Abaruumi 9 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 9:1-33

Okulonda kwa Katonda

19:1 a 2Ko 11:10 b Bar 1:9Njogera amazima mu Kristo, sirimba, omwoyo gwange nga gunkakasa mu Mwoyo Mutukuvu, 2nga ndimunakuwavu nnyo era nga nnumwa mu mutima. 39:3 a Kuv 32:32 b 1Ko 12:3; 16:22 c Bar 11:14Nnali njagala nze mwene nkolimirwe Katonda era njawukanyizibwe ku Kristo olwa baganda bange, bwe tuli ab’omu mubiri, 49:4 a Kuv 4:22 b Lub 17:2; Bik 3:25 c Zab 147:19 d Beb 9:1 e Bik 13:32be Bayisirayiri, abantu ba Katonda abalonde. Katonda yabalaga ekitiibwa kye, n’akola nabo endagaano, n’abawa n’amateeka ge. Yeekaalu yagibawa, n’abawa n’ebyasuubizibwa. 59:5 a Mat 1:1-16 b Yk 1:1 c Bar 1:25Balina bajjajjaabwe abamanyiddwa, Kristo be yasibukamu mu mubiri. Nsaba Katonda afuga byonna atenderezebwenga emirembe gyonna, Amiina.

69:6 Bar 2:28, 29Naye si kuba nti Katonda yalemwa okutuukiriza kye yasuubiza. Si bonna ab’omu Isirayiri nti bantu ba Katonda ddala. 79:7 Lub 21:12Ate so si nti ly’ezzadde lya Ibulayimu bonna balyoke babeere abaana, naye ekisuubizo kyali ku Isaaka bwe kyagambibwa nti, “Mu Isaaka mwe ndituukiririza ebyo byonna bye nakusuubiza.” 89:8 Bar 8:14Kino kitegeeza nti abaana ab’omubiri si be baana ba Katonda, wabula abo ab’okusuubiza be babalibwa okuba ezzadde lya Ibulayimu. 99:9 Lub 18:10, 14Kubanga ekigambo ky’okusuubiza kye kino nti, “Mu kiseera nga kino Saala alizaala omwana owoobulenzi.”

109:10 Lub 25:21Ate si ekyo kyokka, naye ne Isaaka jjajjaffe yalina Lebbeeka eyali olubuto. 119:11 Bar 8:28Naye ng’abalongo tebannazaalibwa, era nga tebannabaako kye bakola kyonna ekirungi oba ekibi, okusiima kwa Katonda nga bwe kuli, 129:12 Lub 25:23si lwa bikolwa wabula ku bw’oyo eyabayita, kyategeezebwa Lebbeeka nti, “Omukulu y’aliba omuweereza w’omuto.” 139:13 Mal 1:2, 3Era nga bwe kyawandiikibwa nti, “Yakobo namwagala, naye Esawu namukyawa.”

149:14 2By 19:7Kale tunaagamba ki? Ddala ddala Katonda talina bwenkanya? Kikafuuwe. 159:15 Kuv 33:19Agamba Musa nti,

“Ndisaasira oyo gwe ndisaasira,

era ndikwatirwa ekisa oyo gwe ndikwatirwa ekisa.”

169:16 Bef 2:8Noolwekyo tekiva ku ebyo omuntu by’ayagala newaakubadde by’akola, wabula ku kusaasira kwa Katonda. 179:17 Kuv 9:16Ebyawandiikibwa kyebyava byogera ku Falaawo nti, “Kyennava nkuyimusa, ndyoke njolese amaanyi gange mu ggwe, erinnya lyange liryoke litegeezebwe mu nsi zonna.” 189:18 Kuv 4:21Noolwekyo Katonda asaasira oyo gw’ayagala okusaasira, ate n’akakanyaza omutima gw’oyo gw’ayagala okukakanyaza.

199:19 a Bar 11:19 b 2By 20:6; Dan 4:35Omu akyayinza okumbuuza nti, Lwaki Katonda atunenya, obanga y’atuleetera okukola nga bw’asiima? 209:20 a Is 64:8 b Is 29:16Naye ggwe omuntu obuntu, ggwe ani addamu ng’owakanya Katonda? Ekibumbe kiyinza okubuuza eyakibumba nti, “Lwaki wammumba bw’oti?” 219:21 2Ti 2:20Oba omubumbi talina buyinza ku bbumba, okubumbamu ekibya eky’omugaso, oba okubumbamu ekitali kya mugaso?

229:22 Bar 2:4Katonda yayagala okulaga obusungu bwe, n’amaanyi ge eri abo bonna abaali basaanira okuzikirizibwa, kyokka n’abalaga obugumiikiriza. 239:23 a Bar 2:4 b Bar 8:30Ekyo yakikola alyoke amanyise obugagga bw’ekitiibwa kye, eri abo bonna be yeerondera okugabanira awamu ekitiibwa kye. 249:24 a Bar 8:28 b Bar 3:29Naffe yatuyita, si Bayudaaya bokka naye n’Abaamawanga. 259:25 Kos 2:23; 1Pe 2:10Ne mu Koseya agamba nti,

“Abataali bantu bange ndibayita abantu bange,

Ne gwe nnali ssaagala, ndimwagala.”

269:26 Kos 1:10Mu kifo omwo mwe baayitirwa nti,

“Temuli bantu bange,

mwe baliyitirwa abaana ba Katonda omulamu.”

279:27 a Lub 22:17; Kos 1:10 b Bar 11:5Isaaya ayogera eri Isirayiri mu ddoboozi ery’omwanguka nti,

“Omuwendo gw’abaana ba Isirayiri ne bwe gulyenkana ng’omusenyu gw’ennyanja,

ekitundu ekirisigalawo kye kirirokolebwa.

289:28 Is 10:22, 23Kubanga Mukama alisalawo

era alituukiriza mangu ekyo kye yagamba okukola ku nsi.”

299:29 a Yak 5:4 b Is 1:9; Ma 29:23; Is 13:19; Yer 50:40Era nga Isaaya bwe yayogera edda nti,

“Singa Mukama ow’Eggye

teyatulekerawo zzadde,

twandifuuse nga Sodomu,

era twandifaananye nga Ggomola.”

Obutakkiriza bw’Abayudaaya

309:30 Bar 1:17; 10:6; Bag 2:16; Baf 3:9; Beb 11:7Kale tunaagamba ki? Tugambe nti Abaamawanga abataagobereranga butuukirivu, baafuna obutuukirivu, bwe butuukirivu obuva mu kukkiriza, 319:31 a Is 51:1; Bar 10:2, 3 b Bag 5:4naye Isirayiri mu kugobereranga amateeka ag’obutuukirivu, teyafuna butuukirivu obwo? 329:32 1Pe 2:8Lwaki? Ekyo baalema okukituukako kubanga tebaagoberera butuukirivu mu kukkiriza wabula mu bikolwa. Beesittala ku jjinja eryo eryesittalwako, 339:33 Is 28:16; Bar 10:11nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Laba, nteeka mu Sayuuni ejjinja eryesittalwako9:33 Ejjinja eryesittalwako ye Kristo.

n’olwazi olulibasuula.

Oyo amukkiriza taliswazibwa.”