Ebyabaleevi 13 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Ebyabaleevi 13:1-59

Amateeka ku Ndwadde Ez’oku Lususu Ezikwata

1Awo Mukama n’agamba Musa ne Alooni nti, 213:2 a nny 10, 19, 28, 43 b nny 4, 38, 39; Lv 14:56 c Lv 14:3, 9, 15; Kuv 4:6; Lv 14:3, 32; Kbl 5:2; Ma 24:8 d Ma 24:8“Omuntu yenna bw’anaabanga n’akazimbye ku lususu lw’omubiri gwe, oba awabutuse, oba awali akatulututtu, ne wafaanana ng’awali endwadde ey’ebigenge, aleetebwenga eri Alooni kabona, oba eri omu ku batabani be bakabona. 313:3 nny 8, 11, 20, 30; Lv 21:1; Kbl 9:6Kabona anaakeberanga ekifo ekyo awazimbye ku lususu, bw’anaasanganga ng’obwoya obuli awo awazimbye bufuuse bweru, ate nga awalwadde wennyise okusinga olususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, ng’olwo ebyo bigenge. Kabona bw’anaamalanga okumukebera anaalangiriranga nti omuntu oyo si mulongoofu. 413:4 a nny 2 b nny 5, 21, 26, 33, 46; Lv 14:38; Kbl 12:14, 15; Ma 24:9Naye awazimbye bwe wanaabanga walungudde, naye nga tewennyise okusinga olususu lw’omubiri gwe, ate nga n’obwoya mu wazimbye awo tebufuuse bweru, kabona anaasibiranga omuntu oyo omulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 513:5 a Lv 14:9 b nny 27, 32, 34, 51Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga omuntu oyo; bw’anaasanganga ng’awazimbye teweeyongedde, era nga n’obulwadde obwo tebusaasaanye ku lususu, anaayongeranga okumusibira mu kalantiini ennaku endala musanvu. 613:6 a nny 13, 17, 23, 28, 34; Mat 8:3; Luk 5:12-14 b Lv 11:25 c Lv 11:25; 14:8, 9, 20, 48; 15:8; Kbl 8:7Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaddangamu okumukebera, kale bw’anaasanganga ng’obuzimbu tebukyalabika nnyo, era obulwadde obwo nga tebusaasaanye ku lususu, anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga kubadde kubutuka bubutusi. Omuntu oyo anaayozanga engoye ze, era anaabanga mulongoofu. 713:7 Luk 5:14Naye okubutuka okwo bwe kunaasaasaananga ku lususu oluvannyuma lw’okweyanjula eri kabona amulangirire nti mulongoofu, anaateekwanga okuddayo eri kabona yeeyanjule buto. 8Kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’okubutuka kusaasaanye ku lususu ku mubiri, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ng’ebyo bigenge.

Amateeka g’Ebigenge ne kwe Bitegeererwa

9“Omuntu yenna bw’anaakwatibwanga ebigenge, anaaleetebwanga eri kabona. 10Kabona anaamukeberanga, bw’anaasangangawo obuzimbu obweru ku lususu nga bwerusizza n’obwoya, era awazimbye nga waliwo n’ennyama y’omubiri erungudde, 1113:11 Kuv 4:6; Lv 14:8; Kbl 12:10; Mat 8:2ebyo binaabanga bigenge eby’olutentezi ku lususu lw’omubiri gw’omuntu oyo, era kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu. Taasibibwenga mu kalantiini, kubanga amaze okutegeererwawo nga bw’atali mulongoofu.

12“Naye singa ebigenge bisaasaana ku lususu ne bituuka wonna wonna okuva ku mutwe gw’omuntu oyo okutuuka ku bigere nga kabona bw’asobola okulaba, 13kale kabona anaakeberanga omuntu oyo; bwe kinaazuulibwanga ng’ebigenge bibunye omubiri gw’omuntu oyo gwonna, anaamulangiriranga nga bw’ali omulongoofu; kubanga omubiri gwe gwonna gufuuse mweru, oyo mulongoofu. 14Naye ku lususu lw’omuntu oyo bwe kunaalabikangako ennyama erungudde taabenga mulongoofu. 1513:15 nny 2Kabona anaakeberanga ennyama eyo erungudde, n’amulangirira nga bw’atali mulongoofu. Ennyama erungudde si nnongoofu, kubanga bigenge. 16Naye singa ennyama erungudde ekyuka n’efuuka enjeru, omuntu oyo anajjanga eri Kabona. 1713:17 nny 6Kabona anaamukeberanga, bw’anaazuulanga ng’olususu olulwadde lufuuse lweru, anaalangiriranga omulwadde oyo okuba omulongoofu; bw’atyo anaabanga mulongoofu.

1813:18 Kuv 9:9“Omuntu bw’anaabanga alwadde ejjute ku lususu lwe, naye ne liwona, 1913:19 a nny 24, 42; Lv 14:37 b Lv 14:2kyokka mu kifo awaali ejjute ne wajjawo obuzimbu obweru oba akatulututtu akatwakaavu, wasaana walagibwe kabona. 2013:20 nny 2Kabona anaakeberangawo, bw’anaasanganga nga wennyise okusinga olususu, nga n’obwoya bwawo bufuuse bweru; kale kabona analangiriranga omuntu oyo nga bw’atali mulongoofu. Obwo bulwadde bwa bigenge ebifulumidde awo awaali ejjute. 21Naye kabona bw’anaakeberangawo, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, ate nga tewennyise okusinga olususu era nga tewakyalabika nnyo, kale kabona anaasibanga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 22Naye obulwadde obwo bwe bunaasaasaananga ku lususu, kale kabona analangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu, ebyo nga bigenge. 2313:23 nny 6Naye obuzimbu bwe bunaasigalanga mu kifo kimu ne butasaasaana, eyo eneebanga nkovu ya jjute, era kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti mulongoofu.

24“Singa wabaawo ku lususu lw’omuntu awayidde omuliro, awo awali ennyama eyidde ne wazimba, ne wafuuka watwakaavu oba weeru, 2513:25 nny 11kabona anaakeberangawo, obwoya bwawo bwe bunaabanga bufuuse bweru, ate nga walabika ng’awennyise okusinga olususu, ebyo nga bigenge bye bifulumye ku lususu oluyidde. Kabona anaalangiriranga omuntu oyo nti si mulongoofu; ebyo binaabanga bigenge. 2613:26 nny 4Naye kabona bw’anaakeberanga awo awayidde, n’asanga ng’obwoya obuliwo si bweru, era nga tewennyise kusinga lususu, naye nga tewakyalabika nnyo, kabona anaasibiranga omuntu oyo mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 2713:27 nny 5Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaamukeberanga, kale bw’anaasanganga ng’obulwadde busaasaana ku lususu, kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; ebyo nga bigenge. 2813:28 nny 2Naye obulwadde bwe bunaasigalanga mu kifo ekimu ne butasaasaana ku lususu, era ng’awazimbu tewakyalabika nnyo, buno bunaabanga buzimbu obuleeteddwa omuliro ogwayokyawo; kale kabona anaamulangiriranga nti mulongoofu; kubanga eyo y’enkovu ku lususu awaayokebwa omuliro.

2913:29 nny 43, 44“Omusajja oba omukazi bw’anaalwalanga ebbwa ku mutwe oba ku kalevu, 30kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bwe linaabanga lyennyise okusinga olususu, nga n’obwoya obulirimu bwa kyenvu ate nga bwa matalaga; kale kabona anaamulangiriranga nti si mulongoofu; eryo nga lye bbwa erisiiwa, nga bye bigenge eby’oku mutwe oba eby’oku kalevu. 3113:31 nny 4Kabona bw’anaakeberanga ebbwa erisiiwa, n’asanga nga teryennyise kuyisa lususu, ate nga mu lyo nga temuliimu bwoya buddugavu, kale kabona anaasibiranga omuntu oyo alina ebbwa erisiiwa mu kalantiini amalemu ennaku musanvu. 3213:32 nny 5Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga ebbwa eryo, bw’anaasanganga ng’okusiiwa tekusaasaanye, ate nga mu bbwa temuliimu bwoya bwa kyenvu, era ng’awasiiwa tewennyise kusinga lususu, 33omuntu oyo asaananga amwebwe okuggyako awo awalwadde wokka; ate kabona anaamusibiranga mu kalantiini ennaku endala musanvu. 3413:34 a nny 5 b Lv 11:25Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga awo awasiiwa, okusiiwa bwe kunaabanga tekusaasaanye ku lususu, ate nga tewennyise kusinga lususu, kale, kabona anaalangiriranga omuntu oyo nga bw’ali omulongoofu; era omuntu oyo anaayozanga engoye ze n’abeera mulongoofu. 35Naye okusiiwa bwe kunaasaasaananga ku lususu ng’amaze okulongooka, 3613:36 nny 30kabona anaayongeranga okumukebera, bw’anaasanganga ng’okusiiwa kusaasaanye ku lususu, kabona taanoonyenga bwoya bwa kyenvu mu bbwa eryo; omuntu oyo si mulongoofu. 37Naye mu kulaba kwa kabona, okusiiwa bwe kunaabanga tekweyongedde, nga n’obwoya obwa kyenvu bukuze mu bbwa, olwo ng’okusiiwa kuwonye, era omuntu oyo nga mulongoofu era kabona naye anaamulangiriranga nti mulongoofu.

38“Omusajja oba omukazi bw’anaabanga n’obutulututtu obweru ku mubiri gwe, 39kabona anaamukeberanga, bw’anaasanganga ng’obutulututtu bweruyeru, okwo kuba kubutukabutuka okuyiise ku lususu lw’omuntu oyo, ye aba mulongoofu.

4013:40 Lv 21:5; 2Bk 2:23; Is 3:24; 15:2; 22:12; Ez 27:31; 29:18; Am 8:10; Mi 1:16“Omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ku mutwe gwe zonna, anaabeeranga kyemwa, naye nga mulongoofu. 41Era omusajja bw’anaakuunyuukangako enviiri ze ez’omu maaso nga ku kyenyi, oyo anaabanga wa kiwalaata eky’omu bwenyi, kyokka nga mulongoofu. 42Naye mu mutwe omutali nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi bwe munaabangamu akafo akalwadde ebbwa nga kalungudde keeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, ebyo nga bigenge bye bifulumye mu mutwe ogutaliimu nviiri oba mu kiwalaata eky’omu bwenyi. 43Kale kabona anaakeberanga omuntu oyo, bw’anaasanganga ng’akafo ako awalwadde ebbwa era awazimbye mu mutwe oguweddemu enviiri oba mu kiwalaata ekiri mu bwenyi, nga kalungudde era nga weeruyeru nga kalimu obumyufumyufu, nga walabika ng’ebigenge bwe biba nga biri ku lususu olw’omubiri, 44omuntu oyo anaabanga mugenge, nga si mulongoofu. Kabona anaamulangiriranga nga bw’atali mulongoofu, olw’obulwadde obwo mu mutwe gwe.

4513:45 a Lv 10:6 b Ez 24:17, 22; Mi 3:7 c Lv 5:2; Kgb 4:15; Luk 17:12“Omuntu anaalwalanga ebigenge anaayambalanga engoye njulifu, n’enviiri z’oku mutwe gwe anaazirekanga ne zikula ne ziduumuuka, anaabikkanga ku mumwa gwe ogw’engulu n’atambula nga bw’aleekaana nti, ‘Siri mulongoofu! Siri mulongoofu!’ 4613:46 Kbl 5:1-4; 12:14; 2Bk 7:3; 15:5; Luk 17:12Ebbanga lyonna omuntu ly’anaamalanga ng’alina obulwadde obwo anaabeeranga si mulongoofu. Anaasulanga yekka mu nnyumba ye ebweru w’olusiisira.

Ebigenge mu Byambalo

47“Obulwadde bw’ebigenge bwe bunaalabikanga mu byambalo by’omusajja oba eby’omukazi, ebyambalo ebyo nga bikoleddwa mu byoya by’endiga oba mu bafuta oba maliba, 48oba mu nfunyiro ne mu ntabiro z’ebyambalo by’ebyoya by’endiga, oba mu bafuta oba mu maliba, oba mu kyambalo ekya buli ngeri yonna ekitungiddwa mu maliba; 4913:49 Mak 1:44era obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nga bwa langi ya kiragalalagala oba myufumyufu, nga buli mu kyambalo oba mu nfunyiro oba mu ntabiro zaakyo, oba mu kyambalo kyonna ekitungiddwa mu maliba; obwo nga bulwadde bwa bigenge, era bunaalagibwanga kabona. 5013:50 Ez 44:23Kabona anaakeberanga obulwadde obwo, anaasibiranga ekintu ekyo omuli obulwadde mu kalantiini okumala ennaku musanvu. 5113:51 a nny 5 b Lv 14:44Ku lunaku olw’omusanvu kabona anaakeberanga obulwadde obwo. Bw’anaasanganga ng’obulwadde obwo bauaasanye mu kyambalo, mu nfunyiro oba mu butungiro oba mu maliba, oba mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, ng’amanya ng’obulwadde obwo bwa bigenge ebitta n’omuntu; ekyo ekyambalo nga si kirongoofu. 5213:52 nny 55, 57Kabona anaayokyanga ebyambalo ebyo, obanga obulwadde buli mu nfunyiro oba mu ntabiro ez’ebyambalo ebya bafuta oba eby’ebyoya by’endiga, oba ebirala byonna ebitungiddwa mu maliba, kubanga obwo bwe bulwadde bw’ebigenge ebittira ddala. Ebyambalo ebyo binaayokebwanga mu muliro.

53“Kabona bw’anaabanga akebedde ekyambalo ekirimu obulwadde, n’asanga nga tebusaasaanye mu kyambalo, ne mu nfunyiro zaakyo, oba ne mu ntabiro, oba ne mu kyonna ekitungiddwa mu maliba, 54kale kabona anaalagiranga ne bayoza ekyambalo ekyo omuli obulwadde, n’ayongera okukisibira mu kalantiini ennaku endala musanvu. 55Awo kabona anaakeberanga ekyambalo ekyo ekyoze, bw’anaasanganga ng’erangi y’akafo awali obulwadde tekyuse, newaakubadde ng’obulwadde tebusaasaanye, ekyambalo ekyo nga si kirongoofu. Mukyokyanga mu muliro, awali ebigenge ne bwe wanaabanga mu kyambalo mu maaso oba mu mabega gaakyo. 56Naye kabona bw’anaakeberanga n’asanga nga bwe bamaze okwoza ekyambalo, akafo ako awali obulwadde tekakyalabika nnyo, akafo ako anaakayuzangamu mu kyambalo ekyo, oba mu ddiba oba mu kiruke kyonna ekyambalwa. 57Naye obulwadde obwo bwe bunaalabikanga nate mu kyambalo, oba mu kyambalo eky’eddiba oba ekiruke, nga busaasaanye, kale munaayokyanga mu muliro ekyambalo ekyo omuli obulwadde. 58Naye mu kyambalo kyonna, oba ekyambalo eky’eddiba oba ekiruke, obulwadde bwe buggwangamu nga kimaze okwozebwa, kale kinaayozebwanga omulundi ogwokubiri, ne kiba kirongoofu.”

59Eryo lye tteeka ery’obulwadde bw’ebigenge mu byambalo by’ebyoya by’endiga, oba linena, oba ebiruke obulusi, oba ebitunge mu maliba mu ngeri ezitali zimu, erinaasinziirwangako okulangirira obanga ekyambalo kirongoofu oba si kirongoofu.