Danyeri 8 – LCB & CCBT

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 8:1-27

Okwolesebwa kwa Danyeri okw’Endiga Ennume n’Embuzi Ennume

1Mu mwaka ogwokusatu mu mirembe gya Kabaka Berusazza, nze Danyeri ne nfuna okwolesebwa oluvannyuma olwa kuli okwasooka. 28:2 a Es 1:2 b Lub 10:22Mu kwolesebwa okwo ne ndaba nga ndi mu kibuga ekikulu Susani mu ssaza Eramu, nga ndi ku mabbali g’omugga Ulaayi. 38:3 Dan 10:5Ne nnyimusa amaaso gange ne ndaba, laba, endiga ennume eyalina amayembe abiri, n’amayembe ago gombi nga mawanvu naye erimu nga lisinga linnaalyo obuwanvu, ate nga lyo lyakula luvannyuma. 48:4 Dan 11:3, 16Ne ndaba endiga ennume ng’etomera edda ku luuyi olw’ebugwanjuba n’eri obukiikakkono, ne ku luuyi olw’obukiikaddyo. Ne wataba nsolo nkambwe n’emu egisinza amaanyi, ate nga mpaawo ayinza kuwona maanyi gaayo. N’ekola nga bwe yayagala era ne yeefuula ya kitalo.

5Awo bwe nnali nkyalowooza ku ebyo, amangwago ne walabika embuzi ennume eyalina ejjembe eddene mu kyenyi ng’eva ebugwanjuba, n’esala okuva ku luuyi olumu olw’ensi, okulaga ku luuyi olulala nga terinnye ku ttaka. 6N’erumba n’obusungu bungi endiga ennume eyalina amayembe abiri, gye nalaba ng’eyimiridde ku mabbali g’omugga. 78:7 Dan 7:7Ne ngiraba ng’esemberera endiga eyo ennume, mu busungu obungi n’egitomera era n’emenya amayembe gaayo gombi; endiga ennume n’eggwaamu amaanyi n’eteyinza kwetaasa, embuzi ennume n’egikoona n’egwa wansi n’egirinnyirira, ne wataba n’omu eyayinza okuwonya endiga ennume eyo mu maanyi g’embuzi ennume. 88:8 a 2By 26:16-21; Dan 5:20 b Dan 7:2; Kub 7:1Embuzi ennume ne yeegulumiza nnyo, naye mu maanyi gaayo amangi, ejjembe lyayo eddene ne limenyeka, we lyali amayembe ana agalabika obulungi ne gamerawo nga gadda eri embuyaga ennya ez’omu ggulu.

98:9 Dan 11:16Mu ago ne muva ejjembe eddala ettono, ne likula mu maanyi mangi okwolekera obukiikaddyo, n’ebuvanjuba n’eri ensi ey’ekitalo ennungi. 108:10 a Is 14:13 b Kub 12:4 c Dan 7:7Ne likula ne lituuka eri eggye ery’omu ggulu, ne lisuula abamu ku b’eggye n’emmunyeenye ezimu wansi ku nsi, ne libirinnyirira. 118:11 a Dan 11:36-37 b Ez 46:13-14 c Dan 11:31; 12:11Ne lyegulumiza okwenkanankana omukulu w’eggye, ne limuggyako ekiweebwayo ekyokebwa, n’ekifo eky’awatukuvu ne lyonoonawo. 12Olw’obujeemu eggye awamu n’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku ne biriweebwa. Amazima ne gasuulibwa wansi, ne buli kye lyakolanga ne kiba kya mukisa.

138:13 a Dan 4:23 b Dan 12:6 c Luk 21:24; Kub 11:2Ne mpulira omutukuvu ng’ayogera, n’omutukuvu omulala n’agamba oyo eyayogera nti, “Okwolesebwa okwogera ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli lunaku, ne ku bujeemu okuleeta okwonoona okungi, ne ku kuwaayo okwa watukuvu, ne ku batukuvu abalinnyirirwa, kulituukirira ddi era ebyo byonna birikoma ddi?”

148:14 Dan 12:11-12N’aŋŋamba nti, “Okutuusa ng’ennaku enkumi bbiri mu bisatu ziyiseewo.”

Amakulu g’Okwolesebwa

158:15 a nny 1 b Dan 10:16-18Awo nze Danyeri bwe namala okufuna okwolesebwa okwo nga nkyagezaako okutegeera amakulu gaakwo, laba ne wayimirira mu maaso gange ekifaananyi ng’eky’omusajja. 168:16 Dan 9:21; Luk 1:19Ne mpulira eddoboozi ly’omusajja emitala w’omugga Ulaayi, eryakoowoola, ne lyogera nti, “Gabulyeri, tegeeza omusajja oyo amakulu g’okwolesebwa okwo.”

178:17 a Ez 1:28; Dan 2:46; Kub 1:17 b Kbk 2:3Awo n’asembera okumpi ne we nnali nnyimiridde, ne ntya, ne neeyala wansi. Naye n’aŋŋamba nti, “Tegeera, ggwe omwana w’omuntu, ng’okwolesebwa, kwogera ku biro eby’enkomerero.”

188:18 a Dan 10:9 b Ez 2:2; Dan 10:16-18Awo bwe yali akyayogera nange, ne nkwatibwa otulo otungi ennyo, ng’amaaso gange nga ngavuunise ku ttaka, ye n’ankwatako n’angolokosa.

198:19 Kbk 2:3N’ayogera nti, “Laba, ndikumanyisa ebiribaawo mu biro eby’enkomerero eby’okubonaabona, kubanga okwolesebwa kwogera ku kiseera ekyalondebwa eky’enkomerero. 20Endiga ennume gye walaba ey’amayembe abiri, be bakabaka ab’Obumeedi, n’Obuperusi. 218:21 a Dan 10:20 b Dan 11:3N’embuzi ennume endaawo ye kabaka w’e Buyonaani, n’ejjembe eddene eriri mu kyenyi kyayo ye kabaka ow’olubereberye. 22N’amayembe ana agadda mu kifo kyalyo nga limenyese, bwe bwakabaka obuna obuliva mu ggwanga lye, naye tebuliba na buyinza bwe bumu ng’obubwe.

23“Mu biro eby’enkomerero eby’okufuga kwabwe, abajeemu nga batandise okusobya ennyo, kabaka omuzira ate omukambwe, ng’alina obukoddyo bungi alivaayo. 248:24 Dan 7:25; 11:36Aliba n’amaanyi mangi, naye si lwa buyinza bwe ye, era alireeta entiisa nnene, era aliba wa mukisa mu buli ky’akola. Alizikiriza abantu ab’amaanyi n’abantu abatukuvu. 258:25 a Dan 11:36 b Dan 2:34; 11:21Aliba mulimba nnyo, n’aleetera obulimba okweyongera, era alyegulumiza nnyo. Aligwikiriza abantu bangi n’abazikiriza, era n’alumba n’Omukulu w’abalangira. Wabula naye alizikirizibwa so si n’amaanyi ag’obuntu.

268:26 a Dan 10:1 b Kub 22:10 c Dan 10:14“Okwolesebwa okukwata ku biro eby’oku makya ne ku by’akawungeezi, kwe wafuna kwa mazima, naye sirikira okwolesebwa okwo, kubanga kwogera ku biro ebigenda okujja.”

278:27 a Dan 2:48 b Dan 7:28Nze Danyeri ne mpulira nga nkooye nnyo era ne ndwala okumala ennaku. N’oluvannyuma nga nzisuuse ne nzira ku mirimu gya kabaka, kyokka okwolesebwa okwo ne kuntawanya nnyo mu mutima, ate nga sitegeera makulu gaakwo.

Chinese Contemporary Bible (Traditional)

但以理書 8:1-27

公綿羊和公山羊的異象

1在看見先前的異象之後,我但以理伯沙撒王執政第三年又看見一個異象。 2我在異象中看見自己在以攔省的書珊城,又看見自己站在烏萊河畔。 3我舉目觀看,見一隻長著長角的公綿羊站在河邊,其中一角比另一角長,較長的角是後長出來的。 4我看見這公綿羊向西方、北方和南方頂撞,沒有獸能抵擋牠,或逃脫牠的威力。牠隨心所欲,狂妄自大。

5我正沉思的時候,忽然從西面出現一隻公山羊,穿越大地,腳不沾地。牠雙眼之間有一個大角。 6這公山羊來到我之前看見的那隻站在河邊的雙角公綿羊那裡,憤怒地向牠頂去。 7我看見公山羊憤怒地頂向公綿羊,攻擊牠,折斷了牠的雙角。公綿羊無力抵擋,被撞倒在地,踐踏在腳下,無人能救牠脫離公山羊的威力。 8公山羊極其狂妄自大。但正值鼎盛之時,牠的大角突然折斷,在原處又長出四個奇特的角,朝著天的四方。 9其中一個角又長出一個小角,向南方、東方和佳美之地8·9 佳美之地」指以色列,下同11·1641擴張勢力。 10它逐漸強大,高及天軍,將一些天軍和星宿拋到地上,用腳踐踏。 11它狂妄自大,要與天軍的統帥比高,它廢除日常獻給祂的祭,毀壞祂的聖所。 12因為反叛的緣故,天軍和日常所獻的祭都交給了它。它將真理拋在地上,它所行的無不順利。

13接著,我聽見一位聖者在說話,另一位聖者問他:「異象中出現的有關日常所獻的祭,毀滅性的反叛和踐踏聖所及天軍的事要持續多久呢?」 14他對我說:「兩千三百個晝夜。之後,聖所才會潔淨。」

解釋異象

15但以理看見這異象,正想明白它的意思,忽然有一個外貌像人的站在我面前。 16我聽見有人聲從烏萊河兩岸之間呼喊:「加百列啊,要讓此人明白這異象。」 17於是,他朝我站的地方走來,當他走來的時候,我嚇得俯伏在地。他對我說:「人子啊,你要明白,這異象是關於末後的時期。」 18他和我說話的時候,我伏在地上昏睡過去,他便輕拍我,扶我起來, 19對我說:「我要告訴你將來上帝發烈怒時所發生的事,因為這異象是關於那定好的末後時期。 20你看見的那隻有兩角的公綿羊指瑪代波斯的諸王。 21公山羊指希臘王,在牠雙眼之間的大角指第一個王。 22大角折斷後,從原處長出四個角表示四個國必從這國興起,但都不及這國強大。 23在四國的末期,人們惡貫滿盈的時候,必有一個面貌兇惡、詭計多端的王興起。 24他勢力強大,卻不是靠自己的力量。他必帶來可怕的毀滅,而且凡事亨通,他必毀滅強者和聖民。 25他利用詭計和騙術得逞,心高氣傲,乘人不備突然毀滅許多人,甚至要攻擊萬君之君,然而他終必被擊垮,但並非被人的手擊垮。 26異象中所說的兩千三百個晝夜是真的。但你要保密,不可告訴別人,因為這指的是遙遠的將來。」

27但以理精疲力盡,病了幾天。後來我起來照常辦理王的事務,但我對這異象感到驚奇不已,不明白它的意思。