Abaggalatiya 4 – LCB & KJV

Luganda Contemporary Bible

Abaggalatiya 4:1-31

1Naye ŋŋamba nti omusika bw’aba ng’akyali mwana muto, tayawulwa na muddu, newaakubadde nga ye mukama wa byonna. 2Afugibwa abasigire n’abawanika okutuusa lw’akula n’atuuka ku kigero kitaawe, kye yategeka. 34:3 a Bag 2:4 b Bak 2:8, 20Era naffe bwe tutyo bwe twali tukyali bato, twafugibwanga obulombolombo obw’ensi. 44:4 a Mak 1:15; Bef 1:10 b Yk 1:14 c Luk 2:27Naye ekiseera bwe kyatuuka, Katonda n’atuma Omwana we 54:5 Yk 1:12eyazaalibwa omukazi ng’afugibwa amateeka, tulyoke tufuuke abaana. 64:6 a Bar 5:5 b Bar 8:15, 16Era kubanga tuli baana, Katonda yatuma Omwoyo w’Omwana we okubeera mu mitima gyaffe, era kaakano tuyinza okwogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti, “Aba, Kitaffe.” 74:7 Bar 8:17Kale kaakano tokyali muddu, wabula oli mwana; era nga bw’oli omwana oli musika ku bwa Katonda.

Pawulo Alowooza ku Baggalatiya

84:8 a 1Ko 1:21 b 2By 13:9Mmwe bwe mwali temunnamanya Katonda mwabanga baddu ba bitali Katonda. 94:9 a 1Ko 8:3 b nny 3 c Bak 2:20Naye kaakano mutegedde Katonda era naye abategedde, kale muyinza mutya okukyuka, ne mugoberera obulombolombo obunafu obutalina maanyi ne mwagala okufuuka abaddu baabwo? 104:10 Bar 14:5Mukwata ennaku, n’emyezi, n’ebiro, n’emyaka; 114:11 1Bs 3:5neeraliikirira si kulwa ng’omulimu omunene gwe nakola mu mmwe gwali gwa bwereere.

12Abooluganda, mbeegayirira mubeere nga nze, kubanga nange ndi nga mmwe. Temulina kabi ke mwankola; 134:13 1Ko 2:3era mumanyi nga mu bunafu obw’omubiri, mmwe be nasooka okubuulira Enjiri. 14Naye newaakubadde nga mwandinnyomye olw’obulwadde bwange, temwangobaganya, wabula mwansembeza nga malayika wa Katonda, nga Yesu Kristo. 15Kale essanyu lyammwe lyadda wa? Kubanga ndi mujulirwa wammwe nti, mwali musobola okuggyamu amaaso gammwe ne mugampa okunnyamba singa kyali kyetaagisa. 164:16 Am 5:10Kale kaakano nfuuse omulabe wammwe olw’okubategeeza amazima?

17Abo abalabika ng’abaabassaako ennyo omwoyo tebabaagaliza birungi, okuggyako okwagala okubaggalira ebweru, mulyoke mudde ku luuyi lwabwe. 184:18 nny 13, 14Naye kirungi okunyiikiranga okukola ebirungi bulijjo, naye si lwe mbeera nammwe lwokka. 194:19 a 1Ko 4:15 b Bef 4:13Baana bange be nnumirwa nate ng’alumwa okuzaala, okutuusa Kristo lw’alibumbibwa mu mmwe, 20nandyagadde okubeera nammwe kaakano, n’okukyusa eddoboozi lyange kubanga ndi mweraliikirivu ku lwammwe.

Agali ne Saala

21Mumbulire, mmwe abaagala okufugibwa amateeka, lwaki temuwulira mateeka? 224:22 a Lub 16:15 b Lub 21:2Kubanga kyawandiikibwa nti Ibulayimu yazaala abaana babiri aboobulenzi, omu yamuzaala mu mukazi omuddu, n’omulala n’amuzaala mu mukazi ow’eddembe. 234:23 a Bar 9:7, 8 b Lub 18:10-14; Beb 11:11Omwana ow’omukazi omuddu yazaalibwa nga wa mubiri, naye omwana ow’omukazi ow’eddembe yazaalibwa lwa kusuubiza.

24Ebyo biri nga bya lugero; kubanga ezo ndagaano bbiri. Emu yava ku Lusozi Sinaayi, ye yazaala abaana ab’obuddu, ye yava mu Agali. 25Agali lwe Lusozi Sinaayi oluli mu Buwalabu, era afaananyirizibwa ne Yerusaalemi eya kaakano kubanga ye ne bazzukulu be bali mu buddu. 264:26 Beb 12:22; Kub 3:12Naye Yerusaalemi eky’omu ggulu ye mukazi ow’eddembe, era ye nnyaffe. 274:27 Is 54:1Kubanga kyawandiikibwa nti,

“Sanyuka

ggwe omugumba atazaala.

Leekaanira waggulu mu ddoboozi ery’omwanguka

newaakubadde nga tozaalanga ku mwana.

Kubanga ndikuwa abaana bangi,

abaana abangi okusinga omukazi alina omusajja b’alina.”

28Naye mmwe abooluganda muli baana abaasuubizibwa, nga Isaaka bwe yali. 294:29 a nny 23 b Lub 21:9Naye mu biro biri ng’eyazaalibwa omubiri bwe yayigganya oyo eyazaalibwa Omwoyo, ne kaakano bwe kiri. 304:30 Lub 21:10Naye Ebyawandiikibwa bigamba bitya? Bigamba nti, “Goba omukazi omuddu n’omwana we, kubanga omwana w’omukazi omuddu talisikira wamu n’omwana w’omukazi ow’eddembe.” 31Noolwekyo abooluganda tetuli baana ba mukazi omuddu naye tuli baana ab’omukazi ow’eddembe.

King James Version

Galatians 4:1-31

1Now I say, That the heir, as long as he is a child, differeth nothing from a servant, though he be lord of all; 2But is under tutors and governors until the time appointed of the father. 3Even so we, when we were children, were in bondage under the elements of the world: 4But when the fulness of the time was come, God sent forth his Son, made of a woman, made under the law, 5To redeem them that were under the law, that we might receive the adoption of sons. 6And because ye are sons, God hath sent forth the Spirit of his Son into your hearts, crying, Abba, Father. 7Wherefore thou art no more a servant, but a son; and if a son, then an heir of God through Christ.

8Howbeit then, when ye knew not God, ye did service unto them which by nature are no gods. 9But now, after that ye have known God, or rather are known of God, how turn ye again to the weak and beggarly elements, whereunto ye desire again to be in bondage? 10Ye observe days, and months, and times, and years. 11I am afraid of you, lest I have bestowed upon you labour in vain.

12Brethren, I beseech you, be as I am; for I am as ye are: ye have not injured me at all. 13Ye know how through infirmity of the flesh I preached the gospel unto you at the first. 14And my temptation which was in my flesh ye despised not, nor rejected; but received me as an angel of God, even as Christ Jesus. 15Where is then the blessedness ye spake of? for I bear you record, that, if it had been possible, ye would have plucked out your own eyes, and have given them to me. 16Am I therefore become your enemy, because I tell you the truth? 17They zealously affect you, but not well; yea, they would exclude you, that ye might affect them. 18But it is good to be zealously affected always in a good thing, and not only when I am present with you. 19My little children, of whom I travail in birth again until Christ be formed in you, 20I desire to be present with you now, and to change my voice; for I stand in doubt of you.

21Tell me, ye that desire to be under the law, do ye not hear the law? 22For it is written, that Abraham had two sons, the one by a bondmaid, the other by a freewoman. 23But he who was of the bondwoman was born after the flesh; but he of the freewoman was by promise. 24Which things are an allegory: for these are the two covenants; the one from the mount Sinai, which gendereth to bondage, which is Agar. 25For this Agar is mount Sinai in Arabia, and answereth to Jerusalem which now is, and is in bondage with her children. 26But Jerusalem which is above is free, which is the mother of us all. 27For it is written, Rejoice, thou barren that bearest not; break forth and cry, thou that travailest not: for the desolate hath many more children than she which hath an husband. 28Now we, brethren, as Isaac was, are the children of promise. 29But as then he that was born after the flesh persecuted him that was born after the Spirit, even so it is now. 30Nevertheless what saith the scripture? Cast out the bondwoman and her son: for the son of the bondwoman shall not be heir with the son of the freewoman. 31So then, brethren, we are not children of the bondwoman, but of the free.