Balam 18 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Balam 18:1-31

Abadaani Bawamba ekibuga Layisi

118:1 a Bal 17:6; 19:1 b Yos 19:47Mu biro ebyo Isirayiri teyalina kabaka. Era mu biro ebyo ekika ky’Abadaani baali banoonya ekifo aw’okubeera kubanga mu bika bya Isirayiri baali tebafunanga kifo kya kubeeramu ng’omugabo gwabwe. 218:2 a Bal 13:25 b Yos 2:1 c Bal 17:1Kyebaava batuma abaana ba Ddaani bataano, abasajja abalwanyi, okuva mu kika kyabwe kyonna, okuva mu Zola ne mu Esutaoli, bagende bakette ensi. Ne babagamba nti, “Mugende mukebere ensi.”

Ne batuuka mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu mu nnyumba ya Mikka ne basula eyo. 3Bwe baali eyo okumpi n’ennyumba ya Mikka ne beetegereza eddoboozi ly’omuvubuka Omuleevi, ne bakyama ne bamubuuza nti, “Ani eyakuleeta wano? Era okola ki wano? Era lwaki oli wano?”

418:4 Bal 17:12N’abategeeza Mikka bye yamukolera, n’abagamba nti, “Yampangisa era ndi kabona we.” 518:5 1Bk 22:5Ne bamugamba nti, “Tukwegayiridde, kaakano weebuuze ku Mukama, obanga olugendo lwe tugenda luliba n’omukisa.” 618:6 1Bk 22:6Awo kabona n’abaddamu nti, “Mugende mirembe, kubanga Mukama Katonda asiimye mugende ku lugendo lwammwe.”

718:7 a Yos 19:47 b nny 28Awo abasajja abataano ne bava awo, ne batuuka e Layisi, ne balaba ng’abantu baayo bali mirembe ng’Abasidoni bwe baali. Baali bakkakkamu, nga balina buli kye beetaaga mu nsi, era nga beesudde akabanga n’Abasidoni, nga tewali muntu n’omu gwe bakolagana naye.

8Awo abakessi bwe baddayo eri baganda baabwe e Zola n’e Esutaoli, baganda baabwe ne bababuuza nti, “Bigenze bitya?”

918:9 Kbl 13:30; 1Bk 22:3Ne baddamu nti, “Mugolokoke, tubalumbe. Tulabye ensi, era laba, nga nnungi nnyo. Temuyinza butagenda. Temulwa, tugende tulye ensi. 1018:10 a nny 7, 27; Ma 8:9 b 1By 4:40Bwe mulituuka eyo muliraba abantu abakkakkamu ababeera mu nsi engazi, Katonda gy’atadde mu mukono gwammwe, era nsi erimu buli kintu omuntu kye yeetaaga.”

1118:11 a nny 16, 17 b Bal 13:2Awo ekika ky’Abadaani ne basitula okuva e Zola n’e Esutaoli, abasajja lukaaga nga balina ebyokulwanyisa. 1218:12 Bal 13:25Ne bagenda ne basiisira okumpi ne Kiriyasuyalimu mu Yuda. Ekifo ekyo ne bakituuma Makanedani era kye kiyitibwa n’okutuusa leero. 13Ne bava awo ne balaga mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne batuuka ku nnyumba ya Mikka.

1418:14 Lub 31:19; Bal 17:5Abasajja abataano abaagenda okuketta ensi ya Layisi ne bagamba baganda baabwe nti, “Mumanyi nga mu nnyumba zino mulimu Efodi n’ebifaananyi ebyole n’ekifaananyi ekisaanuuse? Kale nno mukole kye mugwanira okukola.” 15Ne bakyama ne bagenda mu nnyumba y’omuvubuka Omuleevi eyali ewa Mikka ne bamulamusa. 1618:16 nny 11Abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe ne bayimirira ku mulyango. 1718:17 Lub 31:19; Mi 5:13Awo abasajja abataano abaagenda okuketta ne bayingira ne baggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekisaanuuse, nga kabona n’abasajja olukaaga nga balina ebyokulwanyisa byabwe bayimiridde ku mulyango.

1818:18 Is 46:2; Yer 43:11; Kos 10:5Abasajja bwe bayingira mu nnyumba ya Mikka okuggyamu ekifaananyi ekyole, ne Efodi, ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekisaanuuse, kabona n’ababuuza nti, “Mukola ki?” 1918:19 a Yob 21:5; 29:9; 40:4; Mi 7:16 b Bal 17:10Ne bamuddamu nti, “Sirika tonyega. Jjangu naffe obeere kitaffe era kabona waffe. Kiki ekisinga, ggwe okuba kabona w’ennyumba y’omuntu omu, oba okuba kabona w’ekika kya Isirayiri?” 20Kabona n’asanyuka, n’atwala Efodi ne balubaale abaali mu nnyumba n’ekifaananyi ekyole n’agenda nabo. 21Ne babaako we bakyama ne balekayo abaana baabwe abato n’ebisolo byabwe n’ebintu byabwe. Ne bagenda mu maaso.

22Bwe batambulako akabanga okuva ku nnyumba ya Mikka, abasajja abaabeeranga mu nnyumba eziriraanye ennyumba ya Mikka ne bakuŋŋaana ne bawondera abaana ba Ddaani. 23Bwe baali babakoowoola, abaana ba Ddaani ne bakyuka ne batunuulira Mikka ne bamubuuza nti, “Mutukoowoolera ki?” 24N’abaddamu nti, “Mututte balubaale bange be neekolera, ne kabona. Kiki kye nsigazza? Muyinza mutya okumbuuza kye mbadde?”

25Abaana ba Ddaani ne bamuddamu nti, “Sitwagala kuwulira ddoboozi lyo, si kulwa ng’abasajja abakambwe abali mu ffe bakulumba n’ofiirwa obulamu bwo n’obw’abo ab’omu nnyumba yo.” 2618:26 Zab 18:17; 35:10Awo abaana ba Ddaani ne beetambulira. Awo Mikka bwe yalaba nga bamuyinze amaanyi, n’akyuka n’addayo ewuwe.

2718:27 a nny 7, 10 b Lub 49:17; Yos 19:47Ne batwala ebintu Mikka bye yali akoze, ne kabona gwe yalina, ne batuuka e Layisi omwali abantu abakkakkamu abatamanyiridde, ne bakilumba ne batta abantu baamu n’ekitala, n’ekibuga ne bakikumako omuliro. 2818:28 a nny 7 b Kbl 13:21; 2Sa 10:6Tewaaliwo eyajja okubataasa kubanga ne Sidoni kyali wala n’ekibuga ekyo, ate nga tebalina nkolagana na muntu yenna. Ekibuga kyali mu kiwonvu ekiriraanye Besulekobu.

Abaddaani ne bazimba buto ekibuga ne babeera omwo. 2918:29 a Lub 14:14 b Yos 19:47; 1Bk 15:20Ekibuga ne bakikyusa erinnya okuva ku Layisi lye kyayitibwanga olubereberye ne bakituuma Ddaani, ng’erinnya lya Ddaani jjajjaabwe eyazaalibwa Isirayiri bwe lyali. 3018:30 Kuv 2:22; Bal 17:3, 5Awo abaana ba Ddaani ne beeterawo ekifaananyi ekyole, ne balonda Yonasaani mutabani wa Gerusomu, muzzukulu wa Musa, ne batabani be okuba bakabona eri ekika ky’Abadaani okutuusa ensi lwe yawambibwa. 3118:31 a Bal 19:18 b Yos 18:1; Yer 7:14Ne bassaawo ebifaananyi ebyole Mikka bye yali yeekoledde, ebbanga lyonna ennyumba ya Katonda we yabeerera mu Siiro.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

士师记 18:1-31

米迦和但支派

1那时以色列没有王。支派的人正在寻找可以居住的地方,因为他们在以色列各支派中还没有得到属于自己的土地。 2支派的人从琐拉以实陶派本族的五名勇士去打探、察看那个地方。他们吩咐说:“你们去察看那个地方。”他们到了以法莲山区,在米迦家里借宿。 3他们听出那利未青年的口音,就问他:“谁带你来这里的?你在这里做什么?你为什么在这里?” 4那青年便把米迦聘他做祭司的事告诉了他们。 5他们说:“请你求问上帝,看看我们是否一路顺利。” 6祭司说:“你们安心去吧,耶和华会一路眷顾你们。”

7五人启程来到拉亿,发现当地人像西顿人一样无忧无虑,生活安宁,毫无防范,繁荣富足。他们离西顿很远,与外界没有来往。

8五人回到琐拉以实陶后,族人问他们:“你们有什么发现吗?” 9他们回答说:“我们前去攻取那地方吧!我们已经打探清楚了,那地方非常好。你们还等什么?要赶快去占领那地方。 10你们到了那里,会看见当地的居民毫无防范,那里地大物博,一无所缺。上帝已经把那地方赐给我们了。”

11支派便从琐拉以实陶派出六百个全副武装的人。 12他们来到犹大 基列·耶琳的西边安营。因此,那地方至今仍叫玛哈尼·但18:12 玛哈尼·但”意思是“但的军营”。13然后,他们去以法莲山区,来到米迦的家。

14侦察过拉亿的五个人对其余的人说:“你们知道吗?这家有以弗得、一些家庭神像、一个雕刻的偶像和一个金属铸像。想一想我们该怎么办。” 15那五个人就进入米迦的家里,到年轻的利未人房间向他问安, 16随行的六百人带着兵器留在门口。 17当时祭司也和那六百个全副武装的人站在门口。那五个人进去拿走了雕刻的偶像、以弗得、家庭神像及金属铸像。 18祭司见那五人进入米迦家拿走雕刻的偶像、以弗得、家庭神像及金属铸像,就问他们:“你们在做什么?”

19他们说:“安静,别作声,跟我们来做我们的师父和祭司吧。做以色列一个支派、一个宗族的祭司难道不比做一家人的祭司更好吗?” 20祭司听了非常高兴,就带着以弗得、家庭神像及雕刻的偶像跟随了他们。 21他们转身离去,儿女、牲畜和财物在队伍的前面。

22他们离开米迦的家一段路后,米迦召集邻居赶了上来, 23向他们大喊。支派的人转身问米迦:“你们召集这么多人来做什么?” 24米迦说:“你们带走了我的神像和祭司,把我洗劫一空,还问我想做什么!” 25支派的人说:“别再多说了,不然我们当中性情暴躁的人会攻击你们,使你全家丧命。” 26支派的人继续赶路。米迦见对方人多势众,就回家去了。

27支派的人带着米迦的神像和他的祭司来到拉亿,那里的人生活安宁,毫无防范。他们杀掉当地的居民,放火烧了城。 28拉亿西顿很远,当地的居民与外界没有来往,以致孤立无援。这城位于伯·利合附近的山谷中,支派的人重建该城,住在那里。 29这座城原来叫拉亿,他们用祖先以色列的儿子的名字为该城重新命名。 30支派的人把神像竖立起来,又指派摩西的孙子、革舜的儿子约拿单及其子孙做支派的祭司,直到该城的人被敌人掳走为止。 31上帝的会幕设立在示罗期间,米迦的神像一直竖立在