Amosi 1 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Amosi 1:1-15

11:1 a 2Sa 14:2 b Zek 14:5 c 2By 26:23 d 2Bk 14:23 e Kos 1:1Bino bye bigambo Amosi eyali omu ku balunzi b’endiga mu bitundu by’e Tekowa bye yabikkulirwa, musisi amale ajje nga wakayitawo emyaka ebiri, mu mirembe gya Uzziya kabaka wa Yuda, era nga gy’emirembe gya kabaka Yerobowaamu mutabani wa Yowaasi nga y’afuga Isirayiri.

21:2 a Is 42:13 b Yo 3:16 c Am 9:3 d Yer 12:4Amosi yagamba nti,

Mukama awuluguma ng’asinziira mu Sayuuni,

era eddoboozi lye liwulirwa nga libwatukira mu Yerusaalemi;

omuddo mu malundiro gulikala

n’entikko y’olusozi Kalumeeri erisigala njereere.”

Okulamulwa kwa Baliraanwa ba Isirayiri

31:3 a Is 8:4; 17:1-3 b Am 2:6Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Ddamasiko ebisatu,

weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.

Kubanga baabonereza nnyo abantu b’e Gireyaadi

nga babasalaasala n’ebyuma.

41:4 a Yer 49:27 b Yer 17:27 c 1Bk 20:1; 2Bk 6:24Ndiweereza omuliro mu lubiri lwa kabaka Kazayeeri

era njokye n’ebigo bya kabaka Benikadadi.

51:5 a Yer 51:30 b 2Bk 16:9Era ndimenya enzigi z’ekibuga Ddamasiko

era ndizikiriza kabaka ali mu Kiwonvu ky’e Aveni,

oyo akwata omuggo ogw’obwakabaka mu Besiadeni.

Abantu b’e Busuuli balitwalibwa mu buwaŋŋanguse mu Kiri,”

bw’ayogera Mukama.

61:6 a 1Sa 6:17; Zef 2:4 b Ob 11Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Gaza ebisatu,

weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.

Kubanga yatwala eggwanga ddamba mu busibe

n’alitunda eri Edomu.

7Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Gaza

ogulyokya ebigo byakyo.

81:8 a 2By 26:6 b Zab 81:14 c Ez 25:16 d Is 14:28-32; Zef 2:4-7Ndizikiriza atuula mu Asudodi,

n’oyo akwata omuggo gw’obwakabaka ndimumalawo okuva mu Asukulooni.

Ndibonereza Ekuloni

okutuusa lwe ndimalirawo ddala Abafirisuuti,”

bw’ayogera Mukama.

91:9 1Bk 5:1; 9:11-14; Is 23:1-18; Yer 25:22; Yo 3:4; Mat 11:21Mukama bw’ati bw’ayogera nti,

“Olw’ebyonoono bya Ttuulo ebisatu,

weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.

Kubanga yatunda eggwanga ddamba erya Edomu mu busibe

n’amenya endagaano ey’obwaseruganda eyali ekoleddwa,

101:10 Zek 9:1-4kyenaava mpeereza omuliro ku bbugwe wa Ttuulo,

ogunaayokya ebigo byakyo.”

111:11 a Kbl 20:14-21; 2By 28:17; Yer 49:7-22 b Ez 25:12-14Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Edomu ebisatu,

weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.

Kubanga yayigganya muganda we n’ekitala

awatali kusaasira,

obusungu bwabwe ne bubuubuuka obutakoma

era ne batabusalako.

121:12 Ob 9-10Ndiweereza omuliro ku Temani

oguliyokya ebigo bya Bozula.”

131:13 a Yer 49:1-6; Ez 21:28; 25:2-7 b Kos 13:16Bw’ati bw’ayogera Mukama nti,

“Olw’ebyonoono bya Amoni ebisatu

weewaawo ebina, siriggyawo busungu bwange.

Mu ntalo ez’okugaziya ensi ye,

yabaaga abakazi abaali embuto ab’e Giriyaadi.

141:14 a Ma 3:11 b Am 2:2Ndiweereza omuliro ku bbugwe wa Labba,

era gulyokya ebigo byakyo.

Walibaawo n’oluyoogaano olunene ku lunaku olw’olutalo

mu mpewo ey’amaanyi, kibuyaga ng’akunta.

15Kabaka waakyo alitwalibwa mu buwaŋŋanguse,

ye n’abakungu be bonna,”

bw’ayogera Mukama.