Danyeri 7 – LCB & NIVUK

Luganda Contemporary Bible

Danyeri 7:1-28

Ekirooto kya Danyeri eky’Ensolo Ennya

17:1 a Dan 5:1 b Dan 1:17 c Yer 36:4Mu mwaka ogw’olubereberye ogw’obufuzi bwa Berusazza kabaka w’e Babulooni, Danyeri n’aloota era n’ayolesebwa ng’agalamidde ku kitanda kye. N’awandiika byonna bye yaloota.

27:2 Kub 7:1Danyeri n’ayogera nti, “Mu kwolesebwa kwange ekiro, nalaba empewo ez’omu ggulu nnya nga zisiikuula ennyanja ennene, 37:3 Kub 13:1n’ensolo enkambwe nnya ez’ebika eby’enjawulo ne ziva mu nnyanja.

47:4 a Yer 4:7 b Ez 17:3“Eyasooka yali mpologoma ng’erina ebiwaawaatiro eby’empungu. Awo bwe nnali nga nkyagitunuulira, ebiwaawaatiro byayo ne bigikuunyuukako, n’esitulibwa, n’eyimirira ku magulu abiri ng’omuntu, n’eweebwa omutima ogw’omuntu.

57:5 Dan 2:39“Ate ne ndaba ensolo enkambwe eyookubiri, eyali ng’eddubu. N’esitulibwa ku luuyi olumu era yalina embiriizi ssatu mu kamwa kaayo, n’eragirwa nti, ‘Situka olye ennyama nnyingi.’

67:6 Kub 13:2“Oluvannyuma ne ndaba ensolo enkambwe endala eyali ng’engo, ng’erina ebiwaawaatiro bina eby’ennyonyi, ng’erina n’emitwe ena, n’eweebwa n’obuyinza okufuga.

77:7 a Dan 2:40 b Kub 12:3“N’oluvannyuma mu kwolesebwa kwange ekiro, ne ndaba ensolo enkambwe eyokuna, nga ya ntiisa, nga ya buyinza era nga ya maanyi mangi nnyo. Yalina amannyo amanene ag’ekyuma, n’erya n’ebetenta, n’erinnyirira ebyasigalawo. Yali yanjawulo ku nsolo enkambwe endala, ng’erina n’amayembe kkumi.

87:8 a Dan 8:9 b Kub 9:7 c Zab 12:3; Kub 13:5-6“Awo bwe nnali nga nkyalowooza ku mayembe, ne walabika mu maaso gange ejjembe eddala, ettono, eryava mu ago; n’amayembe asatu ku ago ag’olubereberye ne gasimbulirwa ddala. Ejjembe eryo lyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’akamwa akaayogeranga eby’okwegulumiza.

97:9 a Kub 1:14 b Ez 1:15; 10:6“Era nga nkyali awo ne ndaba,

“entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo,

n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka.

Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira,

n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga.

Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro,

ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro.

107:10 a Zab 50:3; 97:3; Is 30:27 b Ma 33:2; Zab 68:17; Kub 5:11 c Kub 20:11-15Omugga gw’omuliro nga gukulukuta,

nga gukulukutira awo mu maaso ge.

Abantu nkumi na nkumi baamuweerezanga,

n’emitwalo n’emitwalo baayimiriranga mu maaso ge.

Okuwozesa emisango ne kutandika,

ebitabo ne bibikkulwa.

117:11 Kub 19:20“Awo ne neyongera okwetegereza ebigambo eby’okwegulumiza, ejjembe lye byayogeranga. Ne ntunula okutuusa ensolo enkambwe bwe yafumitibwa n’ettibwa, n’esuulibwa mu muliro, n’ezikirizibwa. 12Ensolo enkambwe endala zo zaggibwako obuyinza bwazo, kyokka ennaku zaazo ne zongerwako.

137:13 a Mat 8:20*; Kub 1:13* b Mat 24:30; Kub 1:7“Mu kwolesebwa okwo ekiro ne ndaba, laba, omuntu eyafaanana ng’omwana w’omuntu, ng’ajja n’ebire eby’omu ggulu. N’ajja okumpi n’Owedda n’Edda, n’asembezebwa mu maaso ge. 147:14 a Mat 28:18 b Zab 72:11; 102:22; 1Ko 15:27; Bef 1:22 c Dan 2:44; Beb 12:28; Kub 11:15N’aweebwa obuyinza, n’ekitiibwa, n’obwakabaka n’amaanyi agava waggulu; abantu bonna, n’amawanga gonna, n’abantu ab’ennimi zonna ne bamusinzanga. Okufuga kwe kwa mirembe na mirembe, tekuliggwaawo, n’obwakabaka bwe tebulizikirizibwa.

Amakulu g’Ekirooto

157:15 Dan 4:19“Nze Danyeri ne ntawaanyizibwa mu mutima, n’okwolesebwa kwe nafuna ne kunneeraliikiriza. 167:16 Dan 8:16; 9:22; Zek 1:9Ne nsemberera omu ku baali bayimiridde awo ne mubuuza amakulu g’ebyo byonna.

“N’antegeeza amakulu g’ebintu ebyo, n’aŋŋamba nti, 17‘Ensolo enkambwe ezo ennya, be bakabaka abana abalisibuka mu nsi. 187:18 Is 60:12-14; Kub 2:26; 20:4Naye abatukuvu ab’Oyo Ali Waggulu Ennyo baliweebwa obwakabaka, era buliba bwabwe emirembe n’emirembe, weewaawo okutuusa emirembe gyonna.’

19“Awo ne njagala okumanya ensolo enkambwe eyokuna ky’etegeeza, etaafaanana ng’endala zonna, eyali ey’entiisa ennyo, amannyo gaayo nga ga kyuma, n’enjala zaayo nga za kikomo, eyabetenta, n’emenyaamenya era n’erinnyirira ezaasigalawo. 20Ate ne njagala n’okumanya ku by’amayembe ekkumi agaali ku mutwe gwayo, ne ku by’ejjembe liri eddala eryasibuka wakati mu go, asatu ne galivuunamira, ejjembe eryo lye lyalina amaaso n’akamwa akayogeranga eby’okwegulumiza, era mu buyinza nga lirabika okusinga ganne gaalyo. 217:21 Kub 13:7Awo bwe nnali nkyatunula, ejjembe eryo ne lirwana n’abatukuvu ne lyagala okubawangula, 22okutuusa ow’Edda n’Edda bwe yajja n’asala omusango, abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo ne bagusinga, era n’ekiseera ne kituuka ne baweebwa obwakabaka.

237:23 Dan 2:40“N’annyinnyonnyola nti, ‘Ensolo enkambwe eyokuna bwe bwakabaka obwokuna obulirabika ku nsi, era tebulifaanana ng’obwakabaka obulala; era bulirya ensi yonna, ne bugirinnyirira ne bugibetentabetenta. 247:24 Kub 17:12Amayembe ekkumi, be bakabaka ekkumi abaliva mu bwakabaka obwo, era walirabikawo n’omulala oluvannyuma lw’abo, atalifaanana ng’aboolubereberye. Aliwangula bakabaka basatu. 257:25 a Is 37:23; Dan 11:36 b Dan 2:21 c Dan 8:24; 12:7; Kub 12:14Alyogera ebigambo ebibi ku Oyo Ali Waggulu Ennyo, era aligezaako okukyusakyusa ebiseera ebyateekebwawo n’amateeka agassibwawo. Era abatukuvu baliweebwayo mu mukono gwe okufugibwa okumala emyaka esatu n’ekitundu.

26“ ‘Kyokka oluvannyuma omusango gulisalibwa, n’obuyinza bwe ne bumuggyibwako, ne buzikiririzibwa ddala. 277:27 a Dan 2:44; 4:34; Luk 1:33; Kub 11:15; 22:5 b Zab 22:27; 72:11; 86:9N’oluvannyuma ekitiibwa, n’obuyinza n’obukulu obw’obwakabaka obuli wansi w’eggulu, buliweebwa abatukuvu b’Oyo Ali Waggulu Ennyo. Obwakabaka bwe bulibeerawo emirembe gyonna, n’amatwale amalala gonna galimugondera ne gamuweereza.’

287:28 Dan 4:19“Ebigambo ebyo wano we bikoma. Naye nze Danyeri natawaanyizibwa nnyo mu mutima, n’amaaso gange ne gammyuka, naye ensonga ezo ne nzeekuuma.”

New International Version – UK

Daniel 7:1-28

Daniel’s dream of four beasts

1In the first year of Belshazzar king of Babylon, Daniel had a dream, and visions passed through his mind as he was lying in bed. He wrote down the substance of his dream.

2Daniel said: ‘In my vision at night I looked, and there before me were the four winds of heaven churning up the great sea. 3Four great beasts, each different from the others, came up out of the sea.

4‘The first was like a lion, and it had the wings of an eagle. I watched until its wings were torn off and it was lifted from the ground so that it stood on two feet like a human being, and the mind of a human was given to it.

5‘And there before me was a second beast, which looked like a bear. It was raised up on one of its sides, and it had three ribs in its mouth between its teeth. It was told, “Get up and eat your fill of flesh!”

6‘After that, I looked, and there before me was another beast, one that looked like a leopard. And on its back it had four wings like those of a bird. This beast had four heads, and it was given authority to rule.

7‘After that, in my vision at night I looked, and there before me was a fourth beast – terrifying and frightening and very powerful. It had large iron teeth; it crushed and devoured its victims and trampled underfoot whatever was left. It was different from all the former beasts, and it had ten horns.

8‘While I was thinking about the horns, there before me was another horn, a little one, which came up among them; and three of the first horns were uprooted before it. This horn had eyes like the eyes of a human being and a mouth that spoke boastfully.

9‘As I looked,

‘thrones were set in place,

and the Ancient of Days took his seat.

His clothing was as white as snow;

the hair of his head was white like wool.

His throne was flaming with fire,

and its wheels were all ablaze.

10A river of fire was flowing,

coming out from before him.

Thousands upon thousands attended him;

ten thousand times ten thousand stood before him.

The court was seated,

and the books were opened.

11‘Then I continued to watch because of the boastful words the horn was speaking. I kept looking until the beast was slain and its body destroyed and thrown into the blazing fire. 12(The other beasts had been stripped of their authority, but were allowed to live for a period of time.)

13‘In my vision at night I looked, and there before me was one like a son of man,7:13 The Aramaic phrase bar enash means human being. The phrase son of man is retained here because of its use in the New Testament as a title of Jesus, probably based largely on this verse. coming with the clouds of heaven. He approached the Ancient of Days and was led into his presence. 14He was given authority, glory and sovereign power; all nations and peoples of every language worshipped him. His dominion is an everlasting dominion that will not pass away, and his kingdom is one that will never be destroyed.

The interpretation of the dream

15‘I, Daniel, was troubled in spirit, and the visions that passed through my mind disturbed me. 16I approached one of those standing there and asked him the meaning of all this.

‘So he told me and gave me the interpretation of these things: 17“The four great beasts are four kings that will rise from the earth. 18But the holy people of the Most High will receive the kingdom and will possess it for ever – yes, for ever and ever.”

19‘Then I wanted to know the meaning of the fourth beast, which was different from all the others and most terrifying, with its iron teeth and bronze claws – the beast that crushed and devoured its victims and trampled underfoot whatever was left. 20I also wanted to know about the ten horns on its head and about the other horn that came up, before which three of them fell – the horn that looked more imposing than the others and that had eyes and a mouth that spoke boastfully. 21As I watched, this horn was waging war against the holy people and defeating them, 22until the Ancient of Days came and pronounced judgment in favour of the holy people of the Most High, and the time came when they possessed the kingdom.

23‘He gave me this explanation: “The fourth beast is a fourth kingdom that will appear on earth. It will be different from all the other kingdoms and will devour the whole earth, trampling it down and crushing it. 24The ten horns are ten kings who will come from this kingdom. After them another king will arise, different from the earlier ones; he will subdue three kings. 25He will speak against the Most High and oppress his holy people and try to change the set times and the laws. The holy people will be delivered into his hands for a time, times and half a time.7:25 Or for a year, two years and half a year

26‘ “But the court will sit, and his power will be taken away and completely destroyed for ever. 27Then the sovereignty, power and greatness of all the kingdoms under heaven will be handed over to the holy people of the Most High. His kingdom will be an everlasting kingdom, and all rulers will worship and obey him.”

28‘This is the end of the matter. I, Daniel, was deeply troubled by my thoughts, and my face turned pale, but I kept the matter to myself.’