Abaefeso 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaefeso 5:1-33

Okubeera mu Musana

1Mufubenga okufaanana Katonda kubanga muli baana ba Katonda abaagalwa. 25:2 a Bag 1:4 b 2Ko 2:15Mwagalanenga nga Kristo bwe yatwagala ne yeewaayo ku lwaffe n’afuuka ekiweebwayo era ssaddaaka eri Katonda, eyakawoowo akalungi.

35:3 Bak 3:5Nga bwe muli abantu ba Katonda abatukuvu, obwenzi, n’obugwagwa bwonna, n’omululu bireme okuwulirwa mu mmwe. 4Mwewale okwogera eby’ensonyi, n’eby’obusirusiru, n’okubalaata ebitasaana. Mwebazenga bwebaza Katonda. 55:5 a Bak 3:5 b 1Ko 6:9Mukimanye era mukitegeerere ddala nga buli mwenzi, oba omugwagwa, oba eyeegomba, aba asinza bakatonda abalala, talina mugabo mu bwakabaka bwa Kristo ne Katonda. 65:6 Bar 1:18Omuntu yenna tabalimbalimbanga n’ebigambo ebitaliimu. Katonda abonereza buli muntu yenna amujeemera. 7Noolwekyo temwegattanga n’abafaanana ng’abo.

85:8 a Bef 2:2 b Luk 16:8Edda mwali ng’abantu ab’ekizikiza, naye kaakano muli bantu ba musana mu Mukama waffe. Noolwekyo mutambulenga ng’abaana ab’omusana, 95:9 Bag 5:22ekitangaala kyammwe kirabisibwe. Mubale ebibala eby’omusana nga mweyisa bulungi, nga mubeera abeesimbu era ab’amazima, 10nga munoonya ekyo ekisanyusa Mukama waffe. 11Temwenyigiranga mu bikolwa bya kizikiza kubanga tebigasa, wabula munenyenga ababikola. 12Kubanga kya nsonyi n’okubyogerako ebyo abajeemu bye bakolera mu kyama. 135:13 Yk 3:20, 21Byonna bwe biryatuukirizibwa mu kitangaala, birirabikira ddala nga bwe biri. 145:14 a Bar 13:11 b Yk 5:25 c Is 60:1Ekitangaala kirabisa buli kintu. Kyekiva kigambibwa nti,

“Zuukuka ggwe eyeebase,

Ozuukire mu bafu,

Kristo anaakwakira.”

15Mutunule nga mutambula n’obwegendereza, si ng’abatalina magezi wabula ng’abalina amagezi, 165:16 a Bak 4:5 b Bef 6:13nga temwonoona biseera kubanga ennaku zino mbi. 175:17 Bar 12:2; 1Bs 4:3Temubanga basirusiru, naye mutegeere Mukama waffe ky’ayagala. 185:18 a Nge 20:1 b Luk 1:15Ate temutamiiranga, kubanga mujja kweyonoona, wabula Omwoyo ajjulenga mu bulamu bwammwe. 195:19 Bik 16:25; Bak 3:16Bwe mukuŋŋananga muzimbaganenga mu Zabbuli ne mu nnyimba, ne mu nnyimba ez’Omwoyo nga muyimbira Mukama era nga mumuyimusiza amaloboozi mu mutima gwammwe. 205:20 Zab 34:1Bulijjo mwebazenga Katonda Kitaffe olwa byonna, mu linnya lya Mukama waffe Yesu Kristo.

Abakazi ne ba bbaabwe

215:21 Bag 5:13Mutyenga Kristo, nga muwuliragananga.

225:22 a Lub 3:16 b Bef 6:5Abakazi, muwulirenga babbammwe nga bwe muwulira Mukama waffe. 235:23 1Ko 11:3; Bef 1:22Omusajja gwe mutwe gw’omukazi, nga Kristo bw’ali omutwe gw’Ekkanisa. Ekkanisa gwe mubiri gwa Kristo, era ye yennyini ye Mulokozi waagwo. 24Kale ng’Ekkanisa bw’ewulira Kristo, n’abakazi bwe batyo bwe basaana okuwuliranga ba bbaabwe mu byonna.

255:25 a Bak 3:19 b nny 2Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe nga Kristo bwe yayagala Ekkanisa ne yeewaayo ku lwayo. 265:26 Bik 22:16Yaginaaza n’amazzi, n’agitukuza n’ekigambo kye, 275:27 Bef 1:4; Bak 1:22alyoke yeefunire Ekkanisa ey’ekitiibwa, eteriiko bbala wadde akamogo oba ekintu kyonna ekikyamu, wabula ebeere entukuvu, etuukiridde. 285:28 nny 25N’abasajja bwe batyo bwe basaana okwagalanga bakazi baabwe, nga bwe baagala emibiri gyabwe gyennyini. Ayagala mukazi we yeeyagala yekka. 29Tewali n’omu yali akyaye omubiri gwe, wabula aguliisa era agujjanjaba nga Kristo bw’ajjanjaba Ekkanisa ye, 305:30 1Ko 12:27kubanga tuli bitundu bya mubiri gwe. 315:31 Lub 2:24; Mat 19:5; 1Ko 6:16“Kale omusajja kyanaavanga aleka kitaawe ne nnyina ne yeegatta ne mukazi we, ne bafuuka omuntu omu.” 32Ekyama kino kikulu, kyokka nze ndowooza nti kyogera ku Kristo n’Ekkanisa ye. 335:33 nny 25Kale, nammwe buli musajja ayagalenga mukazi we nga bwe yeeyagala yennyini, era n’omukazi assengamu bba ekitiibwa.