Abaruumi 11 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 11:1-36

111:1 a 1Sa 12:22; Yer 31:37 b 2Ko 11:22 c Baf 3:5Kale ka mbuuze: Katonda yeegoberako ddala abantu be? Kikafuuwe. Kubanga nange ndi Muyisirayiri, era muzzukulu wa Ibulayimu, ow’omu kika kya Benyamini. 211:2 Bar 8:29Katonda tasuulanga bantu be, be yalonda okuva ku lubereberye. Oba temumanyi ekyawandiikibwa ekyogera ku Eriya bwe yeegayirira Katonda nga yeemulugunya olwa Isirayiri? 311:3 1Bk 19:10, 14Yagamba nti, “Mukama, basse bannabbi bo ne bamenyaamenya n’ebyoto byo. Nze nzekka nze nsigaddewo, ate bannoonya okunzita.” 411:4 1Bk 19:18Naye Katonda yamuddamu atya? Yamugamba nti: “Neesigalizzaawo abasajja kasanvu abatafukaamirira Baali.” 511:5 Bar 9:27Era bwe kityo ne mu biro bino waliwo ekitundu ekyasigalawo abaalondebwamu olw’ekisa. 611:6 Bar 4:4Naye obanga lwa kisa, si lwa bikolwa nate, kubanga ekisa kyandibadde tekikyali kisa.

711:7 a Bar 9:31 b nny 25; Bar 9:18Kale tugambe ki? Abayisirayiri baalemwa okufuna kye baali banoonya, wabula be yalondamu be baakifuna, abalala ne bakakanyazibwa, emitima, 811:8 a Mat 13:13-15 b Ma 29:4; Is 29:10nga bwe kyawandiikibwa nti,

“Katonda yabawa omwoyo ogw’okubongoota,

n’aleetera amaaso gaabwe obutalaba,

n’amatu gaabwe obutawulira

okutuusa leero.”

9Ne Dawudi yagamba nti,

“Leka ekijjulo kyabwe kibafuukire omutego, era ekitimba,

eky’okubatega era empeera ebasaanira.

1011:10 Zab 69:22, 23Amaaso gaabwe ka gabeeko ekifu, baleme okulaba.

Era batambule nga bakootakoota emirembe n’emirembe.”

1111:11 a nny 1 b Bik 13:46 c Bar 10:19Kale ka mbuuze, kyebaava beesittala balyoke bagwe? Kikafuuwe. Naye olw’okwonoona kwabwe, obulokozi kyebwava bujja eri Abaamawanga, Abayudaaya balyoke bakwatibwe obuggya. 1211:12 nny 25Kale obanga okwonoona kwabwe kutegeeza bugagga eri ensi, n’okulemwa kwabwe nga kutegeeza bugagga eri Abaamawanga, okuganyulwa kwabwe tekulisingawo!

1311:13 Bik 9:15Kaakano njogera gye muli Abaamawanga, nga bwe ndi omutume eri Abaamawanga, ngulumiza obuweereza bwange, 1411:14 a nny 11; Bar 10:19 b 1Ko 1:21; 1Ti 2:4; Tit 3:5singa kisoboka nkwase baganda bange obuggya abamu ku bo basobole okulokolebwa. 1511:15 a Bar 5:10 b Luk 15:24, 32Kubanga obanga okugobebwa kwabwe kwe kutabaganya ensi, okusembezebwa kwabwe kulitegeeza ki, bwe kutaliwa bafu bulamu? 1611:16 Lv 23:10, 17; Kbl 15:18-21Kale kaakano obanga ekitole ky’eŋŋano ekandiddwa ne kiweebwayo ng’ekibala ekibereberye kitukuvu, n’eŋŋaano yonna ntukuvu; era obanga ekikolo kitukuvu, n’amatabi matukuvu.

1711:17 a Yer 11:16; Yk 15:2 b Bik 2:39; Bef 2:11-13Naye obanga amatabi agamu gaawogolebwa, ate nga ggwe eyali omuzeyituuni ogw’omu nsiko wasimbibwa ku kikolo kyagwo, n’ogabana ku bugimu bw’ekikolo ky’omuzeyituuni, 1811:18 Yk 4:22teweenyumiririzanga ku matabi ago; naye bwe weenyumirizanga, jjukira nga si gwe owaniridde ekikolo, naye ekikolo kye kikuwaniridde. 19Oyinza okwogera nti, “Amatabi gaawogolwako, ndyoke nsimbibweko.” 2011:20 a 1Ko 10:12; 2Ko 1:24 b Bar 12:16; 1Ti 6:17 c 1Pe 1:17Ky’oyogedde kiba kituufu. Weewaawo gaawogolwako lwa butakkiriza, kyokka ggwe onywedde lwa kukkiriza. Teweenyumirizanga, naye otyanga. 21Kuba obanga Katonda teyasaasira matabi ga buzaaliranwa, nammwe ayinza obutabasaasira.

2211:22 a Bar 2:4 b 1Ko 15:2; Beb 3:6 c Yk 15:2Kale mufumiitirize ku kisa n’obukambwe bwa Katonda. Aba mukambwe eri abo abaagwa, naye n’aba wa kisa eri ggwe, bwe weeyongera okunywerera mu kisa kye, kubanga naawe bw’otonywere oliwogolwako. 2311:23 2Ko 3:16Era n’abo oluvannyuma bwe balikkiriza, balizzibwako ku nduli kubanga Katonda ayinza okubazaako kuli. 24Kuba obanga ggwe mu buzaaliranwa bwo gwe eyawogolwa ku muzeyituuni, wazzibwa ku muzeyituuni ogutali gwa buzaaliranwa bo, abo ab’obuzaaliranwa tebalisinga nnyo okuzzibwa ku muzeyituuni gwabwe bo?

2511:25 a Bar 1:13 b Bar 16:25 c Bar 12:16 d nny 7; Bar 9:18 e Luk 21:24Kubanga ssaagala mmwe abooluganda obutamanya kyama kino nga mwelowooza okuba ab’amagezi, ng’abamu ku Bayisirayiri bwe baakakanyaza emitima gyabwe, okutuusa mmwe Abaamawanga, lwe muliyingira. 26N’oluvannyuma Isirayiri yenna alirokolebwa, ng’Ekyawandiikibwa bwe kigamba nti,

“Omulokozi aliva mu Sayuuni,

era aliggyawo obutatya Katonda mu bazzukulu ba Yakobo.

2711:27 Is 27:9; Beb 8:10, 12Era eyo ye ndagaano yange nabo,

bwe ndibaggyako ebibi byabwe.”

2811:28 a Bar 5:10 b Ma 7:8; 10:15; Bar 9:5Mu njiri balabe ku lwammwe, naye mu kulondebwa baagalwa olwa bajjajjaabwe. 2911:29 a Bar 8:28 b Beb 7:21Kubanga Katonda bw’agabira abantu ebirabo oba bw’abayita, teyejjusa. 3011:30 Bef 2:2Kuba nga mmwe edda bwe mwajeemera Katonda, kyokka kaakano nga musaasiddwa olw’obujeemu bw’Abayudaaya, 31bwe batyo nabo kaakano bajeemu, eri ekyo ekyali okusaasira gye muli, balyoke basaasirwe. 3211:32 Bar 3:9Kubanga Katonda yaleka abantu bonna mu bujeemu alyoke abakwatirwe ekisa.

3311:33 a Bar 2:4 b Zab 92:5 c Yob 11:7Kale nga Katonda wa kitalo,

ng’amagezi ge mangi n’okutegeera kwe kungi era n’obugagga bungi;

ensala ye ey’emisango nga tekeberekeka, n’amakubo ge tegekkaanyizika.

3411:34 Is 40:13, 14; Yob 15:8; 36:22; 1Ko 2:16“Kubanga ani ayinza okutegeera okulowooza kwa Mukama?

Oba ani ayinza okumuluŋŋamya?”

3511:35 Yob 35:7“Oba ani eyali asoose okumuwa ekintu,

alyoke amuddizeewo?”

3611:36 a 1Ko 8:6; Bak 1:16; Beb 2:10 b Bar 16:27Kubanga byonna biva gy’ali, era biyita mu ye era bidda gy’ali.

Ekitiibwa kibe gy’ali emirembe gyonna. Amiina.