Ebyabaleevi 17 – LCB & NVI-PT

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 17:1-16

Etteeka ku Biweebwayo Ebitali bya Bulijjo

1Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2“Tegeeza Alooni ne batabani be n’abaana ba Isirayiri bonna, obagambe nti, Kino Mukama ky’alagidde: 3Omuntu yenna Omuyisirayiri anaawangayo ekiweebwayo eky’ente, oba endiga ento, oba embuzi, munda mu lusiisira oba ebweru w’olusiisira, 417:4 a Ma 12:5-21 b Lub 17:14nga tagireese ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, okugiwaayo ng’ekirabo ekiweebwayo eri Mukama Katonda mu kisasi ky’Eweema ya Mukama; omuntu oyo anaabanga azzizza omusango ogw’okuyiwa omusaayi; olwokubanga ayiye omusaayi, anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne. 5Ekyo kiri bwe kityo abaana ba Isirayiri balyoke balekeraawo okuweerangayo ebiweebwayo byabwe ebweru mu nnimiro, naye babireetenga awali Mukama Katonda. Kibagwanira okubireetanga eri Mukama babikwasenga kabona ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne biryoka bittibwa nga bye biweebwayo eri Mukama olw’emirembe. 617:6 a Lv 3:2 b Kbl 18:17Kabona anaamansiranga omusaayi ku kyoto kya Mukama ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, amasavu n’agookya ne muvaamu akaloosa akalungi akasanyusa Mukama Katonda. 717:7 a Kuv 22:20; 2By 11:15 b Kuv 32:8; 34:15; Ma 32:17; 1Ko 10:20Tebasaana kwongera kuwangayo biweebwayo byabwe eri bakatonda be beekoledde mu kifaananyi ky’embuzi, be bakola nabyo eby’obwamalaaya17:7 eby’obwamalaaya Katonda ageraageranya okusinza ebitali ye, ku kukola ebikolwa eby’obwamalaaya. Eryo linaabanga tteeka lyabwe lya lubeerera n’okuyita mu mirembe egigenda okuddawo.

8“Era bagambe nti, Buli muntu yenna Omuyisirayiri, oba omunnaggwanga yenna abeera mu bo, aliwaayo ekiweebwayo ekyokebwa, oba ekiweebwayo eky’engeri yonna, 917:9 nny 4nga takireese ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, okukiwaayo eri Mukama Katonda, omuntu oyo anaagobwanga n’agaanibwa okukolagananga ne banne.

1017:10 Lub 9:4; Lv 3:17; Ma 12:16, 23; 1Sa 14:33“Omuntu yenna Omuyisirayiri oba ow’omu bannamawanga ababeera mu Isirayiri bw’anaalyanga omusaayi ogw’engeri yonna, nnaamunyiigiranga oyo anaalyanga omusaayi, era nnaamugobanga ne mugaana okukolagananga ne banne. 1117:11 a nny 14; Lub 9:4 b Beb 9:22Kubanga obulamu bw’ekitonde buli mu musaayi, ate nkibawadde okubatangiririra ku kyoto; omusaayi gwe gutangiririra obulamu bw’omuntu. 12Noolwekyo Abayisirayiri mbagamba nti tewabanga n’omu mu mmwe anaalyanga omusaayi, era ne munnaggwanga abeera mu mmwe naye taalyenga musaayi.

1317:13 Lv 7:26; Ma 12:16“Omuyisirayiri yenna, oba omunnaggwanga abeera mu mmwe, bw’anaayigganga ensolo oba ennyonyi nga ya kulya, anaagikenenulangamu omusaayi n’agubikkako ettaka, 1417:14 nny 11; Lub 9:4kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo. Abayisirayiri kyenvudde mbagamba nti temulyanga musaayi gwa kitonde eky’engeri yonna, kubanga obulamu bwa buli kitonde gwe musaayi gwakyo, omuntu yenna anaagulyanga anaagobwanga n’agaanibwa okukolagana ne banne.

1517:15 Kuv 22:31; Ma 14:21“Omuntu yenna omuzaaliranwa oba omunnaggwanga anaalyanga ekintu kyonna ekinaabanga kisangiddwa nga kifu, oba nga kitaaguddwataaguddwa ensolo enkambwe, anaayozanga ebyambalo bye, n’anaaba mu mazzi, era anaabeeranga atali mulongoofu okutuusa akawungeezi; oluvannyuma anaabeeranga mulongoofu. 16Naye bw’ataayozenga byambalo bye, n’okunaaba n’atanaaba, ye anaabanga yeeretedde obutali bulongoofu bwe okumusigalako.”

Nova Versão Internacional

Levítico 17:1-16

A Proibição de Comer Sangue

1O Senhor disse a Moisés: 2“Diga a Arão e seus filhos e a todos os israelitas o que o Senhor ordenou: 3Qualquer israelita que sacrificar um boi17.3 A palavra hebraica pode significar boi ou vaca., um cordeiro ou um cabrito dentro ou fora do acampamento, 4e não o trouxer à entrada da Tenda do Encontro para apresentá-lo como oferta ao Senhor, diante do tabernáculo do Senhor, será considerado culpado de sangue; derramou sangue e será eliminado do meio do seu povo. 5Os sacrifícios, que os israelitas agora fazem em campo aberto, passarão a trazer ao Senhor, entregando-os ao sacerdote, para oferecê-los ao Senhor, à entrada da Tenda do Encontro, e os sacrificarão como ofertas de comunhão. 6O sacerdote aspergirá o sangue no altar do Senhor, à entrada da Tenda do Encontro, e queimará a gordura como aroma agradável ao Senhor. 7Não oferecerão mais sacrifícios aos ídolos em forma de bode, aos quais prestam culto imoral. Este é um decreto perpétuo para eles e para as suas gerações.

8“Diga-lhes: Todo israelita ou estrangeiro residente que oferecer holocausto ou sacrifício 9e não o trouxer à entrada da Tenda do Encontro para oferecê-lo ao Senhor será eliminado do meio do seu povo.

10“Todo israelita ou estrangeiro residente que comer sangue de qualquer animal, contra esse eu me voltarei e o eliminarei do meio do seu povo. 11Pois a vida da carne está no sangue, e eu o dei a vocês para fazerem propiciação por vocês mesmos no altar; é o sangue que faz propiciação pela vida. 12Por isso digo aos israelitas: Nenhum de vocês poderá comer sangue; tampouco, o estrangeiro residente.

13“Qualquer israelita ou estrangeiro residente que caçar um animal ou ave que se pode comer, derramará o sangue e o cobrirá com terra, 14porque a vida de toda carne é o seu sangue. Por isso eu disse aos israelitas: Vocês não poderão comer o sangue de nenhum animal, porque a vida de toda carne é o seu sangue; todo aquele que o comer será eliminado.

15“Todo aquele que, natural da terra ou estrangeiro, comer um animal encontrado morto ou despedaçado por animais selvagens, lavará suas roupas, se banhará com água e ficará impuro até a tarde; então estará puro. 16Mas, se não lavar suas roupas nem se banhar, sofrerá as consequências da sua iniquidade”.