Balam 6 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Balam 6:1-40

Abamidiyaani balumba Abayisirayiri

16:1 a Bal 2:11 b Kbl 25:15-18; 31:1-3Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama Katonda. N’abawaayo mu mikono gy’Abamidiyaani6:1 Abamidiyaani baali bazzukulu ba Ibulayimu ne Ketula, omukyala gwe yawasa oluvannyuma lw’okufa kwa Saala (Lub 25:2) okumala emyaka musanvu. 26:2 a 1Sa 13:6; Is 8:21 b Beb 11:38Abayisirayiri ne batulugunyizibwa nnyo Abamidiyaani. Kyebaava beesimira empuku ne beetoolooza ebibuga byabwe agasenge. 36:3 Bal 3:13Buli Abayisirayiri lwe baasiganga ensigo, Abamidiyaani, Abamaleki n’abantu ab’ebuvanjuba ne babalumbanga. 46:4 Lv 26:16; Ma 28:30, 51Ne basiisira mu nsi eyo, ne bazikiriza ebirime byonna okutuusiza ddala e Gaaza. Ne bawemmenta endiga, ente, endogoyi era tebaalekera Bayisirayiri kantu konna. 56:5 a Bal 7:12 b Bal 8:10Kubanga baayiikanga ng’enzige mu bungi nga tebabalika. Nga bajja n’eweema, ente, n’eŋŋamira zaabwe. Bwe batyo ne bazikiriza ensi. 66:6 Bal 3:9Abayisirayiri baajeezebwa nnyo Abamidiyaani, Abayisirayiri kyebaava balaajaanira Mukama Katonda.

Mukama atuma Nnabbi

7Awo Abayisirayiri bwe baalaajanira Mukama olw’Abamidiyaani, Mukama, 86:8 Bal 2:1n’atumira Abayisirayiri Nnabbi, n’abagamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri agamba bw’ati: nabakulembera okuva mu Misiri, ne mbaggya mu nnyumba ey’obuddu, 96:9 Zab 44:2ne mbanunula okuva mu mikono gy’Abamisiri, ne mu mikono gy’abo bonna abababonnyabonnyanga ne mbafuumuula ku lwammwe era ne mbawa mmwe ensi yaabwe; 106:10 a 2Bk 17:35 b Yer 10:2ne mbagamba nti, ‘Nze Mukama Katonda wammwe, temussanga kitiibwa mu bakatonda b’Abamoli, bannannyini nsi gye mubeeramu.’ Naye mmwe temugondedde ddoboozi lyange.”

Mukama Ayita Gidyoni

116:11 a Lub 16:7 b Yos 17:2 c Beb 11:32Malayika wa Mukama Katonda n’ajja mu Ofula, n’atuula wansi w’omuti omwera ogwali ogwa Yowaasi ow’omu ssiga lya Abiezeri: ne mutabani we Gidyoni yali akubira eŋŋaano mu ssogolero alyoke agikweke Abamidiyaani. 126:12 Yos 1:5; Bal 13:3; Luk 1:11, 28Malayika wa Mukama Katonda n’amulabikira, n’amugamba nti, “Ggwe omusajja omulwanyi namige. Mukama ali wamu naawe.”

136:13 a Zab 44:1 b 2By 15:2Gidyoni n’abuuza nti, “Ayi Mukama wange, obanga Mukama ali wamu naffe, kale lwaki bino byonna bitutuuseeko? Eby’amagero eby’ekitalo bajjajjaffe bye baatubuulirako nti, ‘Mukama yatuggya mu Misiri, byo biruwa?’ Naye Kaakano Mukama Katonda atwabulidde era atuwaddeyo mu mikono gy’Abamidiyaani.”

146:14 Beb 11:34Mukama Katonda n’amukyukira n’agamba nti, “Ggenda n’amaanyigo g’olina, onunule Abayisirayiri mu mikono gy’Abamidiyaani: si nze nkutumye?” 156:15 Kuv 3:11; 1Sa 9:21N’amuddamu nti, “Ayi Mukama wange, nnyinza ntya okununula Abayisirayiri? Kubanga essiga mwe nva lye lisinga okunyoomebwa mu kika kya Manase ate nze nsembayo obuto mu maka ga kitaffe.” 166:16 Kuv 3:12; Yos 1:5Mukama n’amugamba nti, “Ndibeera wamu naawe, era olifufuggaza Abamidiyaani ng’olinga akuba omuntu omu.”

176:17 nny 36-37; Lub 24:14; Is 38:7-8Gidyoni n’amuddamu nti, “Obanga nsiimiddwa mu maaso go mpa obukakafu nga ddala ggwe wuuyo ayogera nange. 18Nkwegayiridde, tova wano, ka ŋŋende nkuleetere ekirabo kyange nkiteeke mu maaso go.” Mukama n’agamba nti, “Kale kambeere wano okutuusa lw’onookomawo.”

Ekiweebwayo Kya Gidyoni Kisiimibwa

196:19 Lub 18:7-8Gidyoni n’ayingira mu nju ye, n’atta omwana gw’embuzi n’ateekateeka n’emigaati egitazimbulukuswa ng’akozesa kilo abiri ez’obuwunga bw’eŋŋaano. Ennyama n’agiteeka mu kibbo; ne guleevi waayo ne bamussa mu kibya, n’abimuleetera wansi w’omwera n’abimuwa. 206:20 Bal 13:19Naye malayika wa Katonda n’amulagira nti, “Ddira ennyama n’emigaati egitazimbulukuswa obiteeke ku jjinja lino obifukeko guleevi.” Gidyoni n’akola bw’atyo. 216:21 Lv 9:24Awo malayika wa Mukama Katonda n’akoma ku nnyama ne ku migaati egitazimbulukuswa nga yeeyambisa omuggo gwe yalina. Omuliro ne guva mu jjinja ne gububuuka ne gwokya ennyama n’emigaati egitazimbulukuswa byonna ne bisaanawo. Amangwago malayika wa Mukama n’abulawo. 226:22 a Bal 13:16, 21 b Lub 32:30; Kuv 33:20; Bal 13:22Gidyoni n’ategeera ng’oyo abadde malayika wa Mukama; Gidyoni n’agamba nti, “Zinsanze, Ayi Mukama Katonda, kubanga tulabaganye ne malayika wa Mukama maaso ku maaso.”

236:23 Dan 10:19Naye Mukama Katonda n’amugamba nti, “Emirembe gibe ku ggwe tootya tojja kufa.”

246:24 a Lub 22:14 b Bal 8:32Gidyoni n’azimbira Mukama Katonda ekyoto mu kifo ekyo; n’akituuma erinnya Yakuwasalumu (Mukama gy’emirembe); n’okutuusa kaakano kikyaliyo mu Ofula eky’ab’omu ssiga lya Abiezeri.

Gidyoni azikiriza ekyoto kya Baali

256:25 Kuv 34:13; Ma 7:5Ekiro ekyo Mukama Katonda n’agamba Gidyoni nti, “Mmennya ekyoto kwe basinziza Baali, ofuneyo ente eya sseddume ensava eddirira esinga obulungi okuva mu kiraalo kya kitaawo; otemeeteme ekifaananyi ekibajje ekya Asera ekiriraanye ekyoto kya Baali: 26mu kifo ekyo kungulu ozimbireko Mukama Katonda wo ekyoto mu nzimba entuufu eyalagirwa, oddire ente eyo eya sseddume gy’oggye mu kiraalo kya kitaawo ogiweeyo ng’ekiweebwayo ekyokebwa ng’ogyokya n’ebibajjo by’ekifaanannyi kya Asera.”

27Awo Gidyoni n’atwala kkumi ku baddu be, n’akola nga Mukama Katonda bwe yamulagira, naye kino yakikola kiro olw’okutya ab’omu nju ya kitaawe n’abantu abalala ab’omu kibuga. 286:28 1Bk 16:32Abantu b’omu kibuga baagenda okugolokoka ku nkya mu makya, nga ekyoto kwe baasinzizanga Baali kimenyeddwamenyeddwa, n’ekifaananyi kya Asera ekyakiri okumpi nga nakyo kitemeddwatemeddwa, n’ente eya ssava ng’eweereddwayo ku kyoto ekiggya. 29Ne beebuuza nti, “Ani akoze kino?”

Awo bwe babuuliriza, ne bategeezebwa nti, “Gidyoni mutabani wa Yowaasi y’akikoze”.

30Abantu b’omu kibuga ne bagamba Yowaasi nti, “Ffulumya mutabani wo tumutte, kubanga amenyeemenye ekyoto kwetusinziza Baali; ate era n’atemaatema n’ekifaananyi kya Asera ekibadde kikiriraanye.” 31Yowaasi n’addamu ekibinja ky’abantu abaali bamulumbye nti, “Mwagala kulwanirira Baali? Mwagala kuwagira bigendererwa bye? Omuntu yenna ayagala okumulwanirira wa kuttibwa nga obudde tebunakya; obanga ddala Baali ye Katonda, yerwanirire yekka, kubanga ekyoto kye kyamenyeddwamenyeddwa.” 326:32 Bal 7:1; 8:29, 35; 1Sa 12:11Okuva ku olwo Gidyoni ne bamukazaako erya Yerubbaali ekitegeeza nti, “Baali amulwanyise.” Kubanga yamenyaamenya ekyoto kya Baali.

336:33 a nny 3 b Yos 17:16Awo Abamidiyaani, Abamaleki n’abantu b’ebuvanjuba ne beegatta bonna ne basomoka omugga Yoludaani ne basiisira mu kiwonvu ky’e Yezuleeri. 346:34 a Bal 3:10; 1By 12:18; 2By 24:20 b Bal 3:27Omwoyo wa Mukama Katonda n’akka ku Gidyoni; n’afuuwa ekkondeere ng’ayita ab’essiga lya Abiyezeeri bamugoberere. 356:35 Bal 4:6N’atuma ababaka eri ab’ekika kya Manase nabo bamugoberere. N’atuma n’ababaka abalala eri ab’ekika kya Aseri, n’ekya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bamusisinkane.

Gidyoni asaba Katonda Obukakafu

366:36 nny 14Awo Gidyoni n’agamba Katonda nti, “Obanga olinunula Abayisirayiri ng’oyita mu nze nga bwe wasuubiza, 376:37 a Kuv 4:3-7 b Lub 24:14ka nteeke ebyoya by’endiga mu kifo awakubirwa eŋŋaano; bwe binaatoba omusulo naye ng’ettaka eribyetoolodde lyo kkalu, ne ndyoka nkakasa ddala ng’olinunula Abayisirayiri ng’oyita mu nze nga bwe wasuubiza.” 38Ddala bwe kityo bwe kyali; kubanga Gidyoni bwe yagolokoka enkeera mu makya ebyoya by’endiga n’abikamulamu omusulo ne muvaamu ekibya kiramba eky’amazzi. 396:39 Lub 18:32Gidyoni n’agamba Katonda nti, “Nkwegayiridde tonsunguwalira, kankusabe obukakafu omulundi omulala gumu gwokka. Ku luno njagala ebyoya by’endiga bye biba bibeera ebikalu, ettaka eribyetoolodde litobe omusulo.” 40Ekiro ekyo Katonda n’akola nga Gidyoni bwe yamusaba, ebyoya by’endiga ne biba bikalu, lyo ettaka eribyetoolodde ne litoba omusulo.