Ebyabaleevi 21 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 21:1-24

Obutukuvu bw’Obwakabona

121:1 Ez 44:25Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Yogera ne bakabona, batabani ba Alooni, obagambe nti tewabanga omuntu eyeeretako obutali bulongoofu olw’okukwata ku mufu mu bantu be, 2wabula ng’amulinako oluganda olw’okumpi. Gamba nga nnyina, oba kitaawe, oba mutabani we, oba muwala we, oba muganda we, 3oba mwannyina embeerera atamanyi musajja, gw’alinako obuvunaanyizibwa kubanga tabeerangako na bba, kubanga ayinza okwereetako obutali bulongoofu. 4Kabona nga bw’ali omukulembeze, tekimusaanira kwereetako obutali bulongoofu wakati mu bantu be. 521:5 a Ez 44:20 b Lv 19:28; Ma 14:1Bakabona tebamwangako nviiri ku mitwe gyabwe, wadde okumwako ebirevu byabwe, oba okusala emisale ku mibiri gyabwe. 621:6 a Lv 18:21 b Lv 3:11Kibasaanira okubeeranga abatukuvu eri Katonda waabwe balemenga okuleetera erinnya lya Katonda waabwe obutali bulongoofu. Kubanga be batuusa ebiweebwayo ebyokebwa mu muliro eri Mukama, ye mmere ya Katonda waabwe, noolwekyo kibasaanira okubeeranga abatukuvu. 721:7 a nny 13, 14 b Ez 44:22Tebawasanga mukazi malaaya oba atali mulongoofu, oba oyo agobeddwa ewa bba; kubanga bakabona batukuvu eri Katonda waabwe. 821:8 nny 6Mubayisenga ng’abatukuvu, kubanga be bawaayo emmere eya Katonda wammwe. Mubayisenga ng’abatukuvu; kubanga Nze Mukama atukuza mmwe, ndi mutukuvu. 921:9 Lub 38:24; Lv 19:29Era omwana omuwala owa kabona bw’anaakubanga obwamalaaya, bw’atyo ne yeereetako obutali bulongoofu, anaabeeranga aleetedde kitaawe obutali bulongoofu; anaayokebwanga mu muliro.

1021:10 a Lv 16:32 b Lv 10:6“Kabona Asinga Obukulu, nga ye mukulembeze mu baganda be, era nga ye yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ku mutwe gwe, era nga yayawulibwa ayambalenga ebyambalo by’Obwakabona, tasaanira kusumululanga nviiri ze ku mutwe gwe n’azita, wadde okuyuzanga ebyambalo bye. 1121:11 a Kbl 19:11, 13, 14 b Lv 19:28Tayingiranga mu kifo omuli omulambo, aleme kwereetako obutali bulongoofu. Omulambo ne bwe gunaabanga ogwa kitaawe oba ogwa nnyina. 1221:12 Kuv 29:6-7; Lv 10:7Era n’ekifo kya Mukama ekitukuvu taakivengamu oba okukireetako obutali bulongoofu, kubanga yayawulibwa bwe yafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni ga Katonda we. Nze Mukama Katonda. 1321:13 Ez 44:22Anaawasanga omukazi mbeerera atamanyanga musajja. 14Tawasanga nnamwandu, oba omukazi bba gwe yagoba, oba omukazi eyeereeseeko obutali bulongoofu olw’okukuba obwamalaaya; naye anaawasanga omukazi embeerera ng’amuggya mu bantu be; 15aleme okuleetera ezzadde lye obutali bulongoofu wakati mu bantu be. Kubanga Nze Mukama Katonda amutukuza.”

Bakabona Abaliko Akamogo

16Awo Mukama n’agamba Musa nti, 1721:17 nny 6“Tegeeza Alooni nti mu zadde lye, okuyita mu mirembe gyonna, bwe munaabangamu omuntu aliko akamogo ku mubiri gwe taasemberenga kuwaayo emmere ya Katonda we. 1821:18 Lv 22:19-25Kubanga tewaabengawo muntu yenna aliko akamogo ku mubiri gwe anaasemberanga. Gamba: omuzibe w’amaaso, oba omulema, oba eyakyama ennyindo, oba eyakulako ekintu ekyasukkirira obuwanvu; 19oba omuntu alina ekigere ekyagongobala, oba omukono ogwalemala, 2021:20 Ma 23:1; Is 56:3oba ow’ebbango, oba nakalanga, oba atalaba bulungi, oba ng’omubiri gwe gumusiiwa yeetakulatakula, oba ng’alina amabwa agakulukuta, oba nga yayabika enjagi. 21Tewaabengawo wa mu zadde lya Alooni kabona ng’aliko akamogo anakkirizibwanga okusembera okuleeta ebiweebwayo eri Mukama Katonda, ebyokebwa mu muliro. Kubanga aliko akamogo; tekiimusaanirenga kusembera n’okuwaayo ekiweebwayo eri Katonda we. 2221:22 1Ko 9:13Anaayinzanga okulya ku mmere entukuvu ennyo eya Katonda we; 23naye olwokubanga aliko akamogo ku mubiri gwe, taasaanirenga kusemberera ggigi, oba okulaga okumpi n’ekyoto, n’aleetera ebifo byange ebitukuvu obutali bulongoofu. Kubanga Nze Mukama Katonda abitukuza.”

24Bw’atyo Musa n’ategeeza Alooni ne batabani be, awamu n’abaana bonna aba Isirayiri ebigambo ebyo byonna.