Abaruumi 2 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 2:1-29

Omusango Katonda aligusala na bwenkanya

12:1 a Bar 1:20 b 2Sa 12:5-7Gwe anenya omuntu omulala, okola ebibi bye bimu ne by’onenyeza omuntu oyo. Kyonoova olema okubeera n’eky’okuwoza, kubanga bw’okola bw’otyo, weesalira wekka omusango. 2Naye kaakano, tumanyi nga Katonda mutuufu okunenya abo abakola ebiri ng’ebyo. 3Naye ggwe omuntu obuntu, akola ebiri ng’ebyo, kyokka n’onenya abantu abalala, olowooza nga Katonda alikuleka? 42:4 a Bar 9:23; Bef 1:7, 18; 2:7 b Bar 11:22 c Bar 3:25 d Kuv 34:6 e 2Pe 3:9Oba onyooma ekisa kya Katonda ekingi, n’okugumiikiriza kwe n’obukwatampola bwe? Tomanyi ng’ekisa kya Katonda kikuleeta mu kwenenya?

52:5 Yud 6Naye olw’obukakanyavu bwo n’omutima oguteenenya, weeterekera ekiruyi ku lunaku lw’ekiruyi n’okubikkulirwa, Katonda lw’alisalirako omusango ogw’obutuukirivu. 62:6 Zab 62:12; Mat 16:27Katonda aliwa buli omu empeera esaanira ebikolwa bye. 72:7 a nny 10 b 1Ko 15:53, 54Aliwa obulamu obutaggwaawo abo abaakola obulungi, nga balina essuubi ery’okuweebwa ekitiibwa, ettendo n’obulamu obw’emirembe n’emirembe. 82:8 2Bs 2:12Naye abo abeenoonyeza ebyabwe, abajeemera amazima nga bagondera obutali butuukirivu, kiriba kiruyi na busungu. 92:9 1Pe 4:17Walibaawo ennaku n’okubonaabona ku buli mmeeme y’omuntu akola ebibi, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 102:10 nny 9Naye ekitiibwa n’ettendo n’emirembe biriba ku buli akola ebituufu, okusookera ku Muyudaaya n’oluvannyuma ku Munnaggwanga. 112:11 Bik 10:34Kubanga Katonda tasosola mu bantu.

122:12 Bar 3:19; 1Ko 9:20, 21Abo bonna abaayonoona olw’obutamanya mateeka, balizikirira; era n’abo bonna abaamanya amateeka ne boonoona, bwe batyo bwe balisalirwa omusango, okusinziira mu Mateeka. 132:13 Yak 1:22, 23, 25Kuba abawulira obuwulizi amateeka, si be bejjeerera eri Katonda, wabula abo abakola bye galagira, be baliweebwa obutuukirivu. 142:14 Bik 10:35Abaamawanga abatalina mateeka bwe bakolera mu buzaaliranwa ebintu eby’Amateeka, ebintu ebyo byennyini bifuuka amateeka gye bali, newaakubadde ng’Amateeka tegaabaweebwa. 15Ekyo kiraga ng’Amateeka gawandiikibbwa mu mitima gyabwe, era kikakasa munda mu birowoozo byabwe, ng’emitima gyabwe giribasaliriza omusango oba okubejjeereza okusinziira ku ekyo kye bamanyi. 162:16 a Mub 12:14 b Bik 10:42 c Bar 16:25Kino kiribaawo ku lunaku Katonda kw’aliramulira abantu olw’ebyo bye baakisa, ng’enjiri yange bw’eri ku bwa Yesu Kristo.

Abayudaaya n’amateeka

172:17 nny 23; Mi 3:11; Bar 9:4Abamu ku mmwe mweyita Bayudaaya. Mwesiga amateeka ne mwewaana nga bwe mumanyi Katonda. 18Bwe musoma ebyawandiikibwa muyiga engeri Katonda gy’ayagala mweyise ne muzuula ekituufu. 19Mukakasa nga bwe muli abakulembeze b’abazibe b’amaaso, era ettabaaza eri abo bonna abali mu kizikiza. 20Naye olwokubanga, amateeka ga Katonda gatuwa amagezi n’amazima, mulowooza muyinza okuyigiriza abatali bagezi n’abaana abato. 212:21 Mat 23:3, 4Kale ggwe ayigiriza abalala, lwaki toyinza kweyigiriza wekka? Ategeeza abalala obutabba, tobba? 222:22 Bik 19:37Ategeeza obutayenda, toyenda? Akyawa ebifaananyi, si ggwe onyaga eby’omu masabo? 232:23 nny 17Mwenyumiririza mu mateeka, naye ne muswaza Katonda olw’obutagatuukiriza. 242:24 Is 52:5; Ez 36:22Ekyawandiikibwa kigamba nti, “Olw’ebikolwa byammwe ebyo, erinnya lya Katonda kyelivudde livvoolebwa mu mawanga.”

252:25 a Bag 5:3 b Yer 4:4Okukomolebwa kugasiza ddala bw’okwata amateeka, naye bw’otagatuukiriza tewaba njawulo wakati wo n’atali mukomole. 262:26 a Bar 8:4 b 1Ko 7:19Kale obanga atali mukomole akwata amateeka, talibalibwa ng’eyakomolebwa? 272:27 Mat 12:41, 42Noolwekyo ataakomolebwa mu buzaaliranwa naye ng’akuuma amateeka, alikusaliza omusango gwe alina amateeka amawandiike n’otagatuukiriza ate nga wakomolebwa.

282:28 a Mat 3:9; Yk 8:39; Bar 9:6, 7 b Bag 6:15Okweyisa ng’Omuyudaaya ate nga wakomolebwa, tekikufuula Muyudaaya yennyini. 292:29 a Baf 3:3; Bak 2:11 b Bar 7:6 c Yk 5:44; 1Ko 4:5; 2Ko 10:18; 1Bs 2:4; 1Pe 3:4Okuba Omuyudaaya yennyini oteekwa okugondera amateeka. Okukomolebwa okutuufu kwe kukomolebwa okubaawo mu mutima, so si okw’omubiri. Omuntu ng’oyo atenderezebwa Katonda, so si abantu.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

罗马书 2:1-29

上帝公义的审判

1因此,你这论断人的啊,不管你是谁,都难逃罪责。你在什么事上论断别人,就在什么事上定了自己的罪,因为你论断别人的事,自己也在做。 2我们都知道,上帝必按真理审判做这些事的人。 3你这人啊,你论断别人,自己却做同样的事,你以为自己能逃脱上帝的审判吗? 4还是你藐视祂深厚的慈爱、宽容和忍耐,不知道祂的慈爱是要引导你悔改吗? 5你这样硬着心不肯悔改等于是为自己积蓄烈怒,上帝的烈怒在祂施行公义审判的那天必临到你。 6上帝必照各人的行为施行赏罚。 7凡是恒心行善、寻求荣耀、尊贵和永恒福分的人,祂要把永生赐给他们; 8至于那些自私自利、违背真理、行为不义的人,祂的烈怒和怒气要降在他们身上。 9一切作恶之人必受患难和痛苦,先是犹太人,然后是希腊人。 10祂要将荣耀、尊贵和平安赐给一切行善的人,先是犹太人,然后是希腊人。 11因为上帝不偏待人。

12没有上帝律法的人若犯罪,虽然不按律法受审判,仍要灭亡;有上帝律法的人若犯罪,必按律法受审判。 13因为上帝眼中的义人不是听到律法的人,而是遵行律法的人。 14没有律法的外族人若顺着天性做合乎律法的事,他们虽然没有律法,自己就是自己的律法。 15这表明律法的要求刻在他们心里,他们的良心也可以证明,因为他们的思想有时指控他们,有时为他们辩护。 16按照我所传的福音,到了审判之日,上帝要借着耶稣基督审判人一切隐秘的事。

犹太人与律法

17你自称是犹太人,倚仗上帝所赐的律法,自夸与上帝有特别的关系; 18你受过律法的教导,知道上帝的旨意,能明辨是非; 19你自信可以做盲人的向导、黑暗中的人的光、 20愚昧人的师傅、小孩子的老师,因为你从律法中得到了知识和真理。 21那么,你这教导别人的,为什么不教导自己呢?你教导人不可偷盗,自己却偷盗吗? 22你告诉他人不可通奸,自己却通奸吗?你憎恶偶像,自己却去偷庙里的东西吗? 23你以律法自夸,自己却违犯律法羞辱上帝吗? 24正如圣经上说:“因你们的缘故,上帝的名在外族人中受到亵渎!”

25如果你遵行律法,割礼才有价值;如果你违犯律法,受了割礼也如同未受割礼。 26如果未受割礼的人遵行律法的教导,他岂不算是受了割礼吗? 27身体未受割礼却遵行律法的人,必审判你这有律法条文、受了割礼却违犯律法的人。 28因为徒具外表的犹太人不是真正的犹太人,身体上的割礼也不是真正的割礼。 29唯有从心里做犹太人的才是真犹太人,真割礼是借着圣灵在心里受的割礼,不在于律法条文。这样的人得到的称赞不是从人来的,而是从上帝来的。