Abaruumi 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 3:1-31

Obwesigwa bwa Katonda

1Kaakano olwo Omuyudaaya alina nkizo ki? Oba okukomolebwa kugasa ki? 23:2 Ma 4:8; Zab 147:19Kugasa nnyo mu ngeri nnyingi. Okusookera ddala, Abayudaaya be baateresebwa ebigambo bya Katonda.

33:3 a Beb 4:2 b 2Ti 2:13Kituufu nti abamu ku bo tebakkiriza bigambo ebyo. Obutakkiriza bwabwe buliggyawo obwesigwa bwa Katonda, olw’okuba nga bo tebaalina kukkiriza? 43:4 a Yk 3:33 b Zab 116:11 c Zab 51:4Tekisoboka. Katonda ye wa mazima, newaakubadde nga buli muntu yenna mulimba. Ebyawandiikibwa bigamba nti,

“Olyoke otuukirire mu bigambo byo,

era osinge bw’osala omusango.”

53:5 Bar 6:19; Bag 3:15Naye obanga obutali butuukirivu bwaffe bulagira ddala obutuukirivu bwa Katonda, tunaayogera ki? Kikyamu Katonda okutunyiigira era n’atubonereza? Mu kino njogera ng’omuntu. 63:6 Lub 18:25Nedda, sikikyamu. Katonda alisalira atya ensi omusango? 73:7 nny 4Naye obanga obulimba bwammwe bweyongera okugulumiza Katonda, nga kiraga Katonda bw’ali ow’amazima, oyinza okwebuuza lwaki okyasalirwa omusango ng’omwonoonyi? 83:8 Bar 6:1Era okyayinza okwongerako na kino nti tukolenga ebibi mulyoke muveemu ebirungi, ng’abamu bwe batuwaayiriza nti, bwe tugamba. Kyokka Katonda mwenkanya, era alibasalira nga bwe kibagwanira.

Tewali mutuukirivu n’omu

93:9 nny 19, 23; Bag 3:22Bino byonna bitegeeza ki? Kitegeeza nti ffe Abayudaaya tuli bulungi nnyo okusinga abantu abalala bonna? Nedda, n’akatono. Ffenna tufugibwa kibi, ne bwe baba Abayudaaya oba Abaamawanga. 10Ng’ebyawandiikibwa bwe bigamba nti:

“Tewali mutuukirivu n’omu.

11Tewali ategeera

wadde anoonya Katonda.

123:12 Zab 14:1-3Bonna baakyama,

bonna awamu baafuuka kitagasa;

tewali n’omu akola obulungi,

tewali n’omu.”

133:13 a Zab 5:9 b Zab 140:3“Emimiro gyabwe giringa entaana ezaasaamiridde,

n’emimwa gyabwe gijjudde obulimba.”

“Buli kigambo ekibavaamu kiri ng’obusagwa bw’omusota.”

143:14 Zab 10:7“Emimwa gyabwe gijjudde okukolima n’obukyayi.”

15“Ebigere byabwe byanguwa okuyiwa omusaayi,

16buli gye balaga baleka abantu baayo mu kuzikirira na mu nnaku njereere.

17Tebamanyi kkubo lya mirembe.”

183:18 Zab 36:1“N’okutya tebatya Katonda.”

193:19 a Yk 10:34 b Bar 2:12Tumanyi nga buli kyawandiikibwa mu mateeka, kyawandiikibwa ku lw’abo abafugibwa amateeka. Amateeka malambulukufu ku nsonga ezo, omuntu yenna aleme okwekwasa ensonga yonna, ate era ne Katonda okwongera okulaga ng’ensi yonna bwe yasobya. 203:20 a Bik 13:39; Bag 2:16 b Bar 7:7Kubanga tewali n’omu aliweebwa obutuukirivu mu maaso ga Katonda olw’ebikolwa by’amateeka. Mu mateeka mwe tutegeerera ddala ekibi.

Obutuukirivu buva mu Kukkiriza

213:21 a Bar 1:17; 9:30 b Bik 10:43Kale kaakano tutegeere ng’obutuukirivu bwa Katonda tebutuweebwa lwa kugondera Mateeka. Ekyo kikakasibwa Amateeka ne bannabbi. 223:22 a Bar 9:30 b Bar 10:12; Bag 3:28; Bak 3:11Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola. 23Ffenna twayonoona era tetusaanira kitiibwa kya Katonda. 243:24 a Bar 4:16; Bef 2:8 b Bef 1:7, 14; Bak 1:14; Beb 9:12Kyokka twaweebwa obutuukirivu bwa buwa olw’ekisa kye ekiri mu kununulibwa okuli mu Yesu Kristo; 253:25 a 1Yk 4:10 b Beb 9:12, 14 c Bik 17:30Katonda yaweereza Kristo okuba omutango, bwe tukkiriza Kristo olw’omusaayi gwe yayiwa. Alaga obutuukirivu bwe mu kugumiikiriza ebibi ebyakolebwa edda, be bantu abaayonoona mu biseera biri eby’edda. 26Kino kiraga Katonda bw’alaga okwaniriza kw’alina eri abantu mu biro bino, bwe baba n’okukkiriza mu Yesu.

273:27 Bar 2:17, 23; 4:2; 1Ko 1:29-31; Bef 2:9Kale lwaki twenyumiriza? Tewali nsonga etwenyumirizisa. Lwa kuba nga twagoberera amateeka? Nedda, lwa kukkiriza. 283:28 nny 20, 21; Bik 13:39; Bef 2:9Noolwekyo omuntu aweebwa obutuukirivu lwa kukkiriza so si lwa kugoberera mateeka. 293:29 Bar 9:24Oba Katonda wa Bayudaaya bokka? Si ye Katonda w’amawanga amalala gonna? Weewaawo nabo Katonda waabwe. 303:30 Bag 3:8Kubanga ye Katonda omu awa obutuukirivu abaakomolebwa, n’abo abataakomolebwa olw’okukkiriza kwabwe. 31Kale amateeka tugaggyewo olw’okukkiriza? Kikafuuwe. Tunyweza manyweze.