Abaggalatiya 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaggalatiya 5:1-26

Eddembe mu Kristo

15:1 a Yk 8:32 b 1Ko 16:13 c Bik 15:10; Bag 2:4Kale nga Kristo bwe yatufuula ab’eddembe, bwe mutyo munywerere mu ddembe eryo muleme kusibwa nate mu kikoligo ky’obuddu.

25:2 Bik 15:1Ka mbategeeze nze Pawulo: Bwe mukomolebwa, nga Kristo taliiko ky’abagasa. 35:3 Bag 3:10Era nziramu okutegeeza buli muntu akomolebwa nti alina ebbanja okutuukiriza amateeka gonna. 45:4 Beb 12:15; 2Pe 3:17Mwava mu Kristo mmwe abanoonya okufuna obutuukirivu olw’amateeka. Mwava mu kisa. 55:5 Bar 8:23, 24Kubanga ffe, ffe ku bw’Omwoyo olw’okukkiriza tulindirira n’essuubi obutuukirivu. 65:6 a 1Ko 7:19 b 1Bs 1:3Kubanga mu Kristo Yesu, okukomolebwa oba obutakomolebwa, tekulina maanyi, wabula okukkiriza kukola olw’okwagala.

75:7 a 1Ko 9:24 b Bag 3:1Mwali mutambula bulungi. Ani eyabasendasenda n’abaggya ku kugondera amazima? 85:8 Bar 8:28; Bag 1:6Okusendebwasendebwa okwo, si kw’oyo eyabayita. 95:9 1Ko 5:6Ekizimbulukusa ekitono kizimbulukusa ekitole kyonna. 105:10 a 2Ko 2:3 b Baf 3:15 c Bag 1:7Mbeesiga mu Mukama waffe nga temujja kulowooza kintu kirala kyonna. Naye oyo abateganya alisalirwa omusango ne bw’aliba ani. 115:11 a Bag 4:29; 6:12 b 1Ko 1:23Naye nze abooluganda, oba nga nkyayigiriza okukomolebwa, lwaki njigganyizibwa? Kale enkonge ey’omusaalaba evuddewo. 12Nnandyagadde abo abaabateganya beeraawe.

Obulamu bw’Omwoyo

135:13 a 1Ko 8:9; 1Pe 2:16 b 1Ko 9:19Kubanga mmwe abooluganda mwayitibwa lwa ddembe, noolwekyo eddembe teribawa bbeetu kugoberera bya mubiri. Naye olw’okwagala buli omu abeerenga muweereza wa munne. 145:14 Lv 19:18Kubanga amateeka gonna gatuukirizibwa mu tteeka lino nti: “Yagalanga muntu munno nga bwe weeyagala wekka.” 15Naye obanga muneneŋŋana mwegendereze muleme okwezikiriza. 165:16 a Bar 8:2, 4-6, 9, 14 b nny 24Mbagamba nti, mutambulirenga mu Mwoyo, mu ngeri yonna, mulemenga kutuukiriza kwegomba kwa mubiri. 175:17 a Bar 8:5-8 b Bar 7:15-23Kubanga okwegomba kw’omubiri kulwanagana n’Omwoyo, n’Omwoyo n’alwanagana n’omubiri; kubanga bino byombi bikontana, mulemenga okukola bye mwagala. 185:18 Bar 6:14Naye bwe muluŋŋamizibwa Omwoyo, olwo nga temukyafugibwa mateeka.

195:19 1Ko 6:18Ebikolwa by’omubiri bya lwatu, bye bino: obwenzi, obukaba, obugwenyufu, 20Okusinza bakatonda abalala, obufumu, obulabe, okuyomba, obuggya, obusungu, okwekuluntaza, okweyawula, okwesalamu, 215:21 Bar 13:13ettima, obutamiivu, ebinyumu, n’ebirala ebiri ng’ebyo. Ka mbategeeze nate nga bwe nasooka okubabuulira nti buli akola ebyo talina mugabo mu bwakabaka bwa Katonda.

225:22 a Mat 7:16-20 b Bak 3:12-15Naye ebibala eby’Omwoyo bye bino: okwagala, essanyu, emirembe, obugumiikiriza, ekisa, obulungi, obwesigwa, 235:23 Bik 24:25obuwombeefu, okwefuga; awali ebyo tewali tteeka libiwakanya. 245:24 a Bar 6:6 b nny 16, 17N’abo aba Kristo Yesu baakomerera omubiri n’okwegomba kwagwo, n’omululu gwagwo. 25Kale bwe tuba abalamu ku bw’Omwoyo, tugobererenga okuluŋŋamizibwa kw’Omwoyo. 265:26 Baf 2:3Tulemenga okwemanya, n’okunyizaganya, n’okukwatiragananga obuggya.