Ebikolwa byʼAbatume 9 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 9:1-43

Okukyuka kwa Sawulo

19:1 Bik 8:3Mu kiseera ekyo Sawulo yali aswakidde ng’ayigganya abayigirizwa ba Mukama waffe ng’abatiisatiisa okwagala okubatta, n’atuukirira Kabona Asinga Obukulu, 29:2 Bik 19:9, 23; 22:4; 24:14, 22n’amusaba awandiikire ab’omu makuŋŋaaniro ag’omu Damasiko ebbaluwa, ng’ebasaba bakolagane naye mu kuyigganya abakkiriza bonna abasajja n’abakazi b’alisanga eyo, abasibe mu njegere, alyoke abaleete e Yerusaalemi. 39:3 1Ko 15:8Awo Sawulo bwe yali atambula ng’anaatera okutuuka e Damasiko, amangwago ekitangaala eky’amaanyi ennyo okuva mu ggulu ne kimwakako okumwetooloola. 4N’agwa wansi, n’awulira eddoboozi nga limugamba nti, “Sawulo! Sawulo! Onjigganyiza ki?”

5Sawulo n’abuuza nti, “Ggwe ani, Mukama wange?”

Eddoboozi ne limuddamu nti, “Nze Yesu gw’oyigganya! 69:6 nny 16Kale yimuka ogende mu kibuga onootegeezebwa ky’osaanidde okukola.”

79:7 a Yk 12:29 b Dan 10:7; Bik 22:9Abasajja abaali ne Sawulo ne bayimirira nga basobeddwa n’ekyokwogera nga kibabuze kubanga baawulira eddoboozi ng’ery’omuntu naye nga tebalaba ayogera. 8Sawulo bwe yayimuka wansi n’agezaako okutunula naye ng’amaaso ge tegalaba. Era baamukwata bukwasi ku mukono okumuyingiza mu Damasiko. 9N’amalayo ennaku ssatu nga talaba era nga talya mmere wadde okunywa amazzi okumala ebbanga eryo lyonna.

109:10 Bik 10:3, 17, 19Mu Damasiko mwalimu omuyigirizwa ng’ayitibwa Ananiya. Mukama n’ayogera naye mu kwolesebwa n’amuyita nti, “Ananiya!”

N’addamu nti, “Nze nzuuno, Mukama wange.”

119:11 nny 30; Bik 21:39; 22:3Mukama n’amugamba nti, “Genda ku luguudo oluyitibwa Olutereevu, onoonye ennyumba y’omuntu omu erinnya lye Yuda, omubuuze Sawulo ow’e Taluso. Ali eyo kaakano ng’asaba, kubanga 129:12 Mak 5:23mmulaze mu kwolesebwa omuntu ayitibwa Ananiya ng’ajja gy’ali era ng’amussaako emikono okumusabira amaaso ge galabe.”

139:13 a nny 32; Bar 1:7; 16:2, 15 b Bik 8:3Ananiya n’agamba nti, “Naye Mukama wange, nga mpulidde ebintu ebitali birungi bingi nnyo omuntu oyo by’akoze abakkiriza abali mu Yerusaalemi. 149:14 nny 2, 21Era tuwulira nti yafuna n’ebbaluwa okuva eri Kabona Asinga Obukulu, ng’emuwa obuyinza okukwata buli mukkiriza yenna ali mu Damasiko!”

159:15 a Bik 13:2; Bar 1:1; Bag 1:15 b Bar 11:13; 15:15, 16; Bag 2:7, 8; Bef 3:7, 8 c Bik 25:22, 23; 26:1Naye Mukama n’amugamba nti, “Ggwe genda okole kye ŋŋambye. Kubanga Sawulo mmulonze okutwala erinnya lyange eri Abaamawanga ne bakabaka, era n’eri abaana ba Isirayiri.” 169:16 Bik 20:23; 21:11; 2Ko 11:23-27Era nnaamulaga nga bw’ateekwa okubonaabona ku lw’erinnya lyange.

179:17 Bik 6:6Bw’atyo Ananiya n’agenda n’ayingira mu nnyumba Sawulo mwe yali n’amussaako emikono n’amugamba nti, “Owooluganda Sawulo, Mukama waffe Yesu eyakulabikira mu kkubo ng’ojja antumye gy’oli, oddemu okulaba era ojjuzibwe Mwoyo Mutukuvu.” 18Amangwago ebintu ebyali ng’amagamba ne bigwa okuva ku maaso ga Sawulo n’asobola okulaba, n’ayimirira n’abatizibwa. 199:19 a Bik 11:26 b Bik 26:20N’alya emmere n’afuna amaanyi. N’abeera wamu n’abakkiriza mu Damasiko okumala ennaku eziwerako.

209:20 a Bik 13:5, 14 b Mat 4:3Amangwago Sawulo n’atandika okubuulira mu makuŋŋaaniro ku Yesu nti Yesu Mwana wa Katonda. 219:21 a Bik 8:3 b Bag 1:13, 23Bonna abaamuwulira ne beewuunya, ne beebuuza nti, “Si y’ono eyayigganyanga ennyo abagoberezi ba Yesu mu Yerusaalemi? Ate twawulira nga yeesonga eyamuleeta abakwate abatwale eri bakabona abakulu.” 229:22 Bik 18:5, 28Sawulo ne yeeyongera okubuulira n’amaanyi n’asirisa Abayudaaya abaali mu Damasiko ng’akakasa nti Yesu ye Kristo.

23Bwe waayitawo ebbanga, abakulembeze b’Abayudaaya ne basala olukwe okumutta. 249:24 Bik 20:3, 19Sawulo n’abaako amubuulira ku lukwe lwabwe nga bwe baali bamuteega ku miryango gy’ekibuga emisana n’ekiro bamutemule. 259:25 1Sa 19:12; 2Ko 11:32, 33Awo abayigirizwa ne bamufulumya ebweru w’ekibuga mu kiro nga bamuyisa mu bbugwe, nga bamusizza mu kisero.

269:26 Bik 22:17; 26:20; Bag 1:17, 18Bwe yatuuka e Yerusaalemi n’agezaako okwegatta ku bayigirizwa naye bonna nga bamutya, nga tebakkiriza nti mukkiriza. 279:27 a Bik 4:36 b nny 3-6 c nny 20, 22Naye Balunabba n’amuleeta eri abatume n’abategeeza nga Sawulo bwe yalaba Mukama mu kkubo era n’ayogera nga bwe yabuulira n’obuvumu mu Damasiko mu linnya lya Yesu. 28Ne balyoka bamukkiriza n’abeeranga nabo, n’ayitanga nabo era ng’alya nabo mu Yerusaalemi. N’abuuliranga n’obuvumu erinnya lya Mukama waffe. 299:29 a Bik 6:1 b 2Ko 11:26Naye ne wabaawo okuwakana n’okukubaganya ebirowoozo wakati we n’Abakerenisiti, ne bagezaako okumutta. 309:30 a Bik 1:16 b Bik 8:40 c nny 11Kyokka abooluganda bwe baawulira nga Sawulo ali mu kabi bwe katyo ne bamutwala e Kayisaliya ne bamuweereza e Taluso.

319:31 Bik 8:1Mu kiseera ekyo Ekkanisa n’eba n’emirembe mu Buyudaaya, ne mu Ggaliraaya ne mu Samaliya; ne yeeyongera mu maanyi ne mu muwendo gw’abantu abakkiriza. Ne bayiga okutya Mukama, era Mwoyo Mutukuvu n’abasanyusanga.

Ayineya ne Doluka

329:32 nny 13Peetero n’atambulanga mu bifo bingi; era bwe yali ng’atambula n’asanga abakkiriza mu kibuga ekiyitibwa Luda. 33Eyo yasangayo omuntu erinnya lye Ayineya eyali akoozimbye ng’amaze ku kitanda emyaka munaana nga mulwadde. 349:34 Bik 3:6, 16; 4:10Peetero n’amugamba nti, “Ayineya! Yesu Kristo akuwonya. Golokoka weeyalire!” Amangwago n’awonyezebwa. 359:35 a 1By 5:16; 27:29; Is 33:9; 35:2; 65:10 b Bik 11:21Awo abantu bonna abaabeeranga mu Luda ne mu Saloni ne bakyukira Mukama, bwe baalaba nga Ayineya atambula.

369:36 a Yos 19:46; 2By 2:16; Ezr 3:7; Yon 1:3; Bik 10:5 b 1Ti 2:10; Tit 3:8Mu kibuga Yopa mwalimu omuyigirizwa ayitibwa Tabbiisa, mu Luyonaani ng’ayitibwa Doluka. Yali mukkiriza, bulijjo eyakoleranga abalala ebyekisa n’okusingira ddala abaavu. 379:37 Bik 1:13Mu kiseera ekyo n’alwala nnyo era n’afa. Ne bateekateeka omulambo gwe ne bagugalamiza mu kisenge ekya waggulu. 389:38 Bik 11:26Naye bwe baawulira nga Peetero ali kumpi awo mu kibuga Luda ne bamutumira abasajja babiri ne bamwegayirira ajje e Yopa.

399:39 Bik 6:1N’akkiriza. Amangu ddala nga yaakatuuka ne bamutwala mu kisenge ekya waggulu omulambo gwa Doluka gye gwali gugalamizibbwa. Ekisenge kyali kijjudde bannamwandu abaali bakaaba nga bwe balagaŋŋana ebyambalo Doluka bye yali abakoledde.

409:40 a Mat 9:25 b Luk 22:41; Bik 7:60Peetero n’abasaba bonna bafulume, n’afukamira n’asaba. N’akyukira omulambo n’ayogera nti, “Tabbiisa golokoka.” Tabbiisa n’azibula amaaso, era bwe yalaba Peetero n’atuula. 41Peetero n’amukwata ku mukono amuyambe okuyimuka, n’alyoka ayita abakkiriza ne bannamwandu, n’abamukwasa nga mulamu. 42Amawulire ago ne gayitiŋŋana mu kibuga Yopa kyonna era bangi ne bakkiriza Mukama. 439:43 Bik 10:6Peetero n’abeera e Yopa okumala ebbanga ddene, ng’asula ewa Simooni omuwazi w’amaliba.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

使徒行傳 9:1-43

掃羅歸主

1掃羅繼續用兇狠的話恐嚇主的門徒。他去見大祭司, 2要取得授權書到大馬士革的各會堂搜捕信耶穌的人,無論男女,都要把他們押回耶路撒冷

3當他快到大馬士革的時候,突然有一道光從天上射下來,四面照著他。 4他倒在地上,聽見有聲音對他說:「掃羅掃羅!你為什麼迫害我?」 5他說:「主啊,你是誰?」那聲音說:「我就是你所迫害的耶穌。 6起來!進城去,有人會告訴你該做的事。」

7同行的人站在那裡只聽見聲音,卻看不見人,嚇得張口結舌。 8掃羅爬起來,睜大眼睛,卻什麼也看不見,同伴拉著他的手進了大馬士革9一連三天,掃羅什麼也看不見,也不吃也不喝。

10這時候,在大馬士革有個門徒名叫亞拿尼亞,他在異象中聽見主呼喚他的名字,就回答說:「主啊,我在這裡。」

11主說:「起來,到直街的猶大家去見一個來自大數、名叫掃羅的人,他正在向我禱告。 12我讓他在異象中看見一個名叫亞拿尼亞的人去他那裡,把手按在他身上,使他恢復視力。」

13亞拿尼亞回答說:「主啊!我聽見許多人說他對耶路撒冷的信徒大加迫害。 14他來這裡是得到祭司長的授權,要拘捕所有求告你名的人。」

15主對亞拿尼亞說:「你放心去吧!他是我揀選的器皿,要向外族人、君王和以色列人宣揚我的名。 16我會讓他知道他必為我的名而受許多的苦。」

17亞拿尼亞去了,進了那家,就把手按在掃羅身上,說:「掃羅弟兄,在你來的路上向你顯現的主耶穌派我來使你重見光明、被聖靈充滿。」 18頓時,掃羅的眼睛上有鱗片似的東西脫落,他立刻恢復了視力,便起來接受了洗禮。 19他吃過東西之後,體力也恢復了。他和大馬士革的門徒住了幾天之後, 20便到各會堂去宣講:「耶穌是上帝的兒子。」

21聽的人都大吃一驚,說:「他不就是那在耶路撒冷迫害信徒的人嗎?他到這裡來不是要把大馬士革的信徒押去見祭司長嗎?」

22掃羅越發有能力,引經據典證明耶穌是基督,使大馬士革猶太人驚慌失措。

掃羅逃生

23過了一段日子,猶太人圖謀殺死掃羅24他們晝夜在城門守候,伺機下手,但這陰謀被掃羅知道了。 25他的門徒趁夜間用筐子把他從城牆上縋下去。

26掃羅逃到耶路撒冷後,曾設法與當地的門徒聯絡,可是他們都怕他,不相信他是門徒。 27只有巴拿巴接待他,帶他去見使徒,向他們陳述掃羅如何在路上遇見主,主如何對他說話,他又如何勇敢地在大馬士革奉耶穌的名傳道。 28於是,掃羅就在耶路撒冷與使徒一起出入來往,奉主的名放膽傳道。 29他常常跟那些講希臘話的猶太人辯論,於是他們打算殺掉他。 30弟兄姊妹知道這消息後,就把掃羅帶到凱撒利亞,然後送他到大數去。

31當時,猶太加利利撒瑪利亞各地的教會都很平安,得到了堅固。信徒們非常敬畏主,又得到聖靈的安慰,人數越來越多。

彼得醫治癱子

32彼得四處奔波,來到呂大探訪那裡的信徒, 33遇見一個已經臥床八年、名叫以尼雅的癱子。 34彼得對他說:「以尼雅,耶穌基督已經醫好你了,起來收拾你的墊子吧!」他立刻應聲而起。 35呂大沙崙的居民看見他,都歸向了主。

彼得使死人復活

36約帕有個樂善好施的女信徒名叫戴碧達希臘話叫多加,意思是「羚羊」。 37當時,她患病死了。有人將她的屍體洗乾淨後,停放在樓上。 38呂大約帕相距不遠,門徒聽說彼得呂大,就派兩個人趕去請他立刻來約帕39彼得便隨他們一同到了那裡,有人領他上樓。眾寡婦都站在彼得周圍哭,並把多加生前縫制的內衣、外衣給他看。

40彼得叫她們都出去,自己跪下禱告,然後轉身對死者說:「戴碧達,起來!」她便睜開了眼睛,看見彼得,就坐了起來。 41彼得伸手扶她起來後,叫那些在外面等候的門徒和寡婦進來,把活過來的多加交給他們。 42這事傳遍了整個約帕,許多人都信了主。 43彼得繼續留在約帕,在當地一個名叫西門的皮革匠家住了好些日子。