Abakkolosaayi 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abakkolosaayi 3:1-25

Ebiragiro ku Butukuvu

1Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 23:2 Baf 3:19, 20Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, 33:3 Bar 6:2; 2Ko 5:14kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. 43:4 a 1Ko 1:7 b 1Pe 1:13; 1Yk 3:2Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.

Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya

53:5 a Bef 5:3 b Bef 5:5Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. 63:6 Bar 1:18Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, 73:7 Bef 2:2ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. 83:8 a Bef 4:22 b Bef 4:31 c Bef 4:29Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. 93:9 Bef 4:22, 25Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 103:10 Bar 12:2; Bef 4:23ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.

12Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 133:13 Bef 4:32Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 143:14 a 1Ko 13:1-13 b Bef 4:3Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.

153:15 Yk 14:27N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.

Amateeka g’omu Nnyumba z’Abakristaayo

163:16 a Bar 10:17 b Bak 1:28 c Bef 5:19Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 173:17 a 1Ko 10:31 b Bef 5:20Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.

183:18 Bef 5:22Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.

19Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.

20Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.

21Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.

22Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 243:24 Bik 20:32nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 253:25 Bik 10:34kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.