Abafiripi 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abafiripi 2:1-30

Mulabire ku Kristo

12:1 a 2Ko 13:14 b Bak 3:12Kale bwe wabaawo okubazaamu endasi kwonna mu Kristo, oba okusanyusa kwonna okw’okwagala, oba okussa ekimu mu mwoyo, oba okwagala okw’engeri yonna, oba okusaasira, 22:2 a Yk 3:29 b Baf 4:2 c Bar 12:16mutuukirize essanyu lyange, mulowoozenga bumu, nga mulina okwagala, n’omwoyo gumu, nga mulowooza bumu, 32:3 a Bag 5:26 b Bar 12:10; 1Pe 5:5nga temukola kintu na kimu olw’okuvuganya wadde okwewaana okutaliimu, wabula mu bwetoowaze nga buli muntu agulumiza munne okusinga bwe mwegulumiza mwekka, 4nga buli muntu tatunuulira bibye yekka, naye ng’afaayo ne ku by’abalala.

52:5 Mat 11:29Mubengamu endowooza eri eyali mu Kristo Yesu,

62:6 a Yk 1:1 b Yk 5:18ye newaakubadde nga yali mu kifaananyi kya Katonda,

Teyeerowooza kwenkanankana ne Katonda,

72:7 a Mat 20:28 b Yk 1:14; Beb 2:17wabula yeewaayo n’afuuka ng’omuddu,

era n’azaalibwa ng’omuntu,

era n’alabikira mu kifaananyi ky’omuntu,

82:8 Mat 26:39; Yk 10:18; Beb 5:8ne yeetoowaza,

n’aba muwulize n’okutuukira ddala ku kufa,

ate okufa okw’okukomererwa ku musaalaba.

92:9 a Bik 2:33; Beb 2:9 b Bef 1:20, 21Katonda kyeyava amugulumiza,

n’amuwa erinnya erisinga amannya gonna;

102:10 a Bar 14:11 b Mat 28:18buli vviivi ery’abo abali mu ggulu n’abali ku nsi,

era n’abali wansi w’ensi liryoke lifukaamirirenga erinnya lya Yesu,

112:11 Yk 13:13era buli lulimi lwatulenga nga Yesu Kristo ye Mukama,

Katonda Kitaffe aweebwe ekitiibwa.

Okwakira Ensi

122:12 2Ko 7:15Noolwekyo abaagalwa, nga bwe muli abawulize bulijjo nga ndi nammwe, kaakano nga bwe siri nammwe mube bawulize nnyo n’okusinga bwe mwali. Munyiikirenga okukola ebiraga nti mwalokolebwa, nga mutya era nga mukankana. 132:13 Ezr 1:5Kubanga Katonda yakolera mu mmwe, era yabaagazisa n’abasobozesa okukola by’ayagala, olw’okumusanyusa.

142:14 1Ko 10:10; 1Pe 4:9Buli kye mukola mukikolenga awatali kwemulugunya wadde empaka, 152:15 a Mat 5:45, 48; Bef 5:1 b Bik 2:40mulyoke mube nga temuliiko kyakunenyezebwa nga muli balongoofu, mube abaana ba Katonda abatalina bbala, wakati mu mulembe ogwakyama era omwonoonefu, mwe mubeere ekyokulabirako eky’amaanyi mu nsi, 162:16 1Bs 2:19nga munyweza ekigambo ky’obulamu gye bali, ndyoke mbeere n’eky’okwenyumiriza ku lunaku lwa Kristo, okulaga nti ssaddukira bwereere so ssaateganira busa. 172:17 a 2Ti 4:6 b Bar 15:16Naye singa ddala nfukibwa ng’ekiweebwayo ekyokunywa ku ssaddaaka ne ku kuweereza okw’obwakabona okw’okukkiriza kwammwe, nsanyukira wamu nammwe mwenna. 18Era nammwe musanyukire wamu nange.

Timoseewo ne Epafuladito

192:19 nny 23Mukama waffe Yesu bw’alisiima nsuubira okubatumira mangu Timoseewo, ndyoke ntereere omwoyo nga ntegedde ebibafaako. 202:20 1Ko 16:10Kubanga tewali mulala alina ndowooza nga yange, 212:21 1Ko 10:24; 13:5kubanga abalala bonna beenoonyeza byabwe ku bwabwe, so si ebya Yesu Kristo. 222:22 1Ko 4:17; 1Ti 1:2Naye ye Timoseewo mumumanyi nga bw’asaanira, kubanga aweerereza wamu nange, ng’omwana bw’akolera awamu ne kitaawe nga tukola omulimu gw’okubuulira Enjiri. 232:23 nny 19Kale oyo gwe nsuubira okubatumira amangu ddala nga naakamanya nga bwe nnaabeera. 242:24 Baf 1:25Naye nkakasa nti Mukama waffe bw’alisiima, nange nze kennyini sirimala bbanga ddene nga sinnajja eyo.

252:25 a Baf 4:3 b Fir 2 c Baf 4:18Era ndabye nga kisaanye okubatumira owooluganda Epafuladito mukozi munnange, era mulwanyi munnange, naye ate nga mutume wammwe, omuweereza ow’eby’obwakabona ow’eby’etaago byange, 262:26 Baf 1:8ayagala ennyo okubalaba, mwenna, eyeeraliikirira ennyo olw’obutabalaba, kubanga mwawulira nga yalwala. 27Ddala yalwala era yali kumpi n’okufa. Kyokka Katonda yamusaasira, naye era teyasaasira ye yekka, wabula nange yansaasira ennaku n’eteenneeyongera. 28Noolwekyo nayagala nnyo okumutuma gye muli mulyoke musanyuke okumulaba nate, ekyo kikendeeze ku nnaku gye nnina. 292:29 1Ko 16:18; 1Ti 5:17Kale mumwanirize nnyo n’essanyu lyonna mu Mukama waffe, era abantu abali ng’oyo mubassangamu ekitiibwa, 302:30 1Ko 16:17kubanga yabulako katono okufa ng’ali ku mulimu gwa Kristo, ng’akola ebyo bye mwandinkoledde singa mwali nange.