Abaggalatiya 6 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaggalatiya 6:1-18

16:1 1Ko 2:15Abooluganda omuntu bw’abanga alina ekibi ky’akoze, mmwe ab’omwoyo mumuluŋŋamyenga mu buwombeefu nga mwegendereza si kulwa nga nammwe mugwa mu kukemebwa. 26:2 Bar 15:1; Yak 2:8Muyambaganenga, bwe mutyo bwe munaatuukirizanga etteeka lya Kristo. 36:3 Bar 12:3; 1Ko 8:2Kubanga omuntu yenna bwe yeerowooza okuba owa waggulu so nga si bw’ali, yeerimbarimba. 4Naye buli muntu yeekebere akakase omulimu ggwe, yenyumirize ye yekka so si mu muntu omulala. 5Kubanga buli muntu aneetikkanga obuvunaanyizibwa bwe. 66:6 1Ko 9:11, 14Oyo ayigirizibwa ekigambo kya Katonda, agabanirenga wamu n’amuyigiriza ku birungi byonna by’alina.

76:7 a 1Ko 6:9 b 2Ko 9:6Temubuzibwabuzibwanga, Katonda tasekererwa, kubanga omuntu ky’asiga era ky’alikungula. 86:8 a Yob 4:8; Kos 8:7 b Yak 3:18Kubanga oyo asiga eri omubiri gwe, alikungula ebiggwaawo. Naye oyo asiga eri omwoyo, alikungula obulamu obutaggwaawo. 96:9 a 1Ko 15:58 b Kub 2:10Kale tulemenga okuterebuka mu kukola obulungi, kubanga oluvannyuma tulikungula emikisa, bwe tutaggwaamu maanyi. 106:10 a Nge 3:27 b Bef 2:19Noolwekyo, buli lwe kinaabanga kisobose tukolerenga abantu bonna ebirungi, na ddala ab’omu nnyumba ey’okukkiriza.

Si kukomola wabula abantu abaggya

116:11 1Ko 16:21Mulabe, bwe nnabawandiikira n’omukono gwange mu nnukuta ennene! 126:12 a Bik 15:1 b Bag 5:11Abo abanoonya okweraga mu mubiri be babawaliriza okukomolebwa mu mubiri, balemenga okuyigganyizibwanga olw’omusaalaba gwa Kristo, balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe. 136:13 a Bar 2:25 b Baf 3:3Kubanga n’abo bennyini abakomolebwa tebakwata mateeka, naye baagala mukomolebwe balyoke beenyumirize olw’omubiri gwammwe. 14Naye nze sigenda kwenyumiririza mu kintu kyonna okuggyako omusaalaba gwa Mukama waffe Yesu Kristo, kubanga olw’omusaalaba ogwo, nkomereddwa eri ensi, n’ensi ekomereddwa eri nze. 156:15 a 1Ko 7:19 b 2Ko 5:17Kubanga okukomolebwa oba obutakomolebwa si kintu, wabula ekikulu kye kitonde ekiggya. 16N’abo bonna abanaatambuliranga mu tteeka eryo, emirembe gibeerenga ku bo, n’okusaasirwa, ne ku Isirayiri ya Katonda.

176:17 Is 44:5Okuva kaakano tewabanga muntu n’omu anteganya, kubanga nnina enkovu za Yesu ku mubiri gwange.

186:18 a Bar 16:20 b 2Ti 4:22Abooluganda, ekisa kya Mukama waffe Yesu Kristo kibeerenga nammwe n’omwoyo gwammwe. Amiina.