Abaruumi 14 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 14:1-23

Obutanenyagananga lwa Byakulya

114:1 Bar 15:1; 1Ko 8:9-12Mwanirizenga omunafu mu kukkiriza, nga temumusalira musango. 2Wabaawo omuntu omu akkiririza mu kulya ebintu byonna, nga so ye omunafu akoma ku nva kwokka. 314:3 a Luk 18:9 b Bak 2:16Omuntu asalawo okubaako ky’alya tanyoomanga atakirya, n’oyo atalya kintu alemenga kusalira musango oyo akirya kubanga Katonda yamusembeza. 414:4 Yak 4:12Ggwe ani asalira omusango omuweereza w’omuntu omulala? Mukama we y’amanya oba atuukiriza emirimu gye oba tagituukiriza. Naye aligituukiriza kubanga Mukama we alimusobozesa.

514:5 Bag 4:10Omuntu omu agulumiza olunaku olumu okusinga olulala, naye omulala n’alowooza nti ennaku zonna zenkanankana. Noolwekyo buli muntu anywererenga ku ky’alowooza bwe kiba nga kye kituufu. 614:6 Mat 14:19; 1Ko 10:30, 31; 1Ti 4:3, 4Akuza olunaku aba alukuza eri Mukama. Oyo alya aba alya ku bwa Mukama, kubanga aba agulumiza Katonda. N’oyo atalya aba talya ku bwa Mukama, era aba agulumiza Katonda. 714:7 2Ko 5:15; Bag 2:20Kubanga tewali n’omu ku ffe abeera omulamu ku bubwe yekka, era tewali n’omu afa ku lulwe. 814:8 Baf 1:20Kubanga bwe tuba abalamu, tuba balamu ku bwa Mukama, oba bwe tufa, tufa ku bwa Mukama. Kale nno bwe tuba abalamu oba bwe tufa, tuli ba Mukama.

914:9 a Kub 1:18 b 2Ko 5:15Kubanga ekyo Kristo kye yafiira ate n’abeera omulamu, alyoke abeere Mukama w’abo abaafa era n’abalamu. 1014:10 2Ko 5:10Kale ggwe lwaki osalira muganda wo omusango? Oba lwaki onyooma muganda wo? Kubanga ffenna tuliyimirira mu maaso g’entebe ya Katonda, ey’okulamula. 1114:11 Is 45:23Kubanga kyawandiikibwa nti,

“ ‘Nga bwe ndi omulamu,’ bw’ayogera Mukama,

‘buli vviivi lirinfukaamirira

era na buli lulimi lulyatula Katonda.’ ”

1214:12 Mat 12:36; 1Pe 4:5Noolwekyo buli omu ku ffe alyennyonnyolako eri Katonda.

Okwesittaza Abalala

1314:13 Mat 7:1Noolwekyo tetusaliragananga misango. Tumalirire obuteesittaza waluganda wadde okumutega okugwa mu kibi. 1414:14 a Bik 10:15 b 1Ko 8:7Mmanyi era nkakasiza ddala mu Mukama waffe Yesu, nga tewali kya muzizo ku bwakyo, wabula kya muzizo eri oyo akirowooza nga kya muzizo. 1514:15 a Bef 5:2 b 1Ko 8:11Kubanga obanga muganda wo anakuwala olw’ekyo ky’olya, oba tokyatambulira mu kwagala; tolyanga kintu kyonna ky’omanyi nga kinaakyamya omuntu oyo Kristo gwe yafiirira. 1614:16 1Ko 10:30Ekirungi ekiri mu mmwe kireme okuvumibwa. 1714:17 a 1Ko 8:8 b Bar 15:13Kubanga obwakabaka bwa Katonda si kulya na kunywa, wabula butuukirivu na mirembe, na ssanyu mu Mwoyo Omutukuvu. 1814:18 2Ko 8:21Kubanga aweereza Kristo mu ebyo asanyusa nnyo Katonda era asiimibwa abantu.

1914:19 a Zab 34:14 b Bar 15:2Noolwekyo tunyiikirirenga eby’emirembe, n’eby’okuzimbagana ffekka ne ffekka. 2014:20 a nny 15 b 1Ko 8:9-12Toyonoonanga mulimu gwa Katonda olw’emmere. Ebintu byonna birongoofu, naye ekibi kwe kulya ekyo ekireetera omulala okwesittala. 2114:21 1Ko 8:13Kirungi obutalya nnyama newaakubadde okunywa wayini newaakubadde ekintu kyonna ekyesittaza muganda wo.

2214:22 1Yk 3:21Ky’okkiririzaamu mu kulya kikuume nga kya kyama ne Katonda. Alina omukisa ateesalira musango kumusinga mu ekyo ky’alowooza nga kituufu. 2314:23 nny 5Naye oyo abuusabuusa bw’alya, omusango gumaze okumusinga, kubanga talya lwa kukkiriza, era na buli ekitava mu kukkiriza kiba kibi.