Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya

Abaruumi 1

1Nze Pawulo, omuddu[a] wa Yesu Kristo, Mukama waffe Kristo, nayitibwa okuba omutume, eyayawulibwa okubuulira Enjiri ya Katonda, gye yasuubiriza mu bannabbi be mu byawandiikibwa ebitukuvu, ebyogera ku Mwana we, eyava mu zadde lya Dawudi mu mubiri, eyakakasibwa okuba Omwana wa Katonda mu maanyi aga Mwoyo Mutukuvu olw’okuzuukira kw’abafu, ye Yesu Kristo Mukama waffe. Mu Yesu Kristo Mukama waffe, mwe twaweerwa ekisa, ne mpitibwa okuba omutume, amawanga gonna galyoke gamugondere mu kukkiriza ku lw’erinnya lye. Nammwe muli mu abo abaayitibwa okuba abayigirizwa ba Yesu Kristo.

Mpandikira abo bonna ababeera mu Ruumi, abaagalwa ba Katonda, abaayitibwa okuba abatukuvu.[b]

Ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe ne Yesu Kristo Mukama waffe, bibeerenga nammwe.

Pawulo Ayagala Okukyala mu Ruumi

Okusooka neebaza nnyo Katonda wange ku lwammwe mwenna, ku bwa Yesu Kristo, olw’okukkiriza kwammwe okunywevu okwogerwako mu nsi yonna. Katonda gwe mpeereza n’omutima gwange gwonna nga mbulira Enjiri ey’Omwana we, ye mujulirwa wange, nga bwe mbasabira bulijjo, 10 nga mbegayiririra bulijjo mu kusaba kwange, ndyoke nsobole okubatuukako nga Katonda bw’anaayagala.

11 Kubanga neesunga nnyo okubalaba, ndyoke mbawe ku kirabo eky’omwoyo, mulyoke munywezebwe okutuuka ku nkomerero, 12 kwe kugamba: twezengamu amaanyi ffekka ne ffekka olw’okukkiriza kwe tulina. 13 Wabula njagala mumanye kino, abooluganda nti, Emirundi mingi nateekateeka okujja gye muli naye ne nziyizibwa okutuusa kaakano, ndyoke nkungule ebibala mu mmwe, nga bwe kiri mu mawanga amalala.

14 Kubanga nnina ebbanja eri Abayonaani n’abatali Bayonaani, n’eri ab’amagezi n’eri abasirusiru, 15 era nammwe ab’e Ruumi kyenva njagala okubabuulira Enjiri.

16 Enjiri tenkwasa nsonyi: kubanga ge maanyi ga Katonda agalokola buli muntu akkiriza, okusooka eri Omuyudaaya n’eri Omunnamawanga. 17 Kubanga mu yo obutuukirivu bwa Katonda bubikkulibwa. Obutuukirivu obwo butuweebwa olw’okukkiriza, olw’okukkiriza kwokka, nga bwe kyawandiikibwa nti, “Abatuukirivu banaabeeranga balamu lwa kukkiriza.”

Obusungu bwa Katonda eri abantu

18 Kubanga obusungu bwa Katonda bubikkulibbwa okuva mu ggulu ku abo abatatya Katonda bonna n’abakaafiiri bonna ku bye bakola okuziyiza amazima okuvaayo. 19 Kubanga ebisoboka okumanyibwa ku Katonda bibabikkuliddwa, kubanga Katonda abibalaze byonna mu bujjuvu. 20 Kubanga okuviira ddala ku kutondebwa kw’ensi, ebintu bye ebitalabika, bwe buyinza bwe obutaggwaawo n’obwa Katonda bwe, bitegeerwa ne birabikira ddala mu by’obutonde bwe, abantu balyoke baleme kubaako na kya kwewolereza.

21 Kubanga newaakubadde nga Katonda bamumanyi, tebaamugulumiza nga Katonda wadde okumwebazanga, naye ne bagobereranga ebitaliimu mu mpaka zaabwe, omutima gwabwe omusirusiru ne gujjuzibwa ekizikiza. 22 Beeyita ab’amagezi ne bafuuka abasirusiru, 23 ne bawanyisa ekitiibwa kya Katonda ataggwaawo okukifaananyiriza ekifaananyi ky’omuntu aggwaawo, n’eky’ebinyonyi, n’eky’ebirina amagulu ana n’eky’ebyewalula.

24 Katonda kyeyava abaleka, emitima gyabwe ne girulunkanira eby’obugwagwa ne bawemula emibiri gyabwe bokka na bokka. 25 Ne bafuula amazima ga Katonda okuba obulimba ne basinza era ne baweereza ebitonde, mu kifo ky’okusinza eyabitonda, eyeebazibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

26 Katonda kyeyava abaleka ne beeyongera mu kwegomba kwabwe okw’obuwemu. Abakazi baabwe baawanyisa enkolagana yaabwe ey’obuzaaliranwa n’abasajja, ne bakola ebitali bya buzaaliranwa. 27 Abasajja nabo baalekayo okwegatta ne bakazi baabwe mu ngeri ey’obuzaaliranwa, ne bajjuzibwa obukaba ne beegatta ne basajja bannaabwe. N’ekyava mu bikolwa ebyo eby’obugwagwa, kwe kusasulibwa empeera esaanira okwonoona kwabwe.

28 Bwe baagaana okumanya Katonda, Katonda kyeyava abaleka ne babeera n’omutima omwonoonefu ne bakola ebitasaana. 29 Bajjuzibbwa obutali butuukirivu bwonna, n’ebibi, n’omululu, n’obukyayi, n’obuggya, n’obussi, n’entalo, n’obulimba, n’enkwe, n’okwogera ebitasaana, nga basala ku bannaabwe ebigambo, 30 era nga bageya, nga bakyawa Katonda, nga bavuma bannaabwe, nga bajjudde amalala n’okwekulumbaza, nga bagunjawo enkola y’ebikyamu, era nga bajeemera bakadde baabwe. 31 Tebategeera so tebalina kukkiriza, tebalina kwagala, era tebalina mutima gusaasira. 32 Newaakubadde nga bamanyi nga Katonda yagamba nti abantu abakola ebintu ng’ebyo balizikirizibwa, tebakoma ku kubikola kyokka, naye basiima n’abo ababikola.

Notas al pie

  1. 1:1 Omukkiriza eyeeteeka mu kifo ky’omuddu eri Kristo talina bwetwaze wadde eddembe erirye ku bubwe. Akola ebyo byokka mukama we by’alagira.
  2. 1:7 abatukuvu kitegeeza omuntu ayawuliddwa.

Habrit Hakhadasha/Haderekh

אגרת פולוס השליח אל-הרומיים 1

1מאת פולוס, עבדו של ישוע המשיח, אשר נקרא להיות שליח והוקדש להפצת בשורת אלוהים. אלוהים הבטיח לנו בשורה זאת לפני זמן רב באמצעות נביאיו בכתבי-הקודש. היא מספרת לנו על אודות בנו, ישוע המשיח אדוננו, אשר בא לעולם בדמות אדם משושלת דוד המלך, ואשר קם מן המתים על ידי רוח הקודש והוכח להיות בן האלוהים. הוא ישוע המשיח האדון. באמצעות המשיח העניק לנו אלוהים, חוטאים שכמונו, את טובו וחסדו, ועתה הוא שולח אותנו לספר לכל האנשים בעולם את המעשים הנפלאים שעשה ה' למענם, כדי שגם הם יאמינו בו ויצייתו לו. ידידים יקרים ברומא, גם אתם נמנים עם אלה שאלוהים אוהב; ישוע המשיח קרא גם לכם להשתייך לאלוהים ולהקדיש לו את חייכם. יברך אתכם האלוהים אבינו וישוע המשיח אדוננו בחסד ובשלום.

ראשית כל ברצוני לומר לכם כי השמועה על אמונתכם הנפלאה באלוהים מתפשטת בכל העולם, ועל-ידי ישוע המשיח אני מודה לאלוהים על כולכם. אלוהים יודע שיומם ולילה אני מתפלל בעדכם ומזכיר אתכם לפני האלוהים, אשר אותו אני עובד בכל כוחי בזמן שאני מבשר את הבשורה על אודות בנו. 10 בתפילותיי אני מתחנן לאלוהים שיאפשר לי לבוא אליכם סוף-סוף, 11 כי אני משתוקק מאוד לראותכם ולהעניק לכם מתנה רוחנית כדי לחזק אתכם. 12 כלומר, אני משתוקק להיות בחברתכם, כדי שאמונתכם תעודד אותי ואמונתי תעודד אתכם.

13 אחים יקרים, דעו לכם כי פעמים רבות תכננתי לבוא אליכם, כדי שגם בקרבכם אוכל לעשות פרי, כשם שעשיתי בקרב עמים אחרים, אולם עד כה תוכנית זאת לא יצאה לפועל. 14 אני חש מעין חובה לבשר את דבר האלוהים לכל העולם – לאנשי תרבות ולחסרי תרבות; למשכילים ולחסרי השכלה – ללא הפליה. 15 משום כך, אנשי רומא, אני רוצה לספר את הבשורה גם לכם.

16 איני מתבייש בבשורת האלוהים! בכוחה להושיע את כל המאמינים בה – קודם כל את היהודי, ואחר כך גם את מי שאינו יהודי. 17 כי הבשורה מגלה כיצד מצדיק אלוהים את בני-האדם: על-ידי אמונה בלבד, כפי שכתוב: "צדיק באמונתו יחיה". כלומר, הצדיק ייוושע ויחיה על-ידי אמונתו באלוהים.

18 מאידך, אלוהים שפך את זעמו וכעסו על כל הרשעים העוצרים ומסתירים את האמת במעשי הרשע שלהם. 19 מדוע שפך עליהם אלוהים את זעמו? מפני שהם יודעים היטב את האמת! אלוהים עצמו גילה להם את כל מה שעליהם לדעת. 20 מבריאת העולם חזו בני-האדם בשמים, בארץ ובכל בריאת ה'; הם ידעו על קיומו ועל גבורתו הנצחית. משום כך, (כשיעמדו לפני אלוהים ביום הדין), לא יוכלו לתרץ את התנהגותם. 21 כי למרות שידעו והכירו את האלוהים, לא כיבדוהו בכבוד המגיע לו, וגם לא הודו לו על כל מה שעשה למענם. לעומת זאת הם העסיקו את מוחם בדברי שטות והבל, עד כי מוחם שקע בבלבול ובטמטום. 22 מאחורי חכמתם המדומה מסתתרת טיפשות! 23 במקום שיכבדו וישרתו את האלוהים החי והקיים, הם עשו לעצמם אלילים מעץ ומאבן, בדמות בני-אדם, עופות, חיות ורמשים.

24 על כן מסר אותם אלוהים למעשי הטומאה שלהם; הוא הניח להם להמשיך במעשי התועבה והזנות ולחלל איש את גוף חברו. 25 בכוונה תחילה הם העדיפו להאמין בשקרים במקום באמת אלוהים; הם התפללו לבריאה, אך לא צייתו לאלוהים המבורך אשר ברא את הכול.

26 משום כך מסר אותם אלוהים לתאוותיהם, עד כי אף נשותיהם סטו מיחסי-מין נורמאליים וקיימו יחסים בלתי-נורמאליים עם בנות מינן. 27 גם הגברים סטו מהיחסים הנורמאליים והטבעיים וקיימו יחסים בלתי טבעיים עם גברים אחרים. כתוצאה מכך הם נענשו בתוך עצמם בעונש המגיע להם.

28 כאשר לא מצאו לנכון להכיר באלוהים, הוא הניח להם להשתעבד לכל מעשי התועבה שהעלו בדעתם. 29 חייהם מלאו בכל מיני מעשי זנות, רשע, בצע, שנאה, קנאה, רצח, מריבה, מרמה ומרירות. הם נהיו רכלנים 30 ומלשינים, שונאי אלוהים, חוצפנים וגאוותנים, יוזמי רשע ומורדים בהוריהם. 31 הם מתנהגים בטיפשות, בחוסר אמונה, ברשעות ובאכזריות, ומלאי שנאה וטינה.

32 הרשעים האלה ידעו היטב כי אלוהים יעניש עונש מוות את כל הנוהגים כך, אולם לא זו בלבד שלא היטיבו את דרכם, הם גם מעודדים את כל מי שעושה כמוהם!