Abaebbulaniya 4 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 4:1-16

Ssabbiiti kiwummulo ky’Abantu ba Katonda

14:1 Beb 12:15Noolwekyo ng’ekisuubizo eky’okuyingira mu kiwummulo kye, bwe kikyaliwo, twerinde, omuntu yenna ku mmwe aleme kulabika nga takituuseemu. 24:2 1Bs 2:13Kubanga naffe tubuuliddwa Enjiri, nga nabo bwe baagibuulirwa. Kyokka baalema okukkiriza ekigambo kye baawulira, era tebaalina kye baagasibwa. 34:3 Zab 95:11; Beb 3:11Kubanga ffe abakkiriza, ffe tuyinza okuyingira mu kiwummulo kye, nga bwe yayogera nti,

“Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,

‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

Omulimu gwe gwaggwa ku kutondebwa kw’ensi. 44:4 Lub 2:2, 3; Kuv 20:11Kubanga waliwo w’ayogerera nti, “Katonda bwe yamala okukola emirimu gye gyonna n’awummulira ku lunaku olw’omusanvu.” 54:5 Zab 95:11Ayongera n’agamba nti, “Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.”

64:6 Beb 3:18Kyaterekerwa abamu okuyingiramu, ate ng’abo abaasooka okubuulirwa Enjiri, tebaayingira olw’obujeemu. 74:7 Zab 95:7, 8; Beb 3:7, 8, 15Katonda kyeyava ateekateeka nate olunaku, n’alutuuma leero, bwe yayogerera mu Dawudi, oluvannyuma lw’ekiseera ekiwanvu nti,

“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,

Temukakanyaza mitima gyammwe.

84:8 a Yos 22:4 b Beb 1:1Kubanga singa Yoswa yabatwala mu kifo eky’okuwummula, Katonda teyandiyogedde ku lunaku olulala olw’okuwummula.” 9Naye Katonda atusuubizza olunaku olwa Ssabbiiti lwe tuliwummula, newaakubadde nga terunnatuuka. 104:10 nny 4Kubanga oyo ayingira mu kiwummulo kya Katonda, awummula emirimu gye nga Katonda bwe yawummula ng’amaze emirimu gye. 114:11 Beb 3:18Noolwekyo tufubenga okuyingira mu kiwummulo ekyo, omuntu yenna alemenga kugoberera ekyokulabirako ekibi eky’abajeemu.

124:12 a 1Pe 1:23 b Yer 23:29 c Bef 6:17; Kub 1:16 d 1Ko 14:24, 25Ekigambo kya Katonda kiramu era kikola. Kisala okusinga ekitala eky’obwogi obubiri, era kiyitamu ne kituukira ddala ku mmeeme n’omwoyo, n’ennyingo n’obusomyo, era kyawula ebirowoozo n’okufumiitiriza kw’omutima. 134:13 Zab 33:13-15Katonda amanyi ebintu byonna, so tewali kitonde na kimu ekikwekeddwa amaaso ge. Alaba buli kintu, era tulyogera mazima nga tumutegeeza buli kimu.

Yesu Kristo Kabona Asinga Obukulu

144:14 a Beb 6:20 b Beb 3:1Noolwekyo nga bwe tulina Kabona Asinga Obukulu, eyagenda mu ggulu, ye Yesu, Omwana wa Katonda, tunyweze okukkiriza kwe twayatula. 154:15 a Beb 2:18 b 2Ko 5:21Tulina Kabona Asinga Obukulu alumirwa awamu naffe mu bunafu bwaffe, eyakemebwa mu byonna nga ffe, kyokka n’atakola kibi kyonna. 16Kale tusembererenga entebe ya Katonda ey’obwakabaka ey’ekisa n’obuvumu, tufune okusaasirwa n’ekisa tubeerwe mu kwetaaga kwaffe.