Abaebbulaniya 5 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 5:1-14

15:1 a Beb 8:3 b Beb 7:27Buli Kabona Asinga Obukulu alondebwa mu bantu n’ateekebwawo okuweereza Katonda ku lwabwe, alyoke awengayo ebirabo n’essaddaaka olw’ebibi byabwe. 25:2 a Beb 2:18 b Beb 7:28Asobola okukwata empola abantu abatamanyi era n’abo abakyama, kubanga naye yennyini muntu eyeetooloddwa obunafu. 35:3 Beb 7:27; 9:7Olw’obunafu obwo, kimugwanira okuwangayo ssaddaaka ku lulwe yennyini ne ku lw’abantu.

45:4 Kuv 28:1Tewali muntu yenna ayinza okwefuula kabona wabula ng’ayitiddwa Katonda okukola omulimu, nga bwe yayita Alooni. 55:5 a Yk 8:54 b Beb 1:1 c Zab 2:7Ne Kristo bw’atyo teyeegulumiza yekka, okufuuka Kabona Asinga Obukulu. Katonda yamwogerako nti,

“Ggwe oli Mwana wange,

leero nkuzadde ggwe.”

65:6 Zab 110:4; Beb 7:17, 21Era n’awalala agamba nti,

“Ggwe walondebwa okuba Kabona emirembe n’emirembe,

ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.”

75:7 a Mat 27:46, 50 b Mak 14:36Mu kiseera Yesu kye yabeerera ku nsi mu mubiri ogw’obuntu, yasaba ne yeegayirira oyo ayinza okumulokola mu kufa nga bw’akaaba amaziga mu ddoboozi ery’omwanguka. Yesu yasinza Katonda mu mazima, Katonda n’awulira okusaba kwe. 85:8 Baf 2:8Newaakubadde yali Mwana wa Katonda, yayiga okumugondera ne bwe kwamutuusanga mu kubonaabona. 95:9 Beb 2:10Era bwe yamala okutuukirizibwa, n’afuuka obulokozi obutaggwaawo eri abo bonna abagondera Katonda. 105:10 a nny 5 b nny 6Katonda yamuyita okuba Kabona Asinga Obukulu ng’olubu lwa Merukizeddeeki bwe luli.

Okulabula ku kudda ennyuma

11Waliwo bingi bye twandiyagadde okumwogerako, naye ate nga kizibu okubinyonnyola, kubanga temuyiga mangu. 125:12 a Beb 6:1 b 1Ko 3:2; 1Pe 2:2Newaakubadde nga kaakano mwandibadde musobola okuyigiriza abalala, kyetaaga okuddamu okubayigiriza, ebintu ebya bulijjo eby’amazima ebikwata ku kigambo kya Katonda. Mwetaaga mata so si mmere enkalubo ey’abakulu. 135:13 1Ko 14:20Kubanga omuntu bw’aba ng’akyanywa mata, aba akyali mwana muto. Aba tannategeera kigambo kikwata ku by’obutuukirivu. 145:14 a 1Ko 2:6 b Is 7:15Naye emmere enkalubo ya bakulu, abeeyigirizza okwawulanga ekirungi n’ekibi.