Abaruumi 10 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaruumi 10:1-21

1Abooluganda, kye njagala mu mutima gwange era kye nsabira Abayisirayiri eri Katonda, kwe kulokolebwa. 210:2 Bik 21:20Kubanga nkakasa nga balina obunyiikivu eri Katonda, naye si mu kutegeera. 310:3 Bar 1:17Mu butamanya butuukirivu bwa Katonda, bagezaako okwenoonyeza obutuukirivu, nga bagondera amateeka mu kifo ky’okugondera obutuukirivu bwa Katonda. 410:4 a Bag 3:24; Bar 7:1-4 b Bar 3:22Kristo atuwa amakulu amajjuvu, buli amukkiriza n’amuwa obutuukirivu.

510:5 Lv 18:5; Nek 9:29; Ez 20:11, 13, 21; Bar 7:10Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.” 610:6 a Bar 9:30 b Ma 30:12Naye okukkiriza okuva mu butuukirivu, kugamba nti, “Toyogeranga mu mutima gwo nti, ‘Ani alirinnya mu ggulu?’ (kwe kuggya Kristo mu ggulu) 7newaakubadde okugamba nti, ‘Ani alikka emagombe?’ (kwe kuggya Kristo mu bafu.)” 810:8 Ma 30:14Abo bonna abalina okukkiriza mu Kristo bagamba nti, “Ekigambo kiri kumpi naawe, kiri mu kamwa ko era kiri mu mutima gwo,” kye kigambo eky’okukkiriza kye tubuulira. 910:9 a Mat 10:32; Luk 12:8 b Bik 2:24Bw’oyatula n’akamwa ko nti, Yesu ye Mukama, n’okkiriza n’omutima gwo nga Katonda yamuzuukiza mu bafu, olokoka. 10Kubanga omuntu akkiriza na mutima gwe n’aweebwa obutuukirivu, era ayatula na kamwa ke n’alokoka. 1110:11 Is 28:16; Bar 9:33Kubanga Ebyawandiikibwa bigamba nti, “Buli amukkiriza taliswazibwa.” 1210:12 a Bar 3:22, 29 b Bik 10:36Tewali njawulo wakati wa Muyudaaya na Muyonaani, kubanga Mukama waabwe y’omu era ayanukula abo bonna abamukoowoola. 1310:13 a Bik 2:21 b Yo 2:32Buli alikoowoola erinnya lya Mukama alirokoka. 14Kale balikoowoola batya oyo gwe batakkiririzaamu? Era balikkiriza batya oyo gwe batawulirangako? Era baliwulira batya awatali abuulira? 1510:15 Is 52:7; Nak 1:15Era balibuulira batya nga tebatumiddwa? Ekyawandiikibwa nga bwe kigamba nti, “Ebigere by’abo abategeeza amawulire amalungi, nga birungi.” 1610:16 Is 53:1; Yk 12:38Naye si bonna abaagondera Enjiri. Isaaya agamba nti, “Mukama, waliwo akkirizza obubaka bwaffe?” 1710:17 a Bag 3:2, 5 b Bak 3:16Noolwekyo okukkiriza kujja olw’okuwulira ekigambo kya Kristo. 1810:18 Zab 19:4; Mat 24:14; Bak 1:6, 23; 1Bs 1:8Naye mulowooza Abayisirayiri tebaawulira? Weewaawo baawulira. Ebyawandiikibwa bigamba nti,

“Eddoboozi lyabwe lyabuna mu nsi zonna,

n’ebigambo byabwe byatuuka ku nkomerero z’ensi.”

1910:19 a Bar 11:11, 14 b Ma 32:21Abayisirayiri baabitegeera oba tebaabitegeera? Bw’ati Musa bw’addamu ekibuuzo ekyo:

“Ndibaleetera okukwatirwa obuggya abatali ggwanga,

ne mbasunguwaza olw’eggwanga eritalina kutegeera.”

2010:20 Is 65:1; Bar 9:30Ne Isaaya yali muvumu bwe yagamba nti,

“Nazuulibwa abo abatannoonya,

ne ndabika eri abo abatambuulirizaako.”

2110:21 Is 65:2Naye eri Isirayiri agamba nti,

“Olunaku lwonna nalumala nga ngolodde emikono gyange

eri eggwanga ekkakanyavu era abantu abeewaggula.”