Abaruumi 15 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 15:1-33

Temwesanyusa Mwekka

115:1 Bar 14:1Ffe abanywevu kitugwanidde okwetikkanga obunafu bw’abo abatali banywevu, so si okwesanyusa ffekka. 215:2 a 1Ko 10:33 b Bar 14:19Buli omu ku ffe asanyusenga muliraanwa we mu bulungi olw’okumuzimba mu kukkiriza. 315:3 a 2Ko 8:9 b Zab 69:9Kubanga ne Kristo teyeesanyusa yekka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Ebivume by’abo abaakuvuma byagwa ku nze.” 415:4 Bar 4:23, 24Kubanga ebyawandiikibwa byonna edda, byawandiikibwa kutuyigiriza, tulyoke tugumiikirizenga era tuzzibwemu amaanyi, ate tube n’essuubi.

515:5 Bar 12:16; 1Ko 1:10Kaakano Katonda w’okugumiikiriza era azaamu amaanyi, abawe okulowoozanga obumu buli omu eri munne mu Kristo Yesu, 615:6 Kub 1:6mu mwoyo gumu n’eddoboozi limu mulyoke mugulumizenga Katonda, Kitaawe wa Mukama waffe Yesu Kristo.

715:7 Bar 14:1Noolwekyo mwanirizaganenga, nga Kristo bwe yabaaniriza olw’ekitiibwa kya Katonda. 815:8 a Mat 15:24; Bik 3:25, 26 b 2Ko 1:20Kubanga njogera nti Kristo yafuuka muweereza w’abakomole olw’amazima ga Katonda alyoke anyweze ebisuubizo bya bajjajjaffe 915:9 a Bar 3:29 b Mat 9:8 c 2Sa 22:50; Zab 18:49n’Abaamawanga balyoke bagulumize Katonda olw’okusaasira kwe, nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Kyendiva nkutendereza mu Baamawanga,

era ne ntendereza erinnya lyo.”

1015:10 Ma 32:43Era n’ayongera n’agamba nti:

“Mmwe Abaamawanga musanyukirenga wamu n’abantu be.”

1115:11 Zab 117:1Era nate nti,

“Abaamawanga mwenna, mutendereze Mukama,

era abantu bonna bamutenderezenga.”

1215:12 a Kub 5:5 b Is 11:10; Mat 12:21Ne Nnabbi Isaaya agamba nate nti,

“Walibaawo muzzukulu wa Yese alijja

era alisituka okufuga Abaamawanga,

era mu ye mwe muliba essuubi lyabwe.”

1315:13 a Bar 14:17 b nny 19; 1Ko 2:4; 1Bs 1:5Kaakano Katonda w’okusuubira, abajjuze essanyu lyonna n’emirembe mu kukkiriza, mulyoke mweyongerenga mu ssuubi ery’amaanyi aga Mwoyo Mutukuvu.

Pawulo Omuweereza w’Abaamawanga

1415:14 a Bef 5:9 b 2Pe 1:12Era matidde baganda bange, nze kennyini, nga nammwe bennyini mujjudde obulungi, nga mujjudde okutegeera kwonna, era nga muyinza okubuuliriragana. 1515:15 Bar 12:3Naye mu bitundu ebimu eby’ebbaluwa eno nabawandiikira n’obuvumu nga mbajjukiza olw’ekisa ekyampebwa okuva eri Katonda, 1615:16 a Bik 9:15; Bar 11:13 b Bar 1:1 c Is 66:20kubanga nze ndi muweereza wa Kristo Yesu eri Abaamawanga, nga nkola obuweereza obutukuvu nga mbulira Enjiri ya Katonda, ekiweebwayo ky’Abaamawanga kiryoke kikkirizibwe, nga kitukuzibbwa Mwoyo Mutukuvu.

1715:17 a Baf 3:3 b Beb 2:17Noolwekyo neenyumiririza mu Kristo olw’omulimu gwa Katonda; 1815:18 a Bik 15:12; 21:19; Bar 1:5 b Bar 16:26kubanga siryaŋŋanga kwogera bintu Kristo by’atakolera mu nze Abaamawanga balyoke babeere abawulize mu kigambo ne mu bikolwa, 1915:19 a Yk 4:48; Bik 19:11 b nny 13 c Bik 22:17-21ne mu maanyi ag’obubonero n’eby’amagero, ne mu maanyi ag’Omwoyo wa Katonda. Bwe ntyo okuva e Yerusaalemi n’okwetooloola okutuuka mu Iruliko15:19 Iruliko: mu biro bino y’ensi ya Yugosiloviya mu nsi z’Ebulaaya, mbulidde Enjiri ya Kristo mu bujjuvu. 2015:20 2Ko 10:15, 16Nduubirira okubuulira Enjiri mu bifo etayatulwanga linnya lya Kristo, nneme okuzimba ku musingi gw’omuntu omulala, 2115:21 Is 52:15nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Abo abatategeezebwanga bimufaako baliraba,

n’abo abatawulirangako balitegeera.”

Pawulo Ategeka Okukyalira Ruumi

2215:22 Bar 1:13Kyennava nziyizibwanga ennyo okujja gye muli; 2315:23 Bik 19:21; Bar 1:10, 11naye kaakano nga bwe sikyalina kifo mu bitundu by’eno, ate nga maze emyaka mingi nga njagala okujja gye muli, nsubira okujjayo, 2415:24 nny 28bwe ndiba nga ndaga mu Esupaniya. Kubanga nsuubira okubalaba nga mpitayo, n’oluvannyuma munnyambe okuva eyo ndyoke ntuukirize ekitundu ekisooka. 2515:25 a Bik 19:21 b Bik 24:17Naye kaakano ndaga e Yerusaalemi okuweereza abatukuvu. 2615:26 a Bik 16:9; 2Ko 8:1 b Bik 18:12Ab’omu Makedoniya ne mu Akaya baasanyuka okuwaayo ku byabwe eri abatukuvu abaavu ab’omu Yerusaalemi. 2715:27 1Ko 9:11Baasanyuka era balina ebbanja gye bali, kubanga ng’Abaamawanga bwe baagabana ku bintu eby’omwoyo okuva gye bali, n’Abaamawanga nabo basaanye okubaweereza mu bintu eby’omubiri. 28Noolwekyo bwe ndimaliriza ekyo ne mbakwasa ekibala ekyo, ndiyitira ewammwe nga ŋŋenda Esupaniya. 2915:29 Bar 1:10, 11Era mmanyi nga bwe ndijja gye muli, ndijja n’omukisa gwa Kristo mu bujjuvu.

3015:30 a Bag 5:22 b 2Ko 1:11; Bak 4:12Kaakano mbakuutira abooluganda, mu Mukama waffe Yesu Kristo ne mu kwagala kw’Omwoyo, okufubiranga awamu nange, nga munsabira eri Katonda, 3115:31 2Bs 3:2mpone abo abajeemu mu Buyudaaya, n’obuweereza bwange busiimibwe abatukuvu mu Yerusaalemi, 3215:32 a Bar 1:10, 13 b Bik 18:21 c 1Ko 16:18ndyoke nsobole okujja gye muli olw’okwagala kwa Katonda, okuwummulira awamu nammwe, nga ndi musanyufu. 3315:33 Bar 16:20; 2Ko 13:11; Baf 4:9; 1Bs 5:23; Beb 13:20Kale kaakano Katonda ow’emirembe, abeerenga nammwe mwenna. Amiina.