Abaggalatiya 1 – LCB & CCB

Luganda Contemporary Bible

Abaggalatiya 1:1-24

11:1 a Bik 9:15 b Bik 2:24Nze Pawulo omutume, ataatumibwa bantu wadde omuntu, wabula eyatumibwa Yesu Kristo ne Katonda Kitaffe, eyamuzuukiza mu bafu, 21:2 a Baf 4:21 b Bik 16:6; 1Ko 16:1awamu n’abooluganda bonna abali nange tuwandiikira ekkanisa ez’e Ggalatiya, 31:3 Bar 1:7nga tugamba nti ekisa n’emirembe ebiva eri Katonda Kitaffe n’eri Mukama waffe Yesu Kristo bibeerenga nammwe; 41:4 a Mat 20:28; Bar 4:25 b Baf 4:20Kristo oyo eyeewaayo ku lw’ebibi byaffe, alyoke atununule mu mulembe guno omubi ng’okwagala kwa Katonda, era Kitaffe bwe kuli, 51:5 Bar 11:36aweebwe ekitiibwa emirembe n’emirembe. Amiina.

Tewali Njiri Ndala

61:6 a Bag 5:8 b 2Ko 11:4Naye mbeewuunya kubanga mukyuka mangu okuva ku oyo, eyabayita olw’ekisa kya Kristo, naye ne mukyuka mangu okugoberera Enjiri endala. 71:7 Bik 15:24; Bag 5:10Kubanga tewali njiri ndala, wabula mwawubisibwa abaagala okunyoola n’okukyusa Enjiri ya Kristo. 81:8 a 2Ko 11:4 b Bar 9:3Omuntu yenna, ne bwe tuba ffe, wadde malayika ava mu ggulu, bw’abuuliranga Enjiri okuggyako gye twababuulira, akolimirwenga. 91:9 Bar 16:17Nga bwe twasooka okwogera, bwe ntyo nziramu okukyogera nti, omuntu yenna bw’ababuulira Enjiri eteri eyo ggye mwakkiriza akolimirwenga.

101:10 Bar 2:29; 1Bs 2:4Kale kaakano nkolerera kumatiza bantu oba kusiimibwa Katonda? Oba ngezaako kusanyusa bantu? Singa nnali nkyagezaako okusanyusa abantu, sandibadde muddu wa Kristo. 111:11 1Ko 15:1Kubanga abooluganda, mbategeeza nti, Enjiri gye nababuulira teyeesigamizibwa ku muntu, 121:12 a nny 1 b nny 16era nange saagiweebwa muntu wadde okusomesebwa omuntu wabula Yesu Kristo ye yagimbikkulira. 131:13 a Bik 26:4, 5 b Bik 8:3Mumanyi nga bwe nnali nfaanana nga nkyagoberera eddiini y’Ekiyudaaya, nga bwe nayigganyanga ennyo Ekkanisa ya Katonda okugizikiza, 141:14 Mat 15:2era nga nnali omu ku bannaddiini abaakulaakulana mu ggwanga lyange, ne nsukkuluma ku Bayudaaya bannange be nakula nabo, era nagezaako nnyo nga bwe nasobola okugoberera empisa zonna ez’edda ez’amateeka g’eddiini yange. 151:15 a Is 49:1, 5; Yer 1:5 b Bik 9:15Naye Katonda bwe yasiima, eyanjawula okuva mu lubuto lwa mmange, n’ampita olw’ekisa kye, 161:16 a Bag 2:9 b Mat 16:17n’ambikkulira Omwana we ndyoke ŋŋende eri Abaamawanga mbabuulire Enjiri era sseebuuza ku muntu n’omu, 17newaakubadde okwambuka e Yerusaalemi okwebuuza ku batume, naye nagenda mu Buwalabu era oluvannyuma ne nkomawo e Damasiko.

181:18 a Bik 9:22, 23 b Bik 9:26, 27Awo bwe waayitawo emyaka esatu ne ŋŋenda e Yerusaalemi okulaba Keefa ne mmala naye ennaku kkumi na ttaano. 191:19 Mat 13:55Naye ssaalaba mutume mulala wabula Yakobo muganda wa Mukama waffe. 201:20 Bar 9:1Noolwekyo bye mbawandiikira, si bya bulimba mu maaso ga Katonda.

21Bwe navaayo ne ndaga mu bitundu eby’e Siriya n’eby’e Kirukiya. 22Era ekkanisa za Kristo mu Buyudaaya zaali tezinnategeera bwe nfaanana. 231:23 Bik 6:7Naye nga bamanyi nti, “Eyatuyigganyanga, kaakano abuulira okukkiriza kwe yagezaako okuzikiriza.” 241:24 Mat 9:8Era ne bagulumiza Katonda ku lwange.

Chinese Contemporary Bible (Simplified)

加拉太书 1:1-24

1我是保罗,我做使徒并非受人委派,也不是倚靠人,而是由耶稣基督和叫祂从死里复活的父上帝委派的。 2我和所有跟我在一起的弟兄写信给加拉太的各教会。

3愿我们的父上帝和主耶稣基督赐给你们恩典和平安! 4基督遵照我们父上帝的旨意为我们的罪献上了自己,好拯救我们脱离这罪恶的世代。

5愿荣耀归给上帝,直到永永远远。阿们!

勿随别的福音

6我很惊讶,你们竟然那么快就背弃了借着基督的恩典呼召你们的上帝,去追随别的福音! 7其实那并不是福音,只是某些人扰乱你们的信仰,想篡改基督的福音。 8即便是我们或天使,若另传福音给你们,与我们以前传给你们的相悖,也该受咒诅。 9我们已经说过,现在我再说一次:如果有人向你们传别的福音,跟你们以前接受的不同,那人该受咒诅。

10我现在是要赢得人的赞同吗?还是要赢得上帝的赞同?难道我是要讨好人吗?如果我仍旧要讨好人,我就不是基督的奴仆了。

保罗受上帝委派传福音

11弟兄姊妹,我告诉你们,我传的福音不是出于人的意思, 12因为这福音既不是我从人那里领受的,也不是我跟人学来的,而是耶稣基督亲自启示我的。 13你们都听说过我信奉犹太教时的所作所为,我怎样残酷地迫害上帝的教会,试图摧毁它。 14我在犹太教里比许多同辈的犹太人更进取,狂热地维护祖先的传统。

15然而,当我还在母腹中的时候,上帝就施恩将我分别出来并呼召了我。 16上帝既然乐意把祂的儿子启示给我,叫我向外族人传扬祂的福音,我就没有跟任何人1:16 ”希腊文是“血肉”。商量, 17也没有上耶路撒冷去见那些比我先做使徒的人,而是立刻去了阿拉伯,然后回到大马士革

18过了三年,我才到耶路撒冷去拜会彼得,和他一起住了十五天。 19我也见了主耶稣的弟弟雅各,此外没有见过其他使徒。 20我在上帝面前保证,我写给你们的绝无谎言。

21后来我又到了叙利亚基利迦地区。 22那时,犹太境内基督的众教会都还没有见过我的面。 23他们只是听人说:“那个从前迫害我们的人如今在传扬他曾试图摧毁的信仰。” 24于是他们因为我的缘故将荣耀归给上帝。