Abaebbulaniya 2 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 2:1-18

Okulabula okussaayo Omwoyo

1Kyekivudde kitusaanira okussaayo ennyo omwoyo ku bintu bye twawulira, si kulwa nga tuwaba ne tubivaako. 22:2 a Beb 1:1 b Ma 33:2; Bik 7:53 c Beb 10:28Obanga ekigambo ekyayogerwa bamalayika kyakola, na buli eyayonoona era n’ajeemera ekigambo ekyo, yaweebwa ekibonerezo ekimusaanira, 32:3 a Beb 10:29 b Beb 1:2 c Luk 1:2ffe tuliwona tutya bwe tuliragajjalira obulokozi obukulu obwenkana awo? Obulokozi obwo bwasooka okwogerwa Mukama waffe, ne bulyoka bukakasibwa abo abaabuwulira. 42:4 a Yk 4:48 b 1Ko 12:4 c Bef 1:5Katonda yakikakasiza mu bubonero ne mu by’ekitalo ne mu byamagero abitali bimu, era ne mu birabo ebya Mwoyo Mutukuvu bye yagaba nga bwe yayagala.

5Ensi empya gye twogerako si yakufugibwa bamalayika. 62:6 Yob 7:17Waliwo mu byawandiikibwa, omuntu we yagambira Katonda nti,

“Omuntu kye ki ggwe okumujjukira?

Oba Omwana w’Omuntu ye ani ggwe okumussaako omwoyo?

7Wamussa obuteenkana nga bamalayika, okumala akaseera katono,

wamutikkira engule ey’ekitiibwa n’ettendo,

82:8 Zab 8:4-6; 1Ko 15:25n’oteeka ebintu byonna wansi w’ebigere bye.”

Katonda atadde buli kintu wansi we. Kyokka kaakano tetulaba bintu byonna nga biteekeddwa wansi we. 92:9 a Bik 2:33; 3:13; Baf 2:9 b Baf 2:7-9 c Yk 3:16; 2Ko 5:15Naye tulaba Yesu eyassibwa wansi wa bamalayika okumala akaseera akatono. Olw’ekisa kya Katonda, yabonaabona n’afa, alyoke alege ku kufa ku lwa buli muntu, n’atikkirwa engule ey’ekitiibwa n’ettendo.

102:10 a Bar 11:36 b Luk 24:26; Beb 7:28Katonda oyo eyatonderwa ebintu byonna, era mu oyo Yesu Kristo ebintu byonna mwe byatonderwa, eyalondebwa okuleeta abaana abangi mu kitiibwa. Era kyasaanira Yesu okubonyaabonyezebwa, ng’omukulembeze omutuukirivu, okubaleetera obulokozi. 112:11 a Beb 10:10 b Mat 28:10; Yk 20:17Oyo atukuza era n’abo abatukuzibwa bava mu omu bonna. Noolwekyo takwatibwa nsonyi kubayita baganda be. 122:12 Zab 22:22Agamba nti,

“Nditegeeza baganda bange erinnya lyo,

era nnaakuyimbiranga ennyimba wakati mu kkuŋŋaaniro.”

132:13 a Is 8:17 b Is 8:18; Yk 10:29Era awalala agamba nti,

“Nze nnaamwesiganga oyo.”

Ate ne yeeyongera n’agamba nti,

“Laba nze n’abaana Katonda be yampa.”

142:14 a Yk 1:14 b 1Ko 15:54-57; 2Ti 1:10 c 1Yk 3:8Olw’okubanga abaana balina omubiri n’omusaayi, naye yalina omubiri n’omusaayi, alyoke azikirize oyo alina amaanyi ag’okufa, ye Setaani. 152:15 2Ti 1:7Yakikola alyoke awe eddembe abo bonna abaali bamaze obulamu bwabwe bwonna mu buddu olw’entiisa y’okufa. 16Kubanga eky’amazima kiri nti tayamba bamalayika, ayamba zzadde lya Ibulayimu. 172:17 a Baf 2:7 b Beb 5:2 c Beb 4:14, 15; 7:26, 28 d Beb 5:1Kyekyava kimugwanira mu byonna okufaananyizibwa baganda be, alyoke abeerenga Kabona Asinga Obukulu asaasira era omwesigwa mu kuweereza Katonda. Ekyo yakikola alyoke atangirire ebibi by’abantu. 182:18 Beb 4:15Yabonaabona, ye yennyini ng’akemebwa, alyoke ayambe abo abakemebwa.