Abaruumi 16 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 16:1-27

Okulamusa

116:1 a 2Ko 3:1 b Bik 18:18Kaakano mbanjulira Foyibe mwannyinaffe, era omuweereza w’ekkanisa16:1 Foyibe yali mudiikoni mu kkanisa eyo ey’omu Kenkereya. 216:2 Baf 2:29Mumwanirize mu Mukama waffe, nga bwe kigwanidde abatukuvu, era muyimirire naye nga mumuyamba mu nsonga yonna gye yeetaaga, kubanga naye yennyini yayamba bangi era nange kennyini.

316:3 a Bik 18:2 b nny 7, 9, 10Mundabire Pulisikira ne Akula, bwe tukola omulimu mu Kristo Yesu, 4abeewaayo wakiri okutemwako emitwe olw’obulamu bwange, era si beebaza bokka wabula n’Ekkanisa z’Abamawanga zonna.

516:5 a 1Ko 16:19; Bak 4:15; Fir 2 b 1Ko 16:15Mutuuse okulamusa kwange eri abo bonna abakuŋŋaana ng’ekkanisa mu maka gaabwe.

Mundabire mukwano gwange omwagalwa Epayineeto, kye kibala eky’olubereberye eky’omu Asiya eri Kristo.

6Mundabire Maliyamu eyabakolera ennyo.

716:7 nny 11, 21Mundabire Anduloniiko ne Yuniya ab’ekika kyange, abaasibibwa awamu nange mu kkomera, era bassibwamu nnyo ekitiibwa abatume era be bansooka okubeera mu Kristo.

8Mundabire Ampuliyaato omwagalwa wange mu Mukama waffe.

916:9 nny 3Mundabire Ulubano, mukozi munnaffe mu Kristo, n’omwagalwa waffe Sutaku.

10Mundabire Apere, asiimibwa mu Kristo.

Mundabire n’ab’omu nnyumba ya Alisutobulo.

1116:11 nny 7, 21Mundabire Kerodiyoni muganda wange.

Mundabire ab’omu nnyumba ya Nalukiso.

12Mundabire Terufayina ne Terufoosa, abaakola ennyo omulimu gwa Mukama waffe.

Mundabire Perusi omwagalwa eyakola ennyo omulimu mu Mukama waffe.

13Mundabire Luufo Mukama gwe yalonda, era ne nnyina ali nga mmange.

14Mundabire Asunkulito ne Felegoni, ne Kerume, ne Patuloba, ne Keruma era n’abooluganda abali nabo.

1516:15 a nny 2 b nny 14Mundabire Firologo ne Yuliya, ne Nerewu ne mwannyina, ne Olumpa n’abatukuvu bonna abali awamu nabo.

1616:16 1Ko 16:20; 2Ko 13:12; 1Bs 5:26Mulamusagane n’okunywegera okutukuvu.

Ekkanisa zonna eza Kristo, zibalamusizza.

Ebisembayo

1716:17 a Bag 1:8, 9; 1Ti 1:3; 6:3 b 2Bs 3:6, 14; 2Yk 10Noolwekyo mbakuutira abooluganda mwegenderezenga abo abaleeta enjawukana, n’eby’esittaza ebikontana n’okuyigiriza kwe mwayiga, era mubakubenga amabega. 1816:18 a Baf 3:19 b Bak 2:4Kubanga abantu ng’abo tebaweereza Mukama waffe Yesu, wabula embuto zaabwe. Bakozesa ebigambo ebirungi eby’okuwaanawaana nga balimbalimba emitima gy’abanafu. 1916:19 a Bar 1:8 b Mat 10:16; 1Ko 14:20Kubanga amawulire ag’okuwulira kwammwe gaabuna mu bantu bonna, kyenvudde mbasanyukira. Naye njagala mubenga bagezi mu kukola obulungi, era abalongoofu abeewala ekibi.

2016:20 a Bar 15:33 b Lub 3:15 c 1Bs 5:28Kaakano Katonda ow’emirembe ajja kubetentera Setaani wansi w’ebigere byammwe, mangu.

Ekisa kya Mukama waffe Yesu kibeerenga nammwe.

2116:21 a Bik 16:1 b Bik 13:1 c Bik 17:5 d nny 7, 11Timoseewo mukozi munnange, ne Lukiyo ne Yasooni wamu ne Sosipateri, baganda bange, babatumidde.

22Nange Terutiyo16:22 Terutiyo ye yakubanga tayipu nga Pawulo awandiika ebbaluwa ze awandiika ebbaluwa eno, mbatumidde mu Mukama waffe.

2316:23 Bik 19:22Gaayo16:23 Gaayo yandiba Gaayo ow’omu 1Ko 1:14, Pawulo gwe yabatiza ansuza, n’ekkanisa yonna babalamusizza. Mundabire Erasuto omuwanika w’ekibuga, ne Kwaluto muganda we.

24Ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe mwenna. Amiina.

Pawulo abasiibula n’okusaba

2516:25 a Bef 3:20 b Bar 2:16 c Bef 1:9; Bak 1:26, 27Kaakano eri oyo ayinza okubanyweza ng’enjiri yange n’okubuulira mu Kristo Yesu bwe biri, ng’ekyama ky’okubikkulirwa eby’ebiro eby’emirembe n’emirembe ebyasirikirwa, bwe kiri, 26kaakano nga bannabbi bwe baayogerera mu byawandiikibwa, ng’ekiragiro kya Katonda ataggwaawo bwe kiri, olw’okugonda mu kukkiriza eri Abaamawanga bonna abaamanyibwa, 2716:27 Bar 11:36Katonda omu yekka ow’amagezi, agulumizibwenga ku bwa Yesu Kristo, emirembe n’emirembe. Amiina.