Ebikolwa byʼAbatume 2 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Ebikolwa byʼAbatume 2:1-47

Mwoyo Mutukuvu ajja ku Pentekoote

12:1 a Lv 23:15, 16; Bik 20:16 b Bik 1:14Awo olunaku lwa Pentekoote bwe lwatuuka bonna baali bakuŋŋaanidde mu kisenge kimu. 22:2 Bik 4:31Amangwago okuwuuma, nga kuli ng’empewo ey’amaanyi ennyo ekunta, ne kuva mu ggulu, ne kujjula mu nnyumba yonna mwe baali batudde. 3Ku buli omu ne kutuulako ennimi ng’ez’omuliro. 42:4 Mak 16:17; 1Ko 12:10Bonna ne bajjuzibwa Mwoyo Mutukuvu, ne batandika okwogera ennimi ez’enjawulo nga Mwoyo Mutukuvu bwe yabasobozesa.

52:5 Bik 8:2Waaliwo Abayudaaya bangi abatya Katonda abaali bazze mu Yerusaalemi nga bavudde mu buli ggwanga wansi w’eggulu. 6Bwe baawulira okuwuuma okwo, ekibiina kinene ne kikuŋŋaana, ne beewuunya okuwulira nga buli muntu awulira olulimi lw’ewaabwe. 72:7 a nny 12 b Bik 1:11Ne bawuniikirira ne beewuunya ne bagamba nti, “Bano bonna aboogera si Bagaliraaya? 8Kale lwaki tuwulira buli muntu olulimi lw’ewaffe gye twazaalibwa? 92:9 a 1Pe 1:1 b Bik 18:2 c Bik 16:6; Bar 16:5; 1Ko 16:19; 2Ko 1:8Tubawulira nga boogera eby’amagero bya Katonda mu nnimi ez’Abapaazi, n’Abameedi, n’Abeeramiti, n’ez’abalala abava e Mesopotamiya, ne Buyudaaya, ne Kapadokiya, mu Ponto ne mu Asiya, 102:10 a Bik 16:6; 18:23 b Bik 13:13; 15:38 c Mat 27:32ne mu Fulugiya ne mu Panfuliya, n’abamu abava mu Misiri, n’ensi za Libiya okuliraana Kuleene, n’abagenyi Abaruumi, 11Abayudaaya, n’abakyuka ne basoma Ekiyudaaya, n’Abakuleete n’Abawalabu.” 12Bonna ne beewuunya nga bawuniikiridde, ne bagambagana nti, “Kino kitegeeza ki?”

132:13 1Ko 14:23Naye abalala ne baseka busesi nga bagamba nti, “Banywedde mwenge musu!”

Okwogera kwa Peetero

14Awo Peetero n’asituka n’abatume ekkumi n’omu, n’asitula ku ddoboozi n’ayogera eri ekibiina, n’abagamba nti, “Abasajja Abayudaaya, nammwe mwenna ababeera mu Yerusaalemi, mutegeere bino era mumpulirize. 152:15 1Bs 5:7Abantu bano tebatamidde nga bwe mulowooza, kubanga essaawa ziri ssatu ez’enkya! 16Naye kino kye kyayogerwako nnabbi Yoweeri nti,

172:17 a Is 44:3; Yk 7:37-39; Bik 10:45 b Bik 21:9“ ‘Olulituuka mu nnaku ez’oluvannyuma,

bw’ayogera Katonda,

ndifuka Omwoyo wange ku balina omubiri bonna. Batabani bammwe ne bawala bammwe baliwa obunnabbi;

n’abavubuka bammwe balyolesebwa,

n’abakadde baliroota ebirooto.

182:18 Bik 21:9-12Mu biro ebyo ndifuka Omwoyo wange,

ku baweereza bange abasajja n’abakazi;

baliwa obunnabbi.

19Era ndikola ebyamagero mu ggulu waggulu,

n’obubonero ku nsi wansi,

omusaayi n’omuliro n’ekikoomi eky’omukka.

202:20 Mat 24:29Enjuba erifuuka ekizikiza,

n’omwezi gulimyuka ng’omusaayi,

olunaku lwa Mukama olukulu era olw’ekitiibwa nga terunnatuuka.

212:21 Bar 10:13Na buli muntu alikoowoola erinnya lya Mukama,

alirokolebwa.’ 

222:22 a Yk 4:48; Bik 10:38 b Yk 3:2“Abasajja Abayisirayiri, muwulirize ebigambo bino! Yesu Omunnazaaleesi omuntu Katonda gwe yakakasa gye muli n’ebyamagero eby’ekitalo, Katonda bye yamukozesanga ng’ali mu mmwe, nga mwenna bwe mumanyi. 232:23 a Luk 22:22; Bik 3:18; 4:28 b Luk 24:20; Bik 3:13Naye ng’enteekateeka ya Katonda bwe yali, omuntu oyo yaweebwayo mu mikono gy’abantu abatagoberera mateeka, ne mumutta nga mumukomeredde ku musaalaba. 242:24 a nny 32; 1Ko 6:14; 2Ko 4:14; Bef 1:20; Bak 2:12; Beb 13:20; 1Pe 1:21 b Yk 20:9Kyokka Katonda yamuzuukiza ng’asaanyizaawo obulumi bw’okufa, kubanga okufa tekwayinza kumunyweza. 252:25 a Bik 4:36 b Bik 11:30 c nny 12Kubanga Dawudi amwogerako nti,

“ ‘Nalaba nga Mukama ali nange bulijjo,

kubanga ali ku mukono gwange ogwa ddyo,

nneme okusagaasagana.

26Noolwekyo omutima gwange kyeguvudde gusanyuka, n’olulimi lwange ne lukutendereza.

Era n’omubiri gwange gunaabeeranga mu ssuubi.

272:27 nny 31; Bik 13:35Kubanga tolireka mwoyo gwange kuzikirira

so toliganya mutukuvu wo kuvunda.

28Wandaga amakubo g’obulamu,

era olinzijuza essanyu nga ndi mu maaso go.’ 

292:29 a Bik 7:8, 9 b 1Bk 2:10; Bik 13:36 c Nek 3:16“Abasajja abooluganda, nnyinza okwogera n’obuvumu gye muli ku bifa ku jjajjaffe Dawudi nga yafa n’aziikibwa, era n’amalaalo ge weegali ne kaakano. 302:30 2Sa 7:12; Zab 132:11Naye Dawudi yali nnabbi, n’amanya nga Katonda yamulayirira ekirayiro, nti mu bibala eby’omu ntumbwe ze mwe muliva alituula ku ntebe ey’obwakabaka bwe, 312:31 Zab 16:10bwe yakiraba olubereberye nayogera ku kuzuukira kwa Kristo nga teyalekebwa magombe so nga n’omubiri gwe tegwavunda. 322:32 a nny 24 b Bik 1:8Yesu oyo Katonda yamuzuukiza, era ffe ffenna tuli bajulirwa. 332:33 a Baf 2:9 b Mak 16:19 c Bik 1:4 d Yk 7:39; 14:26 e Bik 10:45Awo bwe yagulumizibwa n’alaga ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda, n’aweebwa Mwoyo Mutukuvu eyamusuubizibwa Kitaffe, n’alyoka atuwa kino nammwe kye mwerabiddeko era kye mwewuliriddeko. 34Kubanga Dawudi teyalinnya mu ggulu, naye agamba nti,

“ ‘Mukama yagamba Mukama wange nti,

“Tuula ku mukono gwange ogwa ddyo,

352:35 Zab 110:1; Mat 22:44okutuusa lwe ndifuula abalabe bo entebe y’ebigere byo.” ’

362:36 Luk 2:11“Noolwekyo ennyumba yonna eya Isirayiri, bamanyire ddala nti oyo Yesu gwe mwakomerera ku musaalaba, Katonda yamufuula Mukama era Kristo!”

372:37 Luk 3:10, 12, 14Awo bwe baawuulira ebigambo ebyo, emitima ne gibaluma, ne bagamba Peetero n’abatume abalala, nti, “Abooluganda, kiki kye tusaanidde okukola?”

382:38 a Bik 8:12, 16, 36, 38; 22:16 b Luk 24:47; Bik 3:19Peetero n’abagamba nti, “Mwenenye, buli omu ku mmwe abatizibwe mu linnya lya Yesu Kristo musonyiyibwe ebibi byammwe, olwo nammwe mujja kufuna ekirabo ekya Mwoyo Mutukuvu. 392:39 a Is 44:3 b Bik 10:45; Bef 2:13Kubanga ekisuubizo kiri eri mmwe n’eri abaana bammwe, n’eri bonna abali mu nsi ezeewala abalikoowoola Mukama Katonda waffe.”

402:40 Ma 32:5Awo Peetero n’abategeeza mu bigambo ebirala bingi n’ababuulira ng’agamba nti mulokolebwe okuva mu mulembe guno ogwakyama. 41Awo abo abakkiriza ebigambo bye ne babatizibwa ku lunaku olwo ne beeyongerako ng’enkumi ssatu.

Obulamu bw’Abakkiriza

422:42 Bik 1:14Ne banyiikiranga okuyigirizibwa kw’abatume ne mu kussekimu, ne mu kumenya omugaati era ne mu kusaba. 432:43 Bik 5:12Buli muntu n’ajjula okutya era ebyamagero bingi n’obubonero bungi ne bikolebwanga abatume. 442:44 Bik 4:32Abakkiriza ne bakuŋŋaananga bulijjo mu kifo kimu, ne baba nga bassa kimu mu byonna. 452:45 Mat 19:21Eby’obugagga byabwe n’ebintu bye baalina ne babitunda ne bagabira buli muntu ng’okwetaaga kwe bwe kwabanga. 462:46 a Luk 24:53; Bik 5:21, 42 b Bik 20:7Ne banyiikiranga okukuŋŋaananga mu Yeekaalu buli lunaku, era ne bakuŋŋaananga ne mu maka gaabwe nju ku nju okumenya omugaati, ne baliiranga wamu emmere yaabwe n’essanyu lingi n’omutima ogutalina bukuusa, 472:47 a Bar 14:18 b nny 41; Bik 5:14nga batendereza Katonda, era nga basiimibwa abantu bonna. Mukama n’abongerangako bulijjo abaalokolebwanga.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

使徒行傳 2:1-47

聖靈降臨

1五旬節那天,門徒聚集在一起。 2忽然,天上發出一陣響聲,好像狂風呼嘯而過,充滿了他們所在的房子, 3又有火焰般的舌頭顯現出來,分別落在各人的頭上。 4大家都被聖靈充滿,得到聖靈所賜的才能,說起別的語言來。

5當時耶路撒冷住著從各國回來的虔誠的猶太人。 6眾人聽見這陣響聲便趕過來,聽見門徒在說他們各自的語言,都十分納悶, 7驚詫地說:「看啊!這些說話的不都是加利利人嗎? 8怎麼會說我們各自的語言呢? 9我們這裡有帕提亞人、瑪代人、以攔人,以及住在美索不達米亞猶太加帕多迦本都亞細亞10弗呂迦旁非利亞埃及和靠近古利奈利比亞的人,還有從羅馬來的猶太人和改信猶太教的人、 11克里特人和阿拉伯人。我們都聽見他們在用我們各自的語言訴說上帝的偉大!」 12他們都大感驚奇和困惑,彼此議論說:「這到底是怎麼回事?」

13有些人就譏笑說:「他們不過是被新酒灌醉了!」

彼得講道

14彼得和其他十一位使徒都站起來,他大聲對眾人說:「各位猶太同胞和住在耶路撒冷的人啊,請留心聽!我告訴你們這是怎麼回事。 15你們以為這些人是醉了,其實不是,因為現在才早上九點鐘。 16你們眼前看見的正是先知約珥所說的,

17『上帝說,在末後的日子,

我要將我的靈澆灌所有的人,

你們的兒女要說預言,

青年要見異象,

老人要做異夢。

18那時,我要將我的靈澆灌我的奴僕和婢女,

他們都要說預言。

19在天上,我要顯異兆;

在地上,我要行神蹟,有血、有火、有濃煙。

20太陽要變得昏暗,

月亮要變得血紅。

這都要發生在主偉大榮耀的日子來臨以前。

21那時,凡求告主名的,都必得救。』

22「各位以色列人啊,請留心聽。上帝藉著拿撒勒人耶穌在你們中間行了異能、奇事和神蹟,以證明拿撒勒人耶穌是祂派來的。這是你們都知道的。 23上帝照著自己的計劃和預知把耶穌交在你們手裡,你們藉著邪惡之人的手把祂釘死在十字架上了。 24但上帝為祂解除了死亡的痛苦,使祂從死裡復活,因為祂不可能被死亡拘禁。 25論到耶穌,大衛曾說,

『我看見主常在我面前,

祂在我右邊,我必不動搖。

26因此我的心歡喜,我的口頌讚,

我的身體也要活在盼望中。

27因為你不會把我的靈魂撇在陰間,

也不會讓你的聖者身體朽壞。

28你已把生命之路指示我,

叫我在你面前充滿喜樂。』

29「弟兄們,我肯定地對你們說,先祖大衛死了,埋葬了,他的墳墓至今還在這裡。 30大衛是先知,知道上帝曾起誓要從他的後裔中選立一人繼承他的王位。 31他預先知道這事,講到基督的復活,說,『祂的靈魂不會被撇在陰間,祂的身體也不會朽壞』。 32上帝已經使這位耶穌復活了!我們都是這件事的見證人。 33現在祂升到上帝的右邊,從天父領受了所應許的聖靈,並將聖靈澆灌下來,你們今天也耳聞目睹了。 34大衛並沒有升到天上,但他曾說,

『主對我主說,

你坐在我的右邊,

35等我使你的仇敵成為你的腳凳。』

36「所以,全體以色列人啊!你們應當確實地知道,上帝已經立這位被你們釘在十字架上的耶穌為主,為基督了。」

37他們聽了彼得的話,覺得扎心,就對彼得和其他使徒說:「弟兄們,我們該怎麼辦呢?」 38彼得說:「你們每一個人都要悔改,奉耶穌基督的名受洗,使你們的罪得到赦免,你們就必領受上帝所賜的聖靈。 39因為這應許是給你們和你們的兒女,以及遠方的人,就是所有被主——我們的上帝呼召的人。」

40然後,彼得還講了許多話警戒、勸勉他們,說:「你們要保守自己脫離這邪惡的世代。」

41結果,那天約有三千人相信了他傳的道,接受了洗禮。 42他們都一心遵守使徒的教導,一起團契、掰餅、禱告。

43大家都滿心敬畏上帝。使徒又行了很多神蹟奇事。 44信徒聚在一起,共用所有的東西。 45他們把田產家業變賣了,按照各人的需要把錢分給大家。 46他們天天同心合意地聚集在聖殿裡敬拜上帝,又在各人家中擘餅聚會,以歡喜、慷慨的心分享食物, 47讚美上帝,受到眾人的喜愛。主使得救的人數與日俱增。