Balam 2 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Balam 2:1-23

12:1 a Bal 6:11 b nny 5 c Kuv 20:2 d Lub 17:8 e Lv 26:42-44; Ma 7:9Awo Malayika wa Mukama n’ava e Bokimu n’ajja e Girugaali, n’agamba nti, “Nabaggya mu nsi y’e Misiri ne mbaleeta mu nsi gye nalayira okuwa bajjajjammwe; ne ŋŋamba nti, ‘Endagaano yange gye nalagaana nammwe sirigimenya emirembe gyonna; 22:2 a Kuv 23:32; 34:12; Ma 7:2 b Kuv 34:13nammwe temukolanga ndagaano n’abantu ab’omu nsi eyo: museseggulanga ebyoto byabwe.’ Naye mmwe temugondedde kiragiro kyange: Kiki ekibakozesezza bwe mutyo? 32:3 a Yos 23:13 b Kbl 33:55 c Ma 7:16; Bal 3:6; Zab 106:36Kaakano kyenva ŋŋamba nti, ‘Siibafubutule mu maaso gammwe, naye banaaba balabe bammwe ne bakatonda baabwe banaaba nkonge gye muli.’ ”

4Malayika wa Mukama bwe yamala okugamba Abayisirayiri bonna ebigambo bino ne balyoka batema emiranga. 5Ekifo ekyo ne bakituuma erinnya Bokimu; ne baweera eyo Ssaddaaka eri Mukama.

6Awo Yoswa bwe yamala okulagira Abayisirayiri baabuke, buli omu ku bo n’agenda okugabana ekitundu kye yasuubizibwa. 7Abayisirayiri ne baweerezanga Mukama mu kiseera kyonna ekya Yoswa era ne mu kiseera kyonna eky’abakulembeze abaawangaala okusinga Yoswa era abaalaba ebikolwa eby’amaanyi Mukama bye yakolera Abayisirayiri.

8Awo omuweereza wa Mukama Yoswa mutabani wa Nuuni n’afa. We yafiira ng’aweza emyaka kikumi mu kkumi. 92:9 Yos 19:50Ne bamuziika e Timunasukeresi mu kitundu kye yagabana mu nsi ya Efulayimu ey’ensozi mu bukiika obwa kkono obw’olusozi Gaasi.

102:10 Kuv 5:2; 1Sa 2:12; 1By 28:9; Bag 4:8Awo ab’omulembe gwa Yoswa bonna bwe baafa ne baggwaawo ne waddawo omulembe gw’abataamanya Mukama yadde ebikolwa eby’amaanyi bye yakolera Abayisirayiri. 112:11 a Bal 3:12; 4:1; 6:1; 10:6 b Bal 3:7; 8:33Abayisirayiri ne bakola ebibi mu maaso ga Mukama era ne basinza Babayaali. 122:12 a Zab 106:36 b Ma 31:16; Bal 10:6Ne banyiiza Mukama kubanga baagoberera era ne basinza bakatonda abalala abamawanga agaali gabeetoolodde ne beerabira Mukama Katonda wa bajjajjaabwe eyabaggya mu nsi ye Misiri. 132:13 Bal 10:6Ne bava ku Mukama ne basinza ba Baali ne Asutoleesi. 142:14 a Ma 31:17 b Zab 106:41 c Ma 32:30; Bal 3:8 d Ma 28:25Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri: Kyeyava abawaayo mu mikono gy’abanyazi ne babanyanga era ne batasobola na kwerwanako okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ababeetoolodde kubanga Mukama yali amaze okubawaayo. 15Buli gye baatabaalanga ne bawangulwa kubanga Mukama yabavaako olw’ekibi kyabwe nga bwe yabalayirira; ne bawotookerera nnyo.

162:16 a Bik 13:20 b Zab 106:43Mukama n’abawa abakulembeze abaabalwaniriranga ne babawonya abanyazi. 172:17 a Kuv 34:15 b nny 7Naye tebaawuliriza bakulembeze baabwe ne bagoberera era ne basinza bakatonda abalala. Tebaakola nga bajjajjaabwe abaagobereranga n’okuwuliranga ebiragiro bya Mukama. 182:18 a Ma 32:36; Yos 1:5 b Zab 106:44Buli Mukama lwe yabawanga omukulembeze yamuyambanga era n’anunulanga Abayisirayiri okuva mu mikono gy’abalabe baabwe ekiseera eky’omukulembeze oyo. Olw’okusindanga n’okweraliikirizibwa abalabe baabwe abaabajooganga, Mukama kyeyava abakwatirwa ekisa. 192:19 a Bal 3:12 b Bal 4:1; 8:33Naye omukulembeze olwafanga ne baddamu okweyisanga obubi okukira ne bajjajjaabwe, ne bagobereranga ne baweerezanga era n’okuvuunamiranga bakatonda abalala ne banywerera ku mpisa zaabwe embi olw’emputtu yaabwe.

202:20 nny 14; Yos 23:16Mukama n’asunguwalira nnyo Abayisirayiri n’agamba nti, “Olw’okuba nga abantu bano bamenye endagaano gye nalagaana ne bajjajjaabwe, so tebagondedde ddoboozi lyange, 212:21 Yos 23:13siifubutule mu maaso gaabwe wadde eggwanga n’erimu ku ago Yoswa ge yafa bawangudde. 222:22 Ma 8:2, 16; Bal 3:1, 14Wabula nzija kukozesa amawanga gano okugezesa Abayisirayiri okulaba obanga banaafaayo okunywerera mu kkubo lya Mukama nga bajjajjaabwe bwe baakola, oba nedda.” 23Bw’atyo Mukama n’aleka amawanga gali mu nsi eyo, n’atagawaayo mu mikono gya Yoswa yadde okugafubutula mu nsi eyo nga Yoswa yaakafa.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

士师记 2:1-23

耶和华责备以色列人

1耶和华的天使从吉甲来到波金,对以色列人说:“我带你们离开埃及,领你们去我起誓要赐给你们祖先的土地。我说,‘我永不废弃跟你们立的约, 2你们不可跟这里的居民立约,要毁掉他们的祭坛。’可是你们为什么不听呢? 3因此,我告诉你们,我必不赶走这里的居民,他们必成为你们肋旁的刺,他们的神明必成为你们的网罗。” 4以色列人听了耶和华的天使说的话,就放声大哭, 5他们称那地方为波金2:5 波金”意思是“哭泣”。,在那里向耶和华献祭。

约书亚去世

6约书亚遣散以色列人后,他们便各自去攻占所分得的土地。 7约书亚在世的时候,以色列人都事奉耶和华。他死后,那些目睹耶和华为以色列人行大事的长老还在世的时候,以色列人仍然事奉耶和华。 8耶和华的仆人、的儿子约书亚去世时享年一百一十岁。 9以色列人把他葬在他自己的土地上,在迦实山以北、以法莲山区的亭拿·希烈10那一代人都去世后,新一代不认识耶和华,也不知道耶和华为以色列人所行的事。

11以色列人做耶和华视为恶的事,祭拜巴力12他们背弃了领他们祖先离开埃及的上帝耶和华,追随、祭拜邻邦的各种神明,因而惹耶和华发怒。 13他们背弃耶和华,去祭拜巴力亚斯她录14耶和华向他们发怒,使他们遭到掠夺者的攻击和四周仇敌的压制,毫无抵抗之力。 15他们每次出战,耶和华都与他们为敌,使他们战败,正如祂的誓言。他们苦不堪言。

16后来,耶和华使士师2:16 士师”意思是“首领”。兴起,从掠夺者手中拯救他们。 17但他们不听从士师的话,与其他神明苟合,祭拜它们,很快偏离他们祖先的道路,没有像他们的祖先那样遵行耶和华的命令。 18耶和华见他们因敌人的压迫和苦待而哀号,就怜悯他们,使士师陆续兴起,并与每位士师同在。士师在世之日,耶和华从仇敌手中拯救他们。 19士师去世以后,他们又故态复萌,追随、祭拜其他神明,比他们的祖先更败坏。他们执迷不悟,怙恶不悛。 20耶和华向他们发怒,说:“这百姓违背了我跟他们祖先所立的约,不听从我的话。 21因此,我不再逐出约书亚去世时还没有赶走的外族人, 22我要借此试验以色列人,看他们是否像他们祖先一样谨遵我的道。” 23这就是为什么耶和华留下那些外族人,没有立刻把他们赶走,也没有把他们交在约书亚手中。