mulongoofu; n’oluvannyuma anaalyanga ku biweebwayo ebitukuvu ebyo, kubanga ye mmere ye. 822:8 a Lv 11:39 b Kuv 22:31; Lv 17:15 c Lv 11:40Taalyenga ku kintu kyonna ekinaabanga kifudde obufi, oba ekinaabanga kitaaguddwataaguddwa ebisolo, kubanga kinaamufuulanga atali mulongoofu. Nze Mukama. 922:9 nny 16; Kuv 28:43Bwe batyo bakabona kibagwanira okukuumanga ebiragiro byange, balemenga okwereetako omusango ne bafa olw’okubigayaaliriranga. Nze Mukama Katonda abatukuza.

10“Omuntu yenna atali wa mu lulyo lwa kabona, ne bw’anaabanga omugenyi we, oba omupakasi we, taalyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu. 1122:11 Lub 17:13; Kuv 12:44Naye kabona bw’aneeguliranga omuddu n’ensimbi, oba omuddu bw’anaazaalirwanga mu nnyumba ya kabona, omuddu oyo anaalyanga ku mmere eyo. 12Omwana owoobuwala owa kabona bw’anaafumbirwanga omusajja atali kabona, talyenga ku biweebwayo ebyo ebitukuvu. 13Naye singa muwala wa kabona afuuka nnamwandu, oba singa ayawukanira ddala ne bba, kyokka nga talina mwana, n’akomawo okubeeranga mu nnyumba ya kitaawe nga bwe yakolanga ng’akyali muvubuka, anaalyanga ku mmere ya kitaawe. Omuntu yenna atakwatibwako mizizo egyo taalyenga ku mmere eyo. 1422:14 Lv 5:15Era omuntu bw’anaalyanga ku kiweebwayo ekitukuvu nga tagenderedde, anaaleetanga ekitundu kimu kyakutaano eky’ekiweebwayo ekyo, n’akigatta ku kiweebwayo ekyo, kyonna n’akikwasa kabona. 1522:15 Kbl 18:32Bakabona tebavumisanga bintu bitukuvu abaana ba Isirayiri bye banaawangayo eri Mukama, 1622:16 nny 9nga babakkiriza okulyanga ku biweebwayo byabwe ebitukuvu, bwe batyo ne babateekesaako omusango ogunaabaweesanga ekibonerezo. Nze Mukama Katonda abatukuza.”

Ebiweebwayo Ebitakkirizibwa

17Awo Mukama n’agamba Musa nti, 1822:18 Lv 1:2“Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Omuntu yenna ow’omu nnyumba ya Isirayiri omu ku mmwe, oba omunnaggwanga abeera mu Isirayiri, bw’anaaleeteranga Mukama Katonda ekirabo eky’ekiweebwayo ekyokebwa okutuukiriza obweyamo bwe, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira, 1922:19 Lv 1:3kinaateekwanga okubeera sseddume ey’ente oba ey’endiga, oba ey’embuzi etaliiko kamogo, ekirabo ekyo kiryokenga kikkirizibwe. 2022:20 Ma 15:21; 17:1; Mal 1:8, 14; Beb 9:14; 1Pe 1:19Temuwangayo kintu kyonna ekiriko akamogo kubanga tekikkirizibwenga. 2122:21 Lv 3:6; Kbl 15:3, 8Omuntu yenna bw’anaaleetanga ekiweebwayo eri Mukama Katonda olw’emirembe, oba okutuukiriza obweyamo, oba ekiweebwayo olw’okweyagalira, ng’akiggya mu kiraalo oba mu kisibo, okukkirizibwa kinaabeeranga ekituukiridde nga tekiriiko kamogo. 22Temuwangayo eri Mukama Katonda ensolo enzibe y’amaaso, oba eriko obuvune, oba ennema oba egongobadde, oba ezimbyezimbye ku mubiri, oba eriko amabwa agakulukuta. Ezo temuziwangayo ku kyoto eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa. 23Naye ente oba endiga ng’eriko ekitundu kyayo ekisukkiridde obuwanvu oba ekisukkiridde obumpi eneeyinzanga okuleetebwa ng’ekiweebwayo eky’okweyagalira, naye tekkirizibwenga ng’ekiweebwayo olw’okutuukiriza obweyamo. 2422:24 Lv 21:20Mukama Katonda temumuleeteranga ekiweebwayo eky’ensolo erina enjagi ezaanuubulwa, oba ezaabetentebwa, oba ezaayuzibwa, oba ezaasalibwa. Ekyo temukikolanga mu ggwanga lyammwe, 2522:25 Lv 21:6wadde okukkirizanga ng’ensolo ezo bannamawanga bazibatonedde ne muziwaayo ng’ekiweebwayo eri Katonda wammwe. Kubanga nnyonoonefu mu mubiri era ziriko obukyamu.”

26Awo Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 2722:27 Kuv 22:30“Ente, oba endiga, oba embuzi bw’eneezaalibwanga eneesigalanga ne nnyina waayo okumala ennaku musanvu. Okuva ku lunaku olw’omunaana n’okweyongerayo ennekkirizibwanga bw’eneeweebwangayo eri Mukama Katonda ng’ekiweebwayo ekyokebwa mu muliro. 2822:28 Ma 22:6, 7Ente oba endiga temugittanga na mwana gwayo ku lunaku lwe lumu. 2922:29 Lv 7:12; Zab 107:22Bwe muwangayo eri Mukama Katonda ekiweebwayo olw’okwebaza, mukiwengayo mu ngeri ennungi eneekisobozesanga okukkirizibwa. 3022:30 Lv 7:15Kinaalibwanga ku lunaku olwo lwennyini, temukifissangawo n’akatono okutuusa enkeera. Nze Mukama Katonda.

3122:31 Ma 4:2, 40; Zab 105:45“Bwe mutyo mukwatenga amateeka gange era mugagonderenga. Nze Mukama Katonda. 3222:32 a Lv 18:21 b Lv 10:3Temuvumisanga linnya lyange. Abaana ba Isirayiri kibagwanira okunzisangamu ekitiibwa nga Nze mutukuvu. Nze Mukama Katonda abatukuza mmwe, 3322:33 Lv 11:45era Nze nabaggya mu nsi y’e Misiri mbeerenga Katonda wammwe. Nze Mukama Katonda.”

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

利未记 22:1-33

吃圣物的条例

1耶和华对摩西说: 2“你告诉亚伦父子们要谨慎处理以色列人献给我的圣物,免得亵渎我的圣名。我是耶和华。 3把以下条例告诉他们。

“你们的后代中,如果有人不洁净,却接近以色列人献给我的圣物,必须把他从我面前铲除。我是耶和华。 4亚伦的后代中若有人患了麻风病或漏症,在他洁净之前,不可吃圣物。如果有人遗精,或碰到因接触尸体而不洁净之物, 5或碰到不洁净的爬虫,或碰到不洁净的人, 6这人就不洁净,要到傍晚之后才能洁净。他要沐浴后才可吃圣物。 7日落之后,他就洁净了,可以吃圣物,因为那是他应得的食物。 8他不可吃自然死亡或被野兽撕裂的动物,否则就不洁净。我是耶和华。 9他们要遵守我的命令,免得他们犯罪,因违背我的命令而死亡。我是使他们圣洁的耶和华。

10“只有祭司一家可以吃圣物,在祭司家中寄居的或做雇工的都不可吃, 11但出生在祭司家里或用钱买来的奴隶都可以吃。 12如果祭司的女儿嫁给本族以外的人,她便不可再吃举祭。 13如果祭司的女儿守寡或被休,无儿无女,又像年轻时回到父亲家居住,便可以吃父亲的食物。除此以外,不属于祭司家的人都不可以吃。 14任何人如果误吃圣物,就要如数偿还给祭司,并加赔五分之一。 15祭司不可亵渎以色列民众献给耶和华的圣物, 16以免有人因擅自吃圣物而担罪、受罚。我是使圣物圣洁的耶和华。”

选择祭牲的条例

17耶和华对摩西说: 18“你把以下条例告诉亚伦父子们及所有以色列人。

“任何以色列人或寄居在以色列的外族人若向耶和华献燔祭,无论是为了还愿还是出于自愿, 19都必须献毫无残疾的公牛、公绵羊或公山羊才能蒙悦纳。 20不可献有残疾的,因为不蒙悦纳。 21如果有人为了还愿或自愿献牛羊作平安祭,必须献毫无残疾的牛羊才能蒙悦纳。 22不可献给耶和华瞎眼的、骨折的、残废的、长疥癣的牲畜,也不可把这些牲畜献给耶和华作火祭。 23至于畸形或发育不全的公牛或绵羊羔,可以用作自愿献的祭,但不可用作还愿祭。 24不可献给耶和华睪丸受损、被压碎、破裂或被阉割的牲畜。在你们境内不可做这样的事, 25也不可从外族人手中接受这些牲畜并献给你们的上帝作食物。因为这些牲畜是畸形的、残疾的,不蒙悦纳。”

26耶和华对摩西说: 27“刚出生的牛、绵羊或山羊,前七天要与母亲在一起。从第八天起,可以把它们献给我作火祭。 28不可在同一天内宰杀母牛和小牛或母羊和小羊。 29你们献感恩祭给耶和华时,要使你们所献的蒙悦纳。 30要当天吃完祭物,不可留到第二天早晨。我是耶和华。 31你们要遵行我的一切诫命。我是耶和华。 32不可亵渎我的圣名,我要在以色列人中彰显我的圣洁,我是使你们圣洁的耶和华。 33我领你们离开埃及,为要做你们的上帝。我是耶和华。”