Ebikolwa byʼAbatume 20 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 20:1-38

Okuyita mu Makedoniya ne mu Buyonaani

120:1 a Bik 11:26 b Bik 16:9Awo akasasamalo bwe kakkakkana, Pawulo n’atumya abayigirizwa, ne bakuŋŋaana, n’ababuulira ekigambo kya Katonda ng’abasiibula n’okubagumya, n’alyoka asitula n’alaga mu Makedoniya. 2N’agenda ng’ayitaayita mu bitundu ebyo ng’ayogera n’abantu ebigambo bingi eby’okubagumya n’okubanyiikiza mu kukkiriza kwabwe. Oluvannyuma n’atuuka mu Buyonaani, 320:3 a nny 19; Bik 9:23, 24; 23:12, 15, 30; 25:3; 2Ko 11:26 b Bik 16:9n’amalamu emyezi esatu. Bwe yali ateekateeka okusaabala ku nnyanja okulaga mu Siriya, n’avumbula olukwe Abayudaaya lwe baali basaze okumutta, kyeyava asalawo okuddayo mu Makedoniya gy’aba ayita. 420:4 a Bik 19:29 b Bik 17:1 c Bik 19:29 d Bik 16:1 e Bef 6:21; Bak 4:7; 2Ti 4:12; Tit 3:12 f Bik 21:29; 2Ti 4:20Abaamuwerekerako mu lugendo olwo okutuuka mu Asiya, be bano: Sopateri Omuberoya mutabani wa Puulo, ne Alisutaluuko ne Sekundo Abasessaloniika, ne Gaayo Omuderube, ne Timoseewo, n’Abasiya, Tukiko ne Tulofiimo. 520:5 a Bik 16:10 b Bik 16:8Oluvannyuma bano bonna ne batukulembera ne batulinda e Tulowa. 620:6 a Bik 16:12 b Bik 16:8Ne tusaabala ku nnyanja okuva e Firipi nga tumaze embaga ey’Emigaati Egitazimbulukuswa, ne tumala ku nnyanja ennaku ttaano, bannaffe ne tubatuukako mu Tulowa ne tumalawo ennaku musanvu.

Pawulo Azuukiza Yutuko mu Tulowa

720:7 1Ko 16:2; Kub 1:10Awo olumu ku nnaku za ssabbiiti, bwe twali tukuŋŋaanye okumenya omugaati, Pawulo n’abaako bye yali abayigiriza. Naye olwokubanga enkeera yali asitula, n’ayogerera ebbanga ddene nnyo, n’atuusa mu ttumbi ng’akyayogera! 820:8 Bik 1:13Mu kisenge ekya waggulu mwe twali tukuŋŋaanidde mwalimu ettaala nnyingi nga zaaka. 9Waaliwo omuvubuka erinnya lye Yutuko, eyali atudde mu ddirisa, otulo ne tumukwata. Pawulo bwe yalwawo ng’akyayogera, omuvubuka ne yeebakira ddala, okutuusa lwe yasimattuka mu ddirisa ku mwaliiro ogwokusatu n’agwa ebweru n’afiirawo. 1020:10 a 1Bk 17:21; 2Bk 4:34 b Mat 9:23, 24Pawulo n’akka wansi n’amusitula n’amuwambaatira mu mikono gye. N’agamba nti, “Temweraliikirira, mulamu!” 1120:11 nny 7Awo bonna ne baddayo waggulu ne bamenya omugaati ne balya. Pawulo ne yeyongera okwogera okutuusiza ddala obudde okukya, n’alyoka asitula n’agenda. 12Ne baddamu amaanyi, n’omuvubuka ne bamutwala eka nga mulamu.

13Awo Pawulo ne tumukulembera ne tusaabala ku nnyanja okulaga mu Aso, Pawulo nga bwe yali ateeseteese, kubanga ye yali ateeseteese kuyita ku lukalu. 14Bwe yatusisinkana mu Aso, ne tutuuka e Mituleene. 1520:15 nny 17; 2Ti 4:20Bwe twava eyo ne tuwunguka olunaku olwaddirira ne tutuuka mu kifo ekyolekedde Kiyo. Ne ku lunaku olwaddirira ne tusala ne tudda e Samo, ne ku lunaku olwaddirira ne tutuuka e Mireeto. 1620:16 a Bik 18:19 b Bik 19:21 c Bik 2:1; 1Ko 16:8Pawulo yali asazeewo obutayimirira mu Efeso nga yeewala okumala ekiseera ekinene mu Asiya, kubanga yali yeeyuna nti ssinga asobola, atuuke mu Yerusaalemi ng’olunaku lwa Pentekoote terunnatuuka.

1720:17 Bik 11:30Bwe yatuuka e Mireeto, n’atumira abakadde b’Ekkanisa ya Efeso bajje bamulabe. 1820:18 Bik 18:19-21; 19:1-41Awo bwe baatuuka Pawulo n’agamba nti, “Mumanyi bulungi ng’okuva ku lunaku lwe natuukirako mu Asiya n’okutuusa leero, 1920:19 nny 3nkoze omulimu gwa Mukama mmuweereza n’obuwombeefu n’amaziga n’okugezesebwa ebyantukako olw’enkwe z’Abayudaaya. 2020:20 nny 27Naye saalekayo kubabuulira bituufu eby’okubayamba, bwe twabanga tukuŋŋaanye oba bwe najjanga mu maka gammwe, 2120:21 a Bik 18:5 b Bik 2:38 c Bik 24:24; 26:18; Bef 1:15; Bak 2:5; Fir 5nga ntegeeza Abayudaaya n’Abayonaani okwenenya badde eri Katonda, n’okuba n’okukkiriza mu Mukama waffe Yesu.

2220:22 nny 16“Ne kaakano laba nsibiddwa Mwoyo Mutukuvu, ŋŋenda e Yerusaalemi nga simanyi binaantukako nga ndi eyo. 2320:23 a Bik 21:4 b Bik 9:16Wabula Mwoyo Mutukuvu antegeeza nti okusibibwa n’okubonyaabonyezebwa binnindiridde mu buli kibuga. 2420:24 a Bik 21:13 b 2Ko 4:1 c Bag 1:1; Tit 1:3Naye obulamu bwange sibutwala kuba nga kya muwendo gye ndi, ndyoke ntuukirize omulimu gwange, n’obuweereza bwe nnaweebwa Mukama waffe Yesu, okutegeezanga Enjiri ey’ekisa kya Katonda.

2520:25 nny 38“Ne kaakano mmanyi nga temukyaddayo kundaba nate, mwenna be natambulamu nga mbuulira obwakabaka. 2620:26 Bik 18:6Noolwekyo mbategeeza leero nti sirina kyenvunaanwa olw’omusaayi gwa bonna, 2720:27 nny 20kubanga sirina na kimu kye nalekayo nga mbabuulira okwagala kwa Katonda. 2820:28 1Pe 5:2Mwekumenga era mukuumenga n’ekisibo kyonna Mwoyo Mutukuvu mwe yabateeka okuba abalabirizi okulabiriranga Ekkanisa ya Katonda gye yeegulira n’omusaayi gwe. 2920:29 a Mat 7:15 b nny 28Mmanyi nga bwe ndigenda, emisege emikambwe giribayingiramu, era tegirisaasira kisibo. 3020:30 Bik 11:26Ne mu mmwe bennyini mulivaamu abasajja aboogera ebintu ebikyamu, okwefunira abayigirizwa abanaabagobereranga. 3120:31 a Bik 19:10 b nny 19Noolwekyo mwekuume. Mujjukire nga bwe nababuulirira nga nkaaba amaziga okumala emyaka esatu, emisana n’ekiro, ne mundeeta n’amaziga.

3220:32 a Bik 14:23 b Bef 1:14; Bak 1:12 c Bik 26:18“Kaakano mbasigira Katonda n’ekigambo eky’ekisa kye ebiyinza okubazimba n’okubawa omugabo mu abo bonna abaatukuzibwa. 3320:33 1Sa 12:3; 1Ko 9:12; 2Ko 7:2Siyaayaaniranga ffeeza newaakubadde zaabu wadde engoye eby’omuntu n’omu. 3420:34 Bik 18:3Mmwe bennyini mumanyi nti neetuusizaako ebyetaago byange n’eby’abo bendi nabo. 35Mbalaze mu buli kintu nga mu kukola n’amaanyi, kibagwanira okuyamba abanafu, ate n’okujjukira ebigambo bya Mukama waffe Yesu bye yayogera nti, ‘Okugaba kwa mukisa okusinga okuweebwa.’ ”

3620:36 Luk 22:41; Bik 21:5Awo Pawulo bwe yamala okwogera ebyo, n’afukamira n’asaba nabo bonna. 3720:37 Luk 15:20Buli omu n’akaaba nnyo amaziga, ne bamugwa mu kifuba okumusiibula, 3820:38 nny 25nga banakuwavu, naye okusinga byonna olw’ekigambo kye yayogera nti, Tebakyaddayo kumulaba. Ne bamuwerekerako ne bamutuusa ku kyombo.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

使徒行傳 20:1-38

保羅再訪馬其頓和希臘

1這場風波平息後,保羅召集眾門徒勉勵一番後,便辭別他們去了馬其頓2他走遍那一帶,用許多勸勉的話鼓勵當地的門徒。之後,他又去希臘3在那裡逗留了三個月。當保羅正要乘船去敘利亞時,聽聞猶太人計劃要害他,就決定經馬其頓回去。 4同他到亞細亞去的人有庇哩亞畢羅斯的兒子所巴特帖撒羅尼迦亞里達古西公都,還有特庇該猶提摩太亞細亞推基古特羅非摩5他們先到特羅亞等候我們。 6除酵節過後,我們從腓立比啟航,五天後在特羅亞和他們會合,大家同住了七天。

猶推古死而復活

7七日的第一日20·7 照猶太人的算法,太陽下山後為一日的開始,基督徒又以禮拜天為一周之始,所以七日的第一日很有可能是禮拜六晚上。,我們聚會掰餅,保羅因為次日要離開,就向他們講道,直到深夜。 8我們聚會的樓上整夜燈火通明。 9有個名叫猶推古的青年坐在窗臺上聽道。保羅講了許久,猶推古不勝困倦睡著了,竟從三樓掉了下去。別人將他抱起來時,他已經死了。 10保羅下去伏在他身上,抱著他對眾人說:「不要驚慌,他還活著!」 11保羅說完就回到樓上,與大家一同掰餅、用餐,又談了很久,直到天亮才離去。 12大家非常欣慰地把活過來的猶推古送回了家。

保羅告別以弗所的眾長老

13我們照保羅的吩咐先乘船到亞朔預備在那裡接他,他打算由陸路步行到那裡。 14他到了亞朔,我們接他上船,一同前往米推利尼15我們從米推利尼啟航,第二天到了基阿附近,第三天到達撒摩,第四天在米利都停泊。 16保羅急於趕回耶路撒冷,希望在五旬節前趕到,所以決定不去以弗所,免得在亞細亞境內耽誤太久。

17保羅米利都派人到以弗所請教會的長老前來與他相會。 18他們都來了,保羅說:「各位,自從我踏進亞細亞那天起,在你們當中為人如何,你們都很清楚。 19我含著眼淚謙卑地事奉主,又遭到猶太人的迫害,歷盡艱辛。 20你們也知道,凡是對你們有益的事,我沒有避而不宣,我總是在公開場合和各人家中教導你們。 21我勸猶太人和希臘人都要悔改,歸向上帝,信靠主耶穌基督。 22現在,我在聖靈的催促下去耶路撒冷,不知道在那裡會發生什麼事, 23只知道聖靈在各城鎮指示我,前面必有監禁和苦難等著我。 24不過,哪怕是犧牲性命,我也在所不辭,只盼望我能跑完當跑的路程,完成主耶穌交託給我的使命,為上帝充滿恩典的福音做見證。

25「我一向在你們中間傳揚上帝的國,如今我知道,以後你們再也見不到我的面了。 26所以今天我向你們聲明,將來你們有誰滅亡,與我無關。 27因為上帝的整個計劃,我沒有向你們避而不宣。 28你們要為自己,也要為教會的群羊警醒,因為聖靈已經任命你們做群羊的監督,牧養上帝的教會。教會是主用自己的血贖回來的。 29我知道,在我離開以後,一定會有兇惡的豺狼闖進你們中間,殘害羊群。 30就是你們中間也會有人起來歪曲真理,引誘門徒跟隨他們。 31所以你們一定要警醒,牢記這三年來我怎樣晝夜不住地流著淚勸誡你們。

32「現在,我把你們交託給上帝和祂充滿恩典的道,這道能造就你們,使你們與一切聖潔的人同得產業。 33我從未貪圖別人的金銀和衣服, 34你們都知道,我親手做工養活自己和同工。 35我凡事以身作則,教導你們勤奮工作,幫助軟弱的人,並牢記主耶穌的話,『施比受更有福。』」

36保羅說完這番話,就和大家一同跪下禱告。 37眾人都哭了,抱著保羅與他親吻, 38最使他們傷心的就是他說「你們再也見不到我的面了」。最後,眾人送他上了船。