Abaebbulaniya 3 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 3:1-19

Yesu Mukulu okusinga Musa

13:1 a Beb 2:11 b Beb 4:14 c Beb 2:17Kale abooluganda abatukuvu, Katonda b’ayise, mulowoozenga ku Yesu, Omutume Omukulu era Kabona Asinga Obukulu, gwe twatula. 23:2 Kbl 12:7Yali mwesigwa eri oyo eyamulonda, era nga Musa bwe yali omwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna. 3Kubanga ng’omuzimbi bw’aweebwa ekitiibwa okusinga ennyumba gy’azimbye, bw’atyo Yesu wa kitiibwa okusinga Musa. 4Kubanga buli nnyumba wabaawo agizimba, naye Katonda ye y’azimba buli kintu. 53:5 a Kuv 14:31 b nny 2; Kbl 12:7Musa yali muweereza mwesigwa mu nnyumba ya Katonda yonna, eyayogera eby’obunnabbi ku bintu ebyali bigenda okwogerwa mu biro eby’omu maaso. 63:6 a Beb 1:2 b 1Ko 3:16 c Bar 11:22 d Bar 5:2Naye ate Kristo ye Mwana omwesigwa, akulira ennyumba ya Katonda; ate ffe tuli nnyumba y’oyo bwe tunywera ne tuba bavumu ne twenyumiririza mu ssuubi lye tunywezezza.

Ekiwummulo ky’Abaana ba Katonda

73:7 Beb 9:8Noolwekyo nga Mwoyo Mutukuvu bw’agamba nti,

“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye,

8temukakanyaza mitima gyammwe,

nga bali bwe baajeema,

ku lunaku lwe bagezesaako Katonda mu ddungu.

93:9 Bik 7:36Bajjajjammwe bangezesa,

ne balaba bye nakola mu myaka amakumi ana.

10Kyennava nsunguwalira omulembe ogwo, ne njogera nti bulijjo baba bakyamu mu mitima gyabwe,

era tebamanyi makubo gange.

113:11 a Beb 4:3, 5 b Zab 95:7-11Kyennava ndayira nga nsunguwadde nti,

‘Tebaliyingira mu kiwummulo kyange.’ ”

12Mwekuume abooluganda, omutima omubi ogw’obutakkiriza gulemenga kuba mu muntu yenna ku mmwe, ne gubaggya ku Katonda omulamu. 133:13 a Beb 10:24, 25 b Bef 4:22Mubuuliraganenga mwekka na mwekka bulijjo ng’ekiseera kikyaliwo, waleme okubaawo n’omu ku mmwe akakanyazibwa obulimba bw’ekibi. 143:14 nny 6Olw’okubanga tussa kimu mu Kristo, tunywereze ddala obwesige bwaffe bwe twatandika nabwo, era tubunywereze ddala okutuusa ku nkomerero. 153:15 nny 7, 8; Zab 95:7, 8Kyogerwako nti,

“Leero bwe munaawulira eddoboozi lye

temukakanyaza mitima gyammwe

nga bwe mwakola bwe mwajeema.”

163:16 Kbl 14:2Be baani abaawulira, naye ne bajeema? Si abo bonna abaava mu Misiri ne Musa? 173:17 Kbl 14:29; Zab 106:26Era baani be yanyiigira okumala emyaka amakumi ana? Si abo abaayonoona ne bafiira mu ddungu? 183:18 a Kbl 14:20-23 b Beb 4:6Era baani abo Katonda be yalayirira obutayingira mu kiwummulo kye? Si abo abataagonda? 193:19 Yk 3:36Era tulaba nga baalemwa okuyingira olw’obutakkiriza bwabwe.