Abaebbulaniya 12 – Luganda Contemporary Bible LCB

Luganda Contemporary Bible

Abaebbulaniya 12:1-29

Katonda akangavvula abaana be

112:1 a 1Ko 9:24 b Beb 10:36Kale nga bwe tulina ekibiina ekinene eky’abajulirwa ekyenkana awo, twambulengamu buli ekizitowa, awamu n’ekibi ekitwesibako amangu, tuddukenga n’okugumiikiriza embiro ez’empaka ezatutegekerwa, 212:2 a Baf 2:8, 9 b Beb 13:13nga tutunuulira Yesu eyatandika okukkiriza era y’akutuukiriza, olw’essanyu lye yali alindirira bwe yagumiikiriza omusaalaba, ng’anyooma ensonyi, n’atuula ku luuyi olwa ddyo olw’entebe ya Katonda. 312:3 Bag 6:9Kale mulowooze oyo eyagumiikiriza okuwakanyizibwa okw’abakozi b’ebibi bwe kutyo, mulemenga okukoowa mu mmeeme zammwe nga mutendewererwa ne mu mutima. 412:4 Beb 10:32-34Temunnalwanagana na kibi okutuusa ne kukuyiwa omusaayi! 5Mwerabidde ebigambo ebizzaamu amaanyi byayogera nammwe ng’abaana be? Agamba nti,

“Mwana wange, tonyoomanga kukangavvulwa kwa Mukama,

so toggwangamu maanyi ng’akunenyezza.

612:6 a Zab 94:12; Kub 3:19 b Nge 3:11, 12Kubanga Mukama gw’ayagala amukangavvula,

Era abonereza buli gw’ayita omwana we.”

712:7 Ma 8:5Noolwekyo mugumiikirize okukangavvulwa, kubanga Katonda abakangavvula ng’abaana be. Mwana ki kitaawe gw’atakangavvula? 812:8 1Pe 5:9Naye singa temukangavvulwa, nga bwe kitugwanira ffenna, muba temuli baana be ddala.

912:9 a Kbl 16:22 b Is 38:16Kale, nga bwe mussaamu ekitiibwa bakitaffe ab’omubiri, newaakubadde nga batukangavvula, nga batuyigiriza, kitaawe w’emyoyo talisinga nnyo okutukangavvula ne tuba abalamu? 1012:10 2Pe 1:4Bakitaffe ab’omubiri baatugunjulira ennaku si nnyingi, naye ye atugunjula tugasibwe tulyoke tusobole okugabanira awamu naye mu butukuvu bwe.

1112:11 Is 32:17; Yak 3:17, 18Okukangavvulwa kwonna mu biro ebya kaakano tekufaanana nga kwa ssanyu, kuba kwa bulumi, naye oluvannyuma kuleeta ebibala eby’emirembe eri abo abayigirizibwa, era ekivaamu bwe butuukirivu. 1212:12 Is 35:3Bwe mutyo munyweze emikono gyammwe egikooye n’amaviivi gammwe agajugumira, 1312:13 a Nge 4:26 b Bag 6:1era ebigere byammwe mubikolere ekkubo eggolokofu, abo ababagoberera newaakubadde nga balema era banafu, baleme okuva mu kkubo eryo, wabula bawonyezebwe.

Okulabulwa obutagaana Katonda

1412:14 a Bar 14:19 b Bar 6:22 c Mat 5:8Mufubenga okuba n’emirembe n’abantu bonna, era mufubenga okuba abatukuvu, kubanga atali mutukuvu taliraba Mukama. 1512:15 Bag 5:4; Beb 3:12Buli muntu afe ku munne waleme kubeerawo n’omu ava mu kisa kya Katonda, era mwekuume ensigo ey’obukyayi ereme okuloka mu mmwe, bangi ne bagwagwawala. 1612:16 Lub 25:29-34Era mwegendereze waleme okubaawo omwenzi mu mmwe wadde atatya Katonda nga Esawu eyatunda ebyobusika bwe olw’olulya olumu. 1712:17 Lub 27:30-40Oluvannyuma ne bwe yagezaako okusikira omukisa ogwo, teyasiimibwa, era teyafuna mukisa kwenenya newaakubadde nga yagunoonya n’amaziga mangi.

1812:18 Kuv 19:12-22; Ma 4:11Temuzze ku lusozi olulabika olwaka omuliro, n’okukankana n’ekizikiza ekikutte, ne kibuyaga, 1912:19 a Kuv 20:18 b Kuv 20:19; Ma 5:5, 25n’eri eddoboozi ly’akagombe n’eri eddoboozi ery’ebigambo n’abo abaaliwulira ne batayinza na kweyongera kuligumira. 2012:20 Kuv 19:12, 13Kubanga tebaayinza kugumira ekyo ekyalagirwa Katonda nti, “Ne bw’eba ensolo, bw’ekomanga ku lusozi ekubwanga amayinja n’efa.” 21Ne Musa n’atya nnyo olw’ekyo kye yalaba n’ayogera nti, “Ntidde nnyo era nkankana.”

2212:22 a Beb 11:10 b Bag 4:26Naye muzze ku lusozi Sayuuni, ne mu kibuga kya Katonda omulamu, mu Yerusaalemi eky’omu ggulu n’eri enkumi n’enkumi ez’abamalayika abakuŋŋaanye, 2312:23 a Luk 10:20 b Zab 94:2 c Baf 3:12n’eri ekkanisa ey’abo abaasooka, amannya gaabwe agaawandiikibwa mu ggulu, n’eri Katonda Omulamuzi wa bonna, n’eri emyoyo egy’abantu abaatukirizibwa, 2412:24 Lub 4:10; Beb 11:4n’eri endagaano empya eya Yesu omutabaganya, ey’omusaayi ogwamansirwa ogwogera obulungi okusinga ogwa Aberi.

2512:25 a Beb 8:5; 11:7 b Beb 2:2, 3Kale mugonderenga oyo ayogera nammwe. Obanga Abayisirayiri tebaayinza kulokoka, bwe baagaana okuwulira oyo eyabalabula ng’ali ku nsi, tetuliyisibwa bubi nnyo n’okusingawo, bwe tulijeemera ekigambo ky’oyo ow’omu ggulu atulabula? 2612:26 a Kuv 19:18 b Kag 2:6Yakankanya ensi n’eddoboozi lye kyokka n’asuubiza nti, “Omulundi omulala sirinyeenya nsi yokka, naye era n’eggulu.” 2712:27 1Ko 7:31; 2Pe 3:10Kino kitegeeza nti agenda kumalawo nate ebyo ebinyenyezebwa, kyokka ebitanyenyezebwa bisigalewo.

2812:28 a Dan 2:44 b Beb 13:15Kale, nga bwe twaweebwa obwakabaka obutanyeenyezebwa, tusinze Katonda nga bw’asiima nga tumussaamu ekitiibwa era nga tumutya. 2912:29 Ma 4:24Kubanga ddala, “Katonda waffe, gwe muliro ogwokya.”